GNL ye muyimbi wa June
Sunday, 12 July 2009 11:49
WALIWO ALULEETA? GNL ERNEST NSIMBI ZAMBA
OMUYIMBI GNL NSIMBI eyeegulidde erinnya mu kukuba emiziki gya Hip Hop mu Luganda ye muyimbi w’omwezi gwa June.
Abawandiika ku by’ennyimba, emizannyo ne Katemba mu mpapula z’amawulire ne ttivvi be baamulonze nga bayita mu kibiina kyabwe ekiyitibwa APA ‘Arts Press Association’.
Ku mukolo gw’egumu ogwabadde mu Club Rouge ku Jinja Road, Bannamawulire bano kwe baatongolezza ekibiina kino. Aba Moonberger Lager be baabataddemu kaasi n’okubawa eby’okunywa. Abayimbi bano baakulondebwa buli mwezi.