Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ggwanga Mujje / Come Nation › Abaganda mwerwaneko
- This topic has 12 voices and 37 replies.
-
AuthorPosts
-
September 11, 2008 at 2:00 am #19127
baganda mwerwaneko- KatikkiroBya Lilian Nalubega
KATIKKIRO wa Buganda Emmanuel Ssendaula akalaatidde Abaganda obuteetya nga bazindiddwa abantu abeefunyiridde okubanyagako ettaka lyabwe n’abawa amagezi beerwaneko nga bayita mu mbuga z’amateeka.
Mu kiseera ky’ekimu Ssendaula mu bubaka bwe yatisse minisita avunaanyizibwa ku kulanya n’entambula za Kabaka Kabuuza Mukasa yabakunze okuzzaawo eng’oma za ‘Ggwangamujje’ zibayambe okwekunga buli lwe babaako abantu be beekengera okubatuusaako obulabe basobole okubang’anga mu kibinja.
Yabadde asisinkanye abatuuze okuva mu ssaza ly’e Ggomba abaakulembeddwamu Ephany Kironde e Bulange.
September 11, 2008 at 12:30 pm #19619Njagadde okubanyumiza ku Mukyala akulira ekibiina kya ba African Women’s Association wano. Omukyala ono ava mu West Africa naye ennaku zino mulwadde ate obulwadde obumuluma bulemye abasawo okutegeera. Kale jjo yankubidde essimu nga ayagala nnyambeko mukutambuza emirimu gya Association. Naye kwekungamba nti abasawo bamugamba nti ebimuluma biva ku stress. Naye nga abantu bensi ye bagamba nti oyo juju. Kweekyo yye yangambye bwaati, “…nebatamnya nti Aba Africa mubutelwanako balumya banaabwe ababagala. Bbo benyini ye juju annuma nze.”
Nange kanzire mu bya Mwami Sendaula, Abaganda mwelwaneko. Agali awamu gegaluma enyama. Kyakwewunya nokuba nga engoma za GwangaMujje teziddizibwangawo!!!!
October 3, 2008 at 4:20 pm #19808Town Clerk awonye okugajambulwa
Bya Martin Ndijjo
TOWN CLERK w’eggombolola y’e Nakawa, Abner Besigye eggulo yasimatuse okugajjambulwa abakozi b’eggombolola eno abaabadde batasalikako musale.
Abakozi abaabadde basoba mu 80 okuli, abayoola kasasiro, abasaawa n’okulongoosa enguudo, baazinze ofiisi ye eri ku kitebe ky’eggombolola eyo ku ssaawa 5:00 ez’oku makya nga beemuluguunya olw’okugobwa ku mirimu nga tebasasuddwa nsimbi zaabwe.
Besigye eyabadde akkirizza okubasisinkana, olwawulidde nga beesoma okumugajambula ssinga abeera tazze na ssente zaabwe kubasasula, n’adduka ne yesibira mu ofiisi ye.
“Jangu ng’okimanyi nti ekisinga obukulu kutusasula tudde ewaffe,” bye by’ebigambo ebyatiisizza Besigye okubasisinkana.
Olwesibidde mu ofiisi n’atandika kubalingiriza mu ddirisa ng’eno bwe bamwewerera nti, “ mpozzi onoosula mu ofiisi yo kuba leero lw’ogenda okulaba obukambwe bwaffe.
Waakiri tugenda n’emmotoka yo gye tunaatunda ne twesasula,” abakozi bakira bwe bawera wabweru wa ofiisi.
Bino byonna byavudde ku kipande kye baasanze kitimbiddwa ku ggombolola nti bagobeddwa mu butongole wadde bulijjo baali baayimirizibwa okumala ebbanga eritali ggere kyokka nga babanja emyezi esatu.Wabula oluvannyuma ssentebe w’eggombolola eno, Protazio Kintu yazze n’abakkakkanya n’agamba nti baakusasulwa obutassuka leero.
“Eky’okubagoba ku mirimu kikyamu. Eggombolola likyetaaga abakozi era ngenda kubaza ku mirimu tubasasule ne ssente zammwe,” Kintu bwe yabakkakkanyizza.
Besigye bwe yatuukiriddwa mu ofiisi ye, yategeezezza nti abakozi bagenda kubasasula era ng’omusala gwabwe gukolebwako.
Ku ky’abakozi bano okugobwa yategeezezza nti yafuna ebbaluwa okuva mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu wamu ne Town Clerk wa Kampala ng’emulagira okukendeza ku bakozi naddala abakola emirimu gya.
Published on: Thursday, 2nd October, 2008
October 3, 2008 at 4:33 pm #19809Kino kyennyini kyetugamba abantu okuva mukulera engalo nokulinda ava ebunayira okubajja mubuzibu bwebalimu kuba kati ensi yonna ejjudde abantu abaluvu .
Kuba ddala okozesa otya muntu munno? nga basinga ba nnamaka ate nga tebalabirira baabwe bokka, wabula naabo bonna abalekedwaako abantu baabwe abafudde obubenje n’obulwadde.
Nosalawo okubakozesanga nga tobasasula naye nga gwe boss nomusaala weyongeza emmotoka ezebeeyi ovulumula era osula walungi ababo bonna babajjanjabira bweeru, kyokka nga bokozesa omala nemyeezi omukaaga sigumu si ebiri naye mukaaga nga tomakombezza ku musaala gwaabwe.Bonna nebaba n’obugumikiriza, nze obwo siraba nti bugumikiriza nze ndaba ngabantu bebaaba bebakirizza, kuba bo abomusolo bwebajja tosobola kubagamba nti munninde njakuguwa mu myeezi etaano sente bazagala mbagirawo oba ssekyo bakutugga emigwa gyembuzi.
Kyanakku nnyo abantu okulinda kati ngensi eri kumaviivi nebalyooka abatono ennyo basobola okuzibuka amaaso, era mpozzi lwakuba bino byonna bisangibwa mu Buganda osanga singa Gavumenti yali efuga ngesinziira mumawanga malala teyandituuse kussa lyelimu kati, kuba aba mawanga amalala bo bwebalaba ekisobye ewaabwe nga mafumu ne mbukuuli byavuddeyo dda.
Okumanya bano abasajja bajja nobujoozi osobola otya obutasasula muntu okumala ebbanga eddene ate noyongerezaako nti omugobye ,kati ye akuddemu ki nti kale kangende nessente zenkubanja nzikusonyiye.
Okwo sikujooga kuweeweta mpisi kkundiNovember 10, 2008 at 8:55 am #20372Omuzungu azzeemu okugoba ab’e Kimenyedde ku bibanja
Bya Steven Musoke
OMUZUNGU azzeemu okujojobya abatuuze b’ebyalo Kawongo ne Mayangayanga e Mukono bw’abawadde ebiragiro obutaddayo kusaalimbira mu bibanja bye yabagobamu.
Omuzungu Fritz Plattner y’omu ku bannannyini kkampuni eyitibwa Tree Shed Organic Farm abaagula ettaka mu kifo kino ne baleeta ttulakita n’esaanyaawo amaka 20 n’ennimiro z’abatuuze.
Wabula ensonga abakulembeze ba disitulikiti abaakulemberwa Ssentebe Francis Lukooya baaziyingiramu Omuzungu ne banne na babalagira okuyimiriza emirimu okutuusa nga kkooti esazeewo n’abatuuze ne babasaba okubeera abakkakkamu.
Abatuuze babadde bakyalinda bya kkooti ate Fritz ku Mmande ewedde n’addamu okusaawa ebibanja by’abantu nga bw’asimbamu emiti ate n’abawa n’ekiragiro obutasumbuwa bakozi be nga bakola n’alabula okufiira ku muntu anaanyooma ebiragiro bye.
Akulira ebyokwerinda ku lukiiko lwa LC2, Charles Kakembo agamba nti ebintu bibasobedde ne batuuka okwebuuza Omuzungu ono gy’aggya amaanyi okukola ebintu nga bino nga tawulirizza wadde abakulembeze b’ekitundu.
“Poliisi n’abakulu abalala mu disitulikiti baatutuuza ne basaba abatuuze obutakola ffujjo ne balagira Omuzungu alindeko okusaanyawo ebibanja byaffe okutuusa ng’omusango gusaliddwa mu kkooti. Twewuunya kuba tukubidde DPC Christopher Baheganare essimu tafuddeyo,” bwe yagambye.
Nnamwandu Scovia Nakafeero gwe baakoonera ennyumba yagambye nti ebintu bimusobedde, asula mu kifulukwa n’abaana mwenda n’ensimbi ezibatwala mu ssomero tazirina kuba emmwaanyi mwe yali aggya ensimbi Omuzungu yazisenda.
Rose Nansubuga agamba nti, Omuzungu yasibisizza bba Emmanuel Ofumbi ku poliisi y’e Naggalama ng’agamba nti amutaataaganya ng’akolera emirimu ku kibanja kye.
Henry Mpalampa, Adam Boogere, Issa Kikungwe ne Fredrick Kaggwa bagamba nti abakulembeze mu kitundu teba-bayambye ng’Omuzungu abagoba.
Wabula Omuzungu ono gwe nnasanze ng’asaawa yagambye nti yafunye obukuumi okuva mu gavumenti eyamukkirizza okukolera emirimu ku bibanja by’abatuuze wadde nga kkooti tennasalawo ggoye ku nkaayana zino.
Omubaka waabwe mu palamenti, Joseph Mugambe yategeezezza nti ensonga naye abatuuze baazimutegeerezza ku ssimu wadde ng’abadde alinda kkooti esalewo.
Ssentebe w’eggombolola y’e Kimenyedde, Charles Miiro yagambye nti abatuuze oba baagala bagende waggulu kuba ye ensonga zaamusukka ate ziri na mu kkooti.
Published on: Sunday, 9th November, 2008 bukedde
November 10, 2008 at 4:37 pm #20374ABAGANDA ABATEMYAKO MWAGALA WA MBAZZI?
November 11, 2008 at 4:23 am #20378Ono omuzungu lwaaki tagenda nasenda Mbarara mbadde kati yeeri enkulakulanya natulekera Buganda gwaate baabo abamuwa obukuumi bava waggulu lwaaki tebamulagirira mu West asende ku beeyo ye oyo omuzungu ava mu nsi ki eyo gyasobola okukolera elyo effujjo nebamuleka.
November 11, 2008 at 12:48 pm #20388Agoba musajja mune alekamu ezikuzza. Bwotunde ebibbe, nga negwobiguza akimanyi, manya nti mubbi munno. Era talina budde mu kukweyambula, nasala eddiiro. Obwenkanya bwebunadda e Buganda, aba Westerner abatunda ettaka bajja kusasula neryaabwe.
November 20, 2008 at 11:52 am #20552Charles Peter Mayiga Tells Baganda to Abandon Cowardice on Kingdom Issues
Posted on 20 November 2008Namubiru Juliet Buganda Government’s official website reports that:
The minister for Information, Lukiiko and Cabinet Affairs in Buganda Government, Charles Peter Mayiga has urged people in Buganda to stop being cowards when it comes to issues concerning Buganda Kingdom.
The minister who was attending a Sunday service at Kitende Church of Uganda appealed to people to always come out openly to support Buganda’s developmental issues in order for the Kingdom to achieve its intended goals and objectives instead of shying away whenever Buganda is mentioned.
Mayiga also called on to people to work very hard in order to earn a living for their families which will lead to a stable and successful Buganda Kingdom.
The service was also dedicated to the life the late Kiberu Christopher who worked so hard for the church.
November 20, 2008 at 5:05 pm #20558Eno gavument ya M7 kyekoze abantu olwokuba ye atya okwogera gyeyava kyaava ateekawo embeera mu bantu Abaganda obutasobola kutambula nga begolodde nokweyogerera ku bibaluma kwe kuleeta ba butayimbwa squad kasita bamanya ani ayogera ku Buganda nga bamuteega oba basooka kumuwereza bakazi baabwe abo mu West basooke bamubege kati babutayimbwa squad nga bamanya gyanyweera oba gyayita nga bamuteega nga bamukuba akatayimbwa .
Naye ekyo nebwebanakikola Million za Baganda abali ebweeru bebasiinga obuungi ate kati ebikolobero byonna bibunyisibwa munsi yonna nolweekyo kati tewakyaali bwekwekero bwaaba
nga Mbabaazi bwaliko ebiwandiiko byakumidde ebweeru ku M7 bya kozesa oku mu blackmailing-a, mukimanye nti ffe abali ebweeru tubalinako kitabo .Nolweekyo ne bwemunatulugunya abali eyo okubasirisa okwogerera Obwakabaka bwaabwe , Mukimanye buli kyemukola kati kibuna ensi yonna kali akasaawa akavannyuma kasita katuuka teri agenda kusigala ne babutayimbwa bammwe bonna bamanyiddwa kuba mujjukire buli omu asobola okusasula nafuna kyayagala mujjukire nti bonna bemukozesa okutta abantu nabuli bikolobero byonna babalya ebiri muluzise ne mululime mubasasula nabo basasulwa kubifulumya . Mmwe temutulanga nemwebuuza bimanyika bitya ebweeru . luno lutalo lwabya nfuna.
November 20, 2008 at 8:59 pm #20566The harder the task the greater the truimph. Bwetunejja omugwa guno mu bulago, Abaganda tujja kufuula amazima agakasandali ennyo munsi yonna. Ate nga ekyo kye kifo kya mazima ekituufu. Mujje tukwatire wamu, tujja kukiyitako.
November 21, 2008 at 2:08 am #20573Aba Nkobazambogo baweze ku ttaka
Bya Edward Sserinya
SSENTEBE w’ekibiina kya Baganda Nkobazambogo mu Uganda, Elijah Kyobe agambye tebagenda kwabulira Kabaka ku nsonga z’ettaka n’okukuuma obuwangwa.
Bino yabyogedde asisinkanye akakiiko akakulembeze aka Bazambogo mu Uganda ku Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala wiiki ewedde.
Yagasseeko nti Buganda eyimirirawo ku byabuwangwa, ttaka na Kabaka ng’akuumibwa bulungi mu kitiibwa.
Yavumiridde Gavumenti ya wakati okulemesa Kabaka okulambula amasaza ge n’agamba nti kikolwa ekivvoola Obwakabaka.
Kyobe yagambye nti abawakanya enteekateeka za Buganda bakola kikyamu kuba ziganyula ab’amawanga gonna awatali asosolwa.
Yakuutidde Bannazambogo okwenyigira mu mirimu egiyamba Buganda nga bulungibwansi ku byalo ne mu lubiri lwa Kabaka.
Published on: Thursday, 20th November, 2008
November 21, 2008 at 2:24 pm #20589Mulwanyise obutabanguko mu maka — Makubuya
Bya Lilian Nalubega
SSAABAWOLEREZA wa gavumenti y’e Mmengo, Apollo Makubuya agambye nti emize emibi egiri mu bantu ng’okulwana, okuvuma n’okuyomba ebitatadde giva mu maka gye bakulira.
“Obutabanguko mu maka buleetebwa abantu bennyini abandireesesmu emirembe. N’olwekyo tulina okusooka okuzza emirembe mu maka, tudde ku byalo, emiruka, amago-mbolola, amasaza olwo tudde ku ggwanga lyaffe,” Makubuya bwe yagambye.
Byabadde mu bubaka bwe yatisse minisita omubeezi ow’ebyama-wulire, Medard Lubega Sseggona eyamukiiki-ridde ku mukolo Mme-ngo ng’eyita mu Mini-situle y’abakyala ne Bulungibwansi kwe ya-tongolezza kaweefube w’okulwanyisa obutabanguko mu maka ogwabadde mu Bula-nge Plaza wiiki ewedde.
bukedde
Published on: Thursday, 20th November, 2008November 21, 2008 at 3:02 pm #20594Charles Peter Mayiga Tells Baganda to Abandon Cowardice on Kingdom Issues
Posted on 20 November 2008
Namubiru Juliet Buganda Government’s official website reports that:
The minister for Information, Lukiiko and Cabinet Affairs in Buganda Government, Charles Peter Mayiga has urged people in Buganda to stop being cowards when it comes to issues concerning Buganda Kingdom.
The minister who was attending a Sunday service at Kitende Church of Uganda appealed to people to always come out openly to support Buganda’s developmental issues in order for the Kingdom to achieve its intended goals and objectives instead of shying away whenever Buganda is mentioned.
Mayiga also called on to people to work very hard in order to earn a living for their families which will lead to a stable and successful Buganda Kingdom.
The service was also dedicated to the life the late Kiberu Christopher who worked so hard for the church.
Canon Henry Ntulume from Nateete also appealed to the Christians to make choice in what they do, to identify good priorities and to pay school fees for their children to make them better citizens in the future who will promote Buganda Kingdom.
November 25, 2008 at 5:29 am #20641Ssebuliba yeekalaakasizza
Bya Robert MutebiOMUBAKA avudde mu mbeera n’alumba Poliisi kwe yeekalakaasirizza ng’agamba nti akooye abantu abazinda abatuuze mu kitundu kye ne babasengula amatumbi budde.
Ssebuliba Mutumba akiikirira abantu ba Kawempe South ye yalumbye abaserikale ku Poliisi y’e Wandegeya ng’agamba nti beesuulirayo gwa nnagamba ng’abantu basengulwa e Makerere ne Wandegeya mu matumbi budde.
“Waliwo ebintu bye tutagenda kugumiikiriza. Poliisi eri wano esirise abantu mu Mukwenda Zooni e Makerere n’ebitundu ebirala basengulwa ekiro. Bagamba nti ababasengula bayambibwako Poliisi ekintu ekikyamu,” Ssebuliba bwe yategeezezza.
Yagambye nti agenda kutwala ensonga eno mu palamenti eyogerweko.
Ssebuliba eyatuuse ku Poliisi ku ssaawa nga 1:00 ez’oku makya yasoose kwambalira baserikale be yasanzeewo ng’ababuuza lwaki tebakuuma bantu n’ebintu byabwe wamu n’ensonga evaako abasengula abantu okutandika okubasengulanga ekiro nga beebase.
Abaserikale ba Poliisi baagezezzaako okumukakkanya kyokka n’akalambira nti tava ku Poliisi eno nga tamaze kulaba abakulira.
“Lwaki asengula abantu ajja kiro, ye abaffe,abamukuuma nga balina emmundu abaggyawa? Ssebuliba bwe yeebuuzizza.
Oluvannyuma akulira Poliisi y’e Wandegeya Philips Acaye bwe yazze n’amukakkanya nga bw’amutegeeza nga bw’agenda okunoonyereza ku bikolwa bino.
Published on: Monday, 24th November, 2008
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.