OLWALEERO ZIMBABWE ENKYA UGANDA

  • This topic has 1 voice and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #17039
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

      Tugerageranye embeera eziriwo mu nsi zino ebbiri , abafuzi bombi baganidde mu ntebe, bonna bekunganyizaako ebyobugagga ,banyini nsi bafa enjala endwaadde , nobwaavu.Abafuzi bombi bagaana okussa mubifo abantu ababisobola okubiddukanya nebabijjuzaamu abako ab’oluganda n’abemikwaano,
      Abafuzi bombi mukifo kyokuteesa obulungi nabantu oba bebatafanya oba bebatakkiriziganya mu ndowooza babasindikira magye kubakuba kibooko , tear gas nobutayimbwa oba okubatta mu ngeri endala .

      Ekintu kimu kyeberabira nti omweeru tayagala looser era kasita akulaba ngo pondose asooka nakutemyaako nti oba wandivuddeko , ye tebimukwatako oba gwe gweyatumanga okumukolera emirimu gye emijama, jjukira buli kyomukolerera nga kissa mu buwandiike ate ye tasaako nti yakutumye nga gu failo gwo gugejja mpola mpola era ogwo gwegumu ku gu fayilo gwe baggukirako okuggulako emisango .

      Abantu be Zimbabwe baalina munaabwe owekisa eyabalumirwa nabagamba nti banange mujje munguudo tulage obutali busanyufu nga bamutunulira kyamuli kyaalwa ddaaki musajja wattu nabavaako oba kabe kasinge bamusirisa for good , kati zikomyeewo okunywa amalwaliro masibe , amasomero masibe ,sewage, zonna ziri wabweeru . Kati ekya sizaako ka cheri ku cake waggulu kwekuba nti ababadde bakyafuna ku bussente abamagye kwe kugenda mu bank ne basiibayo , nebakabatema nti teri ssente baddeyo enkya awo! .
      Nabo nebava mu mbeera nebayita abantu babegatteko mu nguudo nebatwaala buli kebakutteko engalo.

      Abantu mungeri eno baba babulako kantu katono obusungu bwebalina okwabika, mu Buganda ffe tetubanga nabulombolombo bwooka bantu naye kati okuba nti gwe bakwaatako bookya mwokye ekyo kitiisa. Era nga bwekiri e Zimbabwe nti kati oli takyesaaza kubba muntu, kuba abantu obusungu bwebalina ate omubbeko nekasigazza awo oba okkola ekiraamo kyo.

      Nolweekyo M7 jjukira ofuga baavu, bayala, balwadde, basunguwavu abatakyalina kebafiirwa wadde biri ebye Kiganda nti banandaba batya kati otudde ku kizimba kyengedde. Oyinza okusindika abasirikale bonna bolina okutta abantu gwe osigale mu ntebe naye okujjako ngo nosindika balaalo boyiye mu Buganda ate nga nabo bakimanye nti toyinza kuyingira nsi yamuntu nge kikuleese kutta baayo , ekitali ekyo abasirikale bonosindika okutta bana Uganda banaabwe nabo bajjukire nti mujja kugenderamu abaabwe no lwekyo na basirikare nabo balabulwa nti bajja kusasula obutemu bwebakola kati oba baagala bebuuze ku ba Nubbi kiri ekya batukako byaali biwero guno ogujja gwemuliro. Ne ninkini kati ebala tick,tock…………………..

      NO WAY OUT

      #20889
      OmumbejjaOmumbejja
      Participant

        Wano waliwo okuwonga bweguba ngo mugaati gukwetagisa okugenda mu Bank buli lunaku nolumala mu line, ngo kumalayo ezigula omugaati ogumu kikwetagisa butagenda kukola nogendanga ku bank okumala emyeezi ebiri.

        Kati ekyebuzibwa ogwo mugaati muba mugenda kugulya bameka? kati olwo ezigula emmere emala amaka oba ezipangisa ennyumba ?, waliwo ebintu ebiri just funny okubirowoozaako, naye nga ababirimu ndowooza bo tebabisanga nti biri funny
        eno embeera kizibu oli okugikunyumiza nokkiriza.

      Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
      • You must be logged in to reply to this topic.

      Comments are closed.