Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Emirimu n Ebyenfuna / Employment and Busy-ness › Mubimpimpi Buli Kyasangibwaawo Kimenyebwa
- This topic has 4 voices and 3 replies.
-
AuthorPosts
-
December 10, 2008 at 2:54 am #17365
Mitchell Cotts nakyo bakimenyeBya Meddie Musisi
BULI lunaku waliwo ekizimbe ekimenyebwa mu Kampala ng’ate ebirala bwe bitutunuka ng’obutiko.Ssinga abaafa bakomawo, Katonda n’akola ekyamagero n’abasuula wakati mu kibuga Kampala, tebasobola kukubuulira we bali. Buli kye balaba kipya. N’ebizimbe bye baali bamanyi, mu Kampala musigaddemu bitono.
Mu wiiki bbiri zokka emabega, ebizimbe ebikunukkiriza mu kkumi bimenyeddwa mu Kampala.
Ebimu bibadde bikolerwamu abasuubuzi abasoba mu 1,000 era bangi, Kulisimaasi baakugirya nga babundabunda.
Ebimu ku bizimbe ebimaze okusendebwa mwe muli Mitchell Cotts, okubadde ofiisi za kkampuni ya Uganda Funeral Services, ekola ku bafu. Kigambibwa nti ekizimbe kino, ekimu ku kalina enkadde ennyo mu Kampala, kyaguliddwa omugagga Apollp Aponye, omu ku baddukanya wooteeri eziwerako mu Kampala.
Ekizimbe kino kyasooka kubeera kya Bayindi, ne kidda mu mikono gya Uganda Company.
Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi b’omu Kampala ekya Kacita, Isa Ssekitto yategeezezza nti mu bbanga lya myezi esatu, poloti kkumi ze zaakagulibwa abagagga era batandise n’okuzimba.
Ate omugagga w’omu kikuubo, Tom Kitandwe yaguze poloti eriraanye Gazaland ku William street era yatandise dda okuzimba. Kuno kw’ossa omugagga w’ebizigo bya Movit, Simpson Birungi eyaguze akazimbe akakadde okwali ofiisi za Munno ku Wilson Street, era azimba.
Ekizimbe kya Cineplex ekyayatiikirira ennyo mu kulaga firimu ez’omulembe ku Wilson, nakyo bakimenyewo.
Ku Market Street, okumpi n’awaali essundiro ly’amafuta erya Godfrey Kirumira wabaddewo, akazimba akakadde awadde awtundirwa obugaali kamenyeddwa. Wabula ebyogerwa nti omugagga Drake Lubega ye yaguzeewo, yabyegaanyi. Waliwo ababadde bagamba nti yakkiriziganyizza ne Hassan Basajjabalaba.
N’emabega wa Slow Boat ku Kampala Road, ewagobera ennyo abawagizi ba Liverpool, ekizimbe ekiriyo bakikoonye.
Kati olutalo lwa kukyusa kifaananyi kya Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.December 10, 2008 at 10:06 pm #20978Temuli bizimbe byaamu byebazimba. Bassawo nsisira za kubbiramu sente za mangu. Omululu mungi tebasobola kukola kintu kyona kya buwangaazi. Byonna bya kweera ebyo. Abasinga kwabo bafuna nolukusa oluzimba kuva ku babbi bannabwe, betaaga kussa mu mbuga, baliwe nokuliwa okutawanya Obuganda. Ssaawa 24 okujja obukyafu bwabwe ku ttaka lya Buganda oba sekyo…
December 12, 2008 at 6:49 am #20992
Kikyamu aba Habitat okumenya amayumbaABANTU b’e Kamuli mu Busoga bali mu kusattira olw’abakungu b’ekitongole kya Habitat for Humanity abaatiisizza okubamenyera amayumba ge baabazimbira ku kibanjampola olw’okulemererwa okusasula. (Laba Bukedde w’eggulo P.7)
MU May w’omwaka guno aba Habitat baamenya amayumba 17 ag’abatuuze abaali balemeddwa okusasula bannannyinigo ne basigala ttayo.
ABA Habitat okuzimba amayumba gano abantu bawaayo ebikozesebwa ebitonotono Habitat n’ebongerezaako n’ebazimbira amayumba nga balina okusasula wakati wa 20,000/- oba 30,000/- buli mwezi.
EKIKOLWA kya Habitat eky’okuggya abantu mu mayumba ag’essuubi ne babazimbira aga bbulooka n’amabaati kirungi. Wabula ate aba Habitat bwe badda ku mayumba gaabwe ge bazimba ne bagakakkanako ne bagamenya kiba kikyamu.
WADDE ng’oluusi waliwo abantu abagayaavu okusasula amabanja naye abasinga tukimanyi nti kati essente zibuze nga n’amakampuni amanene mu mawanga agaakula agamu gagaddewo amalala gasaze ku bakozi.
HABITAT yandibadde egumikiriza abantu bano oba okubasalira ku ssente ze balina okuwaayo buli mwezi okugeza ne zidda ku 5,000/- oba 10,000/-.
EKIRALA aba Habitat bandisaze amagezi amalala okugeza nga bakkiriza abantu bano okuwaayo ebirime mu kifo kya ssente olwo bbo babitunde baggyemu ensimbi zaabwe.
HABITAT okumenya amayumba kijja kwonoona erinnya lyabwe era bajja kusanga obuzibu okutuuka mu bitundu ebirala olwo ekigendererwa kyabwe kiggwe butaka kubanga abantu bajja kuba babatya.
Published on: Thursday, 11th December, 2008
Wabeewo wano anyamba bano banaffe abatiriika ekisa abagenda awali amayumba gabantu babasubize okubajja mu busisira babasse mu goloofa bamala ku bebuzaako nfuna yaabwe ? kuba sirowooza nti ekibasuza mu busisisra kuba sente baba bazituddeko nga balinda anabazimbira eza goloofa bo baziyingire buyingizi.
Banange eno Gavumenti erimu abantu abaganira ddala okusooka okulowooza nga tebanakola kintu ettaka lingi ,awali ekibangirizi oba ensiko bano bannafe bakali magezi babiyitako nebagenda awali abantu nebasenda amayumba gaabwe nga kwotadde nemmere yaabwe, nebamaliriza nti nebwebaba bagenda kusaawo kintu kinagasa bangi ,ebintu baba bamaze okubyonoona nga bebalese mu kyangaala ate nga nemirundi egisinga nga tebabakombezza na ku nnusu.December 12, 2008 at 9:07 am #20997Kulabako wrote:
Quote:
Kikyamu aba Habitat okumenya amayumbaABANTU b’e Kamuli mu Busoga bali mu kusattira olw’abakungu b’ekitongole kya Habitat for Humanity abaatiisizza okubamenyera amayumba ge baabazimbira ku kibanjampola olw’okulemererwa okusasula. (Laba Bukedde w’eggulo P.7)
MU May w’omwaka guno aba Habitat baamenya amayumba 17 ag’abatuuze abaali balemeddwa okusasula bannannyinigo ne basigala ttayo.
ABA Habitat okuzimba amayumba gano abantu bawaayo ebikozesebwa ebitonotono Habitat n’ebongerezaako n’ebazimbira amayumba nga balina okusasula wakati wa 20,000/- oba 30,000/- buli mwezi.
EKIKOLWA kya Habitat eky’okuggya abantu mu mayumba ag’essuubi ne babazimbira aga bbulooka n’amabaati kirungi. Wabula ate aba Habitat bwe badda ku mayumba gaabwe ge bazimba ne bagakakkanako ne bagamenya kiba kikyamu.
WADDE ng’oluusi waliwo abantu abagayaavu okusasula amabanja naye abasinga tukimanyi nti kati essente zibuze nga n’amakampuni amanene mu mawanga agaakula agamu gagaddewo amalala gasaze ku bakozi.
HABITAT yandibadde egumikiriza abantu bano oba okubasalira ku ssente ze balina okuwaayo buli mwezi okugeza ne zidda ku 5,000/- oba 10,000/-.
EKIRALA aba Habitat bandisaze amagezi amalala okugeza nga bakkiriza abantu bano okuwaayo ebirime mu kifo kya ssente olwo bbo babitunde baggyemu ensimbi zaabwe.
HABITAT okumenya amayumba kijja kwonoona erinnya lyabwe era bajja kusanga obuzibu okutuuka mu bitundu ebirala olwo ekigendererwa kyabwe kiggwe butaka kubanga abantu bajja kuba babatya.
Published on: Thursday, 11th December, 2008
Wabeewo wano anyamba bano banaffe abatiriika ekisa abagenda awali amayumba gabantu babasubize okubajja mu busisira babasse mu goloofa bamala ku bebuzaako nfuna yaabwe ? kuba sirowooza nti ekibasuza mu busisisra kuba sente baba bazituddeko nga balinda anabazimbira eza goloofa bo baziyingire buyingizi.
Banange eno Gavumenti erimu abantu abaganira ddala okusooka okulowooza nga tebanakola kintu ettaka lingi ,awali ekibangirizi oba ensiko bano bannafe bakali magezi babiyitako nebagenda awali abantu nebasenda amayumba gaabwe nga kwotadde nemmere yaabwe, nebamaliriza nti nebwebaba bagenda kusaawo kintu kinagasa bangi ,ebintu baba bamaze okubyonoona nga bebalese mu kyangaala ate nga nemirundi egisinga nga tebabakombezza na ku nnusu.Mukulu Kulabako, bino tebikwata ku Buganda. Wandisobodde okubiteeka mu Bamuliranwa, Omw’Africa oba mu Muko Ogusooka. Tujjukire nti Olukiiko lwaffe luno luteesa ku bya Buganda byokka. Ebirala ebigenda mu milamwa gyemmenye wagulu nabyo biteekwa okuba nga birina akakwaate ku Buganda.
Abakiise mwebale kukiika.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.