EBIKA BYA MATOOKE

  • This topic has 2 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #18809
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


      Ebitooke ebimu babidibizza

      Yiga Oluganda ne Kefa Ssentoogo

      LEERO tugenda kwongera okulaba ebika by’amatooke n’engeri gye gaawuulibwamu:

      LWEWUNZIKA:
      Ekitooke kino kyatandikira mu ssaza ly’e Busiro. Okufaananako nga Nakyetengu nalyo likula lyewunzise kyokka lyo nga lisinga ku Nakyetengu obuwanvu era olw’obuwanvu bwalyo, kye liva lirabika nga lyewunzise.

      Abantu abatuula nga tebatereera baboogerako nti, ‘gundi tatereera ng’atudde, alinga eyalya lwewunzika.’

      Lusumba
      Ttooke lisibuka mu Kyaddondo. Omuntu bw’alya n’akkuta nnyo nga tayagala na kuva mu kifo ayogerwako mu ngeri y’okubalaata nti Lusumba amutuulidde.’

      NAMWEZI
      Asibuka Buwaya mu Busiro kyokka teyettanirwa nnyo kuliibwa anti okuwaata atawaanya olw’eminwe gy’alyo okukula nga gyeweseemu ng’omwezi ogw’eggabogabo so nga si lye liwooma ennyo emmere.

      KISANSA
      Nakyo kitooke era ettooke litera okugejja bwe liba ku ttaka eddungi. Ebitooke bino tebikyalabika nnyo kubanga emmere yaabyo teyettanirwa nnyo.

      MUVUBO
      Ekitooke kino abasuubuzi bajja nakyo okuva e Kiziba mu Tanganyika (Tanzania) ku mulembe gwa Ssekabaka Kamaanya. Muvubo ttooke lirabika bulungi, ligejja era liwooma emmere.
      Waliwo ebika by’amatooke amalala agatamanyiddwa buvo bwago era ng’ekireeta ekyo kitera kuva ku baagatuuma amannya okuba nga tebategeerekeka kyokka ng’amannya gaasigala nga gakozesebwa.
      Amannya g’ebitooke n’amatooke ago ge gano:

      Mukaddaalikisa, Nakabinyi, Wakaliga, Namulondo, Nakijjumbi , Ntikka

      – ekyalituumya erinnya eryo lwa kuba ddene ng’omuntu tasobola kulyetikka yekka okuggyako nga balimutisse.
      Muno mwe mwava erinnya lyakyo ‘Ntikka.’,

      Sula, Nalugolima, Kibuzi, Nassalugiri, Salalugazi, Kafuba, Nfuuka

      Kino kyatuumibwa erinnya eryo lwa kukyuka okuva mu kitooke ekyali kimanyiddwa ne kifuuka ekirala,
      Kyewogola, Nabunuunika, Wakaliga, Nakawere, Nammogge, Nakabinyi n’amala

      #21909
      OmumbejjaOmumbejja
      Participant

        Ebitooke mulimu ebikazi n’ebisajja

        MUNNANGE omulimi w’olusuku oba Nakitokolo, bw’otolulaga nti olwagala lukudduka.
        Totambulira mu lusuku lwo ng’osaatuuka, tuuka ku buli kitooke okikebere okiddaabirize.

        Olusuku bwe lukula ne lutuusa n’okussa nga tewalusimbamu kitooke kisajja ne gonja ludduka. Okanda kulaba nga terugimuka ate nga terussa nkota zeegasa.

        Kisaana kijjukirwe nti ekitooke kya gonja okuggyako okulyako gonja, tekirina mirimu mirala gye kikola, anti endagala zaakyo tezikola mulimu gwonna era tekyeggamwamu nkuba wadde okwebikkirira olulagala lwakyo ng’otambulira mu nkuba. Awo we baggya endayira nti, ‘Amazima gennyini eggulu okunjokera mu kitooke kya gonja nga n’obukuba butonnyerera .’ Ebyayi byakyo tebikola mulimu gwonna wadde okubisibisa omubbi.

        Ekitooke ky’embidde nakyo olulagala lwakyo terusiba mmere kyokka lukola emikolo emirala ku mwana azaalibwa nga mulenzi n’emikolo egikolebwa ku kitooke kyennyini anti kwe kusuulibwa obubi bw’omwana omuwere nga mulenzi, ko n’emikolo emirala.

        Ebitooke bino byombi naddala embidde bikulu nnyo ebitasaana kubula mu lusuku. Ebitooke bino byombi bisimbibwa mu kifo nga tebiri mu nsindikagano ya bitooke birala olw’okusobola okubyawula amangu ku birala n’obutabisalako ndagala oba byayi byakukozesa ku mmere mu butanwa.

        Nga tonnayunja ttooke, sooka okuulekuule omuddo okwetooloola ekikolo kw’ogenda okuliyunja. Totema mugogo na kiso ng’atema omuti mu nsiko. Omugogo gusale mpola n’eggonjebwa eruuyi n’eruuyi okusinziira etooke ly’oyagala okuyunja gye likutamidde era kwata ku mugogo nga gukka ogusse mpolampola okutuusa ettooke lwe linaatuuka wansi awatali kulikuba kigwo. Amatooke agatemwa ne geemegga oluusi ne gawagukako ekiwagu, eminwe ne gibuna emiwabo nga giwaguse oba ne gabetenteka gaddusa olusuku.

        Bikka bulungi ekikolo okuyunjiddwa ettooke ng’okozesa ebigogo ne nnawandagala. Nnawandagala ke kalagala akatono akasembayo ku ttooke. Akalagala kano nako keegenderezebwa nnyo kubanga bw’okalagajjalira n’omala gakasuula omuntu n’akalaba n’akalondawo n’akatwala mu lusuku lwe, olulwo lukoozimba olulwe ne lussa enkota naddala ng’ekitooke okwabadde nnawandagala oyo kwabaddeko ettooke ddene bulungi.

        Ng’omaze okuyunja, woolera omugogo ngogutegeka mu ngeri ennungi nga waggulu evudde ettooke etunula Bugwanjuba.

        Kiwanuuzibwa nti akambe akasala ennyama tekakozesebwa kusalira, kusala ndagala oba kuyunja.

        Olusolobyo lw’okozesa mu lusuku lwo, bw’omala okulukozesa lukweke kubanga atakwagaliza lusuku olwo ayinza okulubba n’alutwala olusuku ne lulekera awo okukuwa emmere ennungi.Olusolobyo terukozesebwa kufumba mmere wadde okukola emirimu emirala ng’okuwanula eppaapaali.

        Laga obukulu bw’ekitooke ekisajja mu byobuwangwa by’Omuganda.

        Published on: Saturday, 24th January, 2009

        #21921
        TontoTonto
        Participant

          Nakabululu

          #21944
          OmumbejjaOmumbejja
          Participant

            Tonto Nakabululu kisajja oba kikazi by the way enjala ennuma onolabikako mu kiyungu oba ssebo gwe oyagala nfumbire yokka nakulaba nga orders zo zijja zikyayokya nze nange eyange endi mu ngalo nkulinze

            #22037
            OmumbejjaOmumbejja
            Participant

              Olusuku obutakanduka kola bino |
              Written by Christine Nakubulwa
              Sunday, 01 February 2009 15:11

              alants.jpg

              Ssentongo ng’ayooyoota olusulu lwe.

              ABALIMI b’amatooke abamu baweddemu amaanyi lwa nsuku zaabwe kukanduka ne zitandika n’okussa enkota entono.

              Ennaku zino olw’ebiseera by’omusana okubeera ebiwanvu ng’ate n’enkuba tekyalina ssizoni kiba kirungi n’oyiiya nnyo okusobola okubeezaawo olusuku lwo.

              Ekimu ku by’olina okutunuulira kwe kulaba ng’ekiriisa kyonna ekiva mu ttaka kyeyambisibwa ekitooke kino n’endu endala ezibeera ku kikolo.

              Ekitooke okufuna ekiriisa ekimala, buli kitooke kirekeeko ebikolo bisatu. Kimu ekissizza oba ekigenda okussa n’ebito bibiri.

              Bw’oba oyunja ettooke n’otema omugogo, n’enkolokolo yonna gisigulirewo ddala era weevudde oyiwewo evvu erigattiddwamu kaamulali oba ogule eddagala eritta ebiwuka oyiwemu. Kino kiyamba okutta ebiwuka nga kaasa, kayovu , n’ebirala.

              Mu nnimiro yo temamu ensalosalo ezikuuma amazzi n’okukugira ettaka okukulugguka eri abo abalimira ku busozi. Naye ensalosalo zino zisime nga za buwanvu bwa ffuuti emu yokka okuva ku kitooke n’okukka wansi kisobozese emirandira gy’ekitooke okufuna amazzi agaterekebwamu n’ebiriisa ebirala.

              Ennimiro gyongeremu ebigimusa nga kalimbwe oba obusa bw’ente, obiyiwa mu nsalosalo emirandira ne gisobola okubisika.
              Okubikka olusuku nakyo kikulu kubanga kiyamba okukuumira amazzi mu ttaka n’okukola ebigimusa nga bivunze.

              Wabula ebibikka tobiteeka ku kitooke kwennyini wabula bisse mu ffuuti ng’emu okuva ku kikolo.

              Omuddo gwa ‘Russian Confrey’ oguweebwa enkoko mulungi nnyo mu kubikka olusuku n’okugimusa ate nga w’ogusaayira guddamu mangu okumera wadde ku musana oba nkuba era muwangaazi.

              Okusimba emiti nga ffene ku mbugirizo z’ennimiro nakyo kiyamba okukola ekisiikirize amazzi ne gasobola okusigala mu ttaka n’omusana obutakuba bitooke butereevu kubimalamu mazzi.

              N’ekirala bw’olaba olimidde ebitooke mu kifo okumala ebbanga eggwanvu kyusaamu olimireko awalala ate ettaka liwummulemu oba oyinza okusalira ebitooke bino ebimu n’obisigulamu ate n’osimba ebipya.

              Mu mwaka gumu ekitooke kibeera kikuze era ng’okisuubira okussaako ettooke eririibwa oluvannyuma lw’emyezi ena ng’endabirira y’olusuku nnungi.

            Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
            • You must be logged in to reply to this topic.

            Comments are closed.