Abaganda mwerwaneko

  • This topic has 12 voices and 37 replies.
Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 38 total)
  • Author
    Posts
  • #20642
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

      Abantu bomukitundu kino bo baluwa banaffe lwaaki baleka mubaka yekka yaaba yekalakaasa kunsonga ebakwatako bonna? kino kye twogerako bwe mufunye omuntu anabakulembera lwaaki temumukwatirako lwaaki mulindanga okukikira ensingo. Omuntu ajja mukiro mu Buganda tumutwaala nti mukyaamu mubbi ,mutemu lwaaki wano enduulu teraya nebuna ekyaalo nebwanaaba alina abe mundu ekitari kyaalo kimu singa mwenna mulagira wamu obutali bumativu mu kigenda mumaaaso .

      Ye nga lwaaki poliisi eyeyita eyegwanga bwetuuka ekiro efuuka ya batujju
      abalondemu bagamba nti atambula emisana bamuganira , kati olwo poliisi bwekuuma abantu abolubatu nga bagenze okukola ebyekitujju kubantu ekiro , olwo ye omuntu enkeera anajja atya nabalopera nga mwe abapoliisi mwe mwabadde muntujjo yekiro.

      Abantu betiira bwereere naye nga bebasinza abatujju obungi bwebabatigomya mukiro nammwe bwebutuuka kumakya temugenda kubakolera mirimu gyaabwe bajjeyo aba poliisi babakolere, bino ebikolebwa eka bikolebwa eyo yokka teri nsi ndala yali etuuse kudaala Buganda gyerimu . Wano waliwo okuwonga.

      #20657
      TontoTonto
      Participant

        Nange ssiraba nsonga lwaki abaganda TEBERWANAKO, nebabasengula ekiro nga ba baby??!! Abaaliwo ku mulembe gwa Muwanga munajjukira. Abajaasi bajjanga nebazinda ekyaalo nga batulisa amasasi, nebabba nju ku nju. Wayitawo akabanga abantu nebasalawo nti abajaasi bwebanajjanga, nga abantu bonna bakuba enduulu. Era bwekityo bwekyaali. Ekyaalo kyonna kyaakubanga enduulu, abajaasi ne badduka nga baddayo jebavudde, yadde balina emundu.

        Naye okusengula abantu mumatumbi budde, jobeera nti babasengula bali mutulo?? Banaffe ekyaalo kyonna mukube ku nduulu, mulabe ekinaddirira. Mwe muli bangi. MWERWANEKO.

        #20963
        NdibassaNdibassa
        Participant

          Temutunda magumba

          Simanyi lwaki Gavumenti tesitukiramu kulwanyisa bantu abatunda amagumba g’ebyennyanja. Mazima kikwasa ensonyi okuba nti ffe abalina ennyanja ate ffe be muguza amagumba ebyennyanja ne mubiguza abantu b’ebweru.

          Ekibi nti ebiseera ebisinga ebigumba ebyo biba byonoonese bye baguza abantu. Ababigula batuuse okulwala. waliwo ababisiikira abantu ne babibaguza.

          Nsaba abavunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi abatunda ebigumba babawere abantu baleme kulwala lwa kulya bigumba byonoonese ng’embwa.

          Teo Najjuma,
          Wakiso.

          Published on: Tuesday, 9th December, 2008

          Nze ndowooza nti abantu gubasinga, nga lwaaki okwaata ssente zo zokoze mu bulumi nosalawo okuzigulamu amagumba ? lwaaki temugabaziririra bwebanagaleeta negaduda nenkeera gatyo munalaba tebalekedaawo okugatunda , bo Abeeru bamanya ekyokkola bwebalinnyisizza amafuta abantu nebagaana okugagula banyinigo nebatoba nago era bamalirizza nga bagasaze, engoye mu maduuka batudde nazo kati nebwebabisala batya tekyaali babigula kuba luli buli omu yali yekwaasa mafuta kati babula okukusikambula olwakabi , kuba nebwebabisala nebatandika gula kimu ekirala kyabwereere tekirina kyekiyamba.
          Nga Mukama alinga abagamba nti okugagaggawa okwamangu noleka nga munno abona bona si kirungi.

          Ngojeeko nti nebweeru gyebaleeta ebyennyanja byebasosoledde ddala babiseera kuba babijja eyo ka kyotosanga bo bakola, okujjako ebintu byaabwe ebirungi mbu babitwaala mu Africa era byebaleeta mu Africa byeebyo ebiba byononese byebatakyasobola kweguza . Bwetuteyamba teri ajja kutuyamba.

          #20983
          OmumbejjaOmumbejja
          Participant


            ‘Uganda yeetaaga abaginunula’

            MUNNADDIINI Fr. Dr. Andrerw Kato agambye nti Uganda yeetaaga abantu abanaaginunula okugiggya mu buddu olw’abantu abeefunyiridde ku kutta bannaabwe, okubba ssente za gavumenti n’okuwakula entalo.

            “Tubeera baddu buli lwe tukola ebibi. Tulina ababba ssente za gavumenti, ez’eddagala ate ne tutya okugenda mu kaduukulu n’okuwaza emisango. Abamu tebasula na mu mayumba gaabwe olw’okutya okukwatibwa. Uganda eyagala abanaagiggya mu buddu buno,” Dr. Kato akulira ekitongole ekiramuzi mu Ssaza Ekkulu erya Kampala bwe yategeezezza mu mmisa mu Klezia y’Omutuukirivu Agnes e Makindye ku Ssande.

            Published on: Wednesday, 10th December, 2008

            #21359
            NdibassaNdibassa
            Participant

              May 25: Kingdom Treasurer, Mr Inea Ntaate, reveals that the central government owes Buganda Shs440 million in rent arrears from buildings currently occupied by various state institutions. He said the money had accumulated over the years because of government’s reluctance to fulfill its obligations.

              Lwaaki tebasasula mabanja mbadde baabo bebalina sente banakoma mu kwewaana nga newebakolera tebasobola kusasulawo?

              #21394
              KulabakoKulabako
              Participant

                BUGANDA ELISASULWA DDI NGA BEBANJA BAMAZE BONNA OKUDDUKA OKUDDAYO EWAABWE?

                #21395
                KulabakoKulabako
                Participant

                  May 16: Former Premier of Buganda Kingdom and now chairman of the Uganda Land Commission, Mr Jehoash Mayanya Nkangi say he was not aware that the Kingdom owns a piece of land at Kampala’s upscale Mbuya suburb. He say he knew the Mbuya Barracks land as state owned land.

                  Mwami Mayanja Nkanji bwamala okwogera ebigambo bwebiti muyinza mutya okumwesiga mu kifo kyalimu nga waali bikwaata kuttaka lya Buganda naye nga ebbanga lino tamanyi nti ali mu Buganda ettaka lyonna mu Buganda liba telinafuuka lyamuntu mulala yenna atali Muganda lisooka kuba lya Buganda.
                  Bano bebawa amaaanyi abantu abawuluttanya ettaka lyaffe gwaate eyeyita omuganda ddala bwaaba akyaavaamu ebigambo bwebiti, nge nsi tetuuse kugwa ddalu liri lye nnyini ekkankada

                  #21621
                  NdibassaNdibassa
                  Participant

                    Ab’e Kawaala abakwatibwa mu bubbi baakugobwa ku kyalo
                    Written by
                    SSENTEBE wa LC 1 e Kawaala Zooni 2 agambye nti baakugoba ku kyalo buli mubbi gwe bakwata n’atwalibwa ku poliisi kyokka ne bamulyako enguzi ne bamuyimbula.
                    Bino ssentebe, Wilberforce Sserwaniko yabyogeredde mu lukiiko lw’ekyalo olubeerawo buli Ssande esooka mu mwezi. “Simanyi lwaki Gavumenti esasula abapoliisi abeenyigira mu kulya enguzi. Kati bwe tukwata omubbi ne bamuyimbula tujja kumugoba ku kyalo,” Sserwaniko bwe yategeezezza.

                    Yayongeddeko nti, ‘eky’ennaku enguzi bagirya ku musibe oluvannyuma ng’omubbi akomawo okutigomya ekyalo’. Abatuuze n’abakakiiko bassizza kimu nti tebalina kuzibira babbi basazeewo buli gwe bayingiridde afuuwe ffirimbi abantu abalala bajje bamuyambe.

                    Kino kyandibadde kyakolebwa dda naye oluusi ekiremesa nga abali mubifo ebyobuyinza wonna mu Buganda nga si Baganda kale bwebakwaata owewaabwe Enkima esala etya ogwe kibira ? , songa Omuganda bwazuula ensobi agisongako nebwaaba muntu wuwe.

                    #21672
                    TontoTonto
                    Participant

                      Students, Teachers, Parents: Help End the Use of Child Soldiers

                      Today, child soldiers are fighting in at least 17 countries around the world. Boys and girls alike are forced into combat, exploited for their labor, and subjected to unspeakable violence. A UN treaty prohibits the participation of children under the age of 18 in hostilities. But too often, it is not enforced.

                      Join the Red Hand Day Campaign to urge the United Nations to take stronger action to end the use of child soldiers.

                      The aim of the Red Hand Day campaign is to gather one million “red hands”—the symbol of the global campaign against the use of child soldiers—and present them to UN officials in New York on February 12, 2009, the anniversary of the day the treaty banning the use of child soldiers took effect.

                      Participating in the campaign is easy

                      1) Use red paint to make a handprint on a sheet of paper, and add a personal message about your desire to end the use of child soldiers; organize others at your school or in your community to do the same;

                      2) Upload photos or videos of your event to http://www.redhandday.org;

                      3) Send your red hands by February 2009 to Human Rights Watch, 350 5th Ave, 34th Floor, New York, NY 10118

                      #21761
                      KulabakoKulabako
                      Participant

                        Bannannyini akeedi ez’okumenya n’abazikoleramu bawanda muliro
                        ABASUUBUZI abakolera mu bizimbe KCC by’egenda okumenya oba okuggala olw’obuttagoberera mateeka gafuga nzimba ya mu kibuga bali mu kusattira. Bagamba nti singa KCC etuukiriza ekibonerezo kino bajja kuba bakomye.
                        Kino kiddiridde Town Clerk wa Kampala, Ruth Kijjambu okuvaayo n’alaga ebizimbe ebiwerako mu kibuga ebyavvoola amateeka nga bizimbibwa era n’alaga nti mu mateeka bibeera bya kumenyebwa oba okuggalwa. Ebisinga ku bino tebyassaako paakingi ya mmotoka. Bukedde be yayogeddeko n’abamu ku bo ne bategeeza bati:

                        Maria’s Galleria
                        Manisuuli Kibuuka; Okubeerawo kwaffe wano KCC ekutadde mu lusuubo naye tetulina ngeri yonna gye tukyetegekeddemu era singa ekikola egenda kuba erangiridde olutalo lw’okumenya amateeka mu kibuga anti nga tetulina gye tudda.

                        Godfrey Kibirango: Singa ensobi za KCC n’obugayaavu bwayo ebussa kuffe, tumaze okwekunga tugikube mu mbuga era bwe kagitanda n’etuggala, ejja kulaba. Yalemererwa okutangira abazimba kati eyagala kutangira biwedde.

                        Jerome Kayita: Sirina kye njiiyizza era sisobola kuva mu kifo we nkolera olwa KCC okulya enguzi ate oluvannyuma ne batukyukira. Kijja kitya okuzimba ne batuuka okumala n’abasuubuzi ne tuyingira olwo KCc eryoke eveeyo. Baali ludda ng’ebizimbe bizimbibwa?

                        Avemar Shopping Centre:
                        Flavia Kyayi: Okukaaba kw’abasuubuzi tekujja kukoma. Tubadde ng’abatereeramu kati KCC ezze na biteeka byayo bw’ojja baali beebase ng’ebizimbe bizimbibwa.Ku mulundi guno twetegese okulaga KCC nti naffe tukooye okubonaabonera ensobi zaayo. Tetulina gye tulaga.

                        Garawusi Kakeeto: Okuggyako okugamba nti abasuubuzi twetuge tuve mu nsi, kuno kwe kutulugunyizibwa okuyinza okuba nga kukyasinze singa KCC byeyogera ebiteeka mu nkola. Nsaba Meeya Sebaggala agendere ku bye yayogera nti abagagga abataateeka paakingi mu bizimbe baakusasula emisolo mingi.

                        Catherine Nalweyiso: Abaana bange nze nnaabateekawa? Kino KCC ky’eyagala okutukola kituyinze obunene ng’abaana bagenda na kudda mu masomero! Nedda,KCC y’erina okukisasulira ensobi zaayo.

                        Majestic Plaza:
                        Hassan Lubega: Okuggyako nga KCC etugamba nti etuzimbiddewo akeedi ezaayo, tetuva wano. Mpozzi efune amagye gonna agali mu ggwanga ge ganaasobola okutusengula. Eky’okugenda, mu birowoozo byange tekibanganamu.

                        Muhammed Kalungi:
                        Ky’ekiseera KCC yeetegereze ebintu by’eba ekola kubanga y’egaba liyisinsi ate bw’eva awo n’eyagala okubonereza abantu abatalina musango. Awo etunoonyaako lutalo.

                        Peter Kasozi ne Moses Mutabali:
                        Ffe twatidde nnyo naye weebuuze KCC enaamenya kibuga kyonna? Ye abaffe, ffe ng’abasuubuzi kitukwatirako wa okukolera mu bizimbe KCC n’abaabizimba mwe bakkaanyiza mu kyama? Ezo nsobi zaabwe bazimale bokka na bokka.

                        E.M Plaza:
                        Ashraf Etuhaire ne Shanita Mbabazi bagamba nti bo wadde wansi ku kizimbe kyabwe tekuli paakingi, eyaabwe bagirina emmanju waakyo ku luguudo Buganda.

                        Kati Kati ku Ben Kiwanuka:
                        Ssaalongo Sserunjogi Ssemakula ow’edduuka lya Bakalungu home of Books, yagambye nti, okumenya ebizimbe ebyo kigenda kubafiiriza ssente ezitagambika olwa bakasitoma baabwe ababamanyidde mu kifo ekyo ng’okukyusa kitegeeza kukozesa ssente nyingi okubamanyisa.
                        “Tetulina na musango kubanga KCC yennyini bannannyini bizimbe baazimba eraba ate nga yalambula, lwaki teyabagaana nga tebannaba kumala?’ Sserunjogi bwe yabuuzizza.

                        Mu basuubuzi abalala ku kizimbe kino abali mu kutya mulimu Erias Jjuuko asuubula engoye ne Gordon Nsiko mu dduuka lya Jim Videos abaagambye nti ekibuga kyetaaga kyawulwemu ebitundu bibiri. Ekitundu ekimu kibeere kya bagagga ennyo ku Kampala Road abalina okubeera ne paakingi n’abalala ab’ekyemmanga w’ekibuga nga ne bwe baba tebalina paakingi tekiba na mutawaana kubanga abasinga tebagyetaaga.
                        Kati kizibu okumenya ebizimbe ebyaggwa edda, kifiiriza bo abasuubuzi abagenda okudda mu kubundabunda wadde n’abagagga baba bafiirwa ensimbi.

                        Boost house ku Ben Kiwanuka: Annet Bajja owa Bajja Garments yategeezezza nti n’okusengula obusenguzi emmaali yaabwe okugizza mu kizimbe ekirala kigitaataaganya n’eyonooneka n’awa KCC amagezi nti abasuubuzi bangi ku kizimbe kino tebalina mmotoka, ekizimbe ekyo ekyerekereze kubanga kyazimbisibwa ssente nnyingi.

                        Michael Mawejje asuubulira mu dduuka nnamba B1, agamba nti wadde enkulaakulana nnungi naye nga tebannamenya nze njagala basooke bandage we ngenda okuteeka emmaali yange nga wakola bulungi nga wano wendi oba s’ekyo tebageza ne bakikwatako.

                        GBK ku Luwum street:
                        Milly Ssonko eyasangiddwa mu Real Garments, Milly Kisitu owa New Models ne Allan Akoragye owa Smart Garments baategeezezza nti bagumu ng’abasuubuzi bwe babeera kubanga okutya tekulina kye kubayamba mu by’obusuubuzi Allan n’agattako nti bwe kiba kituufu kijja kubatataaganya nnyo, okubafiiriza ssente n’ebirala ng’ebyo.

                        Yamaha Center nabo bali mu kattu era omusuubuzi Adam Mubiru mu dduuka nnamba 29 ne Israel Madiina mu nanmba 30 beebuuzizza nti, ‘Tusasulira tutya ensobi za KCC? Omugagga yazimba balaba, lwaki okutawaanya ffe abeekolera ssente ya mmere ya leero. Kati tuutuno tuli mu kubuna bufo, lwaki KCC tesirika n’emanya nti gwali musango gwayo.

                        Abasuubulira mu Royal Complex ekya Godfery Kirumira omwabadde Kikomeko Bashir mu dduuka lya Alfa nnamba 2, baategeezezza nti kituufu waliwo ebizimbe ebiriko paakingi kyokka nga bannannyinibyo baazifuula maduuka.
                        “Wano KCC eba ntuufu naye ng’abasuubuzi tetukifunamu kubanga ffe tufiirwa. Abali wansi mu paakingi ne bw’ebaggyayo bannannyini maduuka tebafiirwa nnyo kubanga wansi eyo wabaayo abasuubuzi batono.’

                        Ate Gerald Muwonge naye ali ku Royal Complex agamba nti okubakaka okusenguka bamenye ekizimbe kwe bakolera kyetaagisa Gavumenti kvaayo n’eddoboozi ery’omwanguka ebataase ku KCC efunze ekyonga okubasiraanya.

                        #21762
                        KulabakoKulabako
                        Participant

                          MWETEGEREZE OKUSINGA BANO BONNA BEBAGENDA OKUMENYERA EBIZIMBE MUJJA KULABA NTI MAJOLITY BAGANDA MPOZZI NGABAMU BAGETUUMA KATI KYENJAGALA OKUMANYA KCC YALI LUDDAWA NGEBIZIMBE BINO BIZIMBIBWA BANYINI KUBIZIMBA BABAWAAYO EKIGULIRA MAGALA EDDIBA , KCC NETUNULA ENDALI NGA TEBALABA NTI BAZIMBA MUBUKYAAMU GWAATE EKITALI KIZIMBE KIMU .

                          KATI BINO BYONNA NGA BABIMENYE NGABANTU BONNA ABABADDE BAKOLA BABALEMESEZZA EMIRIMU NGOOLWO BAMUGYENYI ,SIMANYI BABASAIJJABARABA NGA BO BAJJA NGA BAZIMBAWO NGA BATANDIKA KUGUZA BABADDE BANNYINI MIRIMU BIZIMBE.
                          KUBA MU KASEERA KANO NGA ECONOMY MBI WORLDWIDE SILOWOOZA NTI ERIYO ALINA SSENTE OKUDDAMU OKUZIMBA NAFISSA NE ZINAKOLA BUSINESS MPOZZI BA MBABAAZI ABATOLA MU ZA NSSF
                          ABAGANDA MUKIMANYE NTI BUNO BWONNA BUKODYO BWAKUBALEKA NGA MWEYAGUZA LUGGYO

                          OMANYI M7 AFUNAYO AKANTU KAMU BWEKATI NEYEKWAASA NALYOOKA ABAYONONENERA BULI KIMU LWAAKI TEBASOKERA KU ZA NAKAANA EYAZIMBA MUNTOBAZZI MU MWAALA OGUTWAALA AMAZZI YE ABAFFE LWAAKI GAVUMENTI TEJAAKO MBABAAZI SENTE ZE YAJJA MU NSSF BAMALE OKUZIMBIRA BANYINI BIFO WEBANA TUNDIRA
                          BINO BYONNA BIKULAGA ABANTU ABETTIMA KATI OLWO ABANTU MU KACHO KANO BAJJE WA SSENTE

                          #21763
                          NdibassaNdibassa
                          Participant

                            Buli kiyononebwa kati tekijja kuddawo okujjako nga banaffe abasalawo okukuba emikono mu cookie jar nebajjamu kasente konna akandibadde ake gwanga lyonna ne bakezza bokka nga bebazimbye

                            Ekyebuzibwa kiri nti aba mawanga amalala bonna balaba nti balina right okujja nebafuna ettaka ebibanja nokuzimba mu Buganda ekitegeeza singa ebintu bikyuuka nabo bali ready to share their land na Baganda oba bo balowooza nti ekyaabwe kyaabwe bokka naye nga bo bayinza okujja nebakola kyonna nebatwaala nebazimba wonna webaagala mu Buganda nga tewali abakuba ku mukono.

                            Twagala okulowooza nti ffenna bwetunatuula okuteseza buli omu gyaava kino kyekinasooka mu diiro . Buli omu waddembe okussa nokugoberera obulombolombo bwe ggwanga lye namateeka agafuga ewaabwe okugagoberera awatali mugwiira ku muyingirira nakumubulira kya kkola.

                            #22032
                            OmumbejjaOmumbejja
                            Participant

                              Naye lwaki Abaganda bakyazize entegeka za Gavumenti ezimu?
                              Tuesday, 03 February 2009 16:26

                              [Katikkiro Walusimbi ng’alambula pulojekiti y’okulunda ebyennyanja eya Harambe.] BANNANGE muleke mbakulise omwaka gwe tuyiseemu ogwa 2008, gubaddemu ebintu bingi ebirungi n’ebibi.

                              Mu 2008 mpadde ebirowoozo byange ku nsonga ezitali zimu mu ggwanga naddala ku ezo ezikwata ku Buganda nga mpita mu lupapula lwaffe luno oluganzi olukoze omulimu omunene okuwa Bannayuganda amawulire ku nsonga ezitali zimu.

                              Mu mwaka guno, nvuddeyo okuwaanyisiganya ebirowoozo nga ntunuulira ennaku 365 kasookanga Ow’ek. Katikkiro Ying. JB Walusimbi alondebwa. Amawulire g’okulondebwa kwa Ying. Walusimbi ku Bwakatikkiro gaafuluma nga December 31 2007 ku lunaku lw’Enkuuka.

                              Olunaku olwo nnafuna omukisa okutuula ne Ying. Walusimbi ku mukolo gw’Omuzira mu Bazira ogwali mu Lubiri. Twatuula naye okumalira ddala essaawa nga mukaaga nga tunyumirwa Omuzira mu bazira, naye nga simanyi nti ku ssaawa 1:00 ey’ekiro ajja kulangirirwa nga Katikkiro wa Buganda omuggya ng’adda mu bigere bya Emmanuel Ssendaula era ng’akomekkereza omulembe gw’owek. Daniel Muliika ogwali omuzibu ennyo era ogwatabulatabula enkola ey’omukwano eyaliwo wakati wa Mmengo ne gavumenti eya wakati.
                              Abaganda bonna n’abo abatali abali mu Buganda baasanyukira nnyo Ssaabasajja Kabaka okukola enkyukakyuka eyawa abantu essuubi nti 2008 gujja kuba mwaka gwa kutegeeragana wakati wa Mmengo ne Kampala.

                              Ekyo ky’ekyali ekisuubizo kya buli omu mu Buganda, buli muntu kye yayagala okutuukiriza, tumalewo okulwanagana kw’ebigambo ebyogerebwa.

                              Owek. Katikkiro Ying. Walusimbi yatandika emirimu gye n’ategeeza Obuganda nti azze kukolerera mirembe wakati wa Buganda ne gavumenti eya wakati.

                              Weewaawo mu mwaka gwa 2008 mubaddemu ebizibu bingi, naye okukwatibwa kwa baminisita b’e Mmengo ate kyayongera okunyigiriza n’okuteekawo olukonko lw’obutategeeragana wakati wa Mmengo ne gavumenti eya wakati.

                              Kyokka kyamukisa munene nti Katikkiro omuggya Walusimbi yakwata ensonga eyo n’obwegendereza era ne tugiyitako. Katikkiro asaana okwebazibwa. Mu nkola ye, alaze nti tayagala kweyambisa nnyombo ezireetawo okugugulana, okunyoolagana n’okwang’anga ensonga n’amaanyi wabula okuyita mu kuteesa n’okwagala nga buli omu awa munne ekitiibwa.

                              Enkola ya Katikkiro Walusimbi ereeseewo essuula empya mu 2008 nti mu kuteesa byonna bisoboka. Ku mulemgbe gwa Katikkiro Ssemw-ogerere, enkolagana wakati wa Mmengo ne Gavumenti yali nnungi ddala, era buli omu ng’akwatagana bulungi ne munne. Era omwo twafunamu bingi.
                              Ebirungi ebyafunibwa mu ‘regional tier’, newankubadde abamu ku bakulembeze b’e Mmengo naddala bannabyabufuzi baawaliriza Mmengo okubigaana naye ebisinga byali bimaze okuteesebwako e Masaka mu 1991/92 ne bikkiriziganyizibwako.

                              Omwo mwe mwali ne musupaali y’e Mengo. Mwalimu n’ebintu ebiteekwa okulongoosebwamu. Ku mulembe gwa Katikkiro Muliika byonna byayonooneka!

                              Katikkiro Walusimbi tuyinza okugamba nti agoberedde enkola ya Katikkiro Ssemwogerere, Abaganda gye balowooza nti y’ejja okututwala mu maaso n’okufuna ebyo bye tusaba.
                              Enkolagana wakati wa Katikkiro ne Pulezidenti Museveni erabika ng’egenda erongooka era nze nga omuwi w’amagezi eri Pulezidenti ku nsonga za Buganda, abakulu bombi mbeebaza olw’engeri gye bakuttemu ensonga za Buganda.

                              Katikkiro Walusimbi atadde nnyo essira ku by’enkulaakulana, era nga amanyi nti Buganda teyinza kugenda mu maaso nga tekwataganye ne gavumenti eya wakati. Era enkola y’omumuli esanyusizza nnyo Pulezidenti ne gavumenti ye.

                              Wabula Katikkiro alina obuzibu bwa maanyi, kuba waliwo abo abalowooza nti Buganda esigale nga bweri okutuusa Museveni lw’anaagenda era abo balowooleza ddala nti mu 2012, Museveni agenda olwo Buganda eryoke etandike ku nkulaakulana .

                              Ekyo kizibu okukkiriza kubanga ebintu birabika nti ate kati NRM ne Pulezidenti yennyini yeeyongedde okufuna obuwagizi. Mutunuulire ebivudde mu kulonda kw’e Kyaddondo North, Bujumba n’e Sembabule. N’olwekyo abo abalowooza batyo balina okuddamu okutunuulira ensonga eyo mu butuufu bwayo.
                              Obuzibu obulala Katikkiro bw’alina be Baganda okwesamba ebintu ebireeteddwa Gavumenti mu BUganda nga NAADS, okulima emmwaanyi, omuceere gwa Bukenya, okulima ensuku.

                              Tebataddeeyo mulamwa ku nsonga za Bonna Bagaggawale ate ng’ebitundu ebirala ebya Uganda byo byenyigidde nnyo mu mirimu egyo egyogeddwaako waggulu. Abaganda bateekwa okukyusa endowooza zaabwe bakkirize nti bateekwa okwenyigira mu nkulaakulana zonna mu Buganda.

                              Eky’okukyusa emitima gy’abantu kya bonna , Katikkiro, Ssaabasajja Kabaka, Nnaabagereka, abamasaza, baminisita b’e Mmengo ne gavumenti eya wakati.

                              Buli mukulembeze kimukakatako okwenyigira mu nsonga y’okukyusa Abaganda okukkiriza okugendera awamu n’ebitundu ebirala ebya Uganda.

                              Pulezidenti Museveni andabikira yeewaddeyo okukolagana ne Katikkiro Walusimbi okukulaakulanya Buganda kubanga ekyo ky’ekigendererwa kye ng’omukulembeze.
                              Nsaba tuyambe Katikkiro atuukirize ebigendererwa bye eby’okumalawo obwavu mu Baganda.

                              Robert Ssebunnya muwabuzi wa pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda.

                              #22034
                              OmumbejjaOmumbejja
                              Participant

                                ccc_2.jpg

                                Owekitiibwa Katikkiro nze kambeere omu ku batangaaza ensonga eno ate naddala nti lwakuba tuli munju yaboobwe wano ku AbabaKa Omuganda weyegazanyiza nayogera kyonna ekimuli ku mutima .

                                Kulwaange ngamba nti nga tonnaba kwebuuza lwaaki Abaganda bazize buli kya gavumenti kyebaletera wandisoose kwetegereza nkolagana nga bweeri okuviira ddala ku ntandikwa yokufuga kwa NRM ngo gitunulira ngo Muganda yenna eyakeera nalwaana nayiwa omusaayi nafiirwa abantu be kyokka nasulibwa ebbali
                                Mpozzi wano omukulembeze aba mutuufu bwagamba nti yayigga ensolo ye ngensolo eyo ogitutte nti be Baganda abafiira obwemage nga nekyebafirira tebakifunye .

                                Abaganda bayinza okuba nga baasirika mu kusooka olwobuntu bulamu bwebalina mubulombolombo bwaabwe nga balowooza nti mpozzi M7anakwatibwa akafa nsonyi nakyuusa engeri ze neneyisaaye eyo kulembeza abantu be okukasukira Abaganda obusamambiro nga londamu abo abolubatu abanamukutira akadingidi , banayolesa nokusirisa Abaganda nti mulabye nabammwe mwebali mubufuzi nga bantu bano ngeza nga Bukenya, Ssekandi, Namayanja, nabalala bangi aberowooza nti bayamba Obuganda, naye nga bwo bubalaba nga balya munsi yaabwe olukwe olwokulaba nga bantu bebayita abaabwe Abaganda babonyabonyezebwa nokuttibwa nokusibwa nga nga tebavudeemu wadde omwaasi .

                                Kati mw Bukenya bwalinda emyaaka gino gyonna gyamaze mu gavumenti nga ye alya yegaggawaza nalyooka avaayo as if not enough nagenda mbu asabe ekitundu siwalala wonna mu Buganda naye mu kifo ekyo buwangwa mbu nno atandike okuyigiriza Abaganda okulima omukyeere ekyo ffe Abaganda tukiraba nga tuvoola.

                                Singa yali alina omutima ogulumirwa abantu be in case nga teyamanya mukama we bweyalinnya Baganda ku mitwe okutuuka kubukulu yandibadde yavaayo dda nga ba kawamba awo nebweyandizze nomulimu gwonna ogwokulakulanya Abaganda bandi mwebazizza naye sikati nga ajja okubakubira ebibejjagalo ava okugabulwa mukama we nga bantu be beerya nkuta munsi yaabwe , tebalina mirimu bakunkumuka endadde tebalina kalagala ate newebandinoze omululuuza babasenzeewo .

                                Kuba bagamba nti munno mukabi yemunno ddala.
                                Kati ssebo Katikkiro omuntu ali mu mbeera bweeti ate nga m7 yennyini yagimutusizaako anakkirizaaki era asobola atya okuddamu okumwesiga nga mukozesezza emirundi mingi namukasuka namulimisa ebintu ye M7nebanne nebagenda nebabyetundira nategeeza abalimi nti tebakyabigula teri katale ate tetugeza netubalaba nga mugenda mwe okubyetundira.

                                Awo bwosigala nga okyawolereza M7 abakoze ebikolobero ebyo kyebava bajulira eyali katikkiro Muliika era nasigala nga buli omu akyamuyayanira kuba ye, gwe balaba nga yabamanyidde ku nnaku era ebintu abyogera nga bwabiraba nti ssekawuka kaali kakulumye bwokalaba nga tonawewenyuka misinde sooka okakube enyinja kumutwe.

                                #22035
                                OmumbejjaOmumbejja
                                Participant

                                  Kati bino bibwo mwami Sebunnya
                                  Ekintu kimu ekikyannemye okutegeera lyeddagala lyemubuuka nga muyingira office ya president mwe abeyita abawabuzi abawereza, nabayambi bo mwofiisi ya President

                                  Mugenda nemwogera ebintu wewaawo mukolerera mbuto zammwe naye singa oluusi mufunako kukafa nsonyi , okujjako nga bamawanga amalala batumibwa nga basinziira mu mawulire gaabwe netuba nti tetubawulira nga bogera ebintu ebibalaga nti ddala olwaleero nkola zakyamisana byenjogera sibyamuntu amaze kutuula wansi nalowooza .

                                  Kuba ddala singa mwalaba ku Buganda nga tenayononebwa ukamaawo nebanne mwanditegedde nti Omuganda okukwagala nokuwulira no kukkiririzaamu teyetaaga kumala kumugula nabutole bwa ddimi lyangombe, mwetaaga naddala mwe beyita Abaganda mugende mubuuze kubajjaja mwe bwebaba nga Baganda bababulire , nti Omuganda teyetaaga kumufuga nga nsolo okusobola okumukozesa bi bonna bagaggawale.

                                  Kyokka mbu ate asooke akuwe busente bwasigazaawo mbu ate obubwo obutobeke mu bubwe, mbu asimbeyo akabanja akatono kalinawo mbu ate okanone mbu lwakuba ononye busente bwo obwabulira mu bubwe . ebyo ebigeri ebyekibbibbi ba kamaabo ba salimu byebagenda balenga ffe twabategeeza nti mu West yokka gyebisobola okukola .

                                  Kati katukwaate ku bonna basome mu kamaawo nebanne nga bakatonnya mu Buganda twalina amasomero nga ne Makere re afulumya abayivu baangi, basooka nebagookya ki nnalimu bwebamala nge bikozesebwa byonna babimazeemu buli kimu kyononese tebalina kyebalongoosa nebasitula bo abaana abaabwe nebabatwaala okusomera kussente zomuwi womusolo wabweeru nebatwalirako nabakozi.

                                  Nga jobeera abaana abasangibwa munsi yaabwe Buganda zo zaali ntula , kwekujja bo nebazimba amasomero agaabwe ga bajja simanyi bakola ki nebagenda eyo okulembeka nebusente obutono banansi bwebasigazza amasomero gonna gebasangawo negasigalira mannya , nebatakoma awo nebatwaala enkula kulana mu maaso nga baana basomera wansi wa miti nga nababasomesa bamala emyeezi nga tebasasuddwa kyokka bo abafuga bali busy buli kasente akayingira bakezibikira.

                                  Njagala okubuuza gwe Sebunnya wakamala emyeezi emeka nga tebakusasula ngokola ogwobulebeesi manya ogwokuutira mukamaawo akadingidi , obeera mu Buganda embeera eriwo ogiraba? wali oziise kumuntu nga talina wajja kalagala? oba nga abewuwo balina kusula kuluzzi kuba line ekoma eno neeri tebalina sente zigula mazzi gakitaka manya gakiragala .

                                  Atleast abamawanga amalala basirika kuba kati tewakyaali wokolokota bwaabwa muwogo yenna ajjudde obulala kisingako nomusuula notolimba bantu nti yasinga okuwooma .

                                  Lya ssente zo mu kasirise togezaako kunyiga bbwa litujja leka lyaabike mu kiseera kyaalyo.

                                Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 38 total)
                                • You must be logged in to reply to this topic.

                                Comments are closed.