Batimpuddwa ggoolo 6 ne beekwasa omukkuto
Bukedde Wednesday, 22 April 2009
KATEMBA yabadde ku kisaawe e Nabweru, ttiimu emu bwe yatimpuddwa ggoolo 6-0 ne yeekwasa nti abazannyi baayo bakkuse nnyo ne bazitowa.
Boneti FC, ey’abatunzi ba sipeeya mu katale k’ewa Kisekka, ye yawuttuddwa Nabweru FC ggoolo ne yeekwasa nti kyavudde ku mukkuto.
Abawagizi ba Boneti FC abazze na buli kyetaagisa nga amazzi, gulukosi ne sooda, byabasobedde nga baawula bwawuzi.