Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Ebyemizannyo / Sports › Jjagwe owa Team Villa afudde
- This topic has 6 voices and 5 replies.
-
AuthorPosts
-
December 20, 2008 at 10:38 am #17307
Jjagwe owa Villa afudde
BYA MUBARAK KASULE NE ISAAC BALIGEMA
OMU ku baatandikawo kiraabu ya SC Villa, Mzeei Charles Jjagwe yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa obulwadde bwa ssukaali.Jjagwe, 79, yatandika okuzannya omupiira mu kiraabu ya Express mu myaka gy’enkaaga okutuusa lwe yawerebwa Abdallah Nasur mu 1979.
Baatandikawo Nakivubo Boys n’abeera omutendesi eyasooka nga tennayitibwa SC Villa n’agisuumusa mu ‘Super’.
Jjagwe yasambirako mu ttiimu y’eggwanga ng’ali ne Ali Kitonsa ne Semugabi Bakyayita nga ye (Jjagwe) yali muwuttanyi eyayirizangamu, Kitonsa n’ayabula okuteeba.
Jjagwe abadde abeera Wakaliga ng’era agenda kuziikibwa e Bunnamwaya ku Lwokubiri.
Owandiisi wa kiraabu ya SC Villa Edward Luyimbazi Mugalu agambye nti kiraabu eno ekubiddwa ekkonde kubanga Jjagwe abadde wa mugaso nnyo mu kubawa amagezi.
Dennis Mbidde eyesimbye ku ky’omukwanaganya w’abawagizi ku lukiiko olufuga kiraabu ya Villa, y’omu ku baana 14 abalekeddwa Jjagwe ne nnamwandu.
bukedde
Published on: Friday, 19th December, 2008December 20, 2008 at 1:57 pm #21161Kitalo nnyo. Villa team yange. Kirungi abantu nebawagira team ezaffe okusinga ebyo bi Chelsea ne Manchester simanyi biki. Zino business zikola sente. Bwowagira eze bweeru sente gyezidda. Tobanoonya oba bagala bo bakunoonye. Balabika bano bamujja bweeru abe nnaku ebbiri bebakaleeta bulwa obwo kubuzabuza abantu baffe. Nze ndi muwagizi wa Villa ssinziggu wadde omupiira sigutegeera nnyo. Nomugenzi omulongo wange yazannyiranga mu Villa.
December 21, 2008 at 7:35 am #21180Nange ebyo kuwagira team za beeru mbisaako akabuuza kuba abamu tebamanyi naUganda gyesangibwa naye nowulira nti omuntu gundi bamubbye nga genze kulaba mupiira gwa chelsea nebadibiza ddala emipiira gye gwanga lyaabwe songa nebebawagira bantu bamawanga gaabwe bebabawagira nokubasaamu ssente era oluusi omuddugavu ayinza okukutabula kiki kyayagala toyinza kukkiriza kubeera slave wa beeru nebisera byo ebyeddembe.
Naye kitalo nnyo abantu baffe okufa nga bato batyo ate endwadde ezisobola okujjanjabirwa era obote kyeyatukola okutuletera abagwiira abayonoonye ensi yaffe okugimalamu akobuntu netufiirwa abantu baffe nga ne mumalwaliro teli wadde aspirini mukadde twaggirwa olumbe lwanawokeera
Mukama awe omyooyo gwa Jjagwe ekiwummulo ekyemirembe.December 21, 2008 at 8:32 am #21182Jjagwe aziikwa nkya
Bya Mubarak Kasule ne Isaac Baligema
MZEEI Charles Jjagwe, 79, eyafiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago aziikwa nkya ku biggya bya bajjajjabe e Kisigula-Bunamwaya mu Wakiso ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Yatandika okusoma mu ssomero lya Rubaga Boys Primary School, n’agenda mu Aggrey Memorial School gye yava nadda e Kyambogo Technical Institute gye yafunira dipuloma mu by’obuzimbi.
Olwaleero omubiri gwe gugenda kuleetebwa mu kisaawe e Nakivubo ku ssaawa 5:00 ab’emikwano ne bannabyamizannyo gye banaamukubirako eriiso evvannyuma.
Ku Mmande omulambo gutwalibwa ku Klezia y’e Lubaga ku ssaawa 5:30 okusabirwa oluvannyuma ku ssaawa 8 atwalibwe e Kisigula.
Published on: Saturday, 20th December, 2008
December 21, 2008 at 11:26 am #21186Nga kitalo ekya Jjagwe…
December 21, 2008 at 1:02 pm #21196Kitalo nyo banange ekya Jjagwe wafe!!!
Kati Abaganda tufuuse endangered species. Wateekwa okutondebwawo ebibina ebitwegendereza nokutujagatta tusobole okuzala nokuddamu okwaala kubanga tugasa nyo ensi yona.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.