Endagiriro

Kintu Ne Nnambi
Omuntu okusobola okumanya ebitufaako, alina okusooka okumanya bwetwaatuuka okubeera wano. Bino bye byafaayo by’ensibuko yaffe.

Omusajja eyasooka ku nsi bamuyitanga Kintu. Yatambulanga ku nsi ne nte ye, eyamuwanga nebimu ku byetaago bye ebyo bulamu. Olunaku lumu yasisinkana Nnambi ne mwanyina Kayiikuuzi. Bano ababiri baali abamu ku baana ba Ggulu, era baali bazze ku nsi kutambulako. Nnambi yasiima empisa za Kintu ennungi, yeewunya engeri gyeyali abeerawo mu bulamu nga akozesa ebintu ebitono bwebityo, ate nga agumidde obwoomu bweyalimu. Era okugenda okudda mu ggulu nga Nnambi atandise okwagala Kintu, nga era asazewo okujja kunsi amubeese beese. Wabula bannyina ekintu kino bakiwakanya.

Ggulu naye teyagala kiroowozo kino. Naye Nnambi yamwegayirira okutuusa bweyasalwo okuwa Kintu ebigezo nga tannamukkiriza kuwasa Nnambi. Kintu ebibuuzo byonna yabiyita bulungi, era nebamukkiriza awase Nnambi amutwale ku nsi. Ggulu yabagamba okugenda nga obudde tebunnakya, era obutakoma mu kubo kudda kunona kintu kyonna. Ensonga eyokugenda kuno mu kyaama yaali ya kwewala mwanyina wa Nnambi, Walumbe okubalaba. Ggulu yabalabula nti bwaligenda nabo ku nsi agenda kubatawanya. Bwaatyo Ggulu yawa Kintu ne Nnambi ebirabo bye nsolo ezokulunda ne mmere eyokusiga. Nnambi yerabira emmeere yenkoko ze, bwabayanguwa okuddayo okuginona, Walumbe namulaba. Yamunenya okuba nga yali agenda nga tamusibudde, era nasalawo naye okugenderako. Kitaabwe ne baganda babwe abalala balemwa okumutangira.

Nnambi ne Kintu bajja kunsi, balima emmeere nebalunda ensolo nebazaala n’abaana. Emirundi ebiri Walumbe yagenda ewa Kintu nga amusaba omwana owokumuyambako munju ye. Kintu yajjukira Ggulu bweyamulabula , nagaana okuwa Walumbe omwana. Walumbe kyaava atta omu ku batabani ba Kintu. Kintu yagenda namuloopa ewa Ggulu. Ggulu yawereza Kayiikuuzi ajje kunsi agambe Walumbe okuddayo, oba kyetaagisa omukwate amuzzeyo lwaa mpaka. Walumbe yagaana okugenda ne Kayiikuuzi, okujjako nga ne Nnambi bagenda naye. Kayiikuuzi nagezaako okumukwata. Basooka nebalwana, okutuusa Walumbe bweyesimmattula nadduka nayingira mu ttaka, nga ne Kayiikuuzi amugoba. Ensi yakankana olwo musinde gwaabwe nga bafubutuka nokuddamu okwessogga ettaka. Kino bakikoleera ennaku eziwera. Kayiikuuzi bwalaba nga amaanyi ga Walumbe gakendedde nagamba Kintu ne Nnambi nabaana baabwe bamale olunaku lumu mu nju. Nga ayagala babere bokka ebweeru ne Walumbe kisobole okumwanguyira okumukwaata.

Entegeka eno teyakola, kubanga abaana abamu bajeemera ebiragiro bya Kayiikuuzi. Kayiikuuzi yabanakuwalira. Kintu yakkiriza nti omusango gwaali gugwe ne Nnambi abaleeta Walumbe ku nsi, era neyeyama nti agenda kuzaala abaana bangi, nti Walumbe nebwalibatta tagenda kubamalawo. “Bazzukulu ba Kintu tebaliggwa ku nsi.” Kayiikuuzi yaddayo ewa Ggulu naleeka Walumbe kunsi nga munyiivu okusinga bweyali abadde. Wabula yaleka awadde Nnambi ne Kintu amagezi nti bayigirize abaana baabwe okwekwata awamu omuganda. Wano wewava ekigambo Omuganda, abangi betuyita Abaganda. Kayiikuzi n’abagamba nti eno ye ngeri yokka Abaganda gyebagenda okusobola okulwanyisa Walumbe, kubanga nakati akamu kamenyeka mangu okusinga omuganda. Bwebatyo nabo bwebalyekwatanga awamu bangenda kubera bulungi mu bulamu ate bawaangaale. Naye bwebali kkiriza okwekutulakutula bagenda kubeera mu bulamu obutali bulungi ate bafe mangu.

Abantu bangi batabula Ggulu ayogerebwako wano, ne Ggulu Lubaale we ddembe. Naye bano ba Lubaale ba Buganda 69 baali bantu abatambulanga ku nsi kuno nga balina ebitone ebyenjawulo. Bwebaafa bebabeera amaanyi/emyooyo egiyinza okuyitibwa okuyamba abantu, buli gumu okusinziira ku kitone Lubaale ono kyeyalina nga akyaali muntu ,mulamu. Engeri Kintu gyaali omuntu eyasooka ku nsi, bano ba Lubaale mu kiseera ekyo tebaaliwo. Aba wandiisi abamanyi kino kyebava bawandiika buwandiisi ku Ggulu mu lugero luno nga oyo ali mu Ggulu the one in heaven, yadde nga abasinga tebakinyonyola.

Kati awo lwaki abedda tebamuyita buyisi linnya lye, Katonda we Butonda? Kirabika nti Ggulu lyaali linnya lilye yekka mu biseera ebyedda. Naye ebintu bitono abyaali bimumanyiddwako, n’okusooka byonna nti yeyatonda ebintu byonna ebirabika nebitalabika ( nga empewo). Era yali amanyiddwa akubeera owa maanyi ennyo atenga mukambwe. Olwensonga eno, abantu batya nnyo okumunyiza nebasalawo okumubeera ewalako, nga bwekyaali kisoboka. Kirabika amawulire agaali gasinze obulungi Abaganda gebaali bafunye, ebyaasa bingi oluvanyuma, gegagamba nti mu butuufu Katonda wa kisa, wa mukwano ate asonyiwa. Ku ludda olulala, abantu bedda baali tebagala kubuulira baana baabwe nti yeyaali Taata wa Nnambi, ate nga era ye wa Kintu. Kubanga baali bekengera nti abantu abamu bayinza okukitegeera obukyaamu, nebasalawo nti n’olweekyo aboluganda basobola okufumbiriganwa nokuzaala. Tulina okwebaza eri abakulu abanyumya olugero luno mu bulambirira bwaalwo, nokutangaaza nti Ggulu ali mu lugero luno yennyini ate ye Katonda we Butonda, era amanyibbwa nga Omutonzi, Lugaba, Omulamuzi Omukulu, Liiso Ddene, Ddunda.

Ekibuuzo ekirala bangi kyebeebuza kyeekyo nti Lwaki Kintu yanywa omusulo gw’ente natanywa mata? Okusooka tewaliwo kuzaala ku nsi, mu kiseera ekyo, nolweekyo tewaliwo mata. Ate nga Walumbe tanajja ku nsi ebintu byonna byaali birungi.

Kati olugero nga bwerugenda, Kayiikuuzi nga tanaddayo wa Ggulu, yagamba Nnambi ne Kintu bayigirize abaana baabwe bulijjo beekwatenga wamu mu kiganda. Olwokwagala okunywereza ddala omuganda guno mu bumu obuggumivu, Abaganda abedda bateekawo obuwangwa obwongera amaanyi mu kifundikwa ekibanyweeza awamu nga abomunju emu, era aboluganda. Era nga kino kinyonyola n’obuvunaanyizibwa bwa buli muntu eri munne. Okusinziira ku buwangwa buno, buli muntu ali ebintu bingi eri munne, maama w’omwana ate abeera muwala wa mwana oyo. Ne taata abeera mutabani wa baana be. Kale olw’okubanga taata wo muntu abeera ate taata wa jajja w’omuntu ono era, awo omuntu ono abeera muganda wa jajja we.

Kati awo okuva Katonda gyaali taata wa Kintu ne Nnambi, abeera Jajja wa Baganda eyasokera ddala, era nabo nebabeera Baganda Ba Katonda.

Olugero luno lwefaanaganya ko nolwa Bayibuli olwa Adamu ne Kaawa (Eva). Ekisinga obukulu mu byonna, kwe kuba nti Adam mu Lwebburaniya kitegeesa “Ttaka” era kitegeeza ne “Omuntu”. Ate Kintu mu Luganda kitegeeza “ekintu” ekitali muntu ate kitegeeza “omuntu omuggumivu.” Ate Eva ku Lwebburaniya kitegeeza “ekiramu” ate era ono amanyibbwa nga maama wa bantu bonna. Ate nga mu Luganda Nnambi kitegeeza, ekintu ekirina amakulu/amaanyi amekusifu, ageewunyisa. Era noono amanyibbwa okubeera nga ye maama wa Baganda ba Katonda.
Lyo erinnya Kaawa liva mu Hawah ekyo Luwarabu no Lwebbulaniya. Kitegeeza Mukwano; Omukka gwobulamu.

Comments are closed.