Bwemmanya nga nja kubera nzekka, netegeka mangu kiki kyenja okukola, kizibu kusangibwa nga sirina kyenninawo. Kale nga okukuba essimu eri bannange bennina bwetunyumya emboozi, I get a few good laughs there. Waliwo ebitabo byennategeka bwemba nfunye akadde mbisome, nabyo mbyesunga. Ne movies, naddala eziva eka oba eza baddugavu aba America. Naye nokulwaakwo mu shower nakwo kunyuma bulungi, so nokwebakako mu buliri bwange bwemba nnina obudde nakyo kinyumira.