OBULUMI OBULI MU KKUBA ESSIMU ZEEKA

  • This topic has 4 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #17587
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


      Oyinza okulowooza nti nga bwetukola ku mawanga mubulumi mubizibu enkuyanja ngo gaseeko oluusi ku bunkeenke nti twandisobodde, okusigazaayo atleast okwogera nabantu baffe mu ddembe ngojjeeko nti gavumenti eno eriko tugifujjiridde busente bwonna bwetulina nebwetwewoze okubuzza mu nsi yaboobwe.

      Nandibadde nti abantu baffe tebalina kye babuganyudwaamu kuba bwotandika okubalirira buli kimu ekiri ku buwanana . Kati nebatakoma awo wokka nebalyooka babulwa emirimu nebadda mukutawaanya abantu nga bagezaako okwogera nenganda zaabwe, era bwooba webatakkiriza maloboozi tosobola kukuba ssimu ka, kuba owowoggana akasolya nokakulako ate buli kiseera nga bagisalako .

      Kati kino njagala kukibuuza M7 gwe bwewali ogoba abaali mubuyinza wasiibanga kumasimu ngo teesa nga bwono mujjako ? mbadde ngamba nti mwe kennyini mwaali muzi gavumenti ezo zemwajjako, singa mukifo kyokutataganya abantu abakomyaawo ssente munsi gyofuga nga ne bofuga tolina kyobakolera , ofuna emirimu egyokuwa abo bosaawo okuwuliriza nokutataganya abakuba amasimu eka .

      ABANTU BAFFE BATUFIRAKO KU MAWANGA NAYE WOMALIRAYO OKUBULIRA ABATEEKWA OKUKOLA KU BYOKUZZA BANAMMWE NGA BULI KISEERA ESSIMU BAZISALA MBU BAWULIRIZA .

      Kati gano nkuwa ga buwa mukifo kyokwongera okwe kyaaya naabo bonna abakuviira naye nebasigala nga bakyakomyaawo ssente mu nsi yaabwwe , tunulako ku bakuli awo okumpi kuba awo akaliro wekajja okuva nekirala Mukama agenda okukutoora mu buyinza taliiko ssimu gyagenda kukuba nolweekyo abantu bo abo, bawe emirimu emirala oba baddeyo bagira balunda kunte zaabwe.

      Oliko abalabe bangi abakwetolodde tebajja kuyita mu masimu nolweekyo mulekeraawo okutawaanya abantu mbu muwuliriza amasimu TUBAKOOYE

      AWANGAALE SSABASAJJA WAFFE KABAKA MUWENDA MUTEBI NANTAWETWA

      #22336
      KalibattanyaKalibattanya
      Participant

        1. Anti oba ogikuba neteyitamu
        2. Eyinza okuyitamu nga tewali awulira munne
        3. Oba owulira oli natawulira
        4. Oba awulira ggwe nga towulira
        5. Oba muwulira abalala nga bogera beebuuza kiki kyemwogerako
        6. Oba mwogera nga buli kiseera line ekutuka
        Oba mubivaako.

        #22541
        EfulansiEfulansi
        Participant

          Ate mbu sabiiti eyise Kareyihura akulira police yalangirira nti bagenda kutandika kuwuliriza masimu mbu kubanga abantu bangi bagakozesa okukola ebimenya amateeka.Gyooba nti babadde tebagawuliliza bulijo. Anyway kati obu number mubusome mufulo. Bemuwereza sente aba westerner tebabasokayo ku western union.

          #22557
          NdibassaNdibassa
          Participant

            Bwokuba essimu yeeka oba wetaaga nomuvvunuzi in case ngoyagala okubanguyiriza omulimu gwaabwe omukulu gwebakola ogwokuwuliririza amasimu agatali gaabwe ate agatabakwatako .

            Oba olina okubuuza lulimi ki lwawulira obulungi naye nomuvvununira aleme kukusazaamu buli kiseeera nti kiki kyotegeeza nomala kwegamba essimu eyandibadde eddakiika ekkumi osasula ya abiri eyekkumi yakunnyonnyora
            Ba Eavedrop-Pipping -Tom nendala zonoyogera nenganda zo

            #22693
            OmumbejjaOmumbejja
            Participant

              Adwadwalikanye lwa Gavumenti kutongoza tteeka erirumika amasimu
              Wednesday, 18 March 2009 21:15

              ahullo.jpg

              MU kusooka Museveni ye yayitibwanga ‘Aduuyi’, ekyaddako n’emiswaki egisenya amannyo nagyo ne giyitibwa ‘Aduuyi, era ebintu byagenda okukkakkana nga buli kyonna ekyekengeerwa kibeera ‘Aduuyi!’

              Ebyo bye byali ebiseera Museveni n’abayeekera be we baabeerera mu bibira by’e Luweero nga balwanyisa gavumenti ya Obote. Gavumenti baagirimba nti mu miswaki Museveni mw’ayisa eddogo lye ery’akawugulalo eryawugulazanga amagye ga Obote ne bagafuntula awo nno ke baakwazanga ne bakusanga n’omuswaki ng’olwo olu ‘Aduuyi!’

              Kyokka kuno kwonna kwalinga kutya buti, Museveni tabeeranga na ‘Aduuyi’ alungibwa mu miswaki wabula gavumenti yagitumpula n’agibuguyaliza ne mu kukkiriza nti ne mu buwuka bumunyeera namwo Museveni asindikiramu ‘aduuyi’.
              Guli gwali mulembe gwa Abote, naye ekyewuunyisa kwe kuba nti ne mu mulembe guno ogwa Museveni era ‘aduuyi’ akyakankanya Gavumenti.

              Munnabyabufuzi Bidandi Ssali aludde ennyo mu byobufuzi bya wano bwe yabadde avumirira etteeka eriwa Gavumenti ebbeetu ery’okuwuliriza amasimu g’abantu, yagambye nti kati Gavumenti evudde mu kutya n’etuuka n’okutya bussemufu wamu n’okutya ebisiikirize by’abantu n’eby’emiti.

              Okuwuliriza amasimu g’abantu era n’okusumulula ebitereke ebiyita mu posita si kye kiggye kibeewo mui ggwanga lino. Gavumenti ezitassa kitiibwa mu ddembe ly’obuntu zibadde zikikola mu bubba. Kati enjawulo eriwo eri nti Gavumenti eyagala n’olukiiko lw’eggwanga lwetabe mu kutongoza ekintu kino eky’okulumika enzigi wamu n’okuwuliriza emboozi z’abantu ekirinnyirira eddembe ly’ebyama by’abantu.

              Kyokka nga gavumenti ya Obote bwe yasuubira nti buli atambula n’omuswaki ateekwa kubonereza kubanga aba ‘aduuyi’ wa Museveni, ne gavumenti ya Museveni bw’eneegujubanira okulumika emboozi z’abantu ejja kuwuliriramu ne kafankunaaye ate ajja okwongera obwongezi okugitabulira emirembe gyayo.

              Abantu bajja kwogerera ebikankana ku masimu nga kye bagenderera kukankanya Gavumenti, era bajja kwogera ne ku nkwe ezitegekeddwa okusuula Gavumenti sso nga teziriiyo kyokka yo Gavumenti etandike okusattira n’okudda mu kutya ebisiikirize byayo nga Bidandi Ssali bwe yagambye.

              Nga Gavumenti etuuse mu ssa lino owlo tunaaba tusigalidde kudwadwalikana budwadwalikanyi. Tujja kudwadwalina kubanga ensimbi ezaalyeyambisiddwa mu kukola ku bintu eby’omugaso ate zijja kuba nga zisaasaanyizibwa ku kuwuliriza n’okukombooza eng’ambo ez’okwongera okutabula eggwanga.

              Era wo wennyini Ddwaddwaddwa Mumansa we nkikinalira okubuuza nti kigasa ki Gavumenti okumala okututamya Radio katwe eng’ambo kwe zaafunirwanga ku bwereere nga tewali kisasuddwa, ate kati Gavumenti esaasaanye obuwumbi n’obuwumbi bw’ensimbi ng’ekombooza eng’ambo ez’okulumika enzigi n’okuwuliriza amasimu g’abantu? Kiki ennyo Gavumenti ekigituusizza awo?

            Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
            • You must be logged in to reply to this topic.

            Comments are closed.