Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Emboozi Ezenjawulo / General Discussions › Do You Spy On Your Spouse?
- This topic has 7 voices and 9 replies.
-
AuthorPosts
-
August 19, 2008 at 8:51 am #18749
Do you spy on your spouse? Do you turn into James Bond 007 everytime you are left in the room alone with his/her bag? Do you turn those pockets inside out for tell tale signs of cheating? Have you ever taken time to dig that telephone note book for suspicious numbers? Do you smell his/her clothes for strange colognes of someone who maybe have been in the arms that are rightfully yours to be held into? Let’s share.
August 19, 2008 at 3:47 pm #19374Many men do that. I wouldn’t advise to spy on your spouse. Some women seem never to get enough. The more you spy on a wife, the more likely it is that your relationship will end for good or for bad. It can be a good idea, though, to know more about your spouse. You might just be saved from disaster.
I read a story where a man was in the habit of checking his wife’s bag. The man had received rumour of his wife being very generous, and decided to spy on her. One day he found there a piece of a “joint”. That was the end of their relationship. They had no children together. It turns out that whenever the woman had a “pull” on the joint, she needed to do it, and would look around amoung her friends or a new victim.
Trouble with the “joint”, it makes the user lose logic.
August 19, 2008 at 5:23 pm #19378Lwaaki omukyaala joint teyagikommonta nga owuwe yaliwo kiba kirungi afuna two in one okujjako mpozzi omwaami bwaaba sibyaliko nga sinda headache , kati awo asikiriza munne okutunulako ebbali yemalereko ekiyonta ekikoomi kyekiba kimutaddeko.
Naye nga lwaaki oba otuuka kussa eryo lyonna munno mubuuze nti embuzi gyennalese nsibye ku nkondo yakutudde negenda erya ebiwata byamulirwaana?
bwakuddamu nti yamunyugunyizaako katono ngotuura wansi ngononyereza ekibula mu biwata ebibyo ngolaba engeri gyoyongeramu ekiriisa.
Naye ebyokudda mukuwunyiriza omuntu obuwoowo obutali bubwe kiyinza okumuletera ekikemo nagula ecupa yakawoowo ko mwaami nakesaako kagenderere akureete ebbuba oba najjayo engoye ze neyekolako nga lina gyalaga nasuula eri engoye ku ntebe ngabaddeko gyaava , kati bwokoma wo nezibukako waya songa akuloga bujja nakubukira nsonga zotomaze kwetegereza.
nze ndowooza munno bwooba omukooye kituufu nomuviira okusinga omu okuzannya munne ditectiveAugust 20, 2008 at 1:48 am #19380Guilty as charged. Ogenda nolaba omwana nga anyiirira, ate nga okimanyi abasajja tebayinza kubeera nga tebamusonseka bugambo gambo. Ate ogenda okulaba nga eddembe n’omukwano bisusse wakati wammwe. Nogamba munda muli, ha naye ono alina ebyaama. Awo notandika okwaaza. Ate oluusi ensawo bwogiraba awo, oyinza okuba nga tobadde nakirowoozo, naye yyo nekutuma. Nobutabo tabo obwo butuma. Mukwano ki ogutabeeramu ku bujja?
August 20, 2008 at 6:11 am #19386Musajjalumbwa batuuse okukyaala ewuwo ne briefcase nga kuliko ne secret code,
tulabe bwenekutuma akambe okujimenya oba okutandika okuteeba birthdays ogiyingize olabe oba eggulaAugust 20, 2008 at 11:24 am #19396Ssiri systematic ku kukola roadblocks munju. Naye bwabeera nga munnange ampadde ensonga eyekengera, nyinza okukozesa obukisa obubera bwunnelambye. Kangambe nsigadde awo nensawwo ye nyinza okulingizaamu kko katono. Naye nze sagala muntu yenna kutunula mu bintu byange nga tansabye, naddala bwemba siriwo. Oba oyagala bitunulemu nga nange wendi ndaba. Nolwensonga eyo, nkyelowooza nnyo, era ateekwa okuba nga ampadde nsonga ya maanyi ndyooke nkebere ebintu bye. Ate era sikikola lwa bujja as such, mbeera njagala kumanya where I stand. Waabaadde nga otegeka anniversary party yammwe, nga omaze nokuyita abantu bonna n’okugula ebintu mbu munno omukole surprize najja eggulo limu nakakutema nga bwagenda safari gyatagendangako? Eyo nno ye best scenario.
August 20, 2008 at 9:07 pm #19404Ate waliwo okumukorera ka suprise party najja ngaliko gwaweese. Newejjusa nti singa kale nakebera munsawo ze zonna, eze saati ne mpale ne wallet ne ka black book ,nessimu ye emails ze zonna ne ntunula ne ku bills zessimu eya waka ne cell phone , nenkola nemikwaano kumikwano gye nembuuza, nenkubira ne secretary we , oba eriyo essimu yomukyaala alina erinnya eritali lyange eyingirawo ku mulimu nokubira zi airline zonna nezikubulira engendo zatambuddeko oba abaddeko omukyaala omulala atali gwe ,nokubira ne hotel zonna nobabuuza oba ya booking nga couple, bino byonna bwebiba tebikuwadde kyo noonya then aba amukwaanye akomawo waka kulya kabaga komutegekedde ne mujjawo awo, buli omu nagamba munne nti supriseB)
August 21, 2008 at 1:27 pm #19417Personally, I don’t. Sikwaata mu nsaawo ze, sinoonya butabo bwe, siggula mabaluwa ge, siyingira mu bintu ebyo bya gundi ze. Mpozi nga ngenda okuteeka engoye mu kyuuma akyoza. Awo nkwata munsawo okulaba nga temuli kinayonooneka. Nebwembisangamu, sirina kwagala kubikebera. Mpoozi nga nsanzemu Euro, ezo ngenda nefuna byetu shopping-a. Kyemba njagala okumanya mubuuza bubuuza face to face, nga musaba amazima. Siri curious. Tekitegeeza nti sifuna bujja,tekitegeza nti munnange simwagala, naye siraba bwa mbega bwebungasa. Nkubulidde nkwagala, ate oyagala nkukolere ki?
October 9, 2008 at 9:01 am #19895Mbadde sinatakandika akaze kano. naye ndaba omuganyulo ogukalimu. Omusajja ayinza okukubako ebyekango ate nga bulijjo bibaddenga mu nsawo ye omwo nga mwebyakuyitira ko. Mukwano gwange bba yatandikayoamaka amalala, yakiteegera lumu nga anoonyereza mu briefcase ye, nalaba ebifaananyi nga lord ali mu family number two, aleze abaana bamukubye ebifaanayi nomukyaala. Mukwano gwange yali ali mu Daddy talina sente, tukekkereze, kwoolwo lweyakitegeera. kati naye buli week beera mu saloon. Ne biva ebibi abirya ndiirwa. Kirungi nomanya mangu nga toluna muka mwana, notera otandika okwekamwana wekka.
October 10, 2008 at 5:24 am #19903Yiiiiiiiiiiiii owange nga mukwano gwo yakigwaako okugwa ku Daddy we nga ali mu bu Kodak moment, kati olwo ebbanga lino lyonna nga muletera obunyeebwa nti bamale galya obwo nga bwebakekkereza okukola.
Kati nno tebereza nga maka number 2 bwegaamu ngo mukyaali akyaali muvubuka namugulirannga buli kagoye kamulembe nakagatto nakasawo kaakwo, bwaaba ne mikolo amutemyaako butemya omukyaala nayolekera saloon nga gwe owa waka otaddemu bituttwa ate osibyeeko nekigoye kuba otangira kaweke obutayingiramu nfuufu ngolima omusiri gwa lumonde emmanju, osobole okuyamba ku mmere eya waka Taata wa baana aleme kusasula nnyingi .Mpozzi nga buli gwe kofissa kekakola perm wa mujjawo, kuba balina okugenda ko ku kabaga ka bussiness perterner wa Bbaawo .Ye kati ate ebiteeteyi ne bu skirt ebirungi obyambalilako wa ? munnimiro gyogenda okukoola lumonde? era omaliriza osuddemu ki kade kyo ekijjudde amasanda nga mujjawo ye ali mu bu latest design entumbwe agizigula yo nga kwokomya amaaso, anti nga ne muba sosola ebigere alina okugendayo kuba ajja kusulamu ka open toe shoes.
Gwe nakyaala ngo sulamu kikasobeza kyo ekya lusejjera ekigudde olubege kuba kyekimanyi ebisooto. Kwoolwo omwaami akutegeeza nokutegeeza nga bwemutamulinda kyaggulo kuba bajja kulwaayo mu meeting ate nga nokulalika akulalikiddewo nti ku weekend balina company trip jebalaga songa agenda kwesanyusaamu ne mujjawo .
Awo naawe wolabukira onoonye Nigiina otandika okwezigula nga munno yakuyitako dda naye its never too late , nga naawe lumonde omufunira anamukoola ngotandika okwebuuza kubakyaala banno gyebabakolerako ngotandika okwezigula eyali asiiba mu muwalume nga naawe otandikira ku bikongo eyali agubasidde nga bakulagirira ka cream kajjamu mbalabe nabi paapya ogenda okulaba ngeyali tafaayo nakutunulako ngo mubuuza atandise okwetegereza enkyuuka kyuuka agenda okulaba nga tokyafaayo nebwakugamba nti anasulayo.
Awo ngo manya nti chapter empya eggulidwaawo . kati katulinde kumulundi oguddirira tulabe mukyaala mukulu watuuse………. -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.