Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Okwekutula N ebyettaka / Land and secession › Ssaabasajja adduukiridde ab‘e Bugerere
- This topic has 1 voice and 0 replies.
-
AuthorPosts
-
August 31, 2012 at 12:52 pm #18352
Ssaabasajja adduukiridde ab‘e Bugerere n‘obujjanjabi
OGWO OMUTIMA GWA BUGANDA OGUTAFA GWEEGWO KABAKA WAFFE GWALAGA MUBINTU BYAKOLA ERI ABANTU BEMWENNA ABETABYE MU KIKOLWA KINO EKYOKUJJANJABA WAMU NEBIRUNGI EBIRALA BYEMUKOLERA OBUGANDA KATONDA ABADDIZEEWO WAKATI MUKUNYIGIRIZIBWA LULIBA OLWO TUGENDA KUTUUKA KU BUWANGUZI , ABAGANDA MULEMERE KU MAZIMA TUJJA KUWANGULA KUBA MUKAMA ALI KULUDDA LWAFFE
Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi adduukiridde abantu be mu ssaza ly’e Bugerere n’obujjanjabi obwenjawulo.
Abasawo abaasobye mu 50 be baasindikiddwa mu kitundu kino era nga bajjanjabye abantu abakunuukiriza mu 1500 endwadde ez’enjawulo omwabadde n’okwekebeza omusaayi, ng’okujjanjaba kuno kwabadde ku ssomero lya Nnaalinnya Ndagire SSS ku kitebe ky’eggombolola y’e Kayonza.
Abantu b’e Bugerere baaloopedde minisita wa Kabaka omubeezi ow’obwegassi, Kumaama Nsamba n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu e Mengo, nga bwe wabaddewo akabinja k’abantu akabadde kabagaana okujja okufuna obujjanjabi nga bagamba nti eddagala lye yabadde abasindikidde lyabadde ligenda kubatta olwensonga nti beekalakaasa bwe yali agenda mu ssaza lino.
Mugerere Ssevvume Musoke yavumiridde nnyo abantu abagenda boonoona erinnya lya Kabaka.Bannabugerere bye boogera:
Lagu Edward Ronald ow’e Wabuyinja: Waliwo akabinja k’abantu ababadde batugamba nti twalemesa Ssaabasajja okujja, kati asindise ddagala kututta mbu tetujja okufuna obujjanjabi buno naye ffe ne tujja kubanga tumanyi Kabaka waffe ye Ssaabasajja.
Kigozi David: Abeeyita abakulembeze b’Abanyala be babadde bagenda babuzaabuza abantu nga tebaagala bafune birungi okuva ewa Ssaabasajja naye abantu babalaze nti bamanyi Kabaka waabwe era nga bangi bakulidde wano era webazaaliddwa.
Buladina Jolly e Namizo: Tubadde tetulina bujjanjabi yadde eddagala, nga tewali atuyamba naye kati tuli basanyufu nti Kabaka atuwadde obujjanjabi era tusaba atuyambeyo ne ku mmere.
Najuka Saidi ow’eggombolola mumyuka Kayunga: Wadde ng’abamu ku bazze okufuna obujjanjabi Ssaabasajja bw’atusindikidde be bamu ku baakulira okujeemesa abantu be naye Kabaka tasosola era nabo bakkiriziddwa okujjanjabwa, bamanye ebirungi Kabaka by’ayagaliza abantu be nga bo tebasobola kubibatuusaako.BUSULWA ASUMAN S
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.