Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Wenyirize / Beauty › OBWAGAZI MU DDAGALA EGANDA
- This topic has 4 voices and 5 replies.
-
AuthorPosts
-
November 8, 2008 at 2:03 am #18993
Bwanda aleeta obwagazi mu bakazi
WALIWO abakazi ennaku zino abatuusa obutuusa omukolo okusinda omukwano naye ng’ekyagala kyafa.
Embeera eno okuggyegobako, funa katunkuma omubisi, musekule oluvannyuma mutabule mu mazzi. Amazzi gano gonaaba wamberi buli lw’oba ogenda okusisinkana omusajja.
Mu ngeri y’emu funa bwanda, muyenge, sengejja n’oluvannyuma munaabe downstairs . Mu bbanga ttono ojja kufuna enjawulo.
November 8, 2008 at 2:14 am #20323Wano abadde agula katunkuma kiro emu eyo kufumba enva, atuuse kugula bbiri eyo mwaami okumeketako nga mubisi ne half eyo mukyaala okunabako , leero mwenna mujje nga musaza busaza muli kabiriiti.
Naye nze banange mpozzi nga katunkuma owokunaaba naye nga bwakaawa mukamwa negindi eri yo tabalagala yo oba wakunaaba ngeeno bwotaddeko ne nduulu
kati olwo bwasanga nga naawe wafuuse dda mazzi mawanvu ebintu sikwekusituka ne byagala okutambulirawo , kati olwo okola otya? munno omugamba nti agende mu mazongoto aleme kuseguka okujjako akataala akali diimu ne kasoft music , kuba naye aba amaze okuwanga ngeeri mu giya nene jjukira katunkuma oli , leero nemubeera awo nga mwenna mukamirwa bina mulinze mukolo gwokka mulyooke muyisinganye ebyaalo , kasita tebakuwa ntobazzi
kyokka eyayiiya Oluganda kati atujjisa kkugunyu limu.Ninze abakiise mujje muleete ku biteeso byammwe
November 8, 2008 at 5:20 am #20332Anti kati abakyaala batuuse abaana okubassa katunkuma nga yagala ye nomwaami bekoleko nenzijukira bwebatuletela ensawo yebinyeebwa nga nkyaali muto netubisiikako netugabako naye nga tebirina gye biraga nge kitukoza ebyo kukoowa kubisusa nakubisekula netujulirila wakiri bigweewo.
ono tatubulidde oba bwooba tolina katunkuma, entula ennene zo tezikola kuba yo wabweeru gyeziri tetuba nga tuyita ku kyobugagga nga tukibuusa amaaso
Kati katunkuma ye Viagra Omuganda? awo tetugenze bubi oba omulondo gwegukyatutte erinnya lya viagra .November 8, 2008 at 9:26 am #20341Oba omwaami asobola okugula katunkuma nakomawo eka nga tewali nva nakubuuza nti ate katunkuma gweyaguze nomugamba nti njakukulaga gyenamutadde
November 9, 2008 at 1:30 am #20355Ebyokumulaga enva gyewazitadde oba gyewazinaabye obyogera omaze okumuterako ekyemisana ngo fumbiddeko doodo oba ? kuba toyinza kujja ngowomerera nammere nnuma nokakasa munno nti lumonde mufumbiddeko kyaayi katunkuma nabadde nina okumwewereba manyanga okumunaaba ha! banange kiri ekigambo tekyogerekeka kikulagira ddala ekifanayi ngooli ddala ali mukaseera ako yeteeka obusimu mumubiri .
Nga tudda munsonga eno era ateekwa kuba nga gwoyogera naye wakisa kuba ddala namala anywa chaai nelumonde oba muwogo gwomuletedde mbu olwokuba enva ozikozese kubyo mukwaano ,nomala ovaayo nga tewali kikyuuseewo era omala
galimba nokwongeramu obukaba.
Nomala nodda ebbali nofuguma mpola nti katunkuma wange nayonoonye wabwereere.November 9, 2008 at 8:22 pm #20367Oluusi ekijjawo obwetaavu kibera ku bulamu nga bulina ekitagenda bulungi. Kale nga tonnakaka sooka olabe omusawo wo. Ekizibu kiyinza nokuva ku Psychology, nga waliwo okwelarikirira. Abasajja nga tetulina sente, oba nga ebyenfuna bizzemu obuzibu, naddala abakola gumbling, nabakola mu stock exchange, bayinza okufuna obuzibu obwo.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.