Bannange Abaganda Abasiramu Bayombera ki?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Bannange Abaganda Abasiramu Bayombera ki?

  • This topic has 9 voices and 19 replies.
Viewing 5 posts - 16 through 20 (of 20 total)
  • Author
    Posts
  • #24382
    BusagwaBusagwa
    Participant

      Nzijukira ku Obote 2 Kamulegeya yali alwana ne Mulumba kubwa Mufti!! era Museveni byonna abimanyi..kyeyava nekuluno aleetawo Division wakati mu basiraamu okusobola okubafuga obulungi!! kati nno wuuyo yewaana nga bwagenda okubatabaganya!! hahaaa..Buli Muganda ayagala eddiini ye gembawa Kusakata Mubajje kibooko mumugobe ku kitebe kyobusiiramu akitwale e Rwakitula..Eddiini ssi ya Mubajje!!!

      #24386
      MulongoMulongo
      Participant

        Enjawukana zino sizitegeera nnyo, wadde mbadde nga mpulira ate mu basiramu mulimu abatabbuliki ( ndowooza nabatazita), aba Naamu, aba Supreme Council, ate nga nemwaabo mulimu era obutetetete obulala obutonotono. Nze nengamba bwenti, era nga bwetwogera wano bulijjo nekunsonga yaba Kurisitaayo; ABAGANDA MUVE MWEEBYO, TWEGATTE TUTEREZE ENSI YAFFE, BAGITUBBAKO TULI MU KUYOMBA BYA MADIINI ATE NGA NE KATONDA TEBIMUSANYUSA.

        KATONDA N’OBUGANDA OMWOOYO GUMU NE MMEEME EMU.

        #24391
        NamukaabyaNamukaabya
        Participant

          Nange kyengamba nti nebwonooba entalabuusi ogyambadde nebwonogisaako wansi ye Katonda tajja kugaana kutambula naawe, ngokuumye obuntu bulamu , yo mu Buwalabu bameka abayombera Obuganda mwaali mugezezaako okubatwalirayo ku kalombolombo ka baganda nakamu nabo nebakatambulirako oba nga mwakisinyizaako babakuba amayinja musitenseni nga bwebajjako abantu Baibuli kubisaawe baleme kuyingizaayo diini ndala .

          Kati eyaleeta enjawukana ye ali mukatebe ke nabaana be yesekera mwemuli mukugwangana mubifuba nga nediini gyemulwaniramu abasinga obungi gyemwagijja tebabamanyi era tebafaayo ku kunkufu zemwetusaako ebintu bikyuuse osobola okusinza kyonna kyoyagala naye lwaaki okiyiira omusaayi nga ne Mukama waffe yennyini yasaawo eddembe buli omu asinze kyayagala.

          . Musooke mulwanire egwanga lyammwe kuba singa mujjukira nga tebanabaletera madiini gabesuzanngana mu bulago mwalina gwanga era teri noomu gwetwawulira nti ekika gundi kirumbye ekika kino olwensonga emu oba endala mwetunulemu mujjukire nti muli baana ba Kintu ne Nambi , eyaleeta amadiini yabasanga muli baluganda Abaganda .

          Amawanga amalala lwaaki go tegalwaana bo ewaabwe eddini teyatuuka oba bagezi okutusinga okukulembeza amawanga gaabwe? ebizibu nomusaayi Buganda gweyiye tegubamala? mulina nammwe okugattako enkayana zammwe bwo Obuganda bulyegatta ddi nga mawanga amalala mu nsi yonna ? mwe temulaba nti omulabe wa Buganda bino byennyini byayagala? tukoyesebbwa ebya bagwiira ebitwawulayawula mutusasire mukomye enyombo zammwe twezze obujja .

          #25649
          NdibassaNdibassa
          Participant


            Bbirikkadde emyaka gy’amaze ng’alindirira akalabba aginyumya nga lutabaalo

            1260616696zulu.jpg

            Bbirikkadde (ku kkono) ng’ali ne Sheikh Kakeeto amukulisa ekkomera.

            HAJI Muhammad Bbirikkadde emyaka 30 gy’amaze mu kkomera e Luzira ng’alindiridde okuwanikibwa ku kalabba aginyumya nga lutabaalo. MEDDIE MUSISI gwe yanyumirizza byonna:

            Olunaku lwange olwasooka mu kkomera nali mugumu nnyo naye amaanyi gaagenda ganzigwamu mpola nga ntandise okuwozesebwa.

            Buli mulundi gwe naleetebwanga mu kkooti nga nfuna omukisa okulaba ku booluganda n’emikwano era nga banzizaamu amaanyi bwentyo ne ntuuka okuddayo e Luzira nga ndi mugumu.

            Wabula omulamuzi lwe yantyemulira nti ng’enda kuwanikibwa ku kalabba, amaanyi n’essuubi byanzigwamu. Omwoyo gwange gwansombera ebintu bingi wabula bwe waayitawo ebbanga ne ng’uma anti nga sikyalina kyakukola.

            Nasalawo okwekwasa Mukama Katonda wange era okuva lwe nayingira e Luzira Imani yange yeeyongera okulinnya nga buli kadde mba mu kumusaba ansonyiwe byonna ebyansobako.

            Obulamu bw’ekkomera si bwangu mwana wange era tobwagalizanga munno ate n’okusingira ddala oyo aba amaze okusalirwa ogw’okufa anti bangi essuubi litera okubaggwaamu amangu na ddala bw’aba nga si mukkiriza.

            Buli lunaku mbadde nsaba emirundi egisoba mu 1000 nga nneegayirira Mukama ansonyiwe antaase ekkomera ate bw’aba asazeewo okunzita anzite nga ndi mukkiriza.

            Mu mazima ebbanga ery’emyaka 30 ddene nnyo era omuntu yenna alimala mu kkomera n’atabonerera aba wa bwongo butono nnyo.

            Mu kkomera mbadde nfuna buli kalungi abooluganda lwange ke baba basobodde okundeetera era nga bwe mba ndwadde nfuna bulungi obujjanjabi obwetaagisa.

            Bannange ebintu bikyuse nnyo ku maaso gange, eno ensi kati ndabira ddala nga mpya.

            Mu kiseera kino tosobola kumpa mmotoka ne ngikuvugira mu Kampala anti nnyinza okwekanga nga ntomedde gwe ate enguudo zonna zakyukakyuka dda zigenda bugenzi nga tezikomyawo.

            Wabula bannange tusaana tumanye ekintu kimu nti singa omuntu aba akoze ensobi ne yeetonda asaana asony-iyibwe kubanga ensobi zonna zikolwa omuntu omulamu.

            Published on: Saturday, 12th December, 2009

            #25650
            NdibassaNdibassa
            Participant


              Abasiraamu mu Buganda beyisa nga gwanga ddala omusiraamu nebwakola ekisobyo ekifanan kitya kasita abeera musiraamu nga bonna batunula ebbali , wano Amin yatugumbula Abaganda tewawulirayo musiraamu yemulugunya , ekyewunyisa nti mu buwalabu gyebajja eddiini yaabwe tebaagala kugoberera buli kyonna ekikwaata kudiini eyo, naye balondobamu ebinabagasa ate kyebelabira nti yo ediini gyebagiggya basokera kukuuma mawanga gaabwe .

              Bwekiba nti okunyakulako omuntu ensawo kikutemyaako omukono olwo okunyakula obulamu bwomuntu kyo kikulesaawo ngo sajjalaata ebweeru ate nga tosse muntu omu oba babiri oba kkumi.

              Ekimalawo effujjo munsi bebantu okulisalira amagezi sosi kudda mu kuwaniriza nakugwa mubifuba abo ababa batemudde abantu baffe nokubakolera obubaga, sirowooza nti singa yatemula mwaana wa sheik Kakeeto yandibadde naye mu bbinu lyalimu kati, ye yali alambudde kunganda za bantu Bbirikadde be yatwaala ekaganga?
              waliwo okuziba amaaso ffenna netulemera munsobi.

              Abasiraamu mukulembeze egwanga lyamme erya Buganda kuba byonna kyekimu nobusiraamu bwonna temubugoberera nga bwebabubawa gyemubujja at least mubeeko nekimu nga kijjuvu.

              Bbirikadde yawoza buvubuka bwebwamuttisa abantu ,mu beyatta mwalimu omwana we oba nyina oba mukazi we? oba obuvubuka bwamusongeranga kubaana ba balala bokka? ekyo kutta omuntu oba ogenze wala nga mudakiika emu mwogera akwegayirira nga mu yokubiri omusalirawo enkomerero ye , nomala nogamba nti oyo mumaze baleete omulala , tetwagala kumanya byayiseemu kuba ye kafulumye ajja kubyerabira naye beyajjako abantu be ekituli tekigenda kuziba.

            Viewing 5 posts - 16 through 20 (of 20 total)
            • You must be logged in to reply to this topic.

            Comments are closed.