Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Ebyemizannyo / Sports › EKISAAWE KYE NAKIVUBO BAKITUNDA!!!!!!!!
- This topic has 36 replies, 12 voices, and was last updated 3 years, 9 months ago by Musajjalumbwa.
-
AuthorPosts
-
February 15, 2009 at 8:17 am #19122
Abaganda muteekwa mmwe mwenyini wamu nokuyamba abaana bammwe okumanya ebyafaayo bya Buganda, musobole okumanya ebijjukizo byammwe gyebiri nokubikuuma. Ekisaawe kino, kyazimbibwa okuva mu sente za kasiimo ezava ewa Nabakyaala wa Bungereza ezajja nga za muzindo eri ba kawonawo Abaganda abalwaana mu sematalo owokubiri. BAKITUNDA BATYA?????????????????
Kikyamu okutunda Nakivubo
Ttulakita ng’esenda ekibangirizi eky’omunda mu kisaawe ky’e Nakivubo ku Lwokusatu.Bya Rogers Mulindwa
Amawulire agalaga ng’ekitundu ku kisaawe ky’e Nakivubo bwe kigenda okufuulibwa ppaaka, ganneewuunyisizza kubanga mu kiseera kino tubadde mu kulaajanira gavumenti eveeyo etuyambeko mu kutaasa ebisaawe byaffe eby’omupiira ebitandise okutundibwa mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
Bw’oyitako e Semuto mu disitulikiti ye Nakaseke enviiri zikuva ku mutwe okusanga ekisaawe ekyali eky’amaanyi nga kati kirimu amayumba 3. Banna-nge tulaga wa era omupiira tunaagusambira wa?
Bwe tulaba nga Nakivubo naye atandise okweyambisibwa mu birala ebitali bya mizannyo, kitwongera okutya. Wabula tusabiragane tulabe embeera gy’eraga. Mukama akuume.
Published on: Saturday, 14th February, 2009
bukeddeFebruary 15, 2009 at 12:38 pm #22175Wano nyinza kwogera ku kyennawuliranga kyogerwa ku baana abatundanga ebintu byomumaka gaabwe. Babayitanga BABBI. Nga mulabira awo nga takyalina masuuka, mugogo gwa ngatto mulala, saati, mpale – nga abitunze. Awo nakwaata essowani ne bikopo, mugenda okulaba nga ekimuli nekitambaala ebibaddenga ku mmeza temukyakilaba, nga ebbenseni zibuze nga sigiri eyokubiri teliwo. Agenda akula nga akuguka, mugenda okulaba nga atunze ekitundu ku kibanja. Ebintu bino byonna nga abba bibbe, kubanga akimanyi nti ssi bibye. Kitalo nnyo kubanga nze ndaba nti kino kyefananyirizako Buganda kyeliko kati, okujjako nti atunda musajja, ate yajja buzzi nga mombozze enoonya obubudamu, ssi na mwana wa mu nju. Era ddala ekisa kitta nenge etta.
February 16, 2009 at 8:10 am #22189Abaganda abafiira mu sematalo owokubiri baali 46000 gye mitwaalo ena mu kakaaga. Bangi bakubibwa bbomu za ba Japan nga bali ku nyanja. Naye jjukira nti baali wakati we myaaka 19 – 45. Taata wange yali kawonawo, naye nga yagendayo ngalina emyaaka 19. Emboozi eno mpanvu, naye tebalitunze nakwonoona kijjukizo kya bakadde baffe. Sso bakissako dda amaaso, kubanga nawulira nti okuzza emizannyo gye bika ezo gavumentu za nnaleero zaali zagala kugigaana kubeera Nakivubo, nga tebamanyi nti ekyo kisaawe kya ba kawonawo Abaganda. Songa ate buli kintu kyonna ekri ku ttaka lya Buganda kya Baganda. Abantu abo batukoyesezza nnyo.
February 16, 2009 at 1:26 pm #22193Ebimu bino tuleme kukayukaana.tutereze nsi yafe byonna bijja kutelera. Kubanga bano abantu balinga bebatusindikila obusindikizi nga bwebasindika amayembe.
February 17, 2009 at 7:01 am #22198Naye tutunula tutya obutunuzi nga ebintu bino byonna bigenda mu maaso mu nsi yaffe? Kinamala kutuuka wa netulyooka tusituka okwejjirako ddala obusajja buno obunaku obuboofu? obufuzi bwaabwo bwonna buli mu kutunda nakwonoona nakubba!!Naye kuluno Omuganda atayimuke asigalirangayo ddala gyaali. Mukungaane, mwenna abakazi nabasajja ba Kabaka, kati Obuganda lwebutweetaaga ennyo!!
Bukedde Ebyemizannyo Muve ku Nakivubo
Muve ku Nakivubo
Monday, 16 February 2009
Abaaliko abasambi ba Cranes boogezza bukambweABAAGUSAMBAKO mu Cranes ne kiraabu ezenjawulo bavuddeyo ne bavumirira ekyokupangisa abaddukanya bbaasi ekisaawe ky’e Nakivubo.
Edgar Watson, akola ku by’ekikugu mu FUFA nga yali kapiteeni wa SC Villa ne Cranes, yagambye nti ye we yakulira, waaliwo ebisaawe bingi mwe yasobola okuzanyira omupiira okuzimba ekitone kye.
“Nakulira Kampalamu-kadde nga nsobola okuzannyira ku Aga Khan, Kyaggwe Road P/S, Old Kampala, Buganda Road ebirala naye kati abaana ogwo omukisa tebagulina kubanga ebisaawe bino ebisinga byasibwaako seng’enge ebirala nga Kyagwe Road ne bitundibwa kati ne Nakivubo, akatundu abaana mwe babadde bazannyira nako kagenze?” Edgar bwe yabuuzizza.
Yasabye Gavumenti ne KCC zifune ekifo ky’ebyemizannyo mu kibuga kubanga ebibaddewo bannaggagga babimazeewo.
Eyaliko omukuumi wa ggoolo mu KCC ne Cranes, Sadiq Wassa, eyakulira e Naguru, yagambye nti okutunda ebisaawe by’e Lugogo kyakosa nnyo enkulaakulana ya ttalanta mu kitundu era okutunda Nakivubo omupiira mu Kampala bajja kuba baguziise.
“Baatandikira Lugogo ne badda ku Kyaggwe Road, Shimon Dem. kati bali ku Nakivubo ate nga ne Nakivubo Blue okuli ekisaawe ekisambiramu egy’ekibinja ekisooka baagala kumufuula paaka, olwo omupiira gulaga wa? Gavumenti eyanditaasizza ebisaawe y’ewagira batunde Nakivubo kati abaana banaazannyira wa?” bwe yabuuzizza.
Omutendesi Sam Simbwa, nga yazannyirako mu KCC ne Cranes yagambye nti eyagabye Nakivubo aleese abayaaye mu kisaawe.
Fred Tamale, eyaliko mu Express ne Cranes, nga ye yateeba ggoolo eyasookera ddala mu Namboole, yagambye nti kya buswavu okuwulira nti Nakivubo atundiddwa.
“Kiswaza okuwulira nti Nakivubo afuuse paaka, aba-kikoze balinnyonnyola batya abaana?” bwe yabuuzizza.
Kefa Kisaala, eyaliko mu Coffee, KCC, Express ne Cranes yagambye nti ye tannakakasa nti Nakivubo bamupangisizza.Minisita w’ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi ategeka okusinsikana aba FUFA wiiki ejja bateese ku Nakivubo.
Eggulo omulimu gw’okute-reeza ekitundu ekigenda okubaamu paaka gwabadde gukwajja kyokka nga teri akkirizibwayo.
February 17, 2009 at 7:43 am #22200
Nakivubo belongs to Baganda second world VeteransTHE management of Nakivubo stadium has rented out part of the stadium’s grounds to Allied Owners Bus Association to use the area as a bus terminal.
This is not the first time such a thing is taking place. Already part of the stadium parking yard is being rented by Kalita Bus Company, another by market vendors, while the area near the netball court has become a pay parking yard.
This desecration of Uganda’s most sacred sports ground must stop. Nakivubo stadium is the custodian of Uganda’s rich sporting history, a sports museum of sorts. It is a pity that the board of trustees, appointed to manage the stadium, is the one now offering it to land grabbers.
The reason why bus operators are looking for a new home is because the old one was leased off to a developer, who turned it into a shopping complex.
Instead of learning from their experience, the stadium management is offering the bus operators a temporary home, which might become permanent.
Their argument that they are renting out part of the stadium because football is no longer profitable is very weak. All it shows is their incompetence and lack of innovation.
Otherwise, there are many sports related revenue-generating projects that can be set up at the stadium, strategically located in busy downtown Kampala. Anyone who thinks soccer is no longer profitable has no business managing a facility like Nakivubo stadium. That is why these people must be stopped and their transactions reversed.
Published on: Saturday, 14th February, 2009
February 17, 2009 at 9:10 am #22201Kati ekintu kimu kyemuba mu manya mwe Abaganda abasigadde eka nti bano abasajja bakimanyi nti bagenda era tebakya lina gyebajja ssente nolweekyo kyebasigaridde kwonoona buli kimu bakisse ku ttaka bwemutasituke nga bwemwakola ku Mabira kubagamba
nti ekyo tebasobola kukikola bajja kwonoona buli kimu nga bekwaasa nti basaawo park Buganda yonna bagenda kugifuula Park lwaaki tebagenda nebazimba li park eddene mu West
Ate nammwe Abaganda abetekawo babekwekeemu nga bonoona ebintu bya Buganda mukimanye nti nammwe mulidde munsi olukwe.February 17, 2009 at 1:19 pm #22203Kuluno Lwembadde e Kyaddondo ne Batabani baange,Twanoonya awokuzanyira Omupiira newatubula.Okutuusa Lwetwagenda e Kamwokya edda waliyo akasaawe mwetwagusambiranga.Tugenda okutuuka eyo nga nako kalimu Bikata bya Lumonde, ate nga ne embassy ya United Kingdom ekitundu ekimu yakisibako dda Olukomera okuli ne camera. Yye abaffe Lwaaki Paaka ya baasi tebagitwala e Bweyogerere, Busega oba E Mpererwe mbadde ngaamba Mmotoka ezirina yingini!oba nazo zetaaga kusindika nga zino Gavumeenti ezitava mu kifo..:angry:
February 17, 2009 at 1:40 pm #22204Kino nno kyekyandigenzeko okwekalakasa okwandisitudde ba kawonawo ba WWII ebensi yonna. Abaganda tuteekwa okumanya wwa wetuyinza okufuna obuwagizi. Singa enfuuzi zabasirikale ba WWII, ba kawonawo abakyaliwo, naffe abaana baabwe tusituse netwekalakasa kino kyandisinze ne Mabira okuvuuma mu nsi yonna, nga naffe wano abali ebweeru bwetugenda nga tutambula nga tukunga bakawonawo beeno ebweeru ku nsonga eno. Tewali atamanyi mwooyo gwabaserikale eri baserikale bannabwe bebalwaana nabo.
Ekirala be bantu bano abagala okuliira mu kavuyo, abagula ebintu mu kiseera kino okumanya nti kyebakola si kya kikyaamu kyokka, tebajja kufiirwa sente zaabwe kyokka, bajja nakuwoza mu kooti ya bantu olwo kwagala okubba public property naddala historical monuments.
February 18, 2009 at 5:55 am #22217Bukedde Ebyemizannyo Nakivubo abadde afuuse nsiko – Minisita
Tuesday, 17 February 2009 15:58
Minisita w’ebyemizannyo Charles Bakkabulindi ategeezezza nti tewali agenda kwesimba mu nteekateeka ze ku kisaawe ky’e Navivubo.
Minisita yagambye nti waliwo abavuddeyo ku nsonga eno nga baagala kubalaba nti nabo gyebali naye ng’ensonga entuufu tebagimanyi.“Akakiiko akaali kakulira Nakivubo kaaleka amabanja ga bukadde 150, Umeme nayo ebanja obukadde obusoba mu 100, ab’amazzi nabo babanja ate nga waliwo abakozi abasoba mu 30 abalina okusasulwa buli mwezi, kati abawakanya baagala tuleke ensiko mu Nakivubo ate nga tusobola okufunamu ssente?” bwe yabuuzizza.
Abaagusambako n’abakulembeze omuli kansala wa Kisenyi, Salim Uhuru ne Town Clerk, Ruth Kijjambu baavuddeyo ne bawakanya entekateeka ku kisaawe kino ne bamuwabula bbaasi azisse awalala.
“Tewali muntu yenna agenda kulemesa ntegeka zaakupangisa kibangirizi mu Nakivubo kubanga tewali kibadde kikolerwawo sso nga kisobola okuyingiza ssente eri ekisaawe,” bwe yakiggumizza.Nakivubo basasula URA obukadde 5 buli mwezi n’ekitongole kya Umeme bakisasula buli mwezi ku bbanja ery’obukadde 100 bwe babanjibwa.
Ekibangirizi ekyogerwako kiri mabega wa ‘Kirussia’ era nga tewabadde kikolebwawo era okusinziira ku kakiiko akafuga ekisaawe kino, tebatunzeewo wabula bapangisizza kkampuni ya bbaasi eya Ibabu Coaches zisimbengawo okumala omwaka gumu.
Bannabyamizannyo abawerako balaze okutya nti eby’okutunda bitandika mpola era nti bwe banakkiriza bbaasi zino okusemberera ekisaawe, baakwesanga ng’ekisaawe kyonna kirugenze.
Wabula minisita agamba nti ekyapa ky’e Nakivubo akirina era mu lukiiko lw’abaamawulire lwe yatuuzizza wiiki ewedde, yazze nakyo n’agamba nti tasobola kutunda Nakivubo n’asigaza ebyapa n’asaba abantu okusooka okumanya ebigenda mu maaso nga teb-ann-ay-om-ba.
February 18, 2009 at 6:00 am #22218Wulira obuyinza obwo Bakkabulindi bwayogeza!! Mbu tewali ayinza kumwesimbamu ku bintu bya Nakivubo. Yye yaani oyo Bakkabulindi owa magero ennyo atesimbwamu ggwanga ddamba? M7 bayogerako bulijjo bayita Abaganda embwa, olumuwa eggumba nga naboggola, ebyo nga owamagero Bakkabulindi, mpozzi nga linnya lyokka lye gganda ku yye, nga tetwawulira kyabyogerako?
February 18, 2009 at 4:09 pm #22220Edda nga tukyasoma waaliwo akatabo ketwasomaanga nga bakayita “Ali Baba and the Forty Thieves”,Nabano ababba ebitali byaabwe balina abakulira. Era wetwogerera bino nga asobeddwa Eka ne mu Kibira,anti atandise Okwooza nga bwaya
nika mu ttaka!!Mu eeno Cabinet gyeyakoze yagobye bamuzibe
nawandiika ba kiggala!!omusiru nga oyo asaangika mu nsi ki???? Owaaye bano mbu ba Bakkabulindi oba amanya nago :laugh: banyaga manyage nga babayita ba “Bahikabulindi”??? nga Abazuungu bwebagamba mu nsi yaffe..”Everything is possible”February 20, 2009 at 2:47 pm #22250All city schools must stay
Thursday, 19th February, 2009
By Fortunate Ahimbisibwe
PRESIDENT Yoweri Museveni has directed Kampala City Council (KCC) authorities not to displace primary schools in Kampala for the benefit of private developers.
The directive has already been passed over to KCC.
Museveni has, therefore, asked mayor Nasser Ntege Sebaggala to halt the plan to turn Nakivubo Blue Primary School into a taxi park, his press secretary, Tamale Mirundi, said yesterday.
The plan, the President said, was unacceptable because it affected the children of the poor who work and live in Kampala.
“Primary schools in Kampala should be protected against any form of encroachment by people who want to grab land,” Tamale quoted the President as saying.
The schools should instead be upgraded to accommodate more pupils, Museveni argued.
Nakivubo Blue Primary School has 900 pupils under the Universal Primary Education programme.
Museveni said he sees children of the poor walking to school in the morning.
“They cannot be displaced because they will not have where to study from,” he said.
In January, Ssebagala said Nakivubo Blue Primary School playground would be used as a temporary taxi park while the Old taxi park undergoes renovation.
Museveni said he had not acted because he was not aware that the schools were being displaced until he saw reports in the media, according to Tamale.
Some city councillors and the Kampala Central MP, Erias Lukwago, opposed the move.
The committee on public service and local government has recommended that Nakivubo Settlement, which has few pupils, should be merged with Nakivubo Blue.
The suggestion was also backed by former local government minister Maj. Gen. Kahinda Otafiire.
Otafiire further said UTODA, a taxi association, which manages the two taxi parks, should relocate to Nakivubo Settlement.
Nakivubo Blue initially had 18 hectares of land but KCC has over the years allocated most of it to investors and army veterans.
There are other primary schools in Kampala under the threat of relocation.
February 22, 2009 at 8:55 am #22272Minisita teyejjusa kutunda Nakivubo
Bya Isaac BaligemaMINISITA w’Ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi agambye nti abawakanya okutunda ekisaawe ky’e Nakivubo baddembe okumutwala mu kkooti nti kyokka ye n’akakiiko akakiddukanya balina balooya abasobola okubawangulirayo.
Kino kiddiridde munnamateeka w’omu Kampala era nga y’awolereza ne FUFA, Geoffrey Nsamba okutiisatiisa okutwala minisita n’akakiiko akafuga Nakivubo mu kkooti akagguleko omusango gw’okupangisa ekibangirizi ky’ekisaawe kino eri kkampuni ya Allied Bus Owners Ltd, ekifuule ppaaka ya bbaasi.
“Nasomye amawulire ne ndaba munnamateeka ayagala okututwala mu mbuga ku bya Nakivubo. Mmulaba ng’aloota kubanga by’atambaala tabimanyi,” Bakkabulindi, eyabadde asisinkanye akakiiko akaggya akafuga emizannyo gya Olympics mu ggwanga ku ofiisi ye bwe yategeezezza ku Lwokutaano.
Yagambye nti abawakanya okupangisa Nakivubo be batayagala nkulaakulana kubanga ekisaawe tekikola magoba.
Bukedde
Published on: Saturday, 21st February, 2009February 22, 2009 at 9:22 am #22275Kino ekisaawe kya bakawonawo Abaganda, era bebasalawo okukizimba mu sente za kasiimo Nabakyala wa Bungereza zeyabawereza olwokulwaana mu sematalo owokubiri. Waliwo endagaano ya Buganda ne Bungereza eya 1894, eyali egamba nti Bungereza bwelyetaaga obuyambi nga Buganda egibuwa, ne Buganda bwelyeetaaga obuyambi nga Bungereza egibuwa. Nabakyaala okwo kweyasinziira okutumira Sabasajja okumuweereza abalwanyi, bakungaanira mu Lubiri e Mengo. Awo webava okutegekebwa mu bibinja okugenda okutendekebwa balyooke batwalibwe okutabaala. Ayagala okumanya ebsinga ayinza okubuuza ku ba kawonawo benyini abakyaliwo. Ebyaafayo bingi ebyogerebwaako ebiyitibwa ebya Uganda nga amefuga tegannabawo, naye nga bya Buganda. Tuleke kubitabula.
Abatunze Nakivubo balekulire
Bya Abdallah MubiruOLWALEERO, tutunuulire mukulu wange Godfrey Kisekka alabika nga muka bwe kituuka ku bintu ebikwata ku nsimbi.
Kisekka, y’akulira akakiiko akaddukanya ekisaawe ky’e Nakivubo ekikecuddwaako ekitundu ng’atunula. Y’akola nga ssentebe wa KCC FC etundiddwaako ebisaawe byonna ebibadde bitendekebwamu ttiimu eyo ne kiraabu endala eziri mu bibinja ebitali bimu ng’alaba.
Kyewuunyisa okuba nti mu mbeera ng’eye Lugogo, abawagizi be baavaayo ne balaga okutya olw’ebisaawe ebyali bigenda kyokka nga mukama waabwe amatama ntengo. Mu ngeri y’emu, ne Nakivubo talina kye yanyeze ng’akirako ataliiwo.
“Tubadde tulina okunoonya amakubo amalala mwe tuggya ensimbi okuyimirizaawo ekisaawe kubanga omupiira gwafa,” y’ensonga Kisekka gye yawadde ng’abuuziddwa lwaki baasazeewo okufuula Nakivubo ppaaka.
Baakipangisizza kkampuni ya Allied Bus Owners Ltd ng’endagaano eyakoleddwa yaakumala emyaka ena.
Ategeeza ng’omupiira bwe gwafa, yaguzannyako mu Express ne KCC, yaliko omuwandiisi wa FUFA, ssentebe wa KCC, ssentebe wa SDCA ekibiina ekigatta kiraabu za supa era y’omu ku beegwanyiza obwapulezidenti bwa FUFA mu kulonda kw’om-waka guno. Ebya Kisekka mu KCC ne SDCA, si byakujjulwa kati birindirire!
FUFA ne FIFA baali baagala okussa ekisaawe ekizungu mu Nakivubo, Kisekka yakisimbira ekkuuli ng’agamba nti tebalina we bafunira. Kirabika okukkiriza ppaaka mu kisaawe, Kisekka alina w’afunira!
KCC, Bunnamwaya ne Sharing, Kisekka z’akulira mu SDCA, zikyaliza Nakivubo mu liigi kati azisuubira kuzannyira wa?
Nga tannalaga bwetaavu bwa nsimbi ezisuubirwa mu ppaaka ya bbaasi ezimbibwa mu kisaawe, Kisekka yandisoose kulaga nsaasaanya y’ensimbi, 6,000,000/- ezisasulwa aba bbaasi ya Kaliita buli mwezi, 90,000,000/- ezisasulwa MTN, WARID ne Zain buli mwaka, 3,000,000/- ezisasulwa obutale buli mwezi, 100,000/- eziva mu kaabuyonjo ebbiri ez’abanene ne paakingi y’emmotoka munda ne wabweru w’ekisaawe ezitamanyiddwa ssaako eziva mu bivvulu n’abalokole abakisabiramu.
Nakivubo asasula omusaala gwa 3,000,000/- buli mwezi ng’asinga okufuna ennyingi agabana 470,000/- ate asinga entono agabana 90,000/-.
Nakivubo, yazimbibwa oluvannyuma lwa palamenti okuyisa etteeka mu 1953 eryakiyita ekisaawe ky’ekijjukizo ky’abazira ba Uganda abeetaba mu Ssematalo ow’emirundi ebiri mu 1914-18 ne mu 1939-45.
Tuboole abalabe b’omupiira nga Kisekka abeefudde bannakigwanyizi! Ekitali ekyo, minisita Bakkabulindi alekulire oba agobwe. Pulezidenti Museveni, buno obubaka bubwo.
(mubirua2002@newvision.co.ug,
0774054636)Published on: Saturday, 21st February, 2009
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.