Mengo 1966 Massacre

  • This topic has 11 voices and 35 replies.
Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 36 total)
  • Author
    Posts
  • #23602
    MulongoMulongo
    Participant

      Abaali mu Lubiri wayise emyaka 43 naye bakyalojja
      [img]Ssengoye ku bbugwe w’olubiri.

      Bya Richard Kayiira
      ne Joseph Mutebi

      EMYAKA 43 bukya Milton Obote asindika bajaasi okulumba Olubiri lw’e Mmengo ne bawaliriza Ssekabaka Muteesa II okuwang’anguka.
      Bangi baakola nnyo okutaasa obulamu bwa Muteesa ne bamuwonya okufa.

      Daudi Kizito Sengoye omukulu w’Olubiri y’omu ku baasangibwa mu Lubiri ng’Olubiri lulumbibwa era bino bye yalaba:

      “Ng’abajambula bamaze okuyingira mu Lubiri, Muteesa yadduka ffe abakopi ne batukwata ne batufulumya wabweru wa Wankaaki ne batugalamiza okumpi n’ekyoto Ggombolola.

      Baatukuba kibooko n’ensambaggere nga bwe kakutanda n’ositula omutwe, ng’emiggo gikwogererako. Twasiiba awo olunaku lwonna nga twevuunise ng’omusana gutukalanga nti nga bwe kibatikka nga batuswanyuula.

      Nalaba Nnaabagereka Damalie Kisosonkole ne Nnaalinya Mpologoma nga babagalamizza mu Lubiri ku mulyango gwa Wankaaki okumpi naffe nga babakuba mizibu era nga balaajana.

      Kyannuma nnyo okulaba nga babakuba ne ng’amba nti waakiri bandikubyemu ffe naye ng’abasajja beesomye tebalina gwe batya. Enju zaffe n’ebintu by’omu Lubiri baabyokya ebirala ne babibba ne babitwalira Obote.

      Alupakusadi Mukama y’omu ku baali mu eggye eryayambalagana n’abajaasi ba Obote era ebimu by’ajjukira bye bino:

      “Obulumbaganyi buno bwagenda okubeerawo bwasanga nnaakava okutendekebwa ebweru w’eggwanga. Nali nfunye omukisa ogubeerako mu ggye ly’abafuzi b’amatwale era kino kye kyampa enkizo okuweerezebwa ebweru okwongera okukuguka.

      Twali tulabye obubonero obulaga nti Obote ayinza okutukolako akabi, naye eky’okulumba Olubiri twali tetukisuubira. Ng’abajaasi ba Obote batutaayizza, nalagirwa okuduumira ekimu ku bibinja tubatangire obutatuuka ku Muteesa. Twalwana bwezizingirire kyokka abajaasi baatusukkirirako ne butusindiikiriza nga butwolekeza Twekobe. Abamu ku bannaffe battibwa ate abalala ne bakwatibwa ne basibwa. Twakkakkana ku mitima bwe twawulira nti, Omutanda yabuuse Olubiri n’afuluma.”
      Published on: Saturday, 23rd May, 2009

      #23607
      NamukaabyaNamukaabya
      Participant

        Kano akadde ke kajjukiza banaffe nti nomuganda emundu bwagikwatako naye agikekeza era temulinaamu lusozi lino lyonna ejoogo nokutugumbula kwebajja okukola mu Buganda bakimanye .
        Nti nga baana bamaze okubattako bazadde baabwe basobola okulwaana nebajjako gavumenti yo Obote nolweekyo singa tewaba noomu yeyibaara byangu ngokyabikola munno naye bwagikutunuliza akuleka empale zikwambadde .
        Buganda kati ekooye abantu abatemu ate abatasiima

        #23608
        MusajjalumbwaMusajjalumbwa
        Participant

          E Mmengo waliyo abatunda ettaka lya Kabaka – Namikka
          Written by Benjamin Ssebaggala
          Sunday, 24 May 2009
          0000000akbs.jpg
          Abaganda nga bakumba okwolekera amasiro g’e Kasubi.

          ABAZZUKULU ba Buganda eggulo baakumbye okuva ku Wankaaki w’Olubiri lw’e Mmengo okutuuka ku Masiro e Kasubi nga bajjukira olunaku amagye ga kawenkene Obote lwe galumba Olubiri luno.

          Okulumba Olubiri lwe Mmengo kwawaliriza Ssekabaka Muteesa okuwang’angukira e Bungereza gye yakisiza omukono n’agalamizibwa mu Masiro g’e Kasubi.

          Nnalinnya Namikka, alabirira amasiro g’e Kasubi, ku mukolo guno yakunze Abaganda basitukiremu bagogole Mmengo kubanga abakola ebivve n’ebikyamu ng’okusengula abantu ku ttaka ne bakoona n’amayumba gaabwe gye bafung’amye n’ategeeza nti bangi batunda ettaka lya Kabaka naye ng’ensimbi tezimutuukako.

          “Abagoba abantu ku ttaka bakikola kukyayisa Kabaka ate nga mu bo mulimu Abalangira n’Abambejja. Waliwo n’abakung’aanya ssente mu masiro g’e Kasubi naye ne zitatuuka wa Kabaka,” Namikka bwe yayogezza obumalirivu.

          Omuwandiisi ku lukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda, Mubiru Njuki yagambye nti abakungu b’e Mmengo abamu nga beekwase mu kitongole ky’ettaka ekya Buganda Land Board batunda ettaka lya Kabaka wamu n’okugobako abantu n’okubamenyera amayumba.

          Mu Bannalinnya ababaddeyo mulimu Nkinzi nga ye lubuga wa Ssekabaka Muteesa 11, Nnalinya Nabweteme, Nnalinnya w’e Kisimbiri mu masiro ga Ssekabaka Ssemakookiro, Omulangira James Wassajja ne Arthur Bagunywa eyali Minisita w’e Mmengo eyawummula.

          Kyokka tewaabaddeyo mukungu w’e Mmengo mulala yenna.

          Omubaka akiikirira Lubaga North mu Palamenti nga y’atwala ekitundu kino Beti Kamya yagambye nti amaziga Buganda g’ekaaba kati gaava ku lunaku luno n’akunga Abaganda basitukiremu balwanirire obuyinza mu kifo ky’okusanyukira ebitiibwa nga tebasobola kusalawo ku nsonga ezibaluma.

          Omukolo gwabadde ku masiro e Kasubi ku Ssande nga gwategekeddwa Abazzukulu ba Buganda n’ekibiina kya Nkobazambogo.

          #23611
          OmumbejjaOmumbejja
          Participant

            Kino kituzaamu amaanyi kuba kiyigiriza nabaana abato ebyaliwo ebalabya ennaku wa gye byaava . Tuyozayoza Abaganda abetabye mu mukolo guno kuba okumanya gyolaga olina kusooka kumanya gyoova
            Kati ndowooza ababdde tebanakinnyunnyuka nti Buganda ekooye abatemu bakitegeera , abengulu bamala okuloza ku kyebakola Abaganda era okusinziira ku nduulu zebalayizza ku net kwonna ndowooza tebakiwomerwa nakatono , kati nabo mu West nabo bwe
            banakyeyambika kyebakoze banaabwe for 25 years bajja kutuula batereere ate ewaabwe . Omanyi oluusi waliwo ebintu nga oli bwabikunyumiza totegeera ngolina kumala kuyita mu ka experience nomanya

            ABAZZUKKULU BA BUGANDA NE NKOBA ZA MBOGO TUBENYUMIRIZAAMU NNYO MWEBALE KUKWAATA NGABO

            #23632
            MusajjalumbwaMusajjalumbwa
            Participant

              This is a Buganda national holiday not for Uganda or Kenya or Tanzania. It’s the day our kingdom palace was raided, our people killed and our king exiled. We don’t need any help in remembering our brutally murdered people and King. Especially no help from the murders themselves who are still being heard saying they’ll do it again. Some of these Mengo people are so tiresome.

              1966 Mengo attack commemorated
              New Vision Tuesday, 26th May, 2009

              By Conan Businge

              Victims of the 1966 Buganda attack by central government forces have been commemorated. The annual celebrations also marked 43 years since the attack on the Mengo palace in which Sir Edward Mutesa II fled to Britain on May 24, 1966.

              The function held at Kasubi Tombs in Kampala on Sunday was preceded by a match from the Mengo palace gates. The attack ordered by the then Prime Minister, Dr. Apollo Milton Obote, was prompted by a resolution by Mengo to evict the central government from its land.

              Much as Mutesa II escaped, several kingdom soldiers and loyalists were killed in the battle. About 200 people took part in this year’s event in which some were dressed in bark cloth and uniform similar to those worn by the pre-colonial soldiers in the kingdom.

              The former Buganda culture minister, Arthur Bagunywa, in an exclusive interview, proposed that the day be made a public holiday.

              “Sir Edward Mutesa II was a nationalist. He did not only look at Buganda, but the whole nation,” he said.

              A caretaker of the royal tomb, Nnaalinya Beatrice Namikka, advised that members of the land board be cautiously selected.

              “Most of them seem not competent to fight for the rights of Baganda,” she said. Rubaga North MP Beti Kamya said: “We need to promote our (Buganda) goals. No one will do it for us, if we do not do it ourselves.”

              #23634
              OmumbejjaOmumbejja
              Participant

                Waliwo abatayiga Kabaka waffe bweyali President tewali gwanga lyeyatta wadde lutalo lweyagenda kuwakankula bo bennyini abalina Katonda gye yabatondera baasibamu obwanguwa nebakkirira Obuganda era okumaliliriza nga Kabaka waffe nabantu baffe bebasasudde ettemu lyaabwe . Buli kintu kyonna Omuganda kyeyakola nokutuusa kakati bagezaako okukisanyaawo , kati abantu abafanana ngaabo nga lwaaki baba bagabana Kubulumi bwaffe ebya BUGANDA? bikoma bya Buganda eyali ayagala okuba part of the pain yandizze nalwanira kuludda lwa Baganda naye singa wetegerezakwoolwo olunaku ne Kabaka waffe bwebamutta bangi bakuba gudibudde era obubaga bwaali bungi okwetoloola amawanga. Ngaffe tuli mu kukungubaga nga batujeeko abantu baffe abagalwa.

                Ekyokusalawo Buganda tukole ebyaffe ebiyamba ffe fenyini kuba ffe tubitegeramu omugaso ,okugamba nti olunaku lwetujjukirirako abatemu lwebatuyingirira lubeere lwabonna tewaba njawulo nokusaba omutemu yaaba asikira omuntu wo gweyakutemulako, mubimpimpi omukolo nogumuyingizaamu bulungi .

                Abaganda tulekeraawo okwekiriranya ffe abamu kyetubonyebonye tukoyesebbwa abantu abolubatu abalowooza nti obulamu bwaffe tujja kubumala nga tuliwo kusanyusabalal , tukole ekintu ekyaffe nga abalala bamaze okutusalirawo oba bakyagala .
                For goodness sake kissup erikoma ddi?
                Kumawanga gyetuli teli afaayo kiki kyoyagala oba kiki kyooli ate nemunsi yaffe era tubeere for ever on the receiving end ffe tulitandika ddi okukola kubintu nga byaffe , bigasa ffe era nga ffe twesaliddewo?

                #23635
                NdibassaNdibassa
                Participant

                  Kyewunyisa okulaba nga emikolo egikwaata ku Baganda ne Buganda abantu abateekwa okugijjumbira bebatalabikirako ddala ,naye nowulira nga bagenda okwetaba mubitabo bya balabe ba Buganda
                  ebyogera kwa Amin oba buli kimu M7 kyaaba alina kyayogera ,zibe mbutikizi oba okutimba ebimuli kubantu abali mugwokumalawo Obuganda nokubukaabya akayirigombe.

                  Bo abe Mengo ku bintu Ebikwaata ku Buganda lwebabeera busy, nga bwebaayo alina kyabakola nga mwanguwa okukuba enduulu buli Muganda waali abaddukirire , eno saawa yakwefaako bwemulaga obumu ku bintu byaffe mwongera okuwa buli Muganda watudde amaanyi okulaba nga kyetulwanirira tukitukako mangu.

                  Kino kituufu abantu kyebagamba nti abakola ku nsonga za Buganda balina kusooka kulaga mwooyo gwebarina eri ensi yaabwe, abantu abalwanira egwanga lyaabwe bebalina okusooka okulondebwa ku mirimu gyobuvunanyizibwa nga twenunula sosi banagula certificate

                  By the way Kabaka wa Baganda, Abaganda bebamumanyiimu omugaso era nebwaaba akuzibwa olunaku lwe kireme nakulumya bekitakwatako mitwe, ateekwa ku sigala mu Buganda gyaaba akuzibwa tukooye okuletanga ebirowoozo ebituzalira obukyaayi enkya neggulo nga gyobeera bwetubyesigaliza bitutta ebya Baganda bibe bya Baganda bokka.

                  #23663
                  NamukaabyaNamukaabya
                  Participant

                    Okwo okutiisa tiisa kwogenda M7 okola nga gavumenti yo yejjuzza abatemu, bakibooko squard , babutayimbwa boys , ba raping squad , abatugumbuzi babantu nabuli daala lya butemu, wuuyo wabafunira nekitongole kiramba ekya Jatt sooka welongoose nga tonalowooza kuddamu kwongera kubukyaayi bwolina eri Abaganda buli kifa e Mengo nga wakibukidde dda, Buganda weeri okwemalira emisango gyaayo tulina gavumenti eteredde etufuga nolweekyo leka kwekwaasa ngonoonya okusibirako abantu mu zi Jatt zo.

                    Ettaka lye bogerako lya Kabaka tewali wobiyingiriramu , tulina olukiiko olukola ku nsonga zaffe okujjako nga banyalwanda bo bebagenda besenza nga era kyebakoze lwaaki boyagala okuyamba tobawa e Lwakituula mbadde naawe si si wawo ,
                    singa omanyi bwotukoyesezza singa Buganda wagita dda kuba kati tulinda lunaku abantu baffe obasse ekimala, genda oddukirire abo mu West bebakyakwagala , lwaaki gwe olowooza nti okukolagana na Baganda olina kubagula kuba teri muntu alina magezi akyayagala okukolagana naawe buli kyokwatako kifirawo , linda kasente kagweewo lwojja okutegeera engeri abantu gyebakwetamwa

                    #26435
                    OmumbejjaOmumbejja
                    Participant

                      Abazzukulu ba Buganda To Lead Commemoration of Buganda Occupation

                      Posted on 23 May 2010

                      The oldest Baganda nationalist organization, Abazzukulu ba Buganda, have issued a statement announcing that they will hold special ceremonies to mark 44 years since the government of Uganda occupied the Kingdom of Buganda by force of arms. The ceremonies, on May 24, 2010, will start with a congregation at the main gate (Wankaaki) of the Kabaka’s Palace (Lubiri) at Mmengo at 8:00 AM. One hour later, at 9:00 AM the sons and daughters of occupied Buganda will match for 5 kilometers (just over 3 miles) to the Kasubi Tombs site. At Kasubi, the Baganda will hold a seminar on Buganda national issues.

                      Below is the full text of the announcement in Luganda.

                      Eri Obuganda

                      OKUKUNGUBAGA OLWA BUGANDA OKUWEZA EMYAKA 44 MU BUWAMBE

                      (24th May 1966 – 24th May 2010)

                      Nga 24 May 2010, gigenda kuwera emyaka Ana mw’ena (44) bukya gavumenti ya Uganda ewamba Buganda. Olunaku olwo amagye ga gavumenti ya Uganda lwe gaalumba Ssekabaka Muteesa mu Lubiri eMmengo gye yeerwanirako n’asimattuka okumutta n’agenda mu buwanganguse e Bungereza gye yagyira omukono mu ngabo mu 1969.

                      Kw’olwo endagano ya 1962 eyali eggatta Buganda ku Uganda mu ngeri eya kyeyagalire lwe yamenyebwaawo. N’olwekyo okuva olwo Uganda yeekakaatika bwekakaatisi ku Buganda. Buganda teri mu Uganda lwa kweyagalira wabula ekakibwa bukakibwa ku maanyi ga mmndu. Buganda eri mu buwambe okuv’olwo.

                      Olw’ensonga eyo buli lunaku lwa 24th May bwe lutuuka Abaganda abakimanyi era abakyalumirirwa Obuganda bakungubaga. Okukungubaga kuno kubaamu okutambula okuva mu Lubiri lw’eMMengo okutuuka e Kasubi Nnabulagala mu masiro g’aba Ssekabaka gye bakkomekkereza okukungubaga okwo n’omusomo ogukwata ku buwambe Buganda mweri.

                      Okukungubaga kuno kukulemberwamu Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda okuva mu 1999. N’omwaka guno, nga 24th May 2010, okukungubaga kuno kugenda kubaawo. Abaganda abalumirirwa Obuganda abasobola bajja kukung’anira ku wankaaki w’olubiri lwe Mmengo ku makya ku ssaawa bbiri we bajja okusimbula ku ssaawa satu ez’okumakya batambule okugenda e Kasubi ewanaabeera omusomo ogukwata ku nsonga za Buganda.

                      Olukiiko lwa Bazzukulu ba Buganda lukusaba okwetaba mu kukungubaga kuno, era n’okuyamba mu nteekateeka yaakwo. Mu ngeri yonna (eg SMS) kkunga Obuganda okukungubaga ku lunaku olwo, sondayo ku nsimbi z’okupangisa ebikozesebwa n’okusaasaanya ebiwandiiko by’omusomo ogunaakolebwa kw’olwo, etc.

                      Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda lwamerawo mu 1985 olw’obwetaavu bw’okuzzaawo Buganda nga bwe yali. Jjukira nti Buganda Ggwanga ttonde eryatondebwa Katonda nga Ttongole. Okuva mu 1985, olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda lutuula buli lunaku olw’okubiri mu wiiki. Buli muzzukulu wa Buganda wa ddenbe okukiika mu Lukiiko luno kasita taleetamu bitiibwa bye, byabufuzi bye, ddiini ye oba enzikiriza endala yonna ekontana oba evuganya n’obwetaavu bw’okwetengerera kwa Buganda.

                      Alina ky’abuuza ku nsonga eyo kuba ku ssimu y’omuteesiteesi eno 0772534210.

                      M. Junju Kamulali

                      (Ssentebe)

                      #26436
                      NdibassaNdibassa
                      Participant

                        Ebbaluwa eyavaako okulumba olubiri ezuuse

                        KAZIBWE BASHIR MBAZIIRA

                        Ku bbalaza ya ssabbiiti ejja (muzigo 24) lwe giwera emyaka 44 ng’obwakabaka bwa Buganda bulumbiddwa gavumenti ya Milton Obote bwe yasindika amagye okuzinda olubiri lwa Sir Edward Muteesa II e Mengo. Eddoboozi likoze okunoonyereza ku bimu ku byaliwo ng’olubiri terunnalumbibwa.

                        Oluvannyuma lwa Obote okuggalira ba minisita be abataano n’okuyimiriza ssemateeka nga 24-02-1966, embeera y’obunkenke yayongera okumaamira eggwanga era nga bannansi naddala mu Buganda baawangaalira mu kutya olwobutamanya kinaddirira.

                        Liba teriri busa, Obote n’alagira basajja be okutikka ebintu bya Kabaka Muteesa byonna ebyali e Ntebe mu maka g’obwa pulezidenti ku loole, n’abimuweereza mu lubiri e Mengo. Yali amaze eggobe mu kibya era ekyaddirira, Obote kuyingira maka gano
                        anti Muteesa yali amaze okumunaabira mu maaso!

                        Ng’ennaku z’omwezi 02-03-1966, ssaabaminisita Obote yayisa ekirangiriro ekitongole mu Uganda Gazette nga bwe yali yeddizza obuyinza bw’omukulembeze w’eggwanga, nga buli kimu kyalina kutambulira wansi wa kusalawo kwe. Okunoonyereza okukoleddwa kukizudde nti Obote yatandika okukola kaweefube w’okukyusakyusa mu basirikale b’amagye.

                        B’ofiisa abaali batamuwagira baali ba kutwalibwa mu bitundu ebyesudde Kampala, olwo asembeze abamuwagira yeekuumire mu buyinza.

                        Ng’embeera eyongedde okuva mu nteeko, Sir Edward Muteesa yaddamu n’awandiikira Obote ebbaluwa ng’alaga obutali bumativu n’engeri gye yali akuttemu ensonga z’eggwanga. Ebbaluwa eno Muteesa gye yawandiika nga 03-03-1966 ng’alabula ku kabi akaali koolekedde eggwanga olwobwa nakyemalira, yasaanuula Obote era olwagifuna n’atandika okufungiza n’okuwawula emizinga egyalumba olubiri.

                        Ebbaluwa y’eno wammanga:

                        “Kaweefube gw’okoze okuleeta mu nsi muno obufuzi bwa nakyemalira mu ngeri emenya ssemateeka wa Uganda, era kwe wasinzidde okulangirira ebyo bye wayogedde eggulo, oteekwa okukimanyira ddala nti abantu b’ensi eno ebyo tebabiwagira n’akatono. Ekyo naawe wennyini okimanyidde ddala. Byonna by’ogenderera kati byeraga nti si by’ebyo omuntu alina omwoyo ogwokukolera ensi ye by’ateekwa okukola.

                        Osaanidde omanye nti essanyu n’embeera ennungi ebya Uganda byonoonese olwebyo by’ogenda okukola okuviira ddala nga February 22,1966 ate nga biri bweru wa ssemateeka.
                        Abantu b’omu nsi eno n’ensi zonna ez’ebweru, abalowooleza mu demokulasi, tebagenda kukkiriza n’omulundi n’ogumu ebikolwa ebyokunyakula obuyinza ssemateeka yennyini bw’eragira ddala nti Pulezidenti alondebwa palamenti so si muntu mulala yenna. Nze ku lwange siyinza kusemba mulundi n’ogumu ebyo byonna by’okoze mu ngeri emenya amateeka. Ka nnyongereko na kino nti, ebikolwa byo bifuuse bya kabi nnyo ku ebyo ebiriwo mu baganda baffe abalala mu Africa. Kubanga buli kisobyo kyonna ekiba kikoleddwa kyongera kuzitoya migugu gye balina gye batakyasobola kwetikka.

                        Embeera eriwo mu nsi yonna ewanise abantu emitima. Kikwetaagisa okulaba nti tukola kyonna ekisoboka okuggyawo obweraliikirivu obwo so si kubwongera bwongezi.

                        Nandibadde situukiriza buvunaanyizibwa bwange singa nkulekamu akakunkuna ojja kusuubira nti abantu b’ensi eno bayinza okusemba ebintu by’okoze ebimenya ssemateeka. Ebyokulabirako nkumu nnyo ebirabise buli wantu mu ggwanga ebiraga nti abantu baffe tebagenda kukkiriza kunyoomoola kutegeera kwabwe.

                        Njagala ebbaluwa eno ogisome wamu n’eyo gye nakuwandiikira ku lwa February 28 1966.

                        Sgd, MUTEESA, PRESIDENT

                        #26437
                        NamukaabyaNamukaabya
                        Participant

                          ‘Lwe twatolosa Kabaka mu Lubiri
                          Sunday, 23 May 2010 11:43

                          LEERO nga May 24 2010 lwe giweze emyaka 44 bukya Lubiri lw’e Mmengo lulumbibwa abaserikale ba Obote. Zaali May 24 1966 Olubiri lw’e Mmengo ne lulumbibwa ekyavaako Kabaka Muteesa 11 okuwang’angusibwa n’agenda mu Bungereza gye yafiira mu 1969.
                          Lilian Nalubega akuleetedde abamu ku baserikale abaaliwo ku olwo nga banyumya bye baalaba.

                          Zaali essaawa nga 12 ez’enkya olwa May 24 mu 1966 eggye lya Gavumenti ya Obote erya ‘Special Force’ eryasula lyebulunguludde Olubiri ne lirumba era lyakuba amasasi mu Lubiri abaalimu ne babuna emiwabo.

                          Abaganda beeyiwa ku Lubiri okutaasa Kabaka waabwe nga bwe baaweranga nti ‘Kabaka we ndigwa w’oligwa, kyokka bangi ku bo battibwa.

                          Abaali ku mulimu gw’okulabirira n’okukuuma Kabaka baali mu kwetala okulaba bwe bamuwonya ate nabo okusimattuka amasasi.

                          Abaserikale ba Kabaka 16 ku abo 96 abaali basuze bakuuma Olubiri bagambibwa okuba nga battirwa mu Lubiri kw’olwo, abalala baasobola okwetaasa, abamu ne basibwa e Luzira.

                          John Muwonge Kasozi, omu ku baserikale abaaliwo ku olwo anyumya bye yalaba:

                          Olwawulira essasi erisooka ku ssaawa 12:00 ku makya nnategeererawo nti lubaze. Nnali bulindaala kuba twali tumaze emyezi esatu nga tukimanyi nti akadde konna batuzinda.

                          Nadduka ku Twekobe era mba ntuuka ku mulyango gwayo ne ndaba Kabaka ng’afuluma ne mmugoberera nga njagala obutamusuulirira.

                          Twatambula n’abaali bakama baffe mu ggye lya Kabaka okwali Maj. Katende, Capt. Maalo ne Maj. Ssenkoma. Kwaliko eyali owessaza ly’e Ssingo Mw. Ssebanaakitta, Amuran, n’omukyala.

                          Twatuuka mu biraalo by’ente gye twasooka okuwummulira ne tusirika. Wano Ssenkoma we yatuleka n’adda ku Wankaaki okugezaako okukkakkanya embeera.

                          Twalina emmundu abantu gye baalowoozanga nti yali ya masannyalaze Kabaka gye yakozesa ng’agezaako okwerwanako.

                          Abaserikale ba Obote baatema omulyango gwa Nnaalongo ogwali ogw’emmuli Kabaka n’atulagira tubalinde bayingire tubasesebbule.

                          Kabaka yanteeka emmundu ku kibegabega n’atandika okubanoga amasasi omu ku omu. Wano we nnava okuziba okutu okumu.

                          Twalaba ennyonyi ewungula mu bbanga ng’egezaako okulawuna n’okusuula omuliro.

                          Kabaka yayagala agikube kyokka Maalo ne Katende ne bamugaana nga bagamba nti bajja kutuyiwamu amasasi amalala. Ate nga n’ebiraalo ebimu bikutte omuliro.

                          Enkuba gye tutaamanya gye yava yatonnyera akabanga katono era bwe yakya twasobola okutolosa Kabaka. Ndi omu ku be yalinnyako n’abuuka okugwa wabweru ku luuyi lw’omulyango gwa Kaalaala.

                          Kino nakikozesa ssanyu kuba gwe gwali omulundi gwange ogwasooka okukwata n’okutuukirira Kabaka wadde nga nnali maze akabanga mu magye agamukuuma.

                          Twagenda naye e Lubaga gye twava okugenda e Mityana n’e Ggomba olwo ne tweyongerayo okutuuka e Rwanda. Nnali nneesunze okulinnya ku nnyonyi ntambule ne Kabaka kyokka ennyonyi yali ya migugu ng’ebifo tebimala ne nkoma.

                          Ssaalongo Hannington Mutebi naye anyuma:

                          Nnali ngaba abaserikale buli omu gy’anaakola kuba olutalo ffe twali twalutandika emyezi esatu emabega wadde ng’olwaffe lwali lwa bigambo, ng’ebyokudda eka twabivaako tusula mu Lubiri.

                          Emmundu bwe zaatandika okukekera naffe twayanukula, tegaba masasi kutuggwaako abasajja twali tugenda kubamalawo. Wano we nnawanikira ne mpona ng’abalala babasse.

                          Joseph Kizza naye yawona okuttibwa era annyonnyola we yayitira. Agamba nti wakati mu kanyoolagano n’okuwaanyisiganya amasasi, emmundu zaabwe zaggwaamu amasasi ne basigalira kwekukuma. Munne bwe baali yamugamba badduke, naye yali yeerabidde emmundu n’akutama agironde abaserikale ne bamukuba essasi. Kizza yawanika n’asobola okuwona.

                          Bankuba okutuuka ku Wankaaki awaali bannange n’emirambo era mu kwewonya emiggo n’ensambaggere nagigwamu ne nneebikka ogumu okubalowoozesa nti nnali mufu. Mu kutikka abaali batwalibwa e Luzira, nalowooza nti bwe banansanga mu mirambo nga ndi mulamu kijja kuba kibi nnyo kwe kugugumuka nninnye loole ate ekyayongera okubanyiiza ne bongera okunkuba. Nnawonera Luzira, Mutebi bw’anyumya.

                          Joash Kasirye: Kw’olwo nnakuuma ekiro, era essasi olwavuga liti waayita akabanga katono ng’enda okulaba nga Kabaka afuluma n’eyali mukama waffe Kibirige nga badda ku kiraalo naffe ne tugoberera. Baatubulako enkuba we yatonnyera nga tuli mu kisiko. Abalabe baffe baatugwako nga twekukumye ne batulagira okuwanika emikono. Bankuba ekigala ky’emmundu ne kinjuza ennyindo. Omu yaggyayo ejjambiya anteme omutwe ne nteekayo emikono era gye yatema.

                          Kigozi eyali omukubi wa bbandi, agamba nti yali alinze kukubira Beene nnyimba n’awulira amasasi. “Nneegatta ku bannange ne tuyimirira emabega wa Twekobe gye bankwatira ne banneebasa ku mirambo. Wano we banzigya okunsiba e Luzira gye nnamala omwezi gumu n’ennaku kkumi.

                          #26439
                          mirembemirembe
                          Participant
                            Quote:
                            luk.jpg

                            Emyaka 44 nga Twekobe y’e Mmengo efuuse kifulukwa

                            OLUBIRI lwa Kabaka e Mmengo omuntu bw’alulaba mu kiseera kino talowooza mangu nti lwe luli olwakubwa ne lusesebbulwa wamu n’okukumwako omuliro nga May 24, 1966.
                            Ku olwo abaserikale ba Obote okuggyako okutta abantu abasoba mu 100 mu Lubiri, baaluutinga ebintu, ebisigadde ne babikumako omuliro mu ngeri ey’ettima.

                            Sir. Edward Muteesa II yasimattukira watono, yabuuka kisenge n’adduka era e Bungereza gye yawang’angukira gye yafiira mu 1969.

                            Okuva olwa May 24 1966, Olubiri lw’e Mengo lwasengamu abajaasi ba Gavumenti, ne bakubamu enkambi gye baatuuma ‘Malire’ ekitegeeza ‘omunyago’ mu Lulango!

                            Olubiri lwaddizibwa Buganda jjuuzi mu 1993 nga Kabaka Mutebi agenda okutuuzibwa ku Namulondo. Ekizimbe kya Bulange nakyo ekyalimu amagye kyaddizibwa Buganda, naye abantu abatategeerekekanga baasooka kukikumako muliro era kigambibwa nti ebyapa by’ettaka lya Buganda bingi byaggya!

                            Olubiri lwaddamu okulongoosebwa mu 1999, ku mbaga ya Kabaka era mu Twekobe empya Kabaka mwe yagabulira abagenyi be.

                            Mu baasuubiza okuwaayo ssente eziddaabiriza Twekobe mwe muli ne Pulezidenti Museveni eyasuubiza obukadde obusoba mu 100 naye tekimanyiddwa oba yaziwaayo.

                            Wabula okuva ku mbaga ya Kabaka, Twekobe Kabaka tagisulangamu wadde okugikoleramu emikolo gyonna. Lw’aba akoze emikolo mu Lubiri agikolera wabweru wa Twekobe.

                            “Oluusi bw’aba ayagadde okukolera emikolo oba okusula mu Lubiri atwala weema n’azissa ebweru wa Twekobe n’asula omwo.

                            Ne bwe yakyazizza Abalangira n’Abambejja mu 2008 era yabasisinkanira wabweru wa Twekobe,” omu ku bakungu b’e Mmengo bwe yagambye.

                            Mu 2007 Kabaka yalagira Katikkiro eyaliko Daniel Muliika akole ekisoboka ayingire Olubiri mu bwangu. Akakiiko kassibwawo nga kakulirwa Ssaabalabirizi eyawummula Livingstone Nkoyooyo, abaagezaako okuluyoyoota era ne mu lukung’aana lwa CHOGM lwali lumu ku bifo Kkwiini bye yali asuubira okulambula naye n’alemesebwa.

                            Nkoyooyo yalekulira akakiiko kano era eyamuddira mu bigere, munnamakolero James Mulwana yalangirira mu butongole nti Olubiri lwaggwa okuddabirizibwa nga lusigadde kussibwamu bikozesebwa olwo Kabaka alyoke aluyingire.
                            Mikwano gya Kabaka egy’enjawulo gizze girulambula okulaba engeri gye giyinza okuyambako okuteekamu ebikozesebwa naye emyaka 44 bukya bajaasi ba Obote balumba Lubiri lukyali matongo.

                            Avunaanyizibwa ku kulabirira Olubiri luno, Dan Mawaza yagambye nti Olubiri lwaggwa okuddaabirizibwa naye terussibwangamu bikozesebwa.

                            Gye buvuddeko, eyali Katikkiro Dan Muliika yategeeza nti, “Mu mpisa z’Abaganda, Kabaka tasobola kusula mu Lubiri nga Katikkiro we talina Butikkiro.”

                            Butikkiro y’ennyumba entongole Katikkiro wa Buganda mw’asula. Ebeera kumpi n’Olubiri lwa Kabaka.

                            Kyokka Butikkiro yatwalibwa Gavumenti n’essaamu eddwaaliro erinoonyereza ku siriimu erya Joint Clinical Research Clinic (JCRC), ate n’entegeka z’okuzimba endala nazo zaakoma ku kuwa Mmengo ekifo we bayita ku Mbuzi e Mengo naye tezimbangawo.

                            Mu kiseera kino aba JCRC baliko ekizimbe ekyabwe kye bazimbye e Lubowa mwe bagenda okusengulira eddwaaliro lyabwe.

                            Ekitongole ky’eby’obulambuzi ekikulirwa minisita Florence Nakiwala Kiyingi kikoze kinene okulaba nga kiyoyoota Olunbiri luno, nga kiyita mu kusimba ebimuli mu luggya lwalwo, n’okukakasa obuyonjo mu luggya buli kiseera okusobola okusikiriza abalambuzi.

                            link

                            #26448
                            mirembemirembe
                            Participant
                              Quote:
                              Nnalinnya Namikka alumbye abakungu b’e Mmengo

                              NNAALINYA avudde mu mbeera n’alumba abakungu ba Mmengo be yagambye nti bakikola mu bugenderevu okugaana okwetaba ku mikolo gy’okujjukira olwa May 24, Obote lwe yawamba Olubiri nti kubanga Kabaka afubye okubalaga obukulu bwalwo naye bagaanyi.
                              “Kabaka agezezzaako nnyo okubategeeza obukulu bw’olunaku luno n’akkiriza n’okulutongoza kyokka tebalufuddeko n’olwekyo tutegedde bye balowooza era temusaana nakuddamu kuboogerako tubaveeko tukole byaffe ng’Abaganda” Namikka bwe yayogezza obusungu ng’ayanukula abazzukulu ba Buganda abeemulugunyizza abakungu b’e Mmengo obutalabikako. Namikka era yalangiridde nti olwa June 12 nti bo ng’abalangira, abambejja abazzukulu ba Buganda n’abantu abalala abalumirirwa Buganda lwe bagenda okutandika okuzimba amasiro bave ku bizze bibasuubizibwa Mmengo kyokka nga tebituukirizibwa.

                              Yagambye: Eby’okulinda Mmengo okutukunga tetugenda kubirinda kubanga tugezezzaako tukooye. Ffe ffennyini Abaganda twekolemu omulimu tutandike okukola kubanga bo bannaffe bakyali mu bya kwebuuza, kulinda nsimbi ezibasuubizibwa, n’ebiringa ebyo kyokka nga ba Kabaka baffe batobera bweru n’omusana gubookya”.

                              Omukolo gwatandise n’okukumba ng’abazzukulu ba Buganda wamu n’abaana ba Nkobazambogo ne Ssuubi lya Buganda baasimbudde ku Lubiri lwa Kabaka e Mmengo ku makya ne bayita ku luguudo Balintuma, Nakulabye, Kasubi ne batuuka mu Masiro gye beegattidde ku Balangira, abambejja, bannalinnya n’abantu abalala okwabadde eyali Minisita wa Kabaka ow’ebyobuwangwa n’ennono eyawummula Arthur Bagunywa, omubaka wa Lubaga North, Beti Kamya eyawaddeyo 1,000,000/- ku lw’ekibiina kya Uganda Federo Alliance ziyambeko okutandika okuzimba amasiro.

                              Ssentebe w’Abazzukulu Hajji Junju Kaamulali yagambye nti baakugenda mu maaso n’okukuza olunaku luno era nga bagenda kugattako n’olwa March 16 bakungubage olw’okwokyebwa kw’amasiro.

                              #26449
                              mirembemirembe
                              Participant

                                link

                                Quote:
                                ‘Lwe twatolosa Kabaka mu Lubiri’

                                LEERO nga May 24 2010 lwe giweze emyaka 44 bukya Lubiri lw’e Mmengo lulumbibwa abaserikale ba Obote. Zaali May 24 1966 Olubiri lw’e Mmengo ne lulumbibwa ekyavaako Kabaka Muteesa 11 okuwang’angusibwa n’agenda mu Bungereza gye yafiira mu 1969.
                                Lilian Nalubega akuleetedde abamu ku baserikale abaaliwo ku olwo nga banyumya bye baalaba.

                                Zaali essaawa nga 12 ez’enkya olwa May 24 mu 1966 eggye lya Gavumenti ya Obote erya ‘Special Force’ eryasula lyebulunguludde Olubiri ne lirumba era lyakuba amasasi mu Lubiri abaalimu ne babuna emiwabo.

                                Abaganda beeyiwa ku Lubiri okutaasa Kabaka waabwe nga bwe baaweranga nti ‘Kabaka we ndigwa w’oligwa, kyokka bangi ku bo battibwa.

                                Abaali ku mulimu gw’okulabirira n’okukuuma Kabaka baali mu kwetala okulaba bwe bamuwonya ate nabo okusimattuka amasasi.

                                Abaserikale ba Kabaka 16 ku abo 96 abaali basuze bakuuma Olubiri bagambibwa okuba nga battirwa mu Lubiri kw’olwo, abalala baasobola okwetaasa, abamu ne basibwa e Luzira.

                                John Muwonge Kasozi, omu ku baserikale abaaliwo ku olwo anyumya bye yalaba:

                                Olwawulira essasi erisooka ku ssaawa 12:00 ku makya nnategeererawo nti lubaze. Nnali bulindaala kuba twali tumaze emyezi esatu nga tukimanyi nti akadde konna batuzinda.

                                Nadduka ku Twekobe era mba ntuuka ku mulyango gwayo ne ndaba Kabaka ng’afuluma ne mmugoberera nga njagala obutamusuulirira.

                                Twatambula n’abaali bakama baffe mu ggye lya Kabaka okwali Maj. Katende, Capt. Maalo ne Maj. Ssenkoma. Kwaliko eyali owessaza ly’e Ssingo Mw. Ssebanaakitta, Amuran, n’omukyala.

                                Twatuuka mu biraalo by’ente gye twasooka okuwummulira ne tusirika. Wano Ssenkoma we yatuleka n’adda ku Wankaaki okugezaako okukkakkanya embeera.

                                Twalina emmundu abantu gye baalowoozanga nti yali ya masannyalaze Kabaka gye yakozesa ng’agezaako okwerwanako.

                                Abaserikale ba Obote baatema omulyango gwa Nnaalongo ogwali ogw’emmuli Kabaka n’atulagira tubalinde bayingire tubasesebbule.

                                Kabaka yanteeka emmundu ku kibegabega n’atandika okubanoga amasasi omu ku omu. Wano we nnava okuziba okutu okumu.

                                Twalaba ennyonyi ewungula mu bbanga ng’egezaako okulawuna n’okusuula omuliro.

                                Kabaka yayagala agikube kyokka Maalo ne Katende ne bamugaana nga bagamba nti bajja kutuyiwamu amasasi amalala. Ate nga n’ebiraalo ebimu bikutte omuliro.

                                Enkuba gye tutaamanya gye yava yatonnyera akabanga katono era bwe yakya twasobola okutolosa Kabaka. Ndi omu ku be yalinnyako n’abuuka okugwa wabweru ku luuyi lw’omulyango gwa Kaalaala.

                                Kino nakikozesa ssanyu kuba gwe gwali omulundi gwange ogwasooka okukwata n’okutuukirira Kabaka wadde nga nnali maze akabanga mu magye agamukuuma.

                                Twagenda naye e Lubaga gye twava okugenda e Mityana n’e Ggomba olwo ne tweyongerayo okutuuka e Rwanda. Nnali nneesunze okulinnya ku nnyonyi ntambule ne Kabaka kyokka ennyonyi yali ya migugu ng’ebifo tebimala ne nkoma.

                                Ssaalongo Hannington Mutebi naye anyuma:

                                Nnali ngaba abaserikale buli omu gy’anaakola kuba olutalo ffe twali twalutandika emyezi esatu emabega wadde ng’olwaffe lwali lwa bigambo, ng’ebyokudda eka twabivaako tusula mu Lubiri.

                                Emmundu bwe zaatandika okukekera naffe twayanukula, tegaba masasi kutuggwaako abasajja twali tugenda kubamalawo. Wano we nnawanikira ne mpona ng’abalala babasse.

                                Joseph Kizza naye yawona okuttibwa era annyonnyola we yayitira. Agamba nti wakati mu kanyoolagano n’okuwaanyisiganya amasasi, emmundu zaabwe zaggwaamu amasasi ne basigalira kwekukuma. Munne bwe baali yamugamba badduke, naye yali yeerabidde emmundu n’akutama agironde abaserikale ne bamukuba essasi. Kizza yawanika n’asobola okuwona.

                                Bankuba okutuuka ku Wankaaki awaali bannange n’emirambo era mu kwewonya emiggo n’ensambaggere nagigwamu ne nneebikka ogumu okubalowoozesa nti nnali mufu. Mu kutikka abaali batwalibwa e Luzira, nalowooza nti bwe banansanga mu mirambo nga ndi mulamu kijja kuba kibi nnyo kwe kugugumuka nninnye loole ate ekyayongera okubanyiiza ne bongera okunkuba. Nnawonera Luzira, Mutebi bw’anyumya.

                                Joash Kasirye: Kw’olwo nnakuuma ekiro, era essasi olwavuga liti waayita akabanga katono ng’enda okulaba nga Kabaka afuluma n’eyali mukama waffe Kibirige nga badda ku kiraalo naffe ne tugoberera. Baatubulako enkuba we yatonnyera nga tuli mu kisiko. Abalabe baffe baatugwako nga twekukumye ne batulagira okuwanika emikono. Bankuba ekigala ky’emmundu ne kinjuza ennyindo. Omu yaggyayo ejjambiya anteme omutwe ne nteekayo emikono era gye yatema.

                                Kigozi eyali omukubi wa bbandi, agamba nti yali alinze kukubira Beene nnyimba n’awulira amasasi. “Nneegatta ku bannange ne tuyimirira emabega wa Twekobe gye bankwatira ne banneebasa ku mirambo. Wano we banzigya okunsiba e Luzira gye nnamala omwezi gumu n’ennaku kkumi.

                                Emyoyo gyabagenzi ate nga bali bazira mukama abawe ekiwummulo ekyemirembe. Banange kino kitulaga tulina okwatagana tukolaganire wamu

                                #26444
                                KulabakoKulabako
                                Participant

                                  ABAZZUKKULU BA BUGANDA TUBEBAZA OMULIMU OMUKULU BWEGUTI GWEMUKOLA

                                  ABAGANDA ABESULUBABBA EBYA BUGANDA , MUJJUKIRE NTI OBUGANDA BUBEGESE AMAASO LWEMUNATUUKA OKUBWETAAGA NABWO BUJJA KUBEGAANA , MU MPISA YAFFE OLI BWAGAANA OKWETABA MU MIKOLO NAYE BWATUUKA OKWETAAGA ABANTU OKWETABA KU GIGYE NGA NAYE BAGIMULEKERA LYEELYO ELINNYA LYAFFE KYE LITEGEEZA OMUGANDA OGULI AWAMU KUKOLERA WAMU KUNAKUWALIRA WAMU NAKUYAMBAGANA EGYO EMIZE EGYA BANAKYEMALIRA BAGIYINGIZA MU MMWE ABAGANDA BEBASANGA NEBYAMMWE KYOKKA MUJJUKIRE NTI BO BASSA KIMU, OBUTABANGUKO BWONNA OBUGUDDE MU BUGANDA BUVUDDE KUBANTU KWEYAWULA NEBAVA KUKITUGATTA FFENNA KANO AKASEERA KAKAKUNGUNTA ANI ALI NAFFE NAANI ALI NOMULABE WAFFE

                                  Abazzukulu ba Buganda To Lead Commemoration of Buganda Occupation

                                  Posted on 23 May 2010

                                  The oldest Baganda nationalist organization, Abazzukulu ba Buganda, have issued a statement announcing that they will hold special ceremonies to mark 44 years since the government of Uganda occupied the Kingdom of Buganda by force of arms. The ceremonies, on May 24, 2010, will start with a congregation at the main gate (Wankaaki) of the Kabaka’s Palace (Lubiri) at Mmengo at 8:00 AM. One hour later, at 9:00 AM the sons and daughters of occupied Buganda will match for 5 kilometers (just over 3 miles) to the Kasubi Tombs site. At Kasubi, the Baganda will hold a seminar on Buganda national issues.

                                  Below is the full text of the announcement in Luganda.

                                  Eri Obuganda

                                  OKUKUNGUBAGA OLWA BUGANDA OKUWEZA EMYAKA 44 MU BUWAMBE

                                  (24th May 1966 – 24th May 2010)

                                  Nga 24 May 2010, gigenda kuwera emyaka Ana mw’ena (44) bukya gavumenti ya Uganda ewamba Buganda. Olunaku olwo amagye ga gavumenti ya Uganda lwe gaalumba Ssekabaka Muteesa mu Lubiri eMmengo gye yeerwanirako n’asimattuka okumutta n’agenda mu buwanganguse e Bungereza gye yagyira omukono mu ngabo mu 1969.

                                  Kw’olwo endagano ya 1962 eyali eggatta Buganda ku Uganda mu ngeri eya kyeyagalire lwe yamenyebwaawo. N’olwekyo okuva olwo Uganda yeekakaatika bwekakaatisi ku Buganda. Buganda teri mu Uganda lwa kweyagalira wabula ekakibwa bukakibwa ku maanyi ga mmndu. Buganda eri mu buwambe okuv’olwo.

                                  Olw’ensonga eyo buli lunaku lwa 24th May bwe lutuuka Abaganda abakimanyi era abakyalumirirwa Obuganda bakungubaga. Okukungubaga kuno kubaamu okutambula okuva mu Lubiri lw’eMMengo okutuuka e Kasubi Nnabulagala mu masiro g’aba Ssekabaka gye bakkomekkereza okukungubaga okwo n’omusomo ogukwata ku buwambe Buganda mweri.

                                  Okukungubaga kuno kukulemberwamu Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda okuva mu 1999. N’omwaka guno, nga 24th May 2010, okukungubaga kuno kugenda kubaawo. Abaganda abalumirirwa Obuganda abasobola bajja kukung’anira ku wankaaki w’olubiri lwe Mmengo ku makya ku ssaawa bbiri we bajja okusimbula ku ssaawa satu ez’okumakya batambule okugenda e Kasubi ewanaabeera omusomo ogukwata ku nsonga za Buganda.

                                  Olukiiko lwa Bazzukulu ba Buganda lukusaba okwetaba mu kukungubaga kuno, era n’okuyamba mu nteekateeka yaakwo. Mu ngeri yonna (eg SMS) kkunga Obuganda okukungubaga ku lunaku olwo, sondayo ku nsimbi z’okupangisa ebikozesebwa n’okusaasaanya ebiwandiiko by’omusomo ogunaakolebwa kw’olwo, etc.

                                  Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda lwamerawo mu 1985 olw’obwetaavu bw’okuzzaawo Buganda nga bwe yali. Jjukira nti Buganda Ggwanga ttonde eryatondebwa Katonda nga Ttongole. Okuva mu 1985, olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda lutuula buli lunaku olw’okubiri mu wiiki. Buli muzzukulu wa Buganda wa ddenbe okukiika mu Lukiiko luno kasita taleetamu bitiibwa bye, byabufuzi bye, ddiini ye oba enzikiriza endala yonna ekontana oba evuganya n’obwetaavu bw’okwetengerera kwa Buganda.

                                  Alina ky’abuuza ku nsonga eyo kuba ku ssimu y’omuteesiteesi eno 0772534210.

                                  M. Junju Kamulali

                                  (Ssentebe)

                                Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 36 total)
                                • You must be logged in to reply to this topic.

                                Comments are closed.