Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Emirimu n Ebyenfuna / Employment and Busy-ness › Kkooti ya Kisekwa eraalise ab’Engeye , Buganda
Tagged: Viamedic EllBoargy
- This topic has 1 voice and 0 replies.
-
AuthorPosts
-
February 26, 2012 at 4:08 pm #17843
Kkooti ya Kisekwa eraalise ab’Engeye , Buganda
Feb 20, 2012
Kampala
Bya Lilian NalubegaKKOOTI ya Kisekwa eraalise abali mu musango gw’obukulu bw’ekika ky’Engeye nga bw’egenda okwekenneenya obujulizi bw’ebiwandiiko obwagiweereddwa enjuyi zombi obugambibwa nti z’ensala Bassekabaka ze baawa nga basala omusango guno ewe ekyenkomeredde oba egenda mu maaso n’omusango guno oba gukome wano.
Kkooti ng’ekubirizibwa Ssentebe Polof. Joseph Kakooza yategeezezza nti okusinziira ku bujulizi bw’enjuyi zombi, kigyetaagisa okusooka okwekenneenya ebiwandiiko ebyagiweereddwa nga tennawa kukubira kwayo mu musango guno era n’eyongezaayo entuula zaayo mu kuwulira omusango guno okutuusa mu bbanga ly’etaalaze.
Bino byaddiridde abawawaabirwa mu musango guno okuli Omutaka J.M. Kabaalu katikkiro w’ekika ky’Engeye ne Yakobo Mayanja Ntaate ow’omutuba gwa Museruka okuwa kkooti ebiwandiiko bye bagamba nti ye yali ensalawo ya Ssaabasajja
Kabaka ku Festo Mayanja bo gwe bagamba nti yali Kasujja omutuufu ate abawaabi gwe bagamba nti yali nsowole.
Abawaabi nabo baayanjulidde kkooti ebiwandiiko nga balaga nga Festo Mayanja bwe yali yalondebwa okuba Ssentebe w’olukiiko olw’abantu 14 olwali olw’okutereeza ekika era banne ne bakkaanya agire ng’akuuma entebe y’obwa Kasujja nga bwe bamaliriza ensonga kyokka n’agiremerako n’atuuka n’okugiraamira mutabaniwe F.X Kasule agibaddeko okutuusa bwe yafa nga kati ekika tekirina mukulembeze.
Bano era baawaddeyo n’ebifaananyi n’ebbaluwa endala omuli ezaali zoogera ku mayiro z’ettaka n’okwabya olumbe lwa F.X. Kasule olwagaanibwa okwabizibwa ku Busujja nga bino byonna bagamba nti biraga bukakafu nti abawawaabirwa balimba kkooti.
Omwaka oguwedde kkooti ya Kisekwa yasala omusango gw’ekika kino n’eragira ab’omutuba gwa Kalutte abaali bagusinze okutuuza Kasujja mu butuufu kyokka abawawaabirwa ne bakigaana nga bagamba nti baali baajulira era Kabaka n’alagira omusango guddemu okuwozesebwa nga kati bakyawerennemba.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.