Emiramwa gyewasubwa oba gyewandiyagadde okuddamu okuwuliriza giteekebwa ku Youtube buli lunaku. Ojja kwongera okuwulira Abaganda nga besomesa ebitabasomesebwa mu masomero, atenga bya mugaso nnyo ku kutambuza Obuganda okubutwaala mu kyaasa ekiddirira nokweyongerayo.
Wuliriza emiramwa gino, yiga, ozimbe omusingi kwosinziira okuteeseza Obuganda nga omanyi ebituufu ebyaaliwo nebyo ebiriwo leero. Ojja kuwlira ku bakola ebinyiga Obuganda leero, abagala okubusanyaawo, lwaaki babikola, nengeri yokubarwanyisaamu.
Program WOOLI NYWEERA
Omubala AMAZIMA GALITUWA EDDEMBE
Abaweereza HARUNA MUTABAAZI, BUGANDA TEBWASWABWA, MAJOR GENERAL KIGOZI
Katonda N’Obuganda Omwooyo Gumu Ne Meeme Emu
Awangaale Ssaabasajja Kabaka Wa Buganda