UGANDA BAGIRONZE NGA MEMBER WA SECURITY COUNCIL UN

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Kasaaga Musaazi / Jokers Jottings UGANDA BAGIRONZE NGA MEMBER WA SECURITY COUNCIL UN

  • This topic has 6 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #17275
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

      Leero UN Security council yewemudde. So nno ate bulijjo ebaddenga yewemula, naye leero yemazeeyo. Wabula ekisinze okunnyumira kwe kubanga nga abakola ku kubonabona kwe nsonga zabomu North baali baloopayo emisango gavumenti ya Uganda, museveni ganga ye, nga bwebabatulugunyizza kati emyaaka 23. File nneene eriko nebifaananyi ebitambula ebyabaana abasibbwamu emitwe. Bali kyebavudde bamuwa medal. Slave keeper akoze obulungi omulimu gwe. Asse, asibye, ayavuwazza, atyobodde abaddugavu. Awerezza mu nsi za beeru abaddu abali willing. Ate obusente obubiri bwebakola bwababbako nabaddizayo abeeru mu ma bank gaabwe. Bulijjo Buganda bwekaaba nga tewali awulira. Ffe twamanya dda, nti kooya ka munyindo okejja wekka.

      #20023
      EfulansiEfulansi
      Participant

        Eyo security council si gyebatyobola wano ku kutandika kwolutalo mu Iraq? Haha, eyo bambi nayo gekaaba gekomba. Eyo nayo.

        #20035
        KalibattanyaKalibattanya
        Participant

          Oba balowozezza nti kababakwate bulungi gavumenti ya Museveni bagiwe ekifo bwekiti, kati awo ebeere nga eswaala okukola ebibi nga ensi yonna eraba kubanga ekifo nga kino kigitadde mu spotlight. Kati ayagala yenna okwekalakasa e ka eyo eno ye ssawa, ate abakulu mu security council banajjayo batya emmundu nebakuba abantu? Ebitiibwa biringa kiso, ekisala enjuyi zombi.

          #20040
          MulongoMulongo
          Participant

            Naye basaanidde ebitibwa mu bantu ababafaanana, nokufuna okuyozayozebwa okuva mu devilish empire.

            Balonze Uganda

            BUNGEREZA eyozaayozezza Uganda okulondebwa ku bwammemba bw’akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte ak’ebyokwerinda n’egamba nti erina esuubi nti ekifo egenda kukikozesa bulungi.

            Minisita wa Bungereza ow’ensonga ez’ebweru, David Miliband yategeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza nti ku lwa Bungereza yabadde akulisa Uganda okutuuka bwammemba bw’egenda okumalako emyaka ebiri.

            Kino kiddiridde Uganda okulondebwa ku kakiiko k’eby’okwerinda ak’ekibiina ky’amawanga amagatte ku nkomerero ya wiiki. Ate omubaka wa Bungereza mu kibiina ky’amawanga amagatte, Sir John Sawyers yagambye nti Uganda eraze obusobozi bwe yasindika amagye mu Somalia ne poliisi e Darfur’.

            Published on: Tuesday, 21st October, 2008

            #20051
            OmumbejjaOmumbejja
            Participant

              Twandyagadde obusakiriza obwo abe kisa babutukwatire ku butambi
              kuba nzijukira ne Sadamu yaliko abamuwaana eya yali BigDaddy nga tasobya nga buli kyakwatako kifuuka gold kuba mu mazima yali tatenguwa naye ebirungi byeyakolera aba muwaananga bwebyawola nebifuuka engeregeze, nebamuletera that golden rope era sijjukira yayimirira kumpi kumuworereza nga bweyali ekoze ekirungi kyonna
              Kirungi omuntu okukuwaana nakukwaata mungalo mu mukono ogumu ate omulala negukwaata filo yebikolobero nemisumaali egigenda okukomererwa mu keesi yo ngooyo yennyini akusomera nokulumiriza era nokwetondera nti i am so sorry but don’t take this person its just the law
              Ate naaba wakisa nakugamba oyogere ekigambo kyo ekisembayo
              kuba sijjukira oba bababuuza what do you want on your tomb stone
              Actually ffe abamanyi ebyaafaayo ate nga tuli banakinku mu zi bamps zi bampaane we are not impressed at all nze ndaba nga bakazi bajja buli omu bwagezaako okukuuta akagere akajjudde enkyaakya kyokka nga genda kuddamu kukatambuza mukisooto ate ekimyuufu

              #20053
              SengoobaSengooba
              Participant

                Ne bu kamuje bwesekeddeko nebugwa eri nebwevulunga mu ttaka. Kale, banaffe bagende balamule ensi yonna, ate ne Bungereza ne America tubagaliza ebyo byebagaliza abalala. Mwetegeke okulaba enkoona ya capitalism ne imperialism nga zinywa.

              Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
              • You must be logged in to reply to this topic.

              Comments are closed.