Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Ebyemizannyo / Sports › Omupiira gwe bika
- This topic has 6 voices and 28 replies.
-
AuthorPosts
-
August 1, 2008 at 4:59 pm #19142
Ennyonyi – Kkobe
Endiga – Ngeye
Ngabi – MpindiENGABI n’Empindi ezaazannya fayinolo y’ebika by’Abaganda omwaka oguwedde, zisisinkaye ku ‘quarter’ ku Mmande e Wankulukuku. Ate Engeye okuyitamu okugwa ku Ndiga, yamaze kukuba Ffumbe ggoolo 2-1 ku Lwokusatu e Nakivubo. Engabo okugabanibwa abagudde amaliri ku fayinolo, kyadibiziddwa.
Bukedde
Published on: Thursday, 31st July, 2008August 11, 2008 at 12:22 pm #19323Endiga ekubye Engabi
Bya Lwanga Kamere
Ngabi 2 Ndiga 3
Kkobe 1 Nkima 0
Leero: Nkima – Kkobe, 10:00
Enkya: Ndiga – Ngabi, 10:00ABALINA engabo y’emipiira gy’ebika by’Abaganda eggulo baatunulidde eminwe e Nakivubo Endiga bwe yabateebye ggoolo bbiri mu ddakiika ssatu ezisembayo n’ebawangula ggoolo 3-2.
Gwabadde mupiira gwa lusamba lusooka olwa ‘semi’ z’ebika nga kati Endiga yeetaaga kuwangula 2-0 enkya etuuke ku fayinolo.
Joseph Bukenya ye yateebedde Engabi ggoolo zombi ate Geoffrey Sserunkuuma, Simon Sserunkuuma ne Moses Ssekasamba eyasinzidde mu makkati g’ekisaawe.
Olwaleero, Ekkobe eryaggulawo empaka zino n’okuwandulamu Olugave mu peneti, lidding’anye n’Enkima nga lyeetaaga kulemaga kwokka lituuke ku fayinolo.
Oluzannya olwasoose ku Lwomukaaga, Ekkobe lyawangudde 1-0 era nga lirwana kutuuka ku fayinolo omulundi ogusooka bukya mipiira gino gizzibwawo mu 1987.
Published on: Sunday, 10th August, 2008
October 16, 2008 at 9:49 pm #19962Asiimye Kabaka
OMUSOSODOOTI mu kigo kya Yezu Kabaka mu Kampala, Fr. Joseph Mugambe asiimye Kaba-ka okutojjeza empaka z’emipiira gy’ebika n’Amasaza n’agamba nti zaakuyamba okutumbula ttalanta mu bavubuka.
Yabadde mu mmisa y’okwebaza Omutonzi olwa ttiimu y’Essaza lya Kyaddondo okuwangula eya Ggomba ggoolo 2-1 n’etwala ekikopo ky’omwaka guno. Ab’e Kyaddondo baakulembeddwa-mu Owessaza Kaggo Tofiri Malokweza n’akulira ttiimu ya Kyaddondo, Frank Kyazze.
bukeddeOctober 16, 2008 at 9:58 pm #19963Akulira ebye mizannyo e Mengo twandikusabye nokozesa akakisa kano okukunga abanabaffe Abaganda abayolebwa ku bu Bangali mu makubo abatayaaya nebafuna we bakunganira okukola ebyemizannyo ebitali bimu, eno munsi zabeeru wabaayo abantu abawaayo obusaawa bwaabwe katugambe nga ku lwomukaga nebatendeka abaana bano nga baviira ddala ku baana abato
Ate ekirala bwe bakungaana ofunamu abaana nebatwaala obuvunanyizibwa okukulembera banaabwe , ngeeno era ye twalibwa akakisa kokubulirira abavubuka akabi akali mu kunywa ebiragala nokubakomyaawo mu nkuza yaffe eweesa ekitiibwa ,
Oyinza okusangamu abaana abalina talanta zaabwe ngooli tasamba kapiira naye nga wewenyuka emisinde oba ekintu ekirala
Tulina okukumakuma emiti gyaffe emito nga sitaani tanagitumalako.April 15, 2009 at 3:10 am #23006MWAAMI SSEMAKULA TWANDIKUSABYE OTUNULE NE MUKIROWOOZO EKYALETEBWA WANO OKUFUNIRA ABAANA ABATALINA MWASIRIZI ABAGANDA AWO KUSISINKANA NEBASOBOLA OKUKOLERAWO EBINTU EBITALI BIMU NGO KUDDUKA OKUSAMBA EMIPIIRA OBA EBINTU EBIRALA EBIBIFANANAKO EBYEMIZANNYO ATE MWAABO NOLONDAMU ABAKULU BAKULIRE BANAABWE KASITA OMWAANA OMUWA OBUVUNANYIZIBWA NABADDE OMULALU ATEEKA
ATE MU ABO OYINZA OKUSANGA ABALINA EKITONE KYAABWE NGA MU KINO KYA KUSABA BAZIRA KISA ABAGANDA ABASOBOLA OKWEFIRIZAAYO AKASAAWA OKUTUKUNGANYIZA ABAANA BAFFE ABAYONONEKA NOKUGWAAMU ESUUBI NTI BALI MUNSI YAABWE NAYE BERABIRWA DDA.
TUNASANYUKA NGO KIROWOZEZAAKO. MU AMERICA ABAANA ABADDUGAVU ABASOOKA OKWESAMBWA, BANAABWE ABAYISEEMU BATANDISE OKUKOMAWO OKUBAGGULIRAWO EBIFO OKUBAWA NABO ABASIGADDE EMABEGA NABO OKUFUNA OMUKISA OKUBAAKO KYEBAKOLA OKUSINGA OKUNYWA ENJAGA NOKWETABA MU MIZE EMIBI.
Abakubirizza ku mipiira gy’Ebika
Tuesday, 14 April 2009 15:24
MINISITA omubeezi ow’emizannyo e Mmengo, Herbert Ssemakula akubirizza abaddukanya amasomero bagunjeewo empaka z’omupiira gw’ebika kisobozese abayizi Abaga-nda okutumbula talanta zaabwe wamu n’okubasigamu omutima ogwagala ebika byabwe.
Bino yabyogedde akwasa abayizi abeddira Emmamba ekikopo oluvannyuma lw’okuwangula ab’effumbe ku ggoolo 4-3 mu mpaka ezabumbujjidde ku ssomero lino.Ku mukolo gwe gumu Minisita Ssemakula yakwasizza ab’ennyumba ya Luwangula Engabo oluvannyuma lw’okuwangula bannaabwe ab’ennyumba eya Africa, Kakungulu ne Agakhan mu mpaka z’okuyimba okuwaata, okuzina, okutontoma n’okusoma bwiino ku bubonero 224.
Luwangula baafunye obubonero 224. Omukulu w’essomero Haji Ibrahim Matovu yategeezezza Minisita nti ekigendererwa ky’empaka zino kwe kuzimba omwoyo gwa ‘Nkobazambogo’ mu bayizi wamu n’okutumbula obuwangwa n’ennono.
Written by Bya Robert Masengere
May 3, 2009 at 6:18 am #23266Abekkobe banattunka ne Mawokota
Bya Lwanga Kamere
TTIIMU y’Ekkobe, erina engabo y’omupiira ey’ebika by’Abaganda, egitwala kugyanjulira mukulu wa kika (Namwama) n’oluvannyuma ettunke n’ey’essaza lya Mawokota mu mupiira ogutegekeddwa e Buwama nga May 16.
Omuwandiisi wa ttiimu y’Ekkobe, Hajji Abdul Nsereko, yategeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza nga April 28 nti omupiira guno gwakubaawo oluvannyuma lw’okwabya olumbe lwa Namwama Kayongo, eyafa mu 2007.
Minisita w’ebyemizannyo e Mmengo, Herbert Ssemakula y’ayitiddwa ng’omugenyi omukulu ate Muhammed Nsereko y’ataddewo ekikopo.
Ekkobe lyawangula Endiga ggoolo 1-0 ku fayinolo e Nakivubo omwaka oguwedde.
Published on: Saturday, 2nd May, 2009
July 8, 2009 at 3:34 am #24344Omusu gukubye Engo ne guwa Nabagereka essanyu
|
Bya LWANGA KAMERE
Tuesday, 07 July 2009 15:52NGA waakayita ennaku ssatu ng’Abalangira bawadde Kabaka essanyu, bwe baakubye Omutima 1-0,
Aboomusu nabo bakoze kye kimu eri Nabagereka.
Mu mipiira gy’ebika by’Abaganda, bazzukulu ba Muyingo (Aboomusu) baamezze aba Muteesaasira (Abengo) ggoolo 5-4 eza peneti oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggwaako nga bali 0-0.
Patrick Kalyango ye yakubye peneti mu ngalo mu kisaawe e Wankulukuku.
Omusu 0 (5) Ngo 0 (4)
Ensuma 2 (3) Embwa 2 (2)
Leero e Nakivubo:
Nakinsige – Nseenene, 10:00Enkya: Nnyange – Njovu, 10:00
July 10, 2009 at 6:53 am #24375Former Villa star ‘Fimbo’ Mukasa to feature for Ngo
James Ssekandi
Nakivubo
Today
Ngo v Ngabi NyungaFriday results
Mutima Kakeeto 3 Mpeewo 1Former SC Villa and Cranes top striker Andrew ‘Fimbo’ Mukasa will return to competitive football in the ongoing
Kobil-Bika bya’ Abaganda when Ngo play Ngabi Nyunga at Muteesa 11 stadium today.
Mukasa will lead Ngo who won the shield in 2001 when he inspired them with two goals against Mpologoma in the finals.
However, Nyunga will look to follow the other Ngabi (Nsamba) section.
Meanwhile, in a game played on Friday
Mutima Kakeeto eliminated Mpeewo with two second half goals to progress on a 3-1 score.
July 12, 2009 at 10:40 am #24402Abekkobe beeswanta
Bya David Williams Kibanga
TTIIMU y’Ekkobe, erina engabo y’empaka z’omupiira gw’ebika by’Abaganda, yeeyamye eri maneja waayo, Mark Kayongo, nti Embogo tegenda kubaggyamu enkya.
Bazzukulu ba Namwama bano, abatendekerwa e Lugogo, bawera nti kikafuuwe okukoma ku mupiira ogumu.
Ekkobe lyakuba Endiga 1-0 okutwala engabo mu 2008.
Published on: Saturday, 11th July, 2009
July 12, 2009 at 11:15 am #24403unday Sport | July 12, 2009
Unpredictable Nkima face Njobe in Bika football
James Ssekandi
Kampala
Today
Nkima v NjobeMasaza Cup Today
Butambala v Busujju
Mawokota v Busiro
Ssingo v Kyaddondo
Gomba v Kyaggwe
Kkooki v Buddu
Friday result
Nte 2-0 Ng’onge
Two-time Bika winners Nkima face Njobe at Wankulukuku stadium this evening. Bunamwaya’s trio of Derrick Walulya, Edward Ssali and Fred Kiggundu will lead the 1962 and 1993 winners as they look to rekindle lost glory against a Njobe.
On Friday, Nte defeated Ng’onge.
July 14, 2009 at 7:57 pm #24433Embogo efukamizza Abekkobe
Monday, 13 July 2009
GGOOLO ya David Nyanzi mu ddakiika eyokutaano yafukamizza bakyampiyomi b’emipiira gy’Ebika bya Buganda Abekkobe mu mupiira ogwasoose ogw’oluzannya olwokubiri.Wabula Ekkobe lirina omukisa okwenunula nga baddi-ng’anye ku Lwokubiri olujja. Leero Endiga, eyakubwa Ekk-obe ku fayinolo eri n’Ensuma.
Embogo 1 Ekkobe 0
Leero: Endiga n’EnsumaJuly 15, 2009 at 1:00 am #24445Endiga ewangudde Ensuma
Bya LWANGA KAMERE
Tuesday, 14 July 2009 16:49DANIEL ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma, azannyira mu Express FC, eggulo yawadde Abendiga essanyu bwe yateebye ggoolo emu yokka kwe baawangulidde Ensuma mu kisaawe e Wankulukuku.
Yateebedde mu ddakiika ya 10 nga baakudding’ana ku Lwakusatu. Leero, Emmamba Gabunga ettunka n’Envuma e Nakivubo.
Nsuma 0 Ndiga 1
July 19, 2009 at 9:45 am #24517Ssentongo yayiribizza Engabi
Robert Ssentongo (ku kkono) ow’Enkima, yatadde abazibizi b’Engabi ku bunkenke okutuusa bwe yaleese ekkoona omwavudde ggoolo ey’ekyenkanyi. Baalemaganye 1-1 e Nakivubo ku Lwokutaano.
Bya Lwanga Kamere, David Williams Kibanga ne Barnabus Iga Matovu
Ssande e Wankulukuku:
Nte – Musu
Enkya e Nakivubo:
Balangira – FfumbeBAZZUKULU ba Katongole (Abente) n’aba Muyingo (Aboomusu) olwaleero bali butoola mu mpaka z’omupiira ez’ebika by’Abaganda e Wankulukuku.
Ebika byombi tebitwalanga ku ngabo kyokka nga ku mulundi guno buli kimu kiwera nti yaakyo.
Gerald ‘Obua’ Ssennyondo, eyeesimbawo ku bwassentebe bwa Lukaya n’awangulwa mu 2006, yagambye nti bagenda kutomera Omusu guddeyo mu nsiko gulye ebikajjo.
Ssennyondo, eyabadde ku mupiira gw’Enkima n’Engabi e Nakivubo ku Lwokutaano, yeewaanye nti ttiimu eyakuba Eng’onge 2-0 ku luzannya olusooka, teyinza butamegga Musu.
Aboomusu baagambye nti Nabagereka bw’anaabaawo, ajja kuzza mu ttiimu amaanyi.
July 20, 2009 at 9:01 am #24529Omusu n’Ente bagudde maliri
Bya LWANGA KAMERE
Sunday, 19 July 2009 13:44DAVID Mulumba ow’Omusu, yavudde ku katebe n’asirisa bazzukulu ba Katongole (Abente) bwe yabateebye ggoolo ne balemagana 1-1 mupiira gw’ebika ogwabadde e Wankulukuku eggulo.
Yateebye mu ddakiika eya 50 n’asazaamu eya Moses Lukyamuzi mu ya 45.
Badding’ana ku Mmande ejja ng’Ente yeetaaga kulemagana 0-0 eyitemu.
Musu 1 Nte 1
Leero e Nakivubo:
Ffumbe – Balangira
July 22, 2009 at 9:34 am #24542Close call as Bika football braces for second legs
Sports
Written by Charles Ssebugwawo
Sunday, 19 July 2009 17:21It’s crunch time in the Bika football championship this week as the second leg of the last sixteen gets underway to decide who will make it to the quarter-finals. Charles Sebugwawo selects a few intriguing ties;
Nsenene 2-0 Nnyonyi-NnyangeNsenene overwhelmed Nnyonyi-Nnyange in the first leg, but the truth is that this tie is far from over.
Nnyonyi-Nnyange are seasoned campaigners while Nsenene are a side on the rise. Hence Nnyonyi will no doubt count on their chances in this tie. The only frustration for Nsenene will be that this tie was not sealed in the first leg.Mamba-Gabunga 1-2 Nvuma
Despite their loss in the first leg, this tie is leaning much more in favour of Mamba-Gabunga after their first leg domination. However, Nvuma will take heart from the brilliant result they picked up under severe pressure from Mamba strikers.
Nsuma 0-1 NdigaThey say nothing is impossible but if Nsuma manage to turn this tie around it would be almost miraculous.
Ndiga put them to the sword in the first leg and should have scored more. So anything other than a Ndiga win seems highly unlikely. Besides, Ndiga are the inform team and have not lost before the quarter finals in the last five years. However, Nsuma will be desperate to bounce back, and there is no better opponent to prove themselves than the runaway favorites.
Kkobe 0-1 MbogoMbogo owe as much to the ineptitude of the Kkobe strikers as they do to their own forward David Nyanzi for the fact they are ahead in this tie. Defending champions Kkobe had plenty of opportunities to score despite the fact that Nyanzi had given Mbogo the lead as early as the 8th minute.
However, Kkobe will be pleased with the way they performed and the spirit they showed.
They might be down but they are strong in defense and that could be crucial in deciding the tie.
from observer -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.