Abalala bali mu kubba, Abaganda bagenda mu maaso. Baligenda okuzukuuka bategeera kyetubaddenga tubagamba, nga baasigalira dda!!Wamma baana mwebale kukola, mwongere okuwagira Obuganda, tulage ensi kyetulinawo.
Abaganda bakoze ennyonyi
Nsamba (wakati) ne banne nga bakola ennyonyi. Bagamba nti bwe bagimala nga bakola ekizungirizi.
ABAYIZI abaatendekebwa e Makerere ne mu Amerika bayiiyizza ennyonyi ey’ekika kya ‘Dyna’ ng’etwala abasaabaze babiri. Bagituumye ‘Afrikan Sky Hope’ ng’omulimu guno bagubaliridde okumalawo obukadde bwa doola 18 okusinziira kw’akulira kaweefube ono e Ntinda, Chris Nsamba.
Ennyonyi eno Nsamba agamba nti bateekateeka okugibuusa mu bwengula bwa ffuuti emitwalo ena n’ekitundu ku ntandikwa ya November w’omwaka guno ku nnyanja e Bukasa.
Published on: Saturday, 2nd October, 2010