Naye abato, okumala gayimba, oba tetwabuuzako nti ekibeetebeete kye kiki?Yye ate nga bwogenda obuuze maama nga akugoba bugobi, “Genda eri ozannye ne banno tonnezingirira.”
Awo nebaleeta okukwatagana mu circle nga mugenda mwetoloola, “Ayi maama kibibiwe, kyayise abagowa, Kakati kasajja, kimeeme bbaluwa. Kaakati kasajja kimeeme kiri ggowa, kimeeme bbaluwa.” Nemutandika okubuuka buuka, “Ezange ziriba kasengejje ezange ziriba kasenge hhuuuuuuuuuu.” Eyaluyiiya bwaaba yali tali mu lulimi lulala, kale amanyi okufutyanka ebigambo!
Wabula waliwo nakano aka, “Tuulatuula wakati, notunulira abaana, golokoka amangu ago oje olonde oyo gwolonze.(Bwaaba gwalonze tomwagala noyimba; alonze mugandawex3 gwebalya naye bbando) mwembi mujje wakati netuzina nessanyu, tunakuba mu ngalo olwessanyu lyaffe.”
Saanyu lyaaki eryo? Kubanga oli alonze gwalonze?