Omumbejja Kagere

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18637
    MulongoMulongo
    Participant

      Omumbejja Kagere
      1241281639zulu.jpg
      Omumbejja Kagere ng’ali mu ofiisi ye

      Abalangira n’abambejja

      OMUMBEJJA Ann Sarah Kagere y’omu ku baana ba ssekabaka Edward Muteesa II. Mutuuze w’e Muyenga. Anthony Ssempereza gwe yanyumirizza ku bulamu bwe bwati:

      NZE Kagere kubanga ndi mwana wa Ssekabaka Muteesa II omuwala owookubiri. Nze Nnaalinnya w’amasiro g’e magonga aga Ssekabaka Kintu. Nazaalibwa mu 1950, era nakulira mu maka g’eyali omuwanika wa Buganda Bulasio K. Kavuma e Lungujja.

      Okusoma nakutandikira mu nnasale eyali mu Lubiri. Eno gye nava ne ng’enda e Gayaza Junior gye nasomera okuva P.1 okutuuka mu P.6. Bwe nava e Gayaza natwalibwa e Bungereza gye nasomera S.1 okutuukira ddala mu siniya eyoomukaaga.

      Kitange yansindika wa Muzungu Scholfill eyali yakolerako egy’obusawo mu ddwaaliro e Namirembe ne mukyala we.

      Ekimu ku bintu ebyantiisa obulamu bwange, kya bajaasi ba Obote abantigaatiga ku kisaawe ky’e nnyonyi e Ntebe mu 1968 bwe nali nkomyewo e ku butaka okulaba ku mmange eyali omulwadde mu 1968. Bwe natuuka ku kisaawe e Ntebe, abajaasi b’akabinja ka ‘Special forces’, bwe baamanya nti ndi mwana wa Muteesa bankwata ne banzigyako omugugu gwange ebyange byonna ne babimansa olwo ne bankuumira ku kisaawe okumala essaawa emu ne banjaza nzenna ate nga tekwali mujaasi mukazi.

      Okufa kwa kitange
      Ekiralala ekyantiisa ennyo obulamu bwange kwe kufa kwa Beene. Obote bwe yawang’angusa Kitange, yansanga Bungereza era mu kiseera kino nali nkola bigezo byange ebimaliriza siniya eyookuna. Kw’olwo lwennyini lwe baalumba olubiri nze tebambuulira byali biguddewo kubanga nali nkola kigezo kyange ekisembayo. Nagenda okumanya ebyali biguddewo nga Beene atuuse e Bungereza.

      e Bungereza, Beene yasulanga walako we nnali nsula kyokka nga mmanya ebimukwatako era naye buli kiro ng’ankubira essimu okumanya olunaku bwe lumpisizza. N’olunaku lwe yafa, yasooka kunkubira ssimu n’angamba nti: “ Owange kagere simanyi oba wakitegedde nti enkya tujja kuba naawe mu kkanisa nga tukuza amazaalibwa gange.” Nakkiriza era bwentyo ne ng’enda okwebaka.

      Mu matumbibudde nawulira essimu n’akade nga bivuga tebisalako. Nawawamuka mu tulo ne nkwata essimu. Eyali akuba essimu yali Muky. Joyce Mpanga ate eyali akuba akade yali Scholfill, baali bambikira nga Beene bwe yali akisizza omukono!

      Amangu ago nagenda gye yali asula ne nsangayo Major Katende n’ambulira byonna nga bwe bibadde. Guno gwe gwali omulundi gwange ogusooka okulaba ku muntu afudde, kino kyali kyantiisa nnyo eri obulamu bwange.

      Nga mmalirizza siniya eyoomukaaga e Bungereza, nayongera mu maaso emisomo gyange mu Nairobi University gye nasomera diguli eya Bachelor of Science in Sociology and political science. Bwe namaliriza emisomo, nadda e Uganda.

      Olumu bwe nagenda okulaba muganda wange Nassolo ku mulimu mu kitongole kya Uganda Tea Development Corporation gye nasookera okusisinkana Mw. Bbaale oluvannyuma eyafuuka baze. Nali nnyingira bwenti, Nassolo kwe kung’amba nti; ‘lamusa ku mw. Bbaale’. Bbaale yali afuluma kyokka okuva awo bwe namubuuzaako n’afuukira ddala mukwano gwange. Ekyava mu kino kwali kufumbiriganwa era embaga yaffe yaliwo mu 1974 e Makerere University mu St. Augustine Chapel.

      Emirimu gyange
      Wadde nakula ndaba abambejja n’abalangira nga tebakola mirimu givaamu nsimbi, ku nze si bwe kyali. Embeera yali tenzikiriza kutuula awo kusabiriza. Ekisooka nali nsomye. Nasaba omulimu mu kitongole kya Uganda Tea Authority gwe nafuna nga nsasulwa 1,500/-.

      Bwe natunula mu Kampala nga sirabamu saluuni y’abasajja baze we bamusalira nviiri nga ndaba agenda mu miti gya miyembe. Nasalawo okutandika saluuni y’abasajja eri ku mutindo gw’e Bungereza gye nali nkulidde. Natandika Bayanja Men’s Saloon mwe nkolera na kati. Eno esangibwa okuliraana Fidodido mu Kampala kyokka y’abasajja bokka.

      Wadde abambejja babayita lya ‘ssebo’ era abaami batufukaamirira, ekitiibwa ekyo mu bufumbo bwange sikikulembeza nsigala nga ndi mukyala mufumbo era nneeyisa ng’abakyala abalala, baze mmufukaamirira.

      Ng’oggyeeko emirimu egy’amaka gange n’egya saluuni yange, nnina emirimu gy’ennono egya Buganda gye nkola mu lubiri lwa Kabaka Kintu e Magonga kuba nze Nnaalinnya waalwo.

      Mwannyinaze Kabaka Ronald Muwenda Mutebi naye nsobola okumuwabula kyokka kino nkikolera mu kika kyaffe era tutera okusisinkana mu kika kyaffe.

      Bukedde Published on: Saturday, 2nd May, 2009

    Viewing 1 post (of 1 total)
    • You must be logged in to reply to this topic.

    Comments are closed.