Kaggo alabudde abaagala eky’Amasaza
Bukedde Monday, 20 April 2009
OWESSAZA ly’e Kyaddondo, Kaggo Tofiri Kivumbi alabudde Amasaza nti gaalyesanga nga tegazzeemu kulaba ku ngabo oluvannyuma lwa Kyaddondo okugi-twala omwaka oguwedde. Kaggo agamba nti kati Kyaddondo etandise era abawakana abagambye nti balina okukkiriza kuba nti atandika agyeddiza mu 2009.
Kaggo okulabula kuno yakuko-ledde ku kabaga ke yakoze okujaguza obuwanguzi bwe baatuuk-ako akaabadde ku kisaawe ky’essomero lya Bekerly e Namasuba.
Ku mukolo gwe gumu maneja w’Essaza lino Frank Kyazze yasabye obuyambi.