Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Kasaaga Musaazi / Jokers Jottings › Omukazi alayizza enduulu mu loogi
- This topic has 3 voices and 3 replies.
-
AuthorPosts
-
September 11, 2008 at 3:11 am #18967
Omukazi alayizza enduulu mu loogi
Rose Nakafeero ne Vincent Kalule
Bya Ssenabulya Baagalayina
ABANTU baakedde kweyiwa ku loogi ya Star Light okutaasa omukazi eyalayizza enduulu nga bw’alaajana: bannange munnyambe. Makanika anzita.
Ebyo okubaawo makanika wa pikipiki e Lukaya-Masaka, Vincent Kalule yamaze kutwala Rose Nakafeero mu loogi.
Nakafeero mukazi wakisa nnyo atera okuyamba abasajja b’e Lukaya abalina ennyonta y’omukwano. Kasita ofuna ezisasula loogi, ye omuwaayo 5,000/- oba mutwalo, ng’akumalira ekizibu kyo nga n’olwo luggwa.
Ku Ssande waabaddeyo amazina mu kifo ekisanyukirwamu ekya Real Entertainment. Kalule yalabiddwa ne Nakafeero nga balya obulamu mu kifo ekyo. Bakira banywa bbiya n’okulya enkoko ate oluvannyuma ne bagenda mu ddiiro okuzina.
Endongo yabanyumidde kubanga obudde kumpi kukya nga tebaseguse. Essaawa zaabadde zikunukkiriza 12 ku maliiri ga Mmande ne beeyokya loogi ya Star Light. Baayaniriziddwa omu ku bakozi, Muky. Medius Ssanyu ne bamutegeeza nti babadde bazze kwesanyusaamu katono bwatyo n’abawa akasenge No.4 ne basasula 3,500/- bamalemu essaawa bbiri zokka.
Balabika olwayingidde akasenge baatandikiddewo okwesanyusa era okuva lwe baabadde batamidde, Nakafeero alabika yabitaddemu akajanja bwe yasumuludde oluyimba lw’eggwanga ng’ebyalo abigaba amaloboozi gayitamu n’abali ebweru ne bawulira.
Waayiseewo eddakiika nga 45, Nakafeero n’akyusa amaloboozi nga bw’alekaana: Vincent nvaako. Ssente zo ziweddeko.
Ekyaddiridde nduulu:bannange munnyambe. Makanika anzita. Vincent nvaako…
Muky. Ssanyu agamba nti yawaliriziddwa okukonkona akasenge nga tewali aggulawo. Mu kiseera kino baabadde balwana nga Nakafeero alwana kuggulawo luggi afulume ng’ate makanika amulwanyisa kumuzza ku buliri nga bw’amugamba:tojja kulya ssente zange.
Ssanyu agamba nti yabakonkonye ne bagaana okuggulawo kyokka eddirisa lyabadde liggule.
Mu kiseera kino abantu baabadde bakung’aanye nga baagala kumenya nzigi za loogi kutaasa Nakafeero.
Ssanyu kwe kudduka ku poliisi n’aleeta abaserikale abaakulembeddwa omumyuka w’akulira bambega e Lukaya, Mugyenyi.
Poliisi yakonkonye oluggi olwo makanika kwe kuggulawo. N’agamba nti Nakafeero yabadde ayagala kumukuula (kumubba) kubanga yamugulidde omwenge ekiro kyonna ate bwe baagenze mu loogi yasoose kumusasula 5,000/- nga tebanneegatta.
Kyokka bwe baagenze mu kisaawe okunyumya akaboozi, makanika yateebye ggoolo emu olwo Nakafeero n’agaana okumukuba sipanda eyookubiri ng’agamba nti ssente za Makanika (5,000/-) zaabadde ziweddeyo.
Nakafeero yagambye nti baalagaanye kwesanyusaamu katonotono (mu lulimi lwa loogi ako bakayita ‘short’) kyokka akatono bwe kaawedde makanika n’ayagala kulya kanene.
Nakafeero yabadde ayogera akaaba nga yenna ajjudde enkwagulo ku mikono n’omubiri gwonna. Yalumirizza nti makanika yamupeese akaboozi okuva ekiro ku Ssande kyokka ye Nakafeero n’atya kubanga bakira makanika agaaya amayirungi.
Poliisi yayazizza makanika n’emusanga n’amayirungi. Yatwaliddwa ku poliisi n’aggulwako omusango gw’okulumya omuntu ku fayiro SD.Ref.08/07/09/2008.
Atwala poliisi eno Sgt.Apollo Bategyerize yagambye nti Nakafeero baamuwadde ebbaluwa agende mu ddwaaliro ajjanjabibwe. Makanika yaggaliddwa e Lukaya kyokka ku Lwokubiri akawungeezi n’ateebwa ku kakalu ka poliisi.
Published on: Wednesday, 10th September, 2008
September 11, 2008 at 3:39 am #19616Kino kireeta abantu okuddayo buli omu mussa lye , ekintabuli kyekireeta abantu okwewaanawaana na abamu okweyita abawaggulu.
Kubanga nebwaba mukazi oba musajja bwafuna owessa lye aba musanyufu so si kwewaana.
Eno ebweeru buli lunaku hotel ne bars, zijjula abasajja bagula ebintu engoye ,emmere ,omwenge ne ebirabo ebye beeyi naye tobawulira bwe bambula bakazi na kwewera nakunywa mayirungi nga batema amakatala mbu nkuwadde bbiya ttaano ze rounds taano, kutandika kuyingira buli webasanze , abakazi ne bwebanakuba enduulu.
Kasita biyingiramu “nvaako sente ziweddeko” nga ndaba nga parking meter gyebasaamu sente akatikitiki nekakuba nga balina motoka gitowinga oba kkukuba ticket olwobutasasula ate nga teri nakwekwaasa nti nasasudde ezasoose
kuba mukiseera kino vicent service gyeyabadde yegabula yabadde eri expired nga yetaagaata to be renewed at ye mukifo kyokikolako yayongedde motoka kugyongeramu mafuta gebayita amayiringu naggyawo eggadiSeptember 11, 2008 at 1:58 pm #19628Kkwo okuba ssebo omumbejja oli mutuufu. Kubanga bino bikolwa bya bulyaake bya buswaavu. Bakukuba batya ebifaananyi omwana wa bantu nga oyambula abakazi nti bankudde? Wano nno womanyira, oba wokakasiriza nti ekintu si kiggule nga oli bwabeera alowooza. Waliwo abantu abagamba nti bi mwana wani byakoma, okwo kwerimba. Tewasoboka kubaawo classless society, mpozzi nga oli ayagala kukola chaos. Naye ekikulu kye kiki ekisinziirwaako okugamba nti ono wa class ya waggulu ono ya wa wansi. Ono omukyala munaffe olabira ku confusion eri ku face ye, alinga omwana omuto abuze, nnyina gwadduse ko!! Ate yye omusajja tunula nga emmeere edibye nekooya abagenyi. Mukuba mutya enduulu okukungaanya abantu nga mwemuli nabaana????????? Naye bwoolaba nga nabafuga bakugamba nti ensi mutulumbo, kiki kyolindiriira? Ekitezaala tekyala.
September 21, 2008 at 7:18 am #19700‘Ng’enda kuswala okusiba kasitoma’
RUTH Nakafeero yakubye enduulu mu loogi e Lukaya nga makanika Vincent Kalule amuli bukiika. Amudiddemu omusango gw’abadde amuvunaana n’asaba ensonga bazimalire ebweru wa kkooti. Ssennabulya Baagalayina yabaddewo ng’aggya omusango ku poliisi bwati:
Poliisi: Nakafeero leeta ebbaluwa z’omusawo ze twakuwadde fayiro ya Kalule ewedde alinze kkooti.
Nakafeero: Ebbaluwa Dokita yazijjuzza naye muyambe nze mumuleke temumutwala mu kkooti nsaba njogeremu naye.
Poliisi: Ggwe wakuba enduulu nti omusajja akutta kati weefukuludde?
Nakafeero: Hmm…bizibu! Mumundeetere tuteese.
Poliisi: Kalule, munno gwe wabadde ottira mu loogi azze muteese.
Kalule: Nnyabo amatanta gampedde mboneredde sikyaddira kukozesa kifuba. Gaali maanyi ga kisajja nga ge gampaga, nkusuubiza era ndi mwetegefu okukola akakalu nti sikyakiddamu.
Nakafeero: Wampisa bubi, nakugamba nti nze nkooye nga tokkiriza ate n’ogattako okunnwanyisa onzigyeko ssente ze wampadde wakola bubi nnyo.
Nakafeero: Kalule ono kasitoma wange wa bulijjo. Bwe ndowoozezza ennyo ate nga munnange era nga tandaganga buswandi bwe yandaze ne bannange okumpabula nti okumusiba kirabika bubi kwe kusalawo mmusonyiwe tuleme kutuuka mu kkooti.
Kalule: Ruth weebale kuba na mutima muzadde.
Poliisi: Nakafeero ez’okukujjanjaba oyagala mmeka?
Nakafeero: Ampe 70,000/-.
Kalule: Kankufunireyo emitwalo etaano naye nninawo ebiri mu kaasi.
Nakafeero: Zimpe naye n’ezisigadde nzaagala.
Sgt. Bategyerize (Akulira poliisi y’e Lukaya) Mugende naye ggwe Kalule toddangayo kukozesa kifuba ku bakazi.
WANO AGAMBA BUGAMBI NTI GUNSINZE ………..NALIWA EBITONO -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.