Nkukubira kulya muziro gwange

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Wenyirize / Beauty Nkukubira kulya muziro gwange

  • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18230
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

      Ono omusajja tasaaga na miziro gwe. Asaangirizza mukazi we ng’alya emmamba ensiike n’amukuba mizibu n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali mu mbeera mbi.

      Nayira Mpiira omutuuze w’e Kasubi mu Zooni II y’apooca n’ebiwundu ku mubiri gwonna ebyamutuusiddwaako bba, Kaye oluvannyuma lw’okumusanga ng’abwebwena emmbamba.

      Kaye eyabadde tasalikako musale yagambye nti, Mpiira amulinamu abaana babiri nga balenzi era akimanyidde ddala nti beddira mmamba era yamugaana okugirya.

      Wabula Mpiire aludde nga yebbirira n’agirya naye kati yamusanze ng’ali ku mudaala gw’e mmamba. Kaye yazze eka n’amulinda era olwakom-yewo n’amukuba mizibu bamulirwana be baataasizza.
      Bukedde
      Published on: Sunday, 10th August, 2008

      Nze eyali abuuza nti Salmagundi bye biki, naye ndabika nange nfunyeyo emboozi eye Kintabuli/Salmagundi. Kubanga gundi ono ddala omukazi atali Muganda era atamanyi bulombolombo bwa Baganda akuba waaki olwokufumba nokulya omuziro gwa bba, era ogwa baana be, omuziro gwenju yaabwe? Nze kyenva nenyonyolako nga atalya miziro ebiri, nga nninda okukuzibwa mbeere nga sirya esatu nga nfunye alitokosa. Alabika mwami gundi oyo banywaanyi be bebasanze mukazi we nebagamba, “Muka Kaye tumusanze ku mudaala nga alya emmamba, nga bwaawako nabaana be, Mubiru ne Nsubuga.” Ono kwekuswaala nayagala akolewo ekiraga obusajja. Ensi nzibu!

      #19328
      KulabakoKulabako
      Participant

        Nze ndowooza omwaami ono okugonjoola ensonga yandigambye mukazi we nti naawe omuziro ogweddira nolweekyo toteekwa kugulya

      Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
      • You must be logged in to reply to this topic.

      Comments are closed.