Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Emirimu n Ebyenfuna / Employment and Busy-ness › Nabano abaganda bazzaamu amaanyi
- This topic has 7 voices and 6 replies.
-
AuthorPosts
-
January 8, 2009 at 4:16 pm #18357
Omukazi kafulu mu kukanika buleeki za mmotoka
OKUKULAAKULANA kwa Ndeeba, kwe kuvuddeko abantu ab’enjawulo okwenyigira mu buli kalimu ke bayinza okufunamu ssente.
Sarah Lubega ku mulimu.
Eno gye twasanze omukazi Sarah Lubega, eyeeegulidde erinnya mu kukanika buleeki (biyite ebiziyiza) za mmotoka.Bw’omusanga ayiyeemu wovulo ng’agudde wansi mu mipiira gya mmotoka oyinza obutamwawula ku basajja. Amala kuvaayo n’okakasa nti mukazi.
Lubega ye nnannyini kkampuni ya Sarah Auto Parts esangibwa okumpi ne Cent-Point eya Centenary Bank mu Ndeeba.
Agamba nti bwe yava mu kyalo e Kalungu-Masaka ng’eby’okusoma abikomezza mu Kabukunge S.S yanoonya eky’okukola ne kibula.
Ng’atuuse mu Kampala mu 2002, yatandika okunoonya emirimu ne gimubula kwe kusalawo okwegatta ku kitaawe omuto Haji Abdul Bukenya owa BK mu Ndeeba eyamuyigiriza okukanika buleeki za mmotoka.
Omulimu gwasooka kumukaluubirira olw’abasajja abangi abaamweyuniranga okubakanikira kyokka ng’abasinga baali baagala kumukwana. “Kye nnakukola, bonna nnabafuula mikwano gyange, ate ne mbasigaza nga bakasitoma,” Lubega bwe yategeezezza.Mu 2005 yasalawo okutandika okwekozesa. Taata we omuto yamuwa kapito (tamwogera muwendo) kwe yatandikira galagi ye.
Sarah Lubega agamba nti omulimu guno tagwevuma kubanga asobodde okufunamu emikwano ssaako n’ensimbi ezimuyamba okuyimirizaawo bazadde be n’abaana era mu kiseera kino ali mu nteekateeka za kutandika kuzimba.
Agamba nti tatera kufuna budde busanyuka kubanga ayagala nnyo okwekolera.
Awa badereeva amagezi okutwalanga mmotoka zaabwe mu bakugu buli mwezi basobole okwekenneenya buleeki zaazo kubanga kiyambe okukendeeza obubenje ku nguudo.Akubiriza abawala obutanyooma mirimu kubanga kati omulembe tegukyaliko nti guno gwa mukazi oba musajja. “Mu Kampala bw’osumagira tofunamu”.
January 8, 2009 at 9:49 pm #21616Ekyo kyennyini kyetwetaaga okutereeza ensi yaffe buli omu alage ekitone kye era yensonga Buganda yali ekulakulanira ku speed yakizungirizi kuba tetulina kweyigaanya kati ate ketufulumyeeko wabweeru ennaku ekuyigiriza ebintu bingi kuba mulimu nemirimu nga bwobeera eka tosobola nakulowooza nti oyinza okugyenyigiramu ate nogikola bulungi.
Naye awo watya ngooli munsiiyo teri akukotoggera nga the sky is the limit.January 9, 2009 at 8:51 am #21628Ono omukyaala atuwa ffenna okwenyumirizaamu kuba tosobola kubeeraawo ngooli ngalo bunani , ate nakakodyo keyasalira abaami nako kakola bulungi kuba kogeza nokkiriza omu, nga mateeka gatandika okujja, nga atandika okugaana okukola eza balala kuba aba balaba nga competition songa bonna bwobalaga nti omulimu gwo gwegusooka naye nga osobola bonna okubawereza nga ba customer ate mu mukwaano ogwokungulu mwenna mumaliriza muganyuddwa .
Ate bakwesiga obutakozesa bu short cut kuba baba bamanyi nti omulimu gwo ogusaamu ekitiibwa.May 8, 2009 at 10:49 pm #23334Kamulegeya akola buleeki ne kulaaki za mmotoka
Bukedde Tuesday, 05 May 2009
WUUNO Munnayuganda asaanuusa ebyuma n’akolamu buleeki ne kulaaki z’emmotoka.
Ono ye Akim Kamulegeya era omulimu gwe agukolera Nakulabye mu kkoona eridda e Kasubi.
Kamulegeya agamba nti yasooka kukola mulimu gwa buzimbi, olwo n’afuna mukwano gwe eyamuyita naamuyigiriza omulimu guno.Agamba nti agula ebyuma okuva ewa Kisekka mu katale. Ebyuma abigulira mu ‘loolo’ era mu mmita 10 ez’ebyuma bino aggyamu kulaaki 40.
Agamba nti akozesa musumeeni okusala loolo eno era olumala akatundu kaasaze akasiiga kye yayise Bostic olwo n’ateekako akabaawo awo nga buleeki ewedde.
Olumala afuna sitoovu naakalirira buleeki eno olwo n’enyweera bulungi. Kyokka alina okuginnyika mu kidomola ky’amazzi n’ewola ereme kubabirira nnyo okusussa ku kipimo kyakozesa.
Agamba nti abagula mmotoka empya bangi bajja ewuwe ne bakyusa buleeki wamu ne kulaaki kubanga ebibye bibeera bigumu okusinga ebipya ebijjira mu mmotoka. Wabula etteeka ly’akozesa nnannyini mmotoka ekipya kye baggyamu takkirizibwa kukitwala, ayina kukireka mu ssasa.
Agamba nti buleeki eyiye etandikira ku 4,000/-, era akola eza buli kika kya mmotoka okuva ku kamunye, Rav 4, pick up wamu te ttipa. Agamba nti owa pikipiki bw’aba ayagala naye asobola okumukolera buleeki.
Kamulegeya agamba nti obuzibu bwasanze mu mulimu gwe kwe kuvuganya ebiva ebweru kubanga Bannayuganda abasinga balowooza nti ebiva ebweru byebiba bisinga obugumu.
Agamba nti mu mulimu gwe guno alina byakozeemu nga okuweerera abaana, azimbye ennyumba era tali mu mbeera mbi n’akamu.
July 4, 2009 at 9:36 am #24267Justice Ssebutinde gets Edinburgh PhD
Friday, 3rd July, 2009Justice Ssebutinde
ByJosephine Maseruka
THE University of Edinburgh, Scotland, has awarded Ugandan judge Julia Ssebutinde an Honorary Doctorate of Laws degree in recognition of her judicial service.
The function, held at McEwan Hall at the university on Tuesday, coincided with the centenary of women studying law at Edinburgh. Ssebutinde was a student at the university 19 years ago.
In her acceptance speech, Ssebutinde, who is on the UN Special Court for Sierra Leone, said:“I am privileged to be serving as an international judge on the war crimes court in Sierra Leone. It is an opportunity to contribute to the end of impunity on our continent and bringing justice to millions of innocent victims of the heinous crimes against humanity of our time.”
Commenting on past and present conflicts in Sudan, the DR Congo, Central African Republic, Rwanda and Uganda among others, Ssebutinde observed that the majority of the conflict victims were women and children.
“In this line of work, as I listen to horrific testimonies, I feel the pain of a mother whose teenage daughter was abducted and turned into a sex slave.”She added: “I feel the shame of a sixty-year-old housewife and mother who is gang-raped and has to publicly relieve her ordeal as she testifies. The more I hear, the more I am convinced that I am in the right job at the right moment.”
Ssebutinde dedicated her prestigious award “to the beautiful women in my life”, namely, her late mother Ida, her daughters Annabel and Grace, her sister Christine, “who shares my every joy and sorrow.”She also said she was dedicating the award to “the men in my life, my Father who never ceases to pray for my success and well being, and to my husband, John who has made untold sacrifices in letting me fly, and to my many friends who came from Africa to share in my joy.”
As a judge of the United Nations Special Court in Sierra Leone, Ssebutinde presided over the trial of the former President of Liberia, Charles Taylor, accused of war crimes and crimes against humanity.
Before taking up a post on the international court, she presided over judicial commissions that investigated corruption in the Police and the Uganda Revenue Authority.
July 5, 2009 at 6:41 am #24288ABAKYAALA NABAAAMI ABAGANDA YONNA GYEMUSANGIBWA NGA MWEKOLERA OBA OKUSOMA TUBENYUMIRIZAAMU ERA TUSABA KATONDA WAFFE EYATUWA BUGANDA ATUSOBOZESE OKUDDAYO OKUZIMBA NNYAFFE BUGANDA TUMULAGE NE BITONE BYAFFE EBITALI BIMU
July 5, 2009 at 11:58 am #24299Kyeekyo..bannaffe..bano aba Nyamulenge bamanyiira kusula mu nsinsiira kyova olaba Kampala waffe yenna bamwonoona!!Tujja kudda nebitone byaffe katonda byeyatuwa(emikono) ne ngalo twezimbire Buganda yaffe nabo bagyegoombe!! WANGAALA NYO AYI SABASAJJA KABAKA MAGULU NYONDO EMPOLOGOMA YA BUGANDA.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.