Wakitimba ono abamutambuza bamutaddewo olw’okwagala okuweereza abantu abamukozesa. Tukusaba asomeko mu mateeka agakolebbwa okusobozesa wakitimba ono okutambula obulungi. Okukozesa wakitimba ono kibeera kitegeeza nti okkiriziganyizza awatali kakwakkulizo konna na mateeka g’okumukozesa agali wammanga. Bwobeera olinamu wadde etteeka limu lyotokkiriziganya nalyo, tukwegayiridde tokozesa wakitimba ono.
- Obuwangwa ne nnono ya Buganda by’ebifufuga wakitimba ono, tokkirizibwa kubivvoola. Ennimi ezikozesebwa ku wakitimba Luganda na Lungereza. Tokozesa nnimi ndala kubanga zizibuwaza omulimu gwa batambuza wakitimba.
- Obwakabaka nga empagi ya Buganda ne Kabaka nga omukulembeze ku Nnamulondo ye ntabiro y’ Abaganda ne Buganda yonna. Tokiirizibwa kubivvoola.
- Okwewandiisa ku bifo ebye njawulo ku wakitimba kwetaagisa, okusobola okwetaba mu kubikozesa. Kino kikolebwa olw’okusobozesa enkozesa ey’obuvunaanyizibwa era n’ekitiibwa. Ebikwata ku bakozesa (amannya , endagiriro, n’ebirala) bikuumibwa nga byama, n’ekisumuluzo ekikuyingiza kikwekebwa, n’ebikwata ku muntu byonna tebiweebwa bantu balala. Enkola yaffe ya buli muntu kwewandiisa omulundi gumu ate nga yekka yakolera mu linnya lyeyewandiisizzaamu.
- Wakitimba ono wa kukubaganya birowozo. Ojja kusangako ebintu ebimu nga obwa nnannyini bwabyo bwa AbabaKa, ate ebimu nga abantu balala ababirinako obwa nnanyini, naye nga waliwo n’ebyaweebwayo nga bya lukale. Ebintu ebisangibwa ku wakitimba nga bya AbabaKa kikkirizibwa okubikozesa, kasita enkozesa ettukiriza akakwakurizo k’kubeera nti kyebigenda okukola kigasa Obwakabaka bwa Buganda. Kiyamba omuntu nabuuza okukakasa obwa nnayini bwekyo kyeyandiyagadde okukozesa.
- Okuwandiika ebitakwatagana, ebiteetaagisa, ebityoboola, ebivvoola (spamming), wamu n’okuddingana ennyo ebintu bye bimu na byebimu (flooding) – byombi ebyo tebikkirizibwa. Okuwanika ebiwuka, ebisiringanyi, n’ebibalaasi bye Tulojani (viruses, worms and Trojan horses) oba ebika ebirala ebye ntegeka ezoonoona komputa tekikkirizibwa. Okwo nga kwotadde n’ebikolwa ebirala byonna eby’obulabe eri enkola yawakitimba entuufu.
- Ebintu byonna ebiwandiike oba ebye ngeri endala yonna, ebirumya abalala, ebivvoola, ebijama, eby’obuseegu, eby’obuwemu, ebisosola mu bantu oba mu mawanga olwe bigendererwa ebibi, tebikirizibwa. Tokkirizibwa kuleeta bujegere obwe kika kyonna nga bugatta ku wakitimba ono ku ndala ezirina ebifaananyi oba ebintu ebirala ebikommola amagambo oba eby’obuseegu.
- Okulanga okwekika kyonna eky’obusuubuzi oba okw’ebyamaguzi ebye ngeri yonna, ebivuganya akatale tebikkirizibwa okujjako nga ofunye olukusa okuva mu batambuza Wakitimba. Nga ojjeeko emikolo egya Buganda gyokka – egisobola okubeera nga gikwatibwa wonna munsi yonna, nga ojjeko egyo, okulanga emikolo emirala gyonna tekikkirizibwa, okujjako nga ofunye olukusa okuva mu batambuza AbabaKa.
- Ebiwandiika ne byonna ebiwanikibwa ku Wakitimba ono buvunanyizibwa bwoyo abiwandiise oba abiwanise, tekitegeeza nti mu buli ngeri biraga ndowoza ya batambuza ba AbabaKa. Naye wadde ekyo kiri bwekityo, wakitimba asobola okubikozesa awatali kusaba kulala. Wakitimba talungamizibwa ssaawa 24 mu nnaku zonna 7.
- Abatambuza Wakitimba wa AbabaKa tebalina kunenyezebwa kwonna mu buterevu oba okuyita mu bukwakkulizo, olwebiyinza okwonoonebwa, okuva mu buweereza ku Wakitimba ono. Okukozesa Wakitimba obeera okkirizza obutabasalira musango gwonna olwe biwandiiko ebiyinza okubulankana, oba okuwummuza mu buweereza oba okubusalirako ddala.
- Abatambuza Wakitikba wa AbabaKa ba ddembe okukyusa amateeka gano awatali kulangirira kwonna, kisaanidde omuntu okuddamu okugakeberako oluusi n’oluusi okusobola okulaba nga gakyamugenderako.
Ennoono ya Buganda yefuga olukiiko luno. Eri oyo yenna atagimanyi oba atajjukira ebimu ku bigirimu, etteeka lye kikulisitaayo erigamba nti Yisa munno nga bweyandiyagadde nawe bakuyise” liwereza bulungi.