Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Ebyemizannyo / Sports › Emipiira Gy’ebika By’A baganda
- This topic has 31 replies, 6 voices, and was last updated 6 years, 1 month ago by Kulabako.
-
AuthorPosts
-
June 16, 2009 at 5:52 am #19141
Batabukidde abacuba
Written by LWANGA KAMERE
Monday, 15 June 2009 20:00AKAKIIKO akaddukanya emipiira gy’ebika by’Abaganda akakulirwa John Ssebaana Kizito kayisizza amateeka amakakali okugenda okuddukanyizibwa empaka z’omwaka guno.
Ekika ekinaalimbaga oba okubuzaabuza ku buzaale bw’omuzannyi oba ekinaazannyisanga eyakola ekisobyo kyakutanga emitwalo 10.
Ekika ekinaazannyisa atava mu bika 56 kyakutanga emitwalo 15 era tekikkirizibwenga kwetaba mu mpaka eziddako okutuusa nga kisasudde omutango ogwo.
Ebyo nga bikyali awo, leero bazzukulu ba Namwama abeddira Ekkobe lwe bazzaayo engabo gye baawangula omwaka oguwedde nga bagiyisa ewa Katikkiro wa Buganda, Ying. J.B Walusimbi.
June 16, 2009 at 9:54 am #23946Hahahah omulabye awo bwagambye mu lu diplomaati, mbu anazanyisa atava mu bika 56, aleme kugamba nti anazanyisa atali Muganda. Okwonno kweluma lulimi!! Gyooba bbo balina akadde mu kutyoboola abya Buganda n’Abaganda.
June 17, 2009 at 12:29 am #23955Embogo ekitutte
Written by Moses Nyanzi
Tuesday, 16 June 2009
BAZZUKULU ba Kayiira, Abembogo, balinnyiridde bazzukulu ba Gabunga Abemma-mba mu fayinolo y’emipiira gy’ebika bya Buganda egibadde giyindira e Nangabo.Embogo yakubye ggoolo 3-0 n’esitukira mu sseddume w’ente abadde awakanirwa. Fayinolo yabadde ku kisaawe e Gayaza. Ekitundu ekisooka kyawedde bali 0-0.
Ebika 18 bye byetabye mu mpaka z’omwaka guno ng’emipiira gyategekebwa ab’eggombolola y’e Nangabo.June 20, 2009 at 6:20 am #24046‘Tetubatya’
Friday, 19 June 2009 12:27
Effumbe liwera kufutiza Ngeye nga Kabaka alabaEffumbe ligenda kusubwa Kigozi (ku kkono) owa URA.
Leero e Nakivubo: Engeye – Ffumbe, 10:00
BAZZUKULU ba Walusimbi (abeffumbe) n’aba Kasujja (abengeye) basuubizza okulaga Kabaka omupiira omunyuvu olwaleero e Nakivubo mu nsiike eggulawo empaka z’ebika by’Abaganda ez’omulundi ogwa 35.Ttiimu zombi zisabye Abaganda n’ab’amawanga amalala abanyumirwa omupiira, okubaawo ng’abajulizi nga buli emu ewera nti egenda kuwandula ginnaayo mu mpaka zino ezeetabiddwaamu ebika 41 nga zisasulirwa kkampuni y’amafuta eya Kobil.
Omutendesi w’Effumbe, Fred Kajoba, agambye nti wadde SC Villa yagaanidde omuzibize we, Godfrey Walusimbi ate nga ne URA emuwaddeko mukwasi wa ggoolo, Eddy Kaweesa n’eremera Ismail Kigozi ne Manko Kaweesa, alina abalala abagenda okuziba amalibu ago bafutize Engeye.
Wabula owaamawulire wa ttiimu eno, Ben Kasolo, yalabise ng’atidde Engeye bwe yagambye nti bakyayogereza URA ne Villa zite abazannyi abo baleme kuwanduka mu maaso ga Kabaka.
Ye omutendesi w’Engeye, Paul Kiwanuka, agambye nti abazannyi be balamu tteke nga talaba kinaabalemesa kumegga Ffumbe nga Kabaka alaba. Omupiira gugenda kulamulwa Denis Batte.
Effumbe: Eddy Kawesa, H. Ntege, S. Senoga, A. Mayanja, A. Ssekabira, W. Musazi( M. Kawesa), I . Ntege, A. Nduga, , D. Walusimbi, I. Ntege.
Engeye: Abu Kalule, O. Kasule, P. Ssenfuka, J. Kibirige, E Kagimu, S Jjingo, I . Jjingo I. Kalule, E. Kalungi, J Kalule, J Bakkabulindi ne J. Kalule.
June 21, 2009 at 6:59 am #24053Ffumbe triumph
Bika football tournament
Ffumbe 2 Ngeye 1Tomorrow
Ababiito v Obutiko
Ndiisa v NkerebweBY NORMAN KATENDE
VETERAN Mathias Kaweesa and Alex Ndugga struck to hand Ffumbe a 2-1 victory over Ngeye in the opening game of the Bika soccer tournament at Nakivubo yesterday.
Kabaka Ronald Mutebi was the chief guest.
Published on: Saturday, 20th June, 2009
June 28, 2009 at 5:03 am #24145Engo eyagala kubwebwena Ngabi Nnyunga
Bya Lwanga Kamere ne Abdallah Mubiru
Leero e Wankulukuku:
Ngo – Ngabi Nnyunga, 10:00BAZZUKULU ba Muteesaasira (Abengo), abaawangula engabo y’emipiira gy’ebika by’Abaganda mu 2000, batandika leero kampeyini z’empaka z’omwaka guno.
Battunka n’Abengabi Ennyunga e Wankulukuku okulabako anaazannya
n’omuwanguzi wakati w’Enjaza n’Omusu abaabika enkya mu kisaawe e Nakivubo.
Published on: Saturday, 27th June, 2009
June 29, 2009 at 8:52 am #24166Engo egobye
Bya LWANGA KAMERE
Sunday, 28 June 2009 15:51GGOOLO ya kyeteeba ye yatakkuludde Engo ku Ngabi Ennyunga mu mupiira gw’empaka z’ebika by’Abaganda ogwazannyiddwa eggulo mu kisaawe e Wankulukuku.
Omuzibizi Fred Muwonge, ab’Engabi Ennyunga gwe beevumye okubawandula mu mpaka zino bwe yeeteebye mu ddakiika eya 30 ng’agezaako okuggyamu ggoolo.
Engo kati ezzaako awangula ku Njaza n’Omusu abaabika leero e Nakivubo.Ngo 1 Ngabi Nnyunga 0
Leero e Nakivubo:Njaza – Musu, 10:00
June 30, 2009 at 10:46 am #24203Omusu gukubye Enjaza
Bya LWANGA KAMERE
Monday, 29 June 2009 16:28BAKODDOMI b’embuga Abo-musu eggulo baalaze Enjaza enkola bwe baagivudde emabega ne bagikuba 2-1 mu mupiira gw’ebika bya Buganda ogwabadde e Nakivubo.
Ismail Lukooya yateebedde Enjaza mu ddakiika eya 30 kyokka Abdu Lumala n’ateeba peneti ng’ebula eddakiika 12 guggwe.
Ng’ebula essatu guggwe, Da-vid Mulumba yateebye ey’obu-wanguzi n’aleka Abenjaza nga batudde mu kisaawe tebakkiriza kibatuuseeko.
Omupiira gwatandise kikeerezi olwa maneja w’Enjaza okulwawo okutuuka ng’ate ye yabadde ne layisinsi z’abazannyi bonna.
Enjaza (1) Omusu (2)
Olugave n’Emmamba KakobozaJuly 3, 2009 at 9:06 pm #24256Embogo ewandudde Obutiko mu gy’ebika
Friday, 03 July 2009 06:02
Mbogo 1-0 ButikoLeero e Wankulukuku:
Nvubu – Mmamba GabungaABEDDIRA Embogo eggulo baajereze Aboobutiko nti omupiira gwabagwa kkono, bamanyi kuzina maggunju, oluvannyuma lw’okubawandula mu mpaka z’ebika.
Bazzukulu ba Kayiira (Abembogo) baakubye aba Ggunju ggoolo 1-0, eyateebeddwa James Kabanda mu ddakiika eya 68 e Wankulukuku. Muhammad Kawere ow’Obutiko yagobeddwa mu kisaawe lwa kuzannyisa ttima.
Leero e Wankulukuku, Emmamba Gabunga ettunka n’Envubu nga wagenda kusookawo okulonda obululu bw’oluzannya lwa ttiimu 16.
August 17, 2010 at 8:05 am #26930Ente eri ku fayinolo
Bya LWANGA KAMERE
Sunday, 15 August 2010 19:14GGOOLO ya Bosco Semugenyi mu ddakiika ya 36, yayambye bazzukulu ba Katongole (Abente) okwesogga fayinolo y’Ebika by’Abaganda bwe baakubya Abalangira ggoolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku.
Wadde nga abaana b’Eng’oma baabadde beetaaga ggoolo emu okuyitawo oluvannyuma lw’okulemagana 0-0 mu gwasooka e Nakivubo, Ente teyabaganyizza kubaako kye bakola.
Kyokka Abente baamazeeko bali 10 olwa Charles Ssemanda okuzannyisa ettima ku Mulangira Fred Mutebi, ddiifiri n’awmuwa kaadi emmyuufu.
Leero e Nakivubo, Ekkobe littunka n’Empologoma
okulaba akwata Ente kuLwomukaaga ku fayinolo.
Nte 1-0 Balangira
Leero e Nakivubo;
Mpologoma – Kkobe,September 25, 2011 at 7:42 am #27726[attachment=2518]Magulunyondo.jpg[/attachment]
Ssaabasajja enkya lwaggalawo egyebika
Thursday, 22 September 2011 14:15
EnkyaMbogo V Mmamba Gabunga ssaawa 10 ez’olweggulo.
Okuyingira 3000 eza Uganda.KAYINGO ANDREW
Olunaku lw’enkya kyakutokota nga sikisaanikire mu kisaawe e Nakivubo, Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II bw’anaaboneka eri Obuganda okuggalawo empaka z’omupiira ez’ebika by’Abaganda ez’omwaka guno.
Bazzukulu ba Kayiira ab’e Mbogo be bagenda okugwisa obwenyi ne bazzukulu ba Gabunga abeddira emmamba ku luzannya olwakamalirizo mu mupiira ogusuubirwaokusigula enkonge.
Omutendesi w’emmamba Gabunga, Cyrus Nsubuga yeerayiridde nga bw’agenda okusitukira mu ngabo y’omwaka guno era ng’essuubi ly’obuwanguzi limuli mu muzannyi we Eric Ssebuguzi.
Wabula ne Frank Video Anyau atendeka eb’ekika ky’embogo naye agamba nti bw’ogoba musajja munno olekamu aganadda n’olwekyo ab’emmamba tebasaanye kweyibaala, engabo yandibayita mu myagaanya gy’engalo.
Ekika ky’emmamba Gabunga okutuuka ku luzannya luno, kyasooka kuwandulamu ebika omuli; engabi ennyunga, enkima, engabi ensamba n’ennyonyi Nakinsige.
Yo embogo yawandulamu ebika omuli; embwa, endiga n’effumbe.
Okuva empaka z’omwaka guno lwe zaggulwawo ng’ennaku z’omwezi 23 omwezi gwomusavu, ekika ky’embogo kye kikyasinze okutimpula ekika kinnaakyo ggoolo ennyingi, nga kyakuba ekika ky’embwa, ggoolo 7-0 nga 13 omwezi oguwedde.
Emiryango ginaggulwawo ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Ebika ebizze biwangula engabo okuva mu 1990.
1990-LUGAVE
1991-NGEYE
1992-NGEYE
1993-NKIMA
1994-MMAMBA
1995-LUGAVE
1996-MPINDI
1997-NNYONYI NYANGE
1998-LUGAVE
1999-LUGAVE
2000-NGO
2001-LUGAVE
2002-MPOLOGOMA
2003-MMAMBA
2004-LUGAVE
2005-FFUMBE
2006-MPINDI
2007-NGABIMPINDI
2008-KKOBE
2009-FFUMBE
2010-ENTE
2011-?
September 25, 2011 at 11:34 am #27727[attachment=2521]1316891566kabak.gif[/attachment]
Emmamba esitukidde mu Ngabo eyomusanvu
Kabaka ng’akwasa kapiteeni w’Emmamba Engabo.Bya Lwanga Kamere
HASSAN Mubiru yateebedde Emmamba Gabunga peneti yaayo ey’obuwanguzi eggulo n’emegga Embogo ku fayinolo y’emipiira gy’Ebika by’Abaganda mu kisaawe e Nakivubo wakati mu nnamungi w’omuntu eyabuugaanye essanyu mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi.
Emmamba eyawangudde Engabo omulundi ogwomusanvu, yalemeddwa okuzannya omupiira ogunyumira abawagazi mu ddakiika 90 kyokka obwedda Embogo esinga okuzannya ogw’akawoowo, emikisa gyayo n’egyonoona bwonoonyi ekyayiyeeyo omutendesi waayo, Frank ‘Vedio’ Anyau eyasoose okuwera nga bw’agenda okukaabya Emmamba aga jjulujjulu.
Bazzukulu ba Kayiira (Abembogo), abaafulumye ekisaawe nga bawooteevu, baagenze beevuma muzannyi waabwe Robert Kabanda eyakubye peneti ebweru n’abasubya okuwangula Engabo omulundi ogwokubiri okuba mu 1950 lwe baasooka okugiwangula empaka zino lwe zaggulawo. Emmamba Gabunga yawangudde ku peneti 11 – 10 oluvannyuma lw’okulemagana.
Mu kubaka, Engabi Ensamba yawangudde Enkima ku bugoba 39-36 n’esituira mu Ngabo y’omwaka guno.
Abateebedde Emmamba: K. Nsubuga, E. Ssebuguzi, E. Mubiru, B. Bwete, S. Mubiru, E. Mubiru, S. Nsubuga, J. Mubiru, T. Seruwawu, G. Bunjo ne H. Mubiru.
Abembogo: H. Nyanzi, E. Kabanda, J. Kasibante, N. Makumbi, E. Sekisambu, N. Ssenkaatuuka, R. Mayanja, M. Kabanda ne S. Ssentamu.
Published on: Saturday, 24th September, 2011
ABENGABI MUGIRA MUKULIKA
July 20, 2012 at 2:11 pm #28023Nakivubo waakuwuuma Enkya ku lwomukaaga
[attachment=2583]1342730897.jpg[/attachment]
MENGOka
Ekisaawe kya Nakivubo War Memorial kyakuwuuma enkya ku lwomukaaga,
Nnamuswa Fredrick Ronald Muwenda Mutebi II, bw’anaaba aggulawo emipiira gy’ebika by’Abaganda egyomulundi ogwa 39.
Empaka zino zaatandikibwawo mu 1950 ng’ekika ky’embogo kye kyasooka okuwangula engabo eno.
Olunaku lw’enkya bazzukulu ba Mugema ab’Enkima abaakawangula engabo eno emirundi ebiri, bagenda kuba bakwekwetuka ne bazzukulu ba Kasujja ab’Engeye abaakawangula engabo eno emirundi esatu mu mupiira ogusuubirwa okuyumirwa abaagazi b’endiba mu Uganda.
Ku ludda lw’ekika ky’Enkima, agitendeka Shafik Bisaso ategeezezza nti newankubadde enkya tagenda kubeera na muyizzitasubwa we, Robert Ssentongo ali ne URA mu mpaka za CECAFA Kagame Club Championship e Tanzania, mugumu nti abazannyi abaliwo bajja kusobola okumufunira obuwanguzi mu maaso ga Beene.
Ebika 42 bye byamaze okukakasa nga bwe bigenda okwetaba mu mpaka z’omulundi guno. Engabo eno, ekika ky’Emmamba Gabunga kye kigirina ng’omwaka oguwedde ku luzannya olwakamalirizo kyawangula ekika ky’Embogo, ggoolo 11-10 mu kakodyo k’okusimula obunnya nga mu ddakiika 90 gwaggweera mu maliri nga teri alengedde katimba ka munne.Enkima Vs Engeye
Omupiira gutandika ssaawa 10 ez’olwegguulo.
Okuyingira 3,000/= eza Uganda.
KAYINGO ANDREWEbika ebizze biwangula engabo eno okuva empaka zino lwe zaatandikibwawo;
1950 Mbogo
1951 Ngabi
1952 Mmamba
1955 Kkobe
1956 Mmamba
1957 Nnyonyi
1958 Ngeye
1959 Mmamba
1960 Ffumbe
1961 Balangira ne Kkobe (baagigabana)
1962 Nkima
1963 Tezaaliwo
1964 Mmamba
1965 Mmamba
1966-86 Tegyaliwo
1987 Ngabi
1988 Lugave
1989 Mmamba
1990 Lugave
1991 Ngeye
1992 Ngeye
1993 Nkima
1994 Mmamba
1995 Lugave
1996 Mpindi
1997 Nnyange
1998 Lugave
1999 Lugave
2000 Lugave
2001 Ngo
2002 Mpologoma
2003 Mmamba
2004 Lugave
2005 Ffumbe
2006 Mpindi
2007 Mpindi
2008 Kkobe
2009 Ffumbe
2010 Ente
2011 Mmamba Gabunga
2012?August 1, 2012 at 7:24 am #28034Empologoma eteeze Engabi
LUBIRI
Emipiira gy’ebika by’Abaganda giddamu okubumbujja enkya ku lwokusatu ng’ekika ky’empologoma ekyasembayo okuwangula engabo eno mu 2002, kigenda kuba kittunka n’engabi ensamba, kino nga kyasemba okuwangula engabo eno mu 2007 nga kyagigabana n’empindi. Omupiira guno gwakunyumira mu Nakivubo War Memorial. Ku lwokuna, ekika ky’Abalangira kijja kulya matereke n’ekyendiga mu mupiira ogusuubirwa okubaako n’obugombe mu Nakivubo War Memorial. Emipiira gijja kuggyibwako akawuuwo essaawa 10 n’ekitundu ez’olweggulo.
Enkya mu mipiira gy’ebika
Engabi Nsamba Vs Empologoma e Nakivubo
Balangira Vs Ndiga e Nakivubo
KAYINGO ANDREW
August 6, 2012 at 1:06 pm #28041AnonymousEngabi ‘eridde’ Empologoma
Bya Lwanga Kamere
Mu gy’Ebika eggulo:
Ngabi Nsamba (3)0-0 (0) MpologomaLeero e Nakivubo:
Balangira – Ndiga, 10:00BAZZUKULU ba Nsamba (Abengabi) eggulo baafulumye ekisaawe e Nakivubo nga basanyufu bya nsusso oluvannyuma lw’okumegga aba Namuguzi (Abempologoma) ku peneti 3-0.
Empologoma bakira eyeewulira eryanyi, lyakomye mu ddakiika 90 olw’ennumba obwedda z’ekola kyokka ng’omukwasi wa ggoolo y’Engabi, Hamza Muwonge abaka mbake. Gwawedde 0-0.
Mu peneti, Ronald Kisekka, Majid Sserwadda ne Joachim Golola (Abempologoma) ezaabalemenye okunywesa ate Moses Lubega, Juma Lubega ne Moses Ndaula ne bateebera Engabi.
Engabi yaakuttunka n’Emmamba Gabunga.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.