Kundi show ate oli najammbala nga olubuto lwonna lumuyiiseyiise nga lwonna mugaba afuuse nga ekitabo kya mathematics oba oli nga kabuto kamuguddemu nga obugumba bwembiriizi obulaba bumusitamye, oba najja nga kukubidde ka mini nga linga gino emizingonyo gyebafumiseemu obuti obubiri nga mu bimpimpi abisse makugunyu gokka.
Ate nago neyerabira okugasiiga akazigo si gegaliko langi eziri mu langi ezenjawulo bululu nga yegasse mukivuvvu nolaba amawenyo kati okussa ka Cheri ku cake kwekuyisaamu oluwuzi lwempale emabega nga lwonna lugegedde lukkirira olusalosalo naye nga ye yesaza alaba yaliwo.