Endabirwaamu bweziti zijjudde yonna gyebatunda engatto, bwoyingira mu duuka nga olondayo akagatto akasingayo obulungi, anti nabengatto balinga abakola kampeyini okunanuula ezaaabo abalina ebigere ebiwanvu kale naawe notoyagala kugenda mu ziri enanuufu.
Nokwaata gwe kolowooza nti kanakunyumira bwokasulamu ,newekwaata kukatebe nogenda ngo tambula mpola otuuke awali endabirwaamu .Ekulengerera eri n’ekutema akakule n’ekutegeeza nga bwogenda okukambala akagatto ko akalungi okajje emirannamiro otuuke emitweetwe obugere bwekubire enduulu nti otutta okututuga.
Bwoguguba engatto nogigula kwekugenda nge kuwerekeza ebigambo nti obwo obugere obutakula ettaka webunatukira gyolaga, nga butonnya musaayi
Kwekumaliriza nge kulangira nti gwe tolaba kubuli mukolo kuliko omuntu afanana nga gwe olutuuka ku mukolo nge ngatto aziwakulamu nga zimunyweddemu omusaayi.