Enkumbi Tebba Werimye

  • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18330
    MulongoMulongo
    Participant

      Mu Video ebo bogeera ku kkubo erituuka ku ddembe. Nga ebimu ku biri mu kubo rino kwekusobola okweyimirizaawo, naddala mu bintu ebsinga okubeera ebyo mugaso eri bulamu bwaffe. Nga emmeere gyetusoosootola ku lujjuliro lwaffe.

      http://www.youtube.com/watch?v=mCPEBM5ol0Q

      Kyamazima okwerimira kimu ku bintu ebiteekwa okubaawo omutu okubeera ne ddembe. Nomwana eyetongodde ku bamuzaala kyosoka okumanya kwekweliisa nokweyambaza. Eyo ye nsonga lwaki aba gavumenti eno bagezaako nnyo okujjako Abaganda eddembe lyaabwe nga bayita mu kubalemesa okwelimira. Nga omulimi Omuganda tasobola kutuusa mmere ye gyalimye ku Baganda banne. Ekyo bakikola nga bakozesa roadblocks za balimi buli omu zeyalaba mu biseera bya 80 nga gigwako ne 90 nga gitandika. Okwo bakwatilangako abntu obusonga songa, ate nebabajjangako sente mbu emisolo gya balimi. Kyokka nga kuluva enkole kwo tekuli roadblock bwezityo. Kati tulina kwekunga ngeri gyetuddamu nate okujjumbira ennimiro zaffe. Mengo eyinza kukikolako ki? Kyagala kuteesako nakukolera mateeka wano mu Buganda wenyini.

      #20716
      OmumbejjaOmumbejja
      Participant

        Mulongo nkuwagira kikumi ku kinaakyo teri ddembe lisinga kuba nga werimira emmere gyoolya Mukama bweyali atukwaasa ensi Buganda yakimanya nti tuli bakozi era tujja kumanya ekyo kugikozesa bweyalaba bwaatyo natwongerezaako obudde .

        Naye bano ba ssagalira ddala kulaba nga Omuganda ava mu buddu kwe kutandika okufutyanka embeera za bantu ate nabo bwebasanga nti teri ababulira kituufu nabo nebagoberera ebya bano abatayagaliza bwebalaba nga nekyo tekimala kwekutandika okusomba endwadde nga bazikuba mu Buganda nga zitta ebimera byonna

        Bawoza nsolo zammwe tuzigema mpozzi bazikuba bulwadde bo basigale nga balima era nga balunda nga kati bwowulira nti amatooke gava Nkole namata M7 yagagaba nenyama zenteeze ezikaddiye kati mbuuza eyo enyama yente enkadde baani abagenda okugigula nga tebalina ssente.

        Mengo yetaaga okusitukiramu okukunga abantu badde mu byaalo kubaanga nokusigala mubibuga bajja kufa mpolampola nga tebalina nawebegese luba kuba mu kibuga oberamu otya , nga tolina mulimu kyokka opangisa naye nga tolina nawolima kujja kyakulya.

        Singa wano busente obufunikawo nga mweezo certificate bagulamu ensigo ate tetutegeeza zino M7 zeyatwaala mu north nga maze okuzifumbako naawa banne mbu basimbe naye nga emiti gya muwogo nga balaba abalinawo atali mulwadde nabuwuka nebawa abantu gwe bawa naye yaawa omulala ku nsigo oba emiti gya muwogo nekitandika kityo ekitali ekyo abantu gyebakoma okuva mu byaalo neba kabbira gyebajja okukoma okubyezza
        Ettaka lyaffe ddingi ekintu kibala mu myeezi esatu ngo kungula nga obumonde obuzungu nebwotokozesa nsigo noziika obuziizsi ebikuta byobuwaseemu mu myeezi esatu oba okungula

        MENGO SITUKIRAMU OYAMBE ABANTU BO NGA TEBANAFIIRA MU KIBUGA NJALA

      Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
      • You must be logged in to reply to this topic.

      Comments are closed.