Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Ebyemizannyo / Sports › Omupiira gwe bika
- This topic has 6 voices and 28 replies.
-
AuthorPosts
-
August 20, 2009 at 2:11 am #24870
Mbogo to face Ffumbe in Bika Cup final
James Ssekandi
Kampala
Friday result
Ndiga 1-1 Ffumbe (Ffumbe qualify on away goals rule)
Final, August 22Mbogo v Ffumbe
After two months of action, the final of this years’ Kobil sponsored Bika by’ Abaganda tournament will take place on August 22.
Ffumbe who qualified on Friday will take on Mbogo in the final.
On Friday, a Mathias Kisitu equalizer was enough to send Ffumbe though to the finals at the expense of last year’s losing finalists Ndiga, a clan that is yet to win a shield despite its undoubted talent of players.Ndiga, will be kicking themselves as they failed to kill-off the game despite a good display. They took the lead through Simon Sseruukuma but Ffumbe’s Kisitu netted the important goal.
Pride at stake for Ndiga
James Ssekandi
KampalaToday’s third place play-off
Ndiga v Nsenene
Final, Saturday
Mbogo v FfumbeThe onus will be on Ndiga to salvage some pride when they take on Nsenene today in the third place play-off of this year’s Kobil-Bika by’ Abaganda tournament at Nakivubo.
Ndiga will look to Super League stars Simon and Daniel Sseruukuma for inspiration.
from monitor
August 20, 2009 at 2:14 am #24871Nsenene defeat Ndiga to finish third
James Ssekandi
Kampala
Yesterday result
Nsenene 1 (5) (4) 1 Ndiga
Finals, September 5
Mbogo v Efumbe
Nsenene clan ended a remarkable campaign yesterday defeating Ndiga 5-4 in penalty shootouts at Nakivubo to finish third in this year’s Kobil-Bika by’ Abaganda tournament.
Abdul Kateete who scored for Ndiga in normal time became a vilain when he saw his spot kick hit the post to send Nsenene players in celebration, Steven Biwogi equalized for them in normal time.
Meanwhile, the final between Mbogo and Efumbe has been pushed to September 5.
August 31, 2009 at 2:13 am #24973Egy’ebika girimu ebirungo
Bya LWANGA KAMERE
Sunday, 30 August 2009 14:30
[Kabaka ng’aggulawo emipiira gy’ebika e Nakivubo.]
Kabaka ng’aggulawo emipiira gy’ebika e Nakivubo.
BUKYA emipiira gy’ebika giddamu mu 1987, guno gwe mulundi ogusoose ababaka ba Palamenti abava mu Buganda n’Abataka okwesamba empaka zino.
Ku mipiira 52 egizannyiddwa egisinga mbadde ngibeerako nga ntunuulira oba nga waliwo omubaka azze ku mupiira ogwo.
Kye nnasanzeeyo, kyantiisizza kubanga ng’oggyeeko ababaka obutazijjumbira, n’Abataka abaalabye emipiira gino kumpi nabo babalibwa ku ngalo sso ng’ekigendererwa kyagyo ekikulu kya kwongera kugatta Baganda na kunoonya nnono zaabwe basobole okukuza abaana baabwe mu mpisa ez’obuntubulamu, okumanyagana n’okwagalana wakati w’Abakulu b’ebika, Aboobusolya ne bazzukulu baabwe.
Wano ssentebe w’Abataka, Yinginiya Nakirembeka Waliggo, akyalina okusoomoozebwa okunnyikiza ensonga eno mu Bataka banne okuzijjumbira.
Omwaka oguwedde, ababaka okuli Erias Lukwago (Kampala Central), Latif Ssebaggala (Kawempe North), Ssebuliba Mutumba (Kawempe South), Kaddunabbi Lubega (Butambala) n’abalala abatonotono empaka zino tezaabasubanga ekiraze nti empaka zino zisuuliddwa muguluka.
Ku Lwomukaaga nga September 5, Kabaka Ronald Mutebi, ajja kuziggalawo ng’Effumbe lyabika n’Embogo e Nakivubo.
Akabbinkano kano kagenda kuba ka byafaayo kubanga mu 1987 nga ziddamu okutojjera, Embogo n’Effumbe, be basooka okukwata Ssaabasajja mu ngalo nga baziggulawo Effumbe ne liwangula ggoolo 2-1. Oba n’omwaka guno bwe linaakola nze naawe.Fred Kajoba, atendeka Effumbe agamba nti olukoba alusibidde ku bazannyi; Manko Kaweesa, Dan Walusimbi, Ismail Kigozi, Sam Sennoga, Nelly Ntege okulinoonyeza ggoolo nga baagala kuwangula Engabo eno omulundi ogwokubiri okuva lwe baaziwangula mu 2005.
omutendesi w’Embogo agamba nti ekiruubirirwa ky’okutuusa ttiimu ye ku fayinolo yakimala nga kati aluubirira kutwala Ngabo gye baakoma okuwangula mu 1950 lwe zaatandika ku mulembe gwa Ssekabaka Mutesa II. Akakiiko akaziddukanya akakulirwa John Ssebaana Kizito omwaka guno kaazongeddemu ebirungo.
Empaka zino ezibadde ez’okusirisizaawo mu myaka egiyise, zaakyusiddwaamu nga ezisooka bwe ziwandukamu ne zisigalamu 16 zizannya emipiira egy’okudding’ana sso ng’ebika 42 bye bivuganyizza.
Ng’oggyeeko ekyo, waliwo ebika ebiggya ng’Ababiito abizeetabyemu omulundi ogusoose. Guno gwe mulundi ogusoose okussaawo omupiira gw’okufunako akwata ekyokusatu.
Omwaka guno, tulina okusiima akakiiko akaddukanya empaka zino okulwanyisa abazannyisa ‘abacuba’ bwe baagobyemu Olugave olw’okuzannyisa Sulait Luyima ow’Ente ate ne bwe baddukidde mu lukiiko lw’Abataka nayo ne bagobwa.
Minisita w’emizannyo mu Bwakabaka bwa Buganda, Herbert Semakula, agamba nti empaka z’omwaka zibadde nnyuvu nnyo. Akubiriza Abaganda okujja mu bungi nga zifundikira ku Lwomukaaga.
September 6, 2009 at 1:21 am #25021Ffumbe crowned Bika champions
Kabaka Ronald Mutebi (left) handing over the shield to Ffumbe captain Abdu Ntege at Nakivubo stadium yesterday. Ffumbe beat Mbogo in the final of the annual competition
Bika finals
Soccer
Ffumbe 1 (6) Mbogo 1 (5)
Netball
Mmamba 39 Ngeye 37By Norman Katende
FFUMBE reclaimed the Bika soccer shield after shooting out Mbogo in the final watched by Kabaka Ronald Mutebi at Nakivubo yesterday.
Ffumbe, the 2005 champions, won 6-5 in the shoot-out after a 1-all stalemate in normal time of the match watched by a big crown.
The champions took the lead through Dan Walusimbi after a goal scramble in the first half.
But Mbogo did not lose hope and pinned their rivals with a passing display after the break.
Their efforts finally paid off when Fred Yawe dribbled his way upfront before being brought down in the box.
Henry Nyanzi stepped forward and converted a penalty that sent the game to penalties.Ahmed Ssekabila who brought down Yawe got marching orders from referee Ali Kalyango.
Kabaka Mutebi handed over the shield to Ffumbe captain Abdu Ntege as the clan members applauded.
At the same time, dominant side Mmamba edged Ngeye to lift the netball crown. Mmamba captain Florence Nansubuga picked the shield from Kabaka Mutebi.
September 7, 2009 at 12:36 am #25030ABAAMI ABAFUMBE MULUWA TUBAGWE MU KAFUBA BANANGE MUGIRA MUKULIKA
Effumbe libadde likaluba mu bika
EFFUMBE okutuuka ku fayinolo y’emipiira gy’ebika kwe battunkidde n’Embogo eggulo, tekubadde kunaanya kubanga bakubiddemu ttiimu ezitasiba zikweya. Muno mwe mubadde n’Emmamba Gabunga.
Wano James Mubiru Owemmamba (ku kkono) ng’azingizza Sam Ssenoga Oweffumbe mu mupiira ogwabadde mu kisaawe e Nakivubo. Okukkakkana ng’Effumbe limezze Emmamba ku ggoolo 2-0.
Published on: Saturday, 5th September, 2009
September 7, 2009 at 3:25 am #25033Empaka zitandise
Bya Lilian Nalubega
TTIIMU 14 zeewandiisizza okuvuganya mu mpaka z’ebika ezitegekeddwa ekitongole ky’ebyenjigiriza n’emizannyo mu ssaza ly’e Busujju.
Empaka zino zigenda kuggyibwako akawuuwo nga September 19 ku kisaawe e Kakindu ng’Abolugave battunka ne bazzukulu ba Kasujja Abengeye nga bawakanira ekikopo ne sseddume y’ente.
Zisasuliddwa City Sports House ne Morgan abakozi b’ebizigo okusinziira ku akulira ebyenjigiriza e Busujju Aloysius Kyeyune Kitikyamuwogo.
October 3, 2009 at 7:35 pm #25370BANAFFE ABATEGESI BE BINTU EBIKWATA KU BUGANDA, NABAGANDA TUBAYOZA YOZA , KUBANGA BINO BYE BIMU KU BITUKUUMA NGA TULI WAMU
MWEBALE NNYO OMULIMU GUNOE Nngonge n’Olugave be baggulawo empaka z’ebika
Bya Kalanzi Ivan
Ebika by’Abaganda 41 bye byakakasizza nga bwe bigenda okwetaba mu mpaka z’e bika by’Abaganda ez’omwaka guno,
era nga zino ze zigenda okubeera ez’omulundi ogwa 36 nga ziyinda.
Obululu obwakwatiddwa, bwalaze ng’ekika ky’e Nngonge kye kigenda okuggulawo n’Olugave, nga 24 Kasambula (July) 2010 mu kisaawe e Nakivubo.
Omwaka guno empaka zino za kusambibwa ne mu bisaawe ebirala 3,
nga kuno kuliko ekya Bukalasa e Woobulenzi,
eky’e Buyikwe wamu n’e ky’e Buwama, nga bino byayongeddwa ku kisaawe ky’e Nakivubone Muteesa II Wankulukuku, ng’ekigendererwa kya kumala mpaka zino mu budde.
Oluzannya oluddirira olusooka (preliminary round) lujja kusambibwa omulundi gumu, lwa kusirisizaawo,
wabula nga olusooka (first round) lwa kusambibwa awaka ne ku bugenyi.
Obululu obwakwatibwa bwalaga nti e Ndiga ejja kusamba n’e Kiwere
era nga anaawangula ku bano, wa kusamba n’ab’Obutiko mu luzannya olusooka.
Anaawangula wakati w’e Nsuma n’Omusu wa kukyaza ekika ky’e Nseenene.
Anaawangula wakati w’eNgabi eya Nsamba n’e Mbwa
wa kukyalira ab’Omutima omusaggi,
ate nga gwo ogunaasambibwa wakati w’Akayozi n’e Nvuma
gujja kusalawo anaasamba ekika ky’e Kkobe mu luzannya olusooka.
Anaawangula wakati w’e Nkima n’Akasimba
wa kusamba n’e Mpeewo ate nga anaayitawo ku kika ky’e Njovu n’e Mpindi
wa kukyaza Nte, mu luzannya olusooka.
Ekika ky’e Nkerebwe kijja kusamba n’Ababiito, era nga anaawangula ku bano wa kuttunka n’e kika ky’Omutima.
Ab’e Ngeye bajja kuggulawo n’e Mmamba Kakoboza era nga anaawangula ku bano, wa kukyalira Abalangira mu luzannya olusooka.
Bo bazzukulu ba Walusimbi ab’eFfumbe bajja kuggulawo
n’e kika ky’e Nkejje, era nga anaawangula ku bano wa kukyalira ekika ky’e Ngo.
Anaawangula wakati w’e Njaza n’e Nnyonyi e Ndiisa,
wa kuttunka n’e Nvubu ate yo e Njobe
ya kukyaza anaawangula wakati w’e Nngonge n’Olugave.
Bano bo baayitawo okuzannya oluzannya olusooka awatali kuyita mu kasengejja;
e nnyonyi Ennyange ekyaza Nkusu,
e Mpologoma ekyaza Kibe ate
aba Nakinsige ba kukyaza e Ngabi Enyunga.
June 11, 2010 at 10:50 am #26556Twesunze emipiira gino maama buli kika kirage obumanyirivu
mwebale nnyo abategesi kututegekera era twesunze bwemunaaba musobola okutukubira nekubifananyi , naffe tweyongere okwenyumiriza mu bika byaffeAWANGAALE CCUUCU LUKOMWA NANTAWETWA EMPOLOGOMA YA BUGANDA
July 12, 2010 at 9:39 pm #26729Mmamba Gabunga ewangudde
FARIDAH BONGOLE
Ekika ky’emmamba Gabunga kyawangudde empaka z’omwaka guno ez’ebika by’Abaganda mu bikonde n’obubonero 24.
Engeye ye yabaddiridde n’obubonero 21ate engabi n’ekwata ekyokusatu n’obubonero 13.
Ekika ky’ekkobe kyamalidde mu kifo kyakuna n’obubonero 11.
Empaka zino nga ze zaabadde ez’omulundi ogwekkumi, zaakulungudde ebbanga lya wiiki mu kibangirizi e Nsambya era zeetabiddwamu ebika 18.Kampuni ya yinsuwa eya SWICO wamu n’eya Roofings Limited ze zaasasulidde ebikonde bino.
Ng’akwasa abawanguzi engabo, minisita omubeezi ow’ebyemizannyo mu bwakabaka bwa Buganda, Owek. Herbert Ssemakula yennyamidde olwebika ebizannyisa abacuba mu mpaka zino, kye yagambye nti kiremesa okutuukiriza ekigendererwa kyazo ekyokutumbula ebitone naddala mu Buganda.
“Temwetantala kuzannyisa bacuba mu mpaka zino. Zirina kwetabwamu Baganda bokka wabula tugenda kutandikawo n’ezaamasaza, abantu bonna basobole okuzeetabamu,” Owek. Ssemakula bwe yategeezezza.Minisita era yasabye akakiiko akakulira ebyemizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports (NCS) okugonjoola endooliito eziri mu bikonde ze yagambye nti ziziŋŋamizza nnyo omuzannyo.
Omwogezi w’akakiiko akategeka empaka zino, Hajji Juma Nsubuga naye yennyamidde olwenkaayana ezeeyongedde mu kibiina ekifuga omuzannyo guno ekya Uganda Amateur Boxing Federation (UABF) ze yagambye nti zaabalemesa n’okutegeka empaka omwaka oguwedde.
‘Enkaayana bwe zibeera mu kibiina ekifuzi ate zikosa ffe eno wansi kubanga tuba tetusobola kutegeka mpaka zonna olwobugulumbo mu bakulu’, Hajji Nsubuga bwe yeemulugunyizza.
Empaka nga bwe
zaawedde
mu buboneroMmamba Gabunga- 24
Ngeye- 21 Ngabi- 13
Kkobe- 11 Mpeewo- 10
Ffumbe- 10 Lugave-7
Nkima- 5 Nkerebwe-5
Ngo- 4 Ndiga- 2
Nte- 2 Mpologoma- 3
Nvuma- 0 Nnyonyi- 0
Mbogo- 0 Nvubu-0
Ŋŋonge – 0
July 23, 2010 at 7:15 am #26813Lugave v Ŋŋonge
Egyebika gitandika nkya e Nakivubo
Buli kika kiwera kusitukira mu ngaboFARIDAH BONGOLE
Empaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda 2010 zengedde era za kuggyibwako akawuuwo olunaku lw’enkya (24/7/2010) mu kisaawe e Nakivubo.Omupiira oguggulawo guli wakati w’olugave n’eŋŋonge era gusuubirwa okubaako n’obugombe anti ne Nannyinimu, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II wa kugwota buliro.
Omukolo okutambula obukwakku, ebyokwerinda binywezeddwa okwetooloola ekisaawe kyonna.
Minisita omubeezi ow’ebyemizanyo mu Buganda, Owek. Herbert Ssemakula akubirizza abantu bonna okujja mu bungi ku mupiira oguggulawo.
Yakkaatirizza nti ebyokwerinda biri ggulugulu era tewajja kuba mutawana gwonna.
Ebika byonna ebigenda okwetaba mu mpaka biwera kutwala engabo.Omutendesi w’eŋŋonge, Twaibu Ssemwanga yategeezezza Eddoboozi ly’emizannyo mu kutendekebwa e Nsambya nti okusinziira ku kutendekebwa kwe bakoze, abasambi bali mu mbeera nnungi era asuubira buwanguzi bwereere.
“Tewali kigenda kutulobera kuwangula mupiira gwa nkya. Abaana bonna bali mu mbeera nnungi, tewali mulwadde ate batendekebwa bulungi,” omutendesi Ssemwanga bwe yategeezezza.
Yasabye bonna abeddira eŋŋonge okubawagira mu nsawo ne mu kisaawe.
Ye omutendesi w’olugave, James Magala, ng’ono yaliko omukwasi wa ggoolo ya Uganda Cranes ne Express FC, Eddoboozi ly’emizannyo lyamusanze Lugogo ng’ali mu kuwawula ttiimu ye.Magala yeerayiridde nti wa kuwuttula eŋŋonge mu maaso ga Ssaabasajja.
Ate ssentebe wa ttiimu y’ekika ky’engeye, Hajji Minge Kibirige eyasangiddwa mu kutendekebwa e Nakasero yagambye nti bagumu nnyo era bagenda kuwangula engabo y’omwaka guno.Hajji Kibirige yannyonnyodde nti ekimuwa essuubi kwe kuba nti abazannyi baabwe bonna bali mu mbeera nnungi ate nga balabirirwa bulungi.
Ab’enkima wansi w’omutendesi Ibrahim Kirya, batendekebwa ku kisaawe kya Bat Valley mu Kampala. Kirya naye yategeezezza nti amaaso agatadde ku ngabo.
Bizziddwa buggya nga Kasambula 23, 2010July 29, 2010 at 2:19 am #26847ENGOONGE EWANGUDDE OLUGAVE
TUYOZAYOZA ABE NGONGE OKUWANGULA NAYE TWEBAZA EBIKA BYOMBI OKUZANNYA NOBUZIRA
FARIDAH BONGOLE
Ekika ky’eŋŋonge kyawangudde omupiira oguggulawo empaka z’ebika by’Abaganda ez’omwaka guno ez’omulundi ogwa 36 ezeetabiddwako namungi w’omuntu okuva mu kisaawe e Nakivubo.
Ssaabassajja ye yagguddewo empaka zino nga yawerekeddwako Katikkiro wa Buganda Eng. J.B Walusimbi wamu ne baminista okuva mu bwakabaka bwa Buganda, Ssaabalangira n’omukubiriza w’abataka, Allan Nakirembeka.
Eŋŋonge okutuuka ku buwanguzi yawuttudde olugave ggoolo 5-4 ez’okusimulagana ppeneti oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggwa nga buli ludda lulina ggoolo emu.
Minista omubeezi ow’ebyemizanyo, Owek. Herbert Ssemakula yeebazizza nnyo ebika byombi olwokwolesa omuzannyo omulungi n’abategeeza nti wateekwa okubeerawo awangula n’awangulwa n’abasaba ekika ekibeera kiwanguddwa obutakola njawukana wabula bagende mu maaso n’okuwagira empaka zino.
Owek. Herbert Ssemakula era yasabye abataka okukunga bazzukulu baabwe okuwagira emipiira gino ku bisaawe yonna gye gigenda okuzannyirwa era ne yeebaza nnyo abazze mu bungi mu kisaawe e Nakivubo.
‘Muwagire ebika byammwe, eyo ku bisaawe gye bigenze kijja kubayamba n’okufuna ku nsimbi wamu n’abantu okuzijjumbira’, bw’atyo Owek. Ssemakula bwe yategeezezza.
Omukommonsi wa ffirimbi, Muhmed Segonga ye yabadde mu mitambo gy’omupiira guno.
Empaka za kweyongera okutojjera mu bitundu ebyenjawulo, ng’enkima ezannya n’akasimba mu kisaawe e Nakivubo,
enkejje ezannya n’emmamba Gabunga e Buikwe,
Nkerebwe ezannya n’ababiito e Buwama,
ekika ky’akayozi kya kuzannya n’envuma mu kisaawe e Bukalasa nga 27/July/2010.
Empaka zino zisasuliddwa kampuni ya KOBIL, Swico, St. Mary’s Kitende, Suntrust company ne Lisa medical centre.
July 29, 2010 at 2:26 am #26848Bazzukulu ba Ndugwa ab’olugave be bakyasinze okuwangula engabo y’omupiira gw’ebigere mu mipiira gy’ebika by’abaganda emirundi emingi?
Engabo eno bagiwangudde emirundi musanvu (1988, 1990, 1995, 1998, 1999, 2001 ne 2004).Baddirirwa bazzukulu ba Gabunga eb’emmamba nga bano balina engabo mukaaga
(1952, 1956, 1959, 1989, 1994 ne 2003).Banange ebika ebirala naffe twelwaneko naye wateekwa okubaawo ebirala nafe mwetubakuba banaffe bano
abebika abalala mwenoonye mulabeAugust 6, 2010 at 7:41 pm #26883Ekkobe liggyeeko Effumbe
THURSDAY, 05 AUGUST 2010 16:05
BAZZUKULU ba Namwama (Abekkobe) baasuuzizza aba Walusimbi (Abeffumbe) engabo y’emipiira gy’ebika by’Abaganda bwe baabawandulidde ku ‘quarter’.
Baalemaganye 0-0 eggulo e Bukalasa mu Luweero kyokka Ekkobe ne liyitiramu ku ggoolo 2-1 ze lyawangulirako mu gwasooka e Buwama.E Wankulukuku, Omutima gwawuttudde Obutiko ggoolo 4-1
sso nga ne mu gwasooka e Buyikwe,Omutima gwakuba 2-0. Gusisinkanye Kkobe.
E Buwama, Enkima yaggyeeko Engo bwe baalemaganye 0-0 kyokka ng’ogwasooka Enkima yawuttula 3-1.
E Buyikwe, Envubu yakubye Enseenene 1-0
nga bano badding’ana nkya mu kisaawe e Wankulukuku.
Kkobe 0-0 Ffumbe
Nkima 0-0 Ngo
Butiko 1-4 Mutima
Nvubu 1-0 Nseenene
Enkya e Wankukuluku
Nseenene – NvubuAugust 11, 2010 at 5:48 am #26909Olugave lwemulugunya, Ennyange n’Enkusu bali Nakivubo
BYA KALANZI IVAN
Ekika ky’Olugave kyemulugunya olw’ekika ky’Enngonge okuzannyisa omusambi atali Muganda mu mupiira ogwaggulawo empaka z’omwaka guno ez’ebika by’Abaganda, ekintu ekimenya amateeka agafuga empaka zino. Mu mupiira guno, Enngonge yawangula Olugave mu kusimula peneti.Ab’Olugave bagamba nti omukwasi wa ggoolo y’Enngonge, Richard Sonko, wa ggwanga lya Bagisu, era nga bo balina obujulizi obumala okukakasa ensonga eno.
Wabula abakulu bano bategeezezza ng’ensonga eno bwe bajja okugikwata n’obwegendereza nga batya okusasula engassi, singa obujulizi tebumala kukakasa kakiiko kategesi, nti mu butuufu Sonko Mugisu awedde emirimu.Kyo ekika ky’Enngonge kyalaze eryanyi oluvannyuma lw’okuba nti nakyo kyabadde kisobola okubaawo n’ekyekwaso nti n’omukwasi wa goolo, Sulait Luyima, yali yawerwa mu mpaka zino omwaka oguwedde nga kigambibwa nti Muwologoma.
Oluvannyuma lw’eddakiika 90 nga buli ttiimu ebala ggoolo 1-1. naye olw’okuba ng’omupiira guno gwabadde gulina okusalawo omuwanguzi, baagenze mu kusimulagana peneti, era
ab’Enngonge tebaafunye buzibu kuteeba peneti zonna, kyokka bo ab’Olugave baalemeddwa okuteeba ggoolo emu, nga kaputeeni wa ttiimu, Muhamed Byansi ye yalemeddwa okuteeba.Gino gikyagenda mu maaso era nga olwaleero zinadda okunywa ng’ekika ky’Ennyange kittunka n’ab’Enkusu mu kisaawe e Nakivubo,
olwo bo aba Nakisingge ba kuttunka
n’Engabi Ennyunga nga gwo guno gwa kubeera mu kisaawe ky’e Buyikwe mu ssaza ly’e Kyagwe.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.