Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Emirimu n Ebyenfuna / Employment and Busy-ness › Mengo Egende Mpola Ku Kwagala Okukulakulanya
- This topic has 4 voices and 3 replies.
-
AuthorPosts
-
September 9, 2008 at 7:34 am #17610
Biki Byetusasula nga Abaganda olwokukulakulanyizibwa kuno? Mengo yegendereze ku bisalibwaayo. Esooke etegereze abaana ba Buganda bameka abali ku mawanga mu mbeera enzibu nga kiva ku bintu ebyasalibwaayo edda ebyaali ebisobu nga biva e Mengo era ne mu bantu benyini ba jajja ffe. Mwegendereze muleke kusimira bunnya bwebumu nemigigi gya Baganda agija. Mujjukire bulijjo, TEWALI KYA BWEREERE.
Libya eneekulaakulanya Olubiri lw’e Mmengo
Bya Ahmed Kateregga
KATIKKIRO wa Buganda, Ying. J.B. Walusimbi yateeseganyizzaamu ne Col. Muammar El Gadaffi owa Libya ku by’okukulaakulanya Obwakabaka naddala Olubiri lw’e Mmengo.
Abalala abeetabye mu nteeseganya zino, mwabaddemu: ssaabawolereza wa Buganda, Apolo Makubuya, Sipiika wa Buganda, Haji Kaddu Sserunkuuma ne Kamuswaga wa Kooki, Ssansa Kabumbuli.
Katikkiro ye yakiikiridde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll mu lukiiko lw’abakulembeze b’ennono okuva wonna mu Afrika olubadde mu kubuga Benghazi mu Libya.
Abakulembeze b’ennono abalala abaavudde mu Uganda kuliko: Kabaka wa Bunyoro Solomon Gafabusa Iguru, Omulangira wa Ankole, John Barigye, omuzaana owa Teso, Kabaka wa Acholi, Rwot David Onen Achan, owa Lango, Wini Nyaki Samd Odur ne Emorimor Augustine Osuban.
Ekiwandiiko okuva mu ofiisi ya Katikkiro e Mmengo ky’ategeezezza nti bwe baabadde ku bugenyi obwa wiiki ebbiri mu Libya, beetabye ku mikolo egy’okujjukira nga bwe giweze emyaka 39 bukya Libya ebeeramu enkyukakyuka ezaatuusa Col. Gadaffi ku bukulembeze.
Gadaffi ye yaddaabiriza Olubiri lw’Omukama wa Toro, Oyo Kabanga Iguru olw’e Karuziika.
Bukedde
Published on: Monday, 8th September, 2008September 9, 2008 at 8:37 am #19582Ekyo kyennyini kyoyogerako nange kyekyanzigyidde mu bwongo . Lwaaki waliwo okupapa ku bintu ebikwaata ku kulakulanya Buganda?
Luli era ebintu byebimu ebyaliwo byagenda okumala okusabukululwa nga omuntu yoomu abiri emabega naye nga akozesa Abaganda abaali so eager okumatiza Obuganda nga Buganda bweeri ku mbiranye okuzimba ebyo buwangwa bwaabyo nga bagwiira be babibazimbira .
Abaganda abali ebweeru bo balyebuzibwaako ddi ku bintu ebyokukulakulannya Obuganda .
Twalaba story ezavaayo nga Gadafi amaze okuzimba olubiri lwe Tooro era ani eyabiri emabega na biki ebya sasulibwa oba katugambe ani eyamusasulibwa,emivuyo gyonna egyagendera mu mirimu egyo , naffe kati bye balinda okutukola ?
Gadafi alina deals nyingi zalimu e Uganda lwaaki mumuleeta ne Mengo , leero ffe banaffe Abaganda abali ebweeru mulitusasirako ddi ,okutusigalizaawo byetuliraga abaana baffe nabazzukulu nga mugwa mu butego bwabalabe okumalawo Buganda yattu yonna?
Kasita Obuganda mubuwaayo abagwiira okubuzimba nga mumanya nti mubufuuye mu ngombe, singa bajjajja ffe nabo bwebakola Buganda gyemutunulako nokugabangula nammwe temwandigisanzeewo.
Kyandibadde kirungi okusaawo ensawo Abaganda abali ebweeru mwebayinza okussa ssente, nebweziba ntono zitya buli omu zayinza okutoola, ne musaawo abantu abo buvunanyizibwa ,abagala Obuganda era abesigwa abamalirivu okuwereza Obuganda, netwekolera emirimu gyaffe , mukifo kyokuddukiranga ewa gundi negundi ayambadde amaliba gendiga naye nga munda nsolo elya abantu.September 9, 2008 at 6:21 pm #19594Omusajja ono Gadaffi teyesigika bulungi. Ewuwe yagobayo ddaaaa obwa Kabaka. Ate kati obwaKabaka mu mawanga g’Africa amalala ayinza atya okuba ng’abuwagira nnyo bwatyo, natuuka nokwagala okukulakulanya embiri zaabwe. Singa asoose nazzaawo obwaKabaka munsiye, ekyo kyandibadde kitegerekeka.
Wabula ekikulu kiri nti kirabika ogwali gubasaza mu kabu ne m7 gwaggwaawo. Oba olyawo anoonya kusigala nga mukulu mu Africa yonna, engeri jeyali ayagala United States of Africa headquarters oba African Unity ebeere mu Libya. Engeri jayagala abeere nga ye president wa Africa yonna, osanga yensonga lwaki asaka emikwano mu mawanga ga Africa, ngotwaliddemu ne Buganda.
Wabula Buganda yandibadde negendereza nnyo. Oluusi kayinza okuba akanyeebwa ku kamasu.
Sabasajja Kabaka awangaale.
September 10, 2008 at 10:36 pm #19610Bawakanya okukulaakulanya Olubiri
Bya Robert Masengere
ABAZZUKULU ba Buganda bawakannyizza enteekateeka ya Pulezidenti Gadaffi okukulaakulanya Olubiri lwa Kabaka e Mmengo ne basuubiza okumuwandiikira bamugambe agiyimirize.
“Tulowooza nti, luno lwandibeera olukwe olukoleddwa abaluubirira okusanyaawo Obwakabaka nga beerimbise mu mukulu ono naye tumaliridde okulusaanyaawo naddala bwe kiba nti Katikkiro tuludde nga tumulabula ave ku Lubiri n’Amasiro,” Abazzukulu bwe baagambye mu lukiiko olwakubiriziddwa akola nga ssentebe waabwe Abiyasali Buyego. Lwatudde kumpi ne Bulange ku Lwokubiri.
Baabadde bateesa ku nsonga eno eyalabikidde mu mawu-lire ga Bukedde.
bukedde
Published on: Wednesday, 10th September, 2008Kati ndowooza wano abateesa balaba nti ekkubo lyebakutte bangi tetulisiima. Okukulakulana tukwegendereze, mulimu ekitego mingi egya boonoonyi. Abaganda tubonyebonye ekisukkiridde. Tusoke twejjeko bano, tuddeko wa bbali tusse ekikkowe. Tujja kwezimba ffe ffekka namaanyi gaffe.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.