The Passing Of Nnalinnya Nakabiri Elizabeth

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements The Passing Of Nnalinnya Nakabiri Elizabeth

  • This topic has 3 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #18973
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

      We have just learned with sadness the passin’ of Princess Nnalinnya Nakabiri Elizabeth, a paternal aunt to His Majesty the Kabaka! Princess Nakabiri will be remembered as being one of the most vocal rebel princesses who, together with her brother, Prince David Ssimbwa – a most virulent Prince and uncle to His Majesty the Kabaka- have always sided with dictator Museveni against His Majesty the Kabaka. Princess Nakabiri has been a resident of Bulange – Kampala, Uganda,and will be laid to her eternal rest at Nabulagala-Kasubi! May her soul R.I.P!

      #28017
      OmumbejjaOmumbejja
      Participant

        Kitalo nnyo ekya Nnalinnya Nakabiri Mukama amuwummuze mirembe.

        Naye yonna gyolitambula buli muntu akulembeza gwanga lye nabuwangwa bwe Bwebaba Ba Ssekabaka baffe bawaayo obulamu bwaabwe okukuuma Obuganda obuli awamu bwetukola ebigiyuza yuza mukuyita mu makubo agatali gamu
        yonna abazira baffe nabo gyebawummulidde tekibasanyusa.

        #28035
        KulabakoKulabako
        Participant

          Awummule mirembe Nalinnya Nakabiri
          [attachment=2590]Nalinnya Nakabiri.jpg[/attachment]

          #28036
          KulabakoKulabako
          Participant

            Kitalo nnyo ne kya Nalinnya Nabweteme Mukama amuwe ekiwummulo ekyemirembe
            Wano walabika ngawali akagenderere akamalawo olulyo bonna okufira okumukumu

            #28045
            KalibattanyaKalibattanya
            Participant

              ‘Emikolo egyakoleddwa ku Nakabiri gyasobye’
              Aug 06, 2012

              Kampala

              Bya MUSASI WA BUKEDDE
              SSAABALANGIRA Ying. Moses Kayima Ssegamwenge agambye nti emikolo egyakoleddwa mu kubikka akabugo ku Bannalinnya Elizabeth Nakabiri ne Edith Nabweteme abaaterekeddwa mu masiro e Kasubi gyakuddibwamu kubanga abaagikoze si be batuufu.

              Yannyonnyodde nti Nnaalinnya Nakabiri yalaama Omumbejja ow’okumusikira mu musaayi atwale n’obwannaalinnya. Mu kiseera we yazaamidde nga taliiwo kwe kulonda omulala Nanjobe wabula ekiseera ky’okubikka akabugo we kyatuukidde n’alemesebwa okukola omukolo gw’okubikka akabugo.
              “Obukulembeze oba obwami buwooma kituufu. Nze nsaba abakwatibwako mu kika ne bampa Nnaalinnya ne mmulaga ekika, kye twakoze e Kasubi. Wabula kyanneewuunyisa ekiseera ky’okubikka akabugo bwe kyatuuse, ate Diana Teyeggala ye yakikoze, ekintu ekikyamu! Emikolo tulina okugiddamu,” Ssaabalangira bwe yannyonnyodde.

              Waabaddewo okusikaasikana mu kubikka akabugo ku Nnalinnya Elzabeth Nakabiri bwe baatudde mu Kigango ne balonda Omumbejja Nanjobe wabula nga bateekateeka okukola omukolo ate Omumbejja Diana Teyeggala n’awamba olubugo ng’alusika ku mulala eyabadde alukutte era ye yabisse kye bawakanya nti yakikoze mu bukyamu.
              Akavuyo ku mikolo gy’okuziika Nnaalinnya Edith Nabweteme Kiyumba kwatandise na kusika muguwa ku lutikko e Namirembe ng’okusaba kuwedde. Abamu baali bagamba nti bagende Kasubi bakole emikolo, abalala nga bagamba nti balina kugenda ku Lubiri lwa Ssekabaka Kamaanya e Kasengejje.

              Olwavudde e Namirembe baavuze bagenda Kasengejje ne bakola emikolo sso nga mukyala wa Dr. Lubega gwe bagamba nti Nnaalinnya Nabweteme gwe yali yalaamira okumusikira baamukuumidde Kasubi nga bamukakasizza nti emokolo gyonna we bagenda okugikolera.
              Olwakomyewo e Kasubi we baakamutemedde nti emikolo giwedde naye nga teboogera ani abisse kabugo. Ssaabalangira Kayima yagambye nti akimanyi eyabisse akabugo mumbejja naye abadde tamumanyi nnyo nga tatera kujja mu mikolo.

              Abamanyi ennono egobererwa baategeezezza nti omusika ng’abikka akabugo ku Nnaalinnya ayinza okuyambibwako jjajjaawe singa olubugo luba lugazi nnyo kyokka mu kubikka ku Nnaalinnya Nakabiri abaakwata olubugo baali basatu n’okusingawo. Ku nsonga eno, Nnaalinnya w’Amasiro g’e Kasubi Getrude Tebattagwabwe yategeezezzanti naye yabadde tategedde ani yabisse kabugo wabula n’atusaba tugumiikirize essaawa yonna bajja kumututegeeza.

              Mu kiseera kye kimu, Paasita Micheal Kyazze yagobye Omugiriinya ku ntaana ya Nnaalinnya Nakabiri ng’amugamba nti tayagala ateeke kasiya mu ntaana ya nnyina sso ng’Omugirinnya y’akola emikolo ku Balangira n’Abambejja ababeera bazaamye.

            Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
            • You must be logged in to reply to this topic.

            Comments are closed.