Okwaalula Abalongo Mu Kacwa Kano

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Kasaaga Musaazi / Jokers Jottings Okwaalula Abalongo Mu Kacwa Kano

  • This topic has 2 voices and 3 replies.
Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • Author
    Posts
  • #18750
    MulongoMulongo
    Participant

      Abaganda edda nga omuntu bwawemula ngsa bamusiba mu kkomera emyeezi mukaaga. Era nga okuwemula tekukkirizibwa nakamu. Naye nga oluaku lwebaweebwa abantu okwemala eggoga, lwelunaku lwokumala abalongo. Kale nga wano buli muntu alina okuwemula okwemalako abalongo. Ndowooza ekyo bakikola ate ebigambo byaabwe bireme kwerabirwa. Naye njagala okubanyumiza ekyansesa, be balongo bennalaba nga bazalibbwa mu kacwa kano, mu Baganda abasomye ebe kitiibwa, ate nga bakkiriza, naye nga bakkiririza mu buwangwa. Kati nebatuuka okumala abalongo baabwe, family nekungaana. Kati kyongereko nti kuliko ne ba muva bweeru abawera, abasawo abakulu ne ba directors ba companies. Omukulu Senga nalangirira, bannange muyimbe muwemule, mwemaleko abalongo. Omukyala omu omusawo naddamu nze nawemudde dda! Abo bebatannawemula. Nalyooka ayogerayo akagambo akalala kamu mu mwanguka ate nga mangu, nga akutte neku mumwa, waleme kubawo amanya wwa wekavudde. Ssebo si byangu. Abavubuka wali nga bafa enseko.

      #20707
      OmumbejjaOmumbejja
      Participant

        Nze banange simanyi kyenandisazeewo kukola kyaali kikkirizibwa wakiri nomala okwekaliga enkangali ebigambo nebivaayo byokka enkeera noba nga tokyabijjukira
        ate ndowooza nandibasabye etaala nabagyongerako wala ate nga ya dim . Ate nga ntaddeko ne shades mu kasonda jembeera nga nekweese mumugongo gwomulala

        #20712
        MulongoMulongo
        Participant

          Kwo okuba kuba akafaananyi nga kiyinza okubeera ekizibu. Ate mbu bagamba mbu buli omu alina okuwemula abemaleko. Akaama tekakola? Mbeera nnina kuleekana nga nabakulu bonna balaba nabaana?

          #20719
          OmumbejjaOmumbejja
          Participant

            Kati koleseeyo nti ke kokuzina ngoli bukunya munda mbu nga mwekonaganako ne Sezaala wano wabeewo ataasa kino kituufu era bwebaba bayimba nti “weyere Nalongo weyere akeeyo Nalongo weyisaayo akeeyo” baba bakakwerera ddala eri ? banange muddukirire obwongo obwagala okuyiga ebyobuwangwa bwaffe.

            JONA jangu olage obumanyirivu ku nsonga eno nabaami abalala mwenna nga Ssengooba , Musajja ,ne wb master kino kimuzingiramu nkakasa nti omukolo gwalingako nabaami mwe mukimanyiiko ki.
            Temukubawo abalongo nga nammwe ebintu temubimanyi

          Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
          • You must be logged in to reply to this topic.

          Comments are closed.