Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ggwanga Mujje / Come Nation › List Ya Abalabe Ba Buganda Abomunda
- This topic has 10 replies, 7 voices, and was last updated 3 years, 10 months ago by Sidneywousy Sidneywousy.
-
AuthorPosts
-
June 20, 2012 at 9:32 am #19130
Buli alina gwomanyi omulabe wa Buganda awo munda teeka wano erinnya, tumugobereere wamu n’emikwaano n’abantu be tusobole okutangira ebikolobero byebategese okukola ku bwaKabaka bwaffe n’abantu baawo.
Alintuma nsambu
[attachment=2563]1340040642.jpg[/attachment]Alintuma nsambu agenze ewa Katikkiro mu nkukutu n’amugoba
Alintuma Nsambu eyeesimbyewo mu kuddamu okujjuza ekifo ky’omubaka wa Bukoto South mu disitulikiti y’e Lwengo, agenze mu nkukutu ewa Katikkiro J.B. Walusimbi okwetonda olwokuvvoola Ssaabasajja Kabaka kyokka n’amugoba addeyo asooke atuukirize obukwakkulizo bwe yamuteereddewo.
Ensonda ezeesigika zaategeezezza olupapula lwa Eddoboozi nti Nsambu yagwikiriza Katikkiro mu wooteeri ya Pope Paul e Lubaga n’amusaba akkirize okwetonda kwe, yeenaazeeko ebimwogerwako nti yavvoola Ssaabasajja Kabaka n’okutyoboola Namulondo.
Ensonda enneekusifu zaatukakasizza nti, “Katikkiro yategeezezza Nsambu nti bw’aba awulira ng’ayagala okwetondera Obwakabaka, akikole ng’okulonda kwa Bukoto South kuwedde kubanga Obwakabaka n’Obuganda bwonna bwawulira ebigambo bye yayogera era ne bakitwala nti bituufu kuba yasirika busirisi mu biseera webyabeererawo.”
Ensonda zaagasseeko nti Katikkiro yagambye Alintuma Nsambu nti singa agenda e Mengo mu kiseera kino, kijja kukakasa nti ebyo ebimwogerwako ddala yabikola era yabyogera, azze kwetonda kuba ayagala okuwangula ekifo kya Bukoto South.
Wabula omu ku bali ku ttiimu ya Alintuma Nsambu emunoonyeza obuwagizi ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza olupapula luno nti ekya Alintuma Nsambu okugenda e Mengo okwetonda oluvannyuma lw’akalulu ka Bukoto South baakigaanye kuba kijja kuba tekikyabayamba.
“Ffe twasazeewo tugende ne Alintuma Nsambu e Mengo n’ensimbi (teyazogedde muwendo) waakiri tudduukirire ku mulimu gw’okuzimba amasiro, tugule ne satifikeeti naye ng’ekiri emabega wa bino byonna, tugenda kwetonda kuba mu mazima tetulina wetuyinza kusabira Alintuma Nsambu kalulu nga tannaba kwetonda,” Bw’atyo bwe yategeezezza.
Eddoboozi lifubye okutuukirira Katikkiro J.B. Walusimbi okutangaaza ku nsonga eno n’agamba nti Nsambu bw’aba ayagala okwetonda, ayite mu makubo amatuufu so si byakumusanga mu bbaala. “Bw’aba ayagala okwetonda alina kujja ku kitebe ekikulu ekya Buganda e Mengo ne tuwuliriza ensonga ze n’Obuganda bwonna ne buwulira ky’agamba ne tulyoka tulaba ekyokumukolera, so si byakunsanga mu bbaala,” Katikkiro.Nsambu ayogedde
Ku ssande Nsambu yabadde ku kisaawe ky’essomero lya Kasaana Muslim Primary School mu ggombolola y’e Kingo okumpi n’olubiri lwa Ssaabasajja Kabaka olw’e Nkoni ng’atongoza akakiiko akagenda okumuyiggira obululu, n’asaba Mengo emuddiremu emusonyiwe ku bigambo bye yayogera ebivvoola Kabaka ne Namulondo.
“Nsaba munsonyiwe ku bigambo bye bangamba nti nabyogera okuvvoola Namulondo. Oba nabyogera oba ssaabyogera, kano ke kaseera ak’okusonyiwagana, tewali atasobya. Singa nali ssaagala Buganda singa ssaagabira masomero gali mu kitundu kino kompyuta okutumbula amagezi ag’ekikugu naye olwokuba ngyagala, ky’ova olaba nga ssaazitwala Mbarara oba Gulu.”
Yannyonnyodde nti abadde yaakamala okusisinkana Katikkiro wa Buganda, Owek. John Baptist ku nsonga y’ebigambo bye yayogera wabula n’amunenya (Katikkiro) olwokutwala ebbanga eggwanvu nga takyalirako Mengo okumenyawo bye yayogera ku Ssaabasajja.
“Namaze okusisinkana Katikkiro ku binjogerwako era n’annenya olwokutwala ebbanga eddene nga sseetonze ku bye nayogera ku Kabaka okutuusa wentuukidde mu biseera by’okulonda wembeetaagira,” Nsambu bwe yategeezezza.
YEJJUSA
Mu kampeyini z’omwaka oguwedde, Alintuma Nsambu yakuba olukungaana ku kyalo ky’e Nakiyaga mu muluka gw’e Kanywa mu ggombolola y’e Buwunga ng’anoonya obululu okuwangula ekifo ky’omubaka wa Bukoto East, n’awalampa Ssaabasajja Kabaka ku mannya n’ebitiibwa ebimuweebwa, n’alangirira mu lwatu nti, “Akalulu kendimu kaakuvuganya ne Kabaka.”
Mu lukungaana lwe lumu yayita omu ku bavubuka eyali azze okuwulira by’ayogera n’amulagira atandike okumenya amannya Abaganda ge bayita Kabaka era bwe yatuuka ku Lukomanantawetwa n’amugamba nti, ” Koma awo, Lukoma wammwe nze namuweta!”
Yayongera n’ategeeza abantu nti, “Ekisinga okunyiiza ke kajanja k’Abaganda ku mannya n’ebitiibwa bye bayita Kabaka. Ogenda okuwulira nga bamuyita Lukomanantawetwa, ekitegeeza nti takwatwako. Naye nze namuweta bwe naggala leediyo ya CBS n’atuuka n’okunneegayirira era singa tekyali ekyo, leediyo yaabwe teyandigguddwa.” Teyakoma awo yayongerako nti, “Nze Nsambu sisobola kufukaamirira muntu ayambala empale nga nze, ebyo nabirekera bajinga,” bw’atyo Nsambu bwe yakawangamula n’agattako nti, “Abaganda basaanye bakimanye nti nze nina ekisumuluzo kya leediyo zonna mu ggwanga, n’olwekyo ndabula nti singa tebakomya kumpalampa, nja kuddamu mbakaabye.”Ensonda mu nkambi ya Nsambu zigambye nti, “Twagala n’okugendako mu sityudiyo za CBS twogereko n’abakulu batugambire ku bakozi ba CBS bakendeeze ku ‘mbooko’ ze batukuba ate n’omuntu waffe ayogereko eri abalonzi ku mpewo.”
Nsambu yeesimbyewo n’abantu abalala musanvu okuli ne Ssaabawandiisi w’ekibiina kya DP, Matia Nsubuga.
June 22, 2012 at 10:38 am #27961BANO ABAVOOLA KABAKA WAFFE BETAAGA KUBOOLA
Kyenyamiza nnyo okulowooza nti eyeyita omuganda okwagala okufuna ebitiibwa oba obugagga nti alina kuvuma nakutyoboola Kabaka na bwakabaka bwaffe , sikitegeera oli okusinziira kweebyo byaaba ayogedde okulowooza nti anaddamu okukulembera abaganda abakkiririza mu buwangwa bwaabwe nabantu baabwe bebasaamu ekitiibwa,
Ebigambo ebyo bwooba tosobola kubigamba kitaawo, lwaaki olowooza nti osobola okubigamba omuntu omukulu waliwo okwolesa obutali bugunjufu nokuva mu maka omutaali kubulirira kiki ekyogerebwa oba ani gwotosobola kumala gogerera buli kyotolowozezaako
Oyo omuntu afanana bwaatyo teyetaaga kubaako kifo kyonna mu Buganda kyabuvunanyizibwa kubanga twagala abantu abanalaga emiti emito ebituufu so sikumala gagenda nga bakasuka buli kibali ku mitima nga tebamaze nakukirowozaako . Ekikulu abantu abengeri eno bwebamala okugwa mu nsobi nebalaba nga byebogedde tebibayambye ate nga bakyayagala okufuna emirimu mu Buganda nga batandika okubuna obufofofo nokuwammanta wa webanasangulira byebamokkodde
Naye nga kati kyekiseera abaganda okulaga abantu nga bano nti okuba ne mpisa ensiwuufu kireme nakatono kokka okukkirizibwa era babolebwe nga nekumikolo tebayitibwa era nga nekugyaabwe tetugendayo tutangire abalina endowooza eno bweeti eyokusimulira ku balala ebisooto nga noonya amannya nebyenfunaJune 27, 2012 at 1:25 am #27964Bya BENJAMIN SSEBAGGALA
MINISITA w’abavubuka e Mmengo Florence Bagunywa Nkalubo agambye nti ekiseera kituuse Buganda edibye obuwangwa obumu kubanga tebukyalina makulu.
Yagambye nti akalombolombo ka Kabaka okusooka okusisinkana Nakku ng’anaatera okuwasa tekikyalina makulu balina okukisuula.
Bagunywa bino yabyogedde atongoza Good Will College e Bunnamwaya Kisigula ku nkomerero ya wiiki ewedde.
Bagunywa yasoose kwetondera abaabadde ku mukolo olw’okujjira mu biteteeyi ku mukolo gwabwe ng’agamba nti yabadde alina enkiiko endala ze yakeddemu ezaamasomero ezaabadde zimwetaagisa okwambala bw’atyo.
Abayizi nga bakulemberwa omusomesa waabwe Remegio Walusimbi baakung’aanye okuva mu matendekero ag’enjawulo n’amasomero ga ssiniya baasisinkanya mu kaweefube w’okutwala ekibiina kyabwe mu maaso. bukedde
July 2, 2012 at 1:06 pm #27822Kino sikyekiseera okuleka buli alina kyeyenonyeza okutuzza mu byekigwenyufu byaabwe abantu bali mubulumi okuba nti ate betangira nabeyita abaganda obutamala galowooza nebamala gogera balowooza babawaana atayagala bya Buganda baddembe okugenda nebebalaba nti bebasinga mu buganda tetukwatiramu batatwagala nabyaffe mukifo kyoono eyakuzibwa nga talina mpisa nakatono omusajja omukulu okulowooza mbu alya amannya okugenda nga manyiira Kabaka waffe akimanyi nti naye talina amumanyi era yetaaga kumumanya noobwo obuyisa bwe obwomubiduula obusiwuufu.
Ate ekyokuwa buli muntu akazindaalo tekitegeeza nti amateeka gakola mu maka go golina okussa ku ggwanga eddamba mu Buganda okuba nti buli kika kirina omulimu gwe kikola yengeri yokka eyatukumira awamu munjawukana zaffe nga teri noomau akayana wadde okwekaanya sirowooza nti waliwo ekika ekizitowerera emirimu nobuvunanyizibwa , lwaaki ku mulembe gwa m7 kwekusinze okubaako buli omu akyuuse kino nakiri simaanyi mwaali mukigenderedde nti abatali baganda bebasinga okwagala okukyuusa ebyaffe kisingako abakulu kyebagamba nti bwooba tolina kirungi kyogenda kugamba bantu naddala mubiino ebiseera ebya kazigizigi nobukoowu kisingako nosirika kuba oyinza okwesanga ngomutwe gwo gufunye aguwekulako nakuwonya okukoyesa abantu kino kigenda nabuli mukazi yenna agufudde omugano ogwokutumanyiira r ne bikwaata ku buwangwa bwaffe abagala okukyuusa kmugende mukyuuse amaka gammwe.July 5, 2012 at 10:17 am #27823AmawulireNsambu asuubizza okubunyisa amasannyalaze mu Bukoto South
Jul 05, 2012
Munnakibiina kya NRM Aisha Kabanda (ku kkono) ng’ayamba ku Nsambu okwambala gomesi abakyala gye baamKampala
Bya Ahmed Kateregga
ALINTUMA Nsambu yeeyamye okuyamba abakadde, okubunyisa amasannyalaze mu Bukoto South n’okusitula omutindo gw’amasomero n’amalwaliro singa anaalondebwa okukiikirira ekitundu ekyo mu Palamenti.
Mu nkung’aana ze yakubye e Lwengo, yagambye nti agenda kufunira abakadde ettaala ezikozesa amaanyi g’enjuba bawone ttadooba.
Agenda kugula ssukaali n’obuugi n’amaseffuliya bissibwe mu masomero olwo abaana baleme kusiiba njala. Okwo ajja kugattako okunyunyisa amasannyalaze, okusima nnayikonto ku buli kyalo n’okuzimba eddwaaliro mu buli muluka.
Nsambu avuganya ne Mathias Nsubuga (DP); Julius Sentamu (FDC), Herbert Lwanga, Dan Katula ne Yusufu Lubega Masengere abeesimbyewo ku lwabwe.
Ekitundu kino kyali kikiikirirwa Haji Muyanja Mbabaali eyasazibwamu kkooti olw’obuyigirize. Okulonda kwakubaawo wiiki ejja nga July 12.
Pulezidenti Museveni agenda kutalaaga ekitundu ekyo nga July 8 ng’anoonyeza Nsambu akalulu.
Kampeyini za Nsambu zeeyongeddemu amaanyi olw’ekibinja ekimunoonyeza akalulu ekikulembeddwa Ssentebe w’e Luweero, Abdu Nadduli ng’ali ne Hajati Aisha Kabanda ne bakakuyege ba NRM e Masaka okuli Haruna Numba ne Bulu Mulaalo ow’e Kyazanga.
Baakubye enkung’aana okuli olwabadde e Nakateete mu Ggombolola y’e Kisekka, ku Mmande olwayogereddwamu abakulembeze b’Abanyarwanda okuli Numba ow’e Kalungu, Bulu Mulaalo (Kyazanga) ne Teopisita Mbabazi ow’e Kinoni abaagambye nti balina essuubi mu Nsambu okusitula embeera y’ekitundu ng’ayita mu kukozesa ekifo kye n’emikwano mu NRM eri mu buyinza.
Nadduli nga ye Ssentebe wa NRM mu Buganda yatenderezza Abanyarwanda be yayogeddeko nti balina enkizo olw’okuba baava mu Bayudaaya, abalonde ba Katonda, aboogerwako mu Bayibuli ne Kulaani n’abakuutira obuteemotyamotya, boolese ennono yaabwe omuli n’amannya.
Yagasseeko nti kya bulabe aba DP okwesiba ku Kabaka kuba tetwagala kudda mu byaliwo mu myaka gye 60, bwe wassibwawo Kabaka Yekka.
“Aba NRM ffe twazzaawo Obwakabaka era tewali ayagala Kabaka kusinga Museveni y’ensonga lwaki abaserikale abakuuma Kabaka bali mu kibinja ekikuuma Pulezidenti”, bwe yategeezezza.
July 5, 2012 at 2:12 pm #27824Nadduli warns of trouble for Kabaka over Bukoto election News
Weekly Observer Tuesday, 03 July 2012 23:29 Written by Sadab Kitatta Kaaya
Seven days to polling day in the Bukoto South by-elections, NRM vice chairman (Buganda region), Abdul Nadduli, has warned of trouble for the Buganda’s monarch should the ruling party’s flag bearer, Alintuma Nsambu, lose.“If the Kabaka turns into a [vote] winning factor, he is going to find himself in trouble. He is going to go on a collision [path] with the central government because he will be seen as failing the government,” Nadduli said while addressing the South Buganda Journalists’ Association weekly press conference at Hotel Brovad in Masaka.
The Luwero district chairman, who has camped in Masaka to campaign for Nsambu, related his remarks to the events of 1966 — the attack on the Kabaka’s Mengo palace, his fleeing the country and the subsequent abolition of traditional and cultural institutions. Nadduli’s warning comes after the Mengo minister for youth, Florence Bagunywa Nkalubo, on Saturday declared Alintuma Nsambu an enemy of the kingdom and asked the police to arrest a group of youth that move with him donning T-shirts labelled Nkoba za Mbogo, a pro-Kabaka Buganda youth association of mainly students in tertiary institutions.
Speaking at a thanksgiving ceremony for the Mengo minister of state for youth, Noah Kiyimba, in Kibaale village near Kinoni trading centre, Bagunywa warned of punitive measures against the said youth, who are campaigning for Nsambu, a “renowned enemy” of the kingdom. The katikkiro (prime minister) of Buganda, John Baptist Walusimbi, who was chief guest, did not respond to the remarks.
But Nadduli says Mengo leaders should avoid associating the kingdom with politics, warning that doing so could plunge the Kabaka into trouble.
“Relating the Kabaka [to this by-election] is like digging another grave for him,” said Nadduli.
Asked to comment on the reluctance of NRM legislators in the area to support Nsambu and the resolution of the Buganda parliamentary caucus to reject his candidature for allegedly making derogatory remarks about the Kabaka, Nadduli said: “They are ambitious about being included on the cabinet list, and could be looking at Nsambu as a threat to them.”
“This hate campaign against [Nsambu] could even be engineered within the circle of ministers. Some ministers are behind the campaign to fail Nsambu,” Nadduli said.
Meanwhile, President Museveni is expected to join Nsambu on the campaign trail on July 8, and is scheduled to address two rallies: at Kiwangala in Kisekka sub-county and Nkoni in Kingo sub-county. And, as Nsambu hosts the President, his main rival and DP candidate, Mathias Nsubuga Birekeraawo, will be hosting musician Bobi Wine, who is expected to apologise to the constituents and the Kabaka for performing at one of Nsambu’s earlier rallies.
The musician was heckled, June 23, when he performed at a rally that also featured prominent artistes including Jose Chameleone, Iryn Namubiru, Bebe Cool and Raga Dee. The crowd was particularly unhappy with Bobi Wine alias Omubanda wa Kabaka (Kabaka’s ghetto boy), accusing him of betraying the Kabaka. His fans threatened to boycott his performances until he apologises.
July 10, 2012 at 10:52 pm #27828http://www.youtube.com/watch?v=NTGmsQpWF0I&feature=relmfu
Abantu bakoowu!! Abanalwa okuyiga bajja kubonabona nnyo.
July 15, 2012 at 1:05 pm #27987‘Kabaka can be removed’
Monday, 21 September 2009 09:55 Written by OBSERVER TEAM
Muganda Minister advises MuseveniA new eyebrow-raising account of the September 10 State House meeting between President Museveni and Buganda MPs at the peak of the stand-off between Buganda Kingdom and the Central Government reveals that some senior Baganda government officials turned their guns on the Kabaka.
The Observer has learnt that a long-serving Muganda minister, Janat Mukwaya, suggested during the meeting that the king who was considered the cause of the riots could actually be forcibly removed by his subjects for misbehaving.
The most senior Muganda official in government, Vice President Gilbert Bukenya, called for tougher action against the media and the kingdom.
He wondered: “Where should a cultural leader stop?” This was in response to Museveni’s lamentation that the Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, was fiddling with everything in the land.
Sources at the meeting have told us that MPs appeared to be competing to impress the President in their anti-Buganda presentations. Below is a carefully written account of what was said by some of the Buganda MPs, according to sources who attended the meeting.
Prof. Gilbert Balibaseka Bukenya (Vice President and Busiro North MP)
I thank Your Excellency for the strong stand you have so far taken. We should quickly come up with stringent guidelines on the press and radios. Where they have reached, they have become a menace. (CBS had just been switched off air).
Where should a cultural leader stop?
It sometimes sounds ridiculous when I hear Betty Nambooze representing Kabaka and talking politics. I hope the Kabaka can be told in no uncertain terms not to go to Kayunga. This is because Kayunga comprises all tribes of Uganda.
Robert Kasule (Kyadondo North)
Who is in charge of MPs? The first time it was Theodore Ssekikubo speaking for Buganda MPs, the next time it was Ibrahim Lubega Kaddunabbi. Who is supposed to give the position of Buganda NRM MPs?
I was shocked, Your Excellency, when I learnt that MPs from Buganda had been summoned to the Members’ Lounge at Parliament to receive instructions from Mengo that were delivered by Betty Nambooze. That is why I didn’t join them when they walked out of Parliament yesterday, September 9. (He is booed for what colleagues perceived to be deliberate lies and Museveni has to shout: “order, order” several times).
Janat Mukwaya (Mukono South MP, and General Duties Minister)
I thank you Mr. President for the action you have taken so far (deployment of the Army/Police and closure of CBS).
The Bakobi (ordinary people) can remove the Kabaka when he is not behaving well. Yes, it is provided for in our culture and norms Bakopi can remove a king. We didn’t fight to bring freedom only for it to be excessively abused by the lawlessness and recklessness on radios. Excessive freedom is being abused.
Tom Kazibwe (Ntenjeru South, Kayunga)
Mr. President, who do you recognise as Ssabanyala? There is Kimeze who is hated by many Banyala, there is Nkojo who is recognised by some, and there is Namuyonjo as well. There is no consensus as to who the leader of Banyala is.
Besides, it is too late for you to stop the visit of the Kabaka. You should have stopped it long ago if you knew it was not right. Stopping it now could be chaotic.
Florence Nayiga (Woman MP, Kayunga)
Mr. President, the people of Bugerere, including Banyala, are prepared to receive the Kabaka. In fact, the youth are jubilating because they want the Kabaka to give them part of the Shs2 billion (prosperity for all) money that you gave him. You said Nakasongola passed a district resolution against Kabaka’s visit. In Kayunga the district resolution is that the Kabaka should come. Museveni responds by telling Nayiga that the main issue is joogo (disrespect)!
Peter Nyombi (Nakasongola).
Article 246 of the Constitution envisaged that Parliament or the Executive will make a law to operationalise traditional institutions. I am surprised we have not dealt with it. (This became part of the resolution and part of Museveni’s address to Parliament last week).
Charles Bakkabulindi (Workers’ MP and Minister of State for Sports)
Your Excellency, I am surprised you are curtailing Police from exerting itself. You need to leave Police to use full force to deal with the situation.
Joseph Mugambe (Nakifuma)
Mr. President, we shouldn’t allow minority dictatorship. The Banyala are just 7,000 in that area, while Baganda are about 90,000. The Banyala are now going to suffer a backlash. What is it that you benefit from elevating the minority over majority? There are more Kusu from Southern Sudan in that area because it neighbours my constituency. The Kusu on Friday had their cultural assembly and they were given security. Suppose Nubians in Bombo woke up one day and stopped the Kabaka from going to his Bamunanika palace!
HOW CAUCUS WAS BROKEN
Before meeting the President, Buganda MPs had planned to meet and generate consensus amongst themselves, but our sources tell us that state agents ensured that this meeting flopped.
President Museveni reportedly phoned some key power-brokers and asked them to abandon the pre-Entebbe Buganda Caucus meeting.
Consequently, the Chairperson of the Buganda Parliamentary Caucus, Rose Namayanja Nsereko, sent phone messages canceling the meeting that was scheduled to take place on Thursday, September 10, at Parliament.Namayanja reportedly claimed that some of the caucus members were attending an emergency Cabinet session. The reason some MPs suspect foul play on the part of Namayanja is because she had earlier hidden away from the group when they wanted the caucus to discuss the standoff between President Museveni and Buganda.
In attendance were
Gilbert Bukenya (Busiro North)
Joseph Kasozi (Youth)
Peter Nyombi (Nakasongola)
Sulaiman Madada (Bbale)
William Nsubuga (Buvuma)
Maguli Maali (Kooki)
Grace Namara (Lyantonde)
Isaac Sejjoba (Bukoto Mid-West)
Farida Najjuma (PWD)
Mary Nalugo (Mukono)
John Bosco Lubyayi (Mawokota South)
Haruna Salabya (Kassanda North)
Florence Nayiga (Kayunga)
Sarah Nansubuga (Ntenjeru North)
Aboud Kitata (Bukoto West)
Vincent Nyanzi (Busujju)
Pius Mujuzi (Kyotera)
Lule Mawiya (Kalungu East)
Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga)
Peter Mutuluza (Mawokota North)
Iddi Kisiki Lubyayi) Bukomansimbi)
Anthony Iga (Kalungu West)
Rose Namayanja (Nakaseke)
Katende Ssematiko (Mityana North)
Kazibwe Tom (Ntenjeru South)
Margaret Zziwa (EALA)
Janat Mukwaya (Mukono South)
Fred Badda (Rujumba)
Syda Bbumba (Nakaseke)
Charles Bakkabulindi (Workers)
Ali Sekyanzi (Bamunanika)
Joseph Kifomusana Mugambe (Nakifuma)
Mathias Kasamba (Kakuuto)
Grace Tubwita (Nakasongola)
Mike Sebalu (EALA)
Ibrahim Kaddunabbi (Butambala)
Rebecca Nalwanga (Luwero)
Nalubega Mariam (Youth)
Sylvia Namabidde (Mityana)
Bakaluba Mukasa (Mukono North)
Ruth Kavuma (Kalangala)
Sauda Namaggwa (Masaka)
Apollo Nsibambi (sent apologies)
Moses Byaruhanga (Presidential aide)
Abbey Mukwaya (Political Director)
Amelia Kyambadde (PPS)
newseditor@observer.ugJuly 19, 2012 at 1:20 am #28019Mukusooka nga tuva ku asoose Bukenya ebigambo byeyayogera ndowooza amagoba yagafuna ate bagamba nti byerabira mugambi kubanga Bukenya emikolo gyonna egyaberanga e Mengo nga yasooka nokusaba chaai nga baliyo bwebakyewunyanga.
Nze nkiddamu nti omuganda amanyi ebyokwogera ne neyisa mu Buganda kyoova olaba nti abamannya obunnya bagwa mangu mu nsobi okuwaana m7 tekimugaana kukubonerezaJanat Mukwaaya mukazi mugisu ayinza okuba ngewaabwe e bugisu bagoba abakulu baabwe nga bwebagamba janat yazaala mu Muganda tekimufuula muganda yensonga lwaaki ayogera byayogera
wewuunya lwaaki basinziira mu Buganda kyeekyo kyennyini buli mbuzi nedda ku nkondo yaayo wano abagisu bakutte buli mu muntu eya genda ewaabwe bamusaze embalu tewali kufaayo oba abantu bebasala balwadde oba byebasaziza biyonjo oba bijama nga bewaddeyo okutta abatali bagisu okubasaako ebyobuwangwa byaabwe kyokka tetunwulirayo janat mukwaaya bwabivumirira kyokka kyamanyi nti kinasanyusa mukamaawe m7 ayanguwa okukyogeraYe Mwaami Kasule anzijukiza akaana akato akesokanga abazedde nga babadde tebaliwo nekatandika okuloopa nokulaga nti ko kekawulirize
Peter Nyombi
Si muganda egwanga lye balyogera nja kulireeta bano bonna betuuma amannya amaganda enjogera ne bikola byebibaliipa kiki kyebali kyoova olaba ntibonna badduka ewa mum7 nga bakoota koota ba yes man nabo tabawa kitiibwa kubanga abamanyi ki group nengeri zaabwenaye ekikutte obudde bwekiri buta, banaffe bano bagenda kwanukula abaganda abasunguwavu
January 2, 2021 at 1:40 am #51764It was 7 years ago today that Richard passed…wow…i miss him everyday…
currently producing a documentary on his life…and new audio box set I love you Richard :An English-dubbed Dutch horror film about Sinterklaas being a serial killer[url=https://forum-bioenergetik.info/gay-vergewaltigung-porno.php ].[/url]
January 2, 2021 at 10:16 pm #51768control will let you have your mouse in game. you can do everythng there by clicking if need be. otherwise a full list is avail in game or in battle in the settings menu
An English-dubbed Dutch horror film about Sinterklaas being a serial killer[url=https://forum-bioenergetik.info/gay-sauna-kalkar.php ].[/url]
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.