Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Kasaaga Musaazi / Jokers Jottings › “Abasaba amasaza bajja kutulemesa akaboozi”
- This topic has 4 voices and 4 replies.
-
AuthorPosts
-
September 16, 2008 at 4:57 am #17891
Gyennagenzeko ku weekend nagudde ki ka binja ka bannakazadde ba Buganda nga bemulugunya ku baami ababagamba mbu bagala kubawa masaza, mbu kubanga bajja kubalemesa okunyumya akaboozi. Tekimala nti ebiseera ebisinga akaboozi kano bakanyumya mu bubba mu maaso ge ddiini, nabantu bebatali bagatte nabo. Nti kyongera okubabbika mu kibi, abaami bano bwebabasaba okulimba, oba okubasubiza amasaza amalambirira, abakyala bano gebagamba nti bbo tebagalina. Bwebebazemu nga babiri ku bonna nebalina ebibanja, omu akirina Ttemangalo, omulala akirina Bwaise. Mu bifo bino byombi, abe bibanja babagobayo.
September 16, 2008 at 6:33 am #19677Abamu tebasaba Masaza basaba byaalo awo bwomukwaasa lwakitengotengo nga nywa ku byanzi byamata ne Mungu apate habari
Ate oba ettaka elyaffe lyonna balirenze kati olwo ffe tuba tusigalidde kugaba ki? awo bwetwekonako ewa baliranwa netujjayo kubyaalo byetusobala nga naffe batukulisaayoSeptember 19, 2008 at 10:53 am #19692Era nze nange kannegatte ku banne ba Musajja bayogeddeko, kubanga nange sirina yadde essaza yadde e ggombolola yadde omuluka yadde ekyaalo. Nnina plot yokka ate eri na mukyaalo. Wabula ayagala omukwano, ayagala akafo akabuguma, akake ku bubwe, mu mutima gwange, oyo akafuna. Ate ngabirako nekyaapa.
November 10, 2008 at 8:05 am #20369Nze akange akafo ka liizi nsooka kagabirako liizi nemala okulaba enkozesa bwekuba tekukolebwaako byankulakulanya sigaba kyaapa kuba awo mba sirina bwenkajjayo mu bwangu songa liizi osobola okwesulamu akambayambaya nomufumulako nomugamba nti ne liizi ogisazizaamu.
November 12, 2008 at 3:54 pm #20402Hahahahah, kyokka baana battu mulina emboozi. Naye nga ebyokusaaga tubizizzako wali, wano wolabira omutawana ogli ku kutawanya ebintu bye ttaka. Eno gavumenti ya balabe ba bantu era abalabe be nkulakulanya benyini. Kubanga mu buli nsi, ettaka kwekwesigamizibbwa ebyenfuna byonna, kubanga kyekintu ekiri stable. Kati nno wuuyo yagambye oyo M7 mbu bank zirekerawo okusaba abyaapa bye ttaka nga ekisingibwaayo ku kwewola sente. Olwo basabe ki? Olwo atali mugagga ffugge alina ekkolero tayinza kwewola!!
Nga tudda ku nsonga yaffe, kati natalina kyapa toyinza nakuwa munno mukwano nagutegera? Nga ewaffe omusajja bwalina okulabirira omukazi, tujja kubasaba, batuwe ettaka eririko ekyaapa. Awo nga naawe olyooka owerenga okulimuddiza, buli kiro.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.