Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Wenyirize / Beauty › Nsangi,Nampiima,Kalibattanya;Ani asinga Obulungi?
- This topic has 4 voices and 3 replies.
-
AuthorPosts
-
November 20, 2008 at 9:16 am #18491
Sigamba Kaliba owaffe owa wano, ngamba ku oli Kalibattanya womu luyimba. Bagamba mu luyimba nti ye muwala eyali asinze okulungiwa mu Buganda. Mbu obusoro nebuzanyira gyaliira, mbu ebinyonyi nga bibukiira gyanyweera. Omwezi mbu gwegomba okumulaba ate ngane njuba yesima okuba naye. Newalyoka wajja ezzike eryamugamba mbu, “Njagala nkutwaale ewaffe, nkuyiggirenga obusolo, nkufumbirenga obunyonyi, nga buli kyoyooya nga ndeeta.” Mbu naye Omulungi tayagalika.
Ye Nampiima bamuyimba nti nga obulungi bwe butegaanya, ebisolo byonna byaggwaayo nga bijja bisaba okumuwasa. Abami bonna nebaggwaayo nabokumitala egyewala. Naye alina munne gweyali ayagala gwennerabidde erinnya gweyali alinda, kubanga bano abalala yabatumiranga mbu “genda omugambe agende, nti era munno takwagala, (simanyi) yeyagalira Lukebera omulangira owe ttendo”(Or something)
Ate ye Nsangi nyina yamukweeka nokumukweeka nga obulungi bwe buli wala, namusibira mu kayumba ku ttale gyeyamutwaliranga emmeere. Laba ezzike bwerigenda limunoonyayo nga lyagala omukulya. Maama wa Nsangi amale ayite ebe kyaalo basimbye amazike olukalala nga bagafukuula embuto, “be fukufukufuku nga temuli Nsangi.”
Gwe olaba ku bonna ani yali asinga obulungi era lwaki?
November 20, 2008 at 5:24 pm #20559Banange bulungi nnabaki buno obukyuusa ne munye zebisolo nebasanga nga Nsangi, Nampiima oba Kalibattanya bebasanira mu bisu oba muttale lyaabwe .
Bateekwa okuba nga bonna baali mazzi mawanvuOkujjako nze ngamba nti ssewazzike ye ayagala kujjawo competion zonna bwazikwaata nazifumbira Kaliba asobole okumutengula omutima naye kati bwe banamuletera akanyonyi ku mugogo gwekitooke kuba tebaalina sowaani then olwo najjukira enyonza eyamuyimbira okumutwaala , ye olwo bwebanamu yiggira kamuje najjukira engeri gyeyamutengedde ekikira nga musikiriza asobole ye okumulyaawo number , awo waliwo obuzibu naye kanyongere okwetegereza
November 21, 2008 at 2:37 pm #20592Obutonde bwonna bwebukukubiramu nga omanya nti wamma ometa. Bonna baali bawala balungi ddala. Sirowoza nti baliwo mu kisera kye kimu. Kale nze bwewandimpaddeko omu, mu biseera ebyo ebyenjawulo nandibadde mumativu. Bonna mbawanguza.
December 3, 2008 at 8:24 am #20788Ku bona aluwa yali asingokugaba amapenzi? Oyo nze gwenondako.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.