‘ZINUNULA OMUNAKU’BY E. K .N .KAWERE

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebitabo / Books ‘ZINUNULA OMUNAKU’BY E. K .N .KAWERE

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 26 total)
  • Author
    Posts
  • #19168
    NdibassaNdibassa
    Participant

      [/b

      ]Ebyewuunyo byaniriza Zinunula ku nsi

      MU kaweefube w’okutumbula olulimi Oluganda, obuwangwa n’ennono, Bukedde Ku Ssande waakukutuusangako akatabo

      ‘ZINUNULA OMUNAKU’
      akaawandiikibwa Omw. Edward K. Namutete Kawere nga bw’obuuzibwa ebibuuzo ebinaakuyamba ggwe omuyizi okuyita ebigezo n’omuntu wa bulijjo okweyongera okumanya olulimi lwo.

      Leero tukuleetedde essuula esooka:

      NNEETONNYA MU NSI
      EBIGAMBO bisirikitu ddala ebyawambira ne bisimba amakanda era ne bitebenkera mu mmeeme yange, nga biva mu ebyo jjajjange bye yannombojjera, ebyaliwo mu kuzaalibwa kwange.

      Nazaalibwa mu nsi y’e Tigati mu ssaza ly’e Kitoma, mu Ggombolola ya Bagayakyezinze, ku kyalo Ndolombe, mu kiseera Ssekabaka Kondooba Ndagu Balunginsiiti mwe yaggyira omukono mu ngabo, mutabani we Zigulensigo Kkonkomebbi Kitawongwa amale amuddire mu bigere, enjuba bwe yali egolooba ng’akasendabazaana keememula era ng’ezzooba lyakamala mbale kasookedde lyewanika mu lubaale.

      Ekyeya ekyayaka ppereketya, ekyayandaakalaza ensi yonna n’erakasira era ekyakooza abantu bonna akagiri bwe kyali kisendeekerezebwa nga kiri kumpi n’okulabibwa mu nkoona, enjala Tolyamunno, Kiryankondwe, Kisannumbu, Ssaanya, Gulikunfuuzi, Kakutiya, Kiryansanafu, okuggyako eno eya jjo ly’abalamu Gwomuwaddaakatebe, bwe zaali zimaze okubaawo era olutabaalo lwe Zinaddookunywa nga lwakadda.

      Mu maliiri g’olunaku olwo, kalenge eggulu yalitimba era ne ssuulwe yali yagudde mungi ekiro. Kyokka mu kiseera ky’akalasamayanzi obudde bwali bwetadde bulungi era ng’akasana keemulisa bulala awo ng’engajaba we zitandikira okulangaala bwe ziba nga zirima. Okuva mu ggwango okutuuka mu malya g’ebyemisana, enkuba egulansigo yafukumukamu kubanga omwaka omukazi gwali kumpi okukkirira, era okuva mu kiseera ekyo okutuukira ddala mu makola g’ebyeggulo obudde bwali bwa kitto era ekinnyikaggobe, ng’eggulu lyonna kazigizigi alirippyeeko era nga linyiibanyiiba.

      Naye nno olunywankoko olwawandaggirira nga ndi kumpi ddala okwetondeka mu nsi, eggulu lwe lwalyozaako ebire. Mu kiseera kyennyini kye nagoberamu mu nsi eno, akasana kaali kaaka bulungi era katangalijja ku bikoola by’ebimera. Mmange ne bajjajjange baasanyuka nnyo nga nzaaliddwa kuba kitange bwe yali afa yalaama nti, “mukazi wange ali olubuto bw’azaalanga ‘nnaatuukirira’ y’ansikiranga; naye bw’azalanga ‘gannemeredde’, omu ku baana ba baganda bange ansikiranga”. Ekintu ekitaasanyusa bajjajja bange taata okusikirwa ataviiridde ddala mu ntumbwe ze.

      Ebibuuzo:
      1. Laga enfuga eyali mu ssuula esooka efaanana etya n’enfuga y’omu Buganda?

      2. Biki ebiyinza okukulowoozesa nti amaka agoogerwako ga mu Buganda?

      3. Omwaka omukazi gwe guluwa?

      Published on: Saturday, 17th April, 2010 1281191183zunnula-20100807-2.jpg

      #26364

      Nneebaza nnyo Ndibassa ne Bukedde ku Ssande, okutuleetera akatabo “Zinunula Omunaku” akaanyumira ennyo abantu wonna mu Buganda ne mu bitundu bya Uganda ebirala ewali Bannayuganda abategeera Oluganda, nga na buli kati kakyanyumira abantu bangi abakasoma.

      Tewali kubuusabuusa Omugenzi Edward K.N. Kawere ye muwandiisi eyaasinze mu Buganda okuwandiika ebitabo eby’engeri eno (Novels) ebyaasinze okutunyumira ate nga byatuyigiriza nnyo Oluganda bwe byatuwa ebisoko ebingi abantu abaliwo ku mulembe gwaffe bye batakyakozesa nnyo mu njogera.

      Kya mukisa mubi nti ku mulembe gwaffe guno abantu abawandiisi b’ebitabo by’Oluganda si bangi nnyo abawandiikidde ku musingi ng’ogwa Kawere, bw’oba ogeraageranyizza n’obungi bw’Abaganda abaliwo kati kw’abo abaaliwo ku mulembe gwe.

      Newaakubadde ng’Abaganda bangiko abagagga abasobolera ddala okuyamba abawandiisi b’ebitabo by’Oluganda okubifulumya mu kyapa kirusobozese okusigala ku lukalala lw’ebiyigirizibwa mu Yunivaasite e Makerere, kyokka tebafuddeeyo nnyo kuwa buyambi bawandiisi abo ate ng’okukuba ebitabo mu kyapa mu nsangi zino kitwala lupiya nkumu bulala. Abawandiisi b’ebitabo tebatera nnyo kusangibwa oba okubalibwa mu bantu abagagga, naddala abawandiisi abawandiika ebintu eby’omugaso ennyo eri abasinga obungi mu kukuuma n’okukuza eby’Obuwangwa.

      Obuzibu obulala obuliwo kwe kubeera nga amakampuni agakuba ebitabo, gaagala kusasulwa mu buliwo nga tebannakuba kitabokyo ate ng’Omuwandiisi tatera kubeera na nsimbi nnyingi bwe zityo. Ekyo ne kijja kiviirako ebitabo bingi obutakubwa mu kyapa bwe bityo ne bisigala mu kabada nga bifuma-bufumi oluusi n’okuliibwa enkuyege oba mwami Wammese!

      Kye nva nkubiriza Abaganda abali obulungi mu by’enfuna era abalina omutima ogwagala okukulaakulanya Olulimi lwaffe Oluganda, baveeyo nnyo bawagire abawandiise b’ebitabo eby’Olulimi luno, bayambe abawandiisi okufulumya ebitabo byabwe, ne bwe kiba nga kyetaagisa okugabana “royalties” n’abawandiisi entegeka zisoboka okukolebwa naye ebitabo byaffe bifulumizibwe bigase abantu nga bwe tukulaakulanya n’okukuuma Olulimi lwaffe n’Obuwangwa buno ku maapu.

      Okuwandiika bino, nsinzidde ku bumanyirivu bwe nsanze kuba kamwakoogera ndi muwandiisi wa bitabo bya Luganda, naye olw’obuzibu bwe nnasanga e Uganda mu kukuba ebitabo nasalawo mbikubire e Bumeruka (America) ate ng’okubisaabaza okubitwala e Buganda kitwala sente nkumu ddala sso ng’ate e Bumeruka Abaganda abaliyo tebagula nnyo bitabo bya Luganda. Nsaba bwe wabaawo alina omuntu yenna asobola okuyambako mu kukubisa ebitabo e Buganda, antuukirire ku mukutu guno tusale amagezi. Bulijjo ayettanira okukuza Olulimi luno n’Obuwangwa bwa Bajjajjaffe.

      #26867
      KulabakoKulabako
      Participant

        Zinunula bubeefuka n’embogo

        NGA tweyongerayo mu lugendo olwatutolosa eka, omusajja eyatuli mu maaso twalaba ng’alina kye yeekengera ne tuyimirira. Twagenda okulaba ng’agalamira, tuba tukyasamaaliridde, nga mu maaso gye twali tulaga efulumyeyo embogo eyakula n’egangayira, anti amayembe gonna nga gagisibaganye. Naffe ne tugalamira ne tulambaala ng’abafudde.

        Twalowoozanga nti waliwo embogo emu, kazzi nga ziri bbiri. Bwe zaalaba nga tezitulaba, ne zijja nga zitunoonya. Bwe zaatuggukako ne zituwunyaawunyako ate ne zidda ku bbali ne zigalamira ne zituteega. Omusajja yalaba akanyego kalamuddwa akasiriikiriro, n’ayimusa ku mutwe alabe oba kiri mulaala. Aba atuula kazzi embogo eri awo obwedda egamwegese, kwe kunaawuuka eri ng’enjuki n’emutunga ejjembe mu mbiriizi n’emusitula n’emusinsimulira mu bbanga, n’emutujja ennume y’ekigwo yavuumiramu omulundi gumu nga lumalamu amazzi naye yafiira mu bulumi obutagambika!

        Akasiriikiriro kaddawo naye nalaba wayiseewo ebbanga ggwanvu ddala nga mpaawo kakuba, ne njagala nsitule ku mutwe ndabe oba embogo zigenze. Namagalaza amatu nga wonna cce, kwe kutuula ne mmagamaga nga siraba mbogo, ne nsituka. Mba nsituka ne mpulira Mikolo ng’aleekaana nti, ‘Gwa! ofa!’

        Okukyuka nti ng’embogo eri kumpi nnyo okuntuukako ejja bukula. Ne nneewuttula kyabugazi ne njiringita ne nneevuunika ereme kunsogga nga ndaba, olwo nno ng’embuuse. Bwe yadda n’esenseza ejjembe wansi w’olubuto lwange. Eba ensitula, ne njiringita ne ndivaako ne nkola bwentyo emirundi esatu naye ku gwokuna ne ndaalira ku kikolo ky’akati.

        Yambinula n’emberula n’enkasuka mu bbanga, n’etega amayembe ng’erindirira nzire ngeetonnyeko gankole ogwa walugali. Kyagibuukako, yakanda kutega mayembe na kulindirira mbu nzira, nga bwereere nze nfuuse musu gw’e Kanyanya ‘Mugenzitazze’.

        Tekuba kutya na nsisi, nandikubye n’enkwawa, anti embogo bwe yankasuka waggulu nagwa ku matabi g’obuti agaali gaboyeddwa ebibowabowa n’ebbombo ne ngalamira okwo bugazi nga siyinza kwenyeenya wadde okwekyusa olw’okutya okusumattuka okugwa wansi. Enjuba yali eri ku ggulu eryetadde ng’eyaka omusana ogwansiika ne gumbabira ne mbugujja ne nkamala nze nga buli kaseera mponga buwonzi Mikolo aleme kwenyeenya kumumalirako kiruyi. We nali nagiwuliranga ng’efuuwa.

        Mba ndi ku kibanyi kyange okwo, nga ndaba ssebukuule w’omusota ajja akkira ku ttabi ly’omuti eryali lireebeetera ku busammambiro bw’akati kwe nali ndaalidde. Ssessota bwe yali ali kumpi okutuukira ddala ku makoola ag’oku busanso bw’ettabi, ne yeezinga amakata n’asirika, olwo nno n’asigalira kutongeza nnimi. Nga wayiseewo ekiseera ng’omuntu ky’atambuliramu akatalatala akatono n’akamalako, oba gaali maanyi ga mpewo eyakunta oba akatabi kaatendewererwa obuzito bw’ery’e Kalungu ne simanya, anti nagenda okuwulira ng’essota linneegonnomola ku bigere. E e-e-e ne njula okufa ensisi. Bwe nateebanga okwenyeenya, nti limbojja ne ng’uma nagenda okuwulira nga lyezingulula mpola ne lijja nga lintambula, liiryo ku bisambi, ku lubuto, ku kifuba, tugatunuulaganyizza. Olwo nno okugwa n’embogo ne mbyerabira, ne ndowooza gusota ogwo gwokka, kwe kugubaka mu bulago ne nsindika eri ekinene.

        Nagenda okuwulira nga gwewuttudde wansi. Eyo gye gwalaga mpozzi ye yali embogo eyookubiri, yalaba gugirumba n’eyotta kubanga nawulira akabuguutano ng’edduka. Nze olw’okwenyeenya ennyo nga nsindika ogusota, ate nga n’ebibowabowa byayidde dda, byo kwe kwesenda ne bimpa ekyanya. Wamma ggwe ne ng’enda yiriyiri okuwummula nga nekkase ku mugongo gw’embogo nange nno ngyebagazze mabega ekintu kye saayagala. Ekyekango nga bwe kitamanya muzira, embogo bwe yalaba efunye omwebagazi gw’eteeyagalidde, n’etyekula emisinde n’egenda anti ng’ebuuka ebibanda! Nze olwo ne njiringita!

        Ebibuuzo:
        1. Engeri Kawere gy’awonyaamu omuntu we omukulu ebizibu ebitali bimu tekkirizika. Kubaganya ebirowoozo
        2. Laga erinnya lya Zinunula bwe limutuukirako.

        #26868
        EfulansiEfulansi
        Participant

          Ebyo byensomye byolese Kulabako binzijukizza olugero olugamba nti kisanga atakitte, embogo yasanga Mukwenda.

          #26888
          NdibassaNdibassa
          Participant

            ‘Ab’e Bulyambwa batusalira ogw’okufa’

            BWE twawona embogo, twasisinkana abasajja basatu ne tugenda nabo era ne batunyumiza bingi ku nsi Bulyambwa. Abantu b’omu nsi eyo gye twayingira akawungeezi baali ba kisa kingi bulala anti buli we twatuukanga nga batuwa emmere ya buwa era nga batulagirira n’emigiini egy’okusulamu.

            Nga wayise ennaku ttaano bukya tutuuka mu Bulyambwa, twali tutambulatambula okumpi n’omujiini mwe twali tusula, ne tugwa mu tteeka ly’Omwami Ndodooti. E Bulyambwa abaami baayo nga balina obuyinza bungi, buli omu ng’anaatera kuba kyetwala era abalala nga bakyewaggula ddala. Mu bo nga Ndodooti y’akulembera.

            Twagwa bwe tuti mu tteeka lye. Twali tuyitaayita ne tugguka mu kkubo erigwa emmanju we ate nga yassaawo etteeka nti tewabanga muntu mugenyi yenna ayita mu kkubo eryo, sikulwa nga mujjiramu abakessi.

            Okulikwatirwamu ng’ottibwa buttibwa. Ffe olwaliggukamu nga tukaada, kazzi nnabamba atujjira. Munnange abambowa twabagwa mu ttaano ng’emikono bagizza gye gitawemera ntungo, olwo n’empi zituyiseeko nga batukulubbya nga batutuusa mu maaso g’omusigire w’omwami kubanga omwami yali amaze ennaku nga taliiwo, akyadde.

            Tetwalwa nga tumuumuunya mu musango, ye nno nga tuwoza biki ebitalina atusemba! Obujulizi obwasooka bwali bwa mu mankwetu ate obwaddirira bwajjula ebigambo bingi lufulubenje ebyatukonjerwa. Omusigire teyabandaaza ng’agutusalira kutumegga, ekibonerezo kufa. Ne tumanyira ddala ng’obwaffe bugayeggaye, ebigere byaffe bitusudde mu matigga. Baatutwala mu nkomyo tulindirire olunaku lwe tulitirimbulwa.

            Mu mbuzeekogga omwo twamalamu ennaku nnya ziti naye zaalinga omwaka! Baatusiba bwe bati: baatufukamiza amatiitiiri ne batuweta ensingo ne baziteeka wakati w’emiti ebiri, ogumu nga guli wansi omulala nga guli waggulu era mu miti egyo nga mulimu ebikatokato nga toyinza kugolola nnyo nsingo oba okugissa ne bitakufumita.

            Amaaso buli kiseera nga gatunudde ku ttaka, ne tusiibanga tutyo era ne tusulanga nga tukikijjana okuggyako akaseera akatono ke baatuteewuluzangako nga tulya. Omulundi gumu baaleeta gonja ayokya ne bagezaako okutumuvuubiika mu matama nze eyali amunvuubiika mu kamwa namuluma engalo n’ayomba nnyo nti, ‘Empayippayi eno okujja okunnuma bw’eti!’ Yeewera okumbonyaabonya ennyo ku lunaku olw’okunzitirako nti agenda kusooka kunsalako ekifi ky’ennyama nga ndaba akiryebulemu obulere ajje abundiise. Nze mu kiseera ekyo nali nneesiniddwa nga sikyafaayo ku ngeri gye bananzitamu anti mpaawo magombe g’azza.

            Baali baakayisaawo olunaku lumu nga batuyiye olunyata ku bigere olwatusiiyiikira omwo ekimomozo, ne tujula okufiira omwo ekituyu, anti nga toyinza kukuba mulanga abambowa ne batakugguunya bitolima bya miggo nti, ‘Towowogganira mwami.’ Ne beetyotyoggolera ku ffe ne bakamala, newankubadde nga ffe tetwabalinaako ndibu, naye ekkonda lye baalina mu myoyo gyabwe lyabaggweerako ku ffe. Era waaliwo ne kazambi w’ebikolwa ebirala bingi bye baatukola.

            Ku lunaku olwokuna, omwami Ndodooti bwe yadda n’alagira tuttibwe mangu, mu kkomera bazzeemu endulundu y’abasibe be yajja nabo.

            Ebibuuzo:
            1. Laga ebintu bitaano ebitakkirizika mu katabo Zinunula Omunaku.

            Published on: Saturday, 7th August, 2010

            #26928
            NdibassaNdibassa
            Participant

              Kaamulali Komunaku gwe yansibirira ye yatutaasa okuserengeta e Magombe

              ABAMBOWA ba Ndodooti abaali batutwala mu ttambiro okututta, bwe twatuuka mu masang’anzira, omu ku bo n’asumulula ensawo yange kazzi n’ettu lya mmula wange mwannyinaze Komunaku gwe yansibirira, lyasumulukuse dda, mmula asaasaanidde mu nsawo yonna.

              Bwe yali aggyamu ebintu kinnakimu, mmula n’amusensera mu nnyindo anti emyasi ne gitta egy’okumukumu, amaziga jjulujjulu, eminyira nnyirinnyiri, munne bwe yamusemberera alabe ekimwasimuza, naye n’assa okwo.

              Omumbowa oli eyasooka okusumulula ensawo yali yeesangula amaziga, kaamulali n’amugenda mu maaso. Naye bwe yayimba okubalagalwa n’okusonsomolwa wamma ennamusa n’etuuka ku nnyooge.

              Baalwa edda ne bang’amba mbannyonnyole nga bwe guli, ye munnange Mikolo eyali omwangu okusinga kwe kubaanukula nti, ‘Bassebo nno mufudde bufi anti mujja kubeerera ddala bwe mutyo okutuusa olukuusi lwe lulibaggweerako. Ggwe kale bwe banaaba bamaze okututta, ani alibanogera omukuduulu ogulibasawula?”

              Omumbowa owookubiri n’aboggola nti, ‘Sirika era mutuvumule mangu mmwe bakalibulogo sikulwa nga tubattira wano!’ N’asemberera Mikolo ng’agaludde effumu lye. Nze kwe kuseka sso nga nsesa luggumuggumu ne mmugamba nti, ‘Olowooza bw’onootuttira wano tojja kufa, kale mututtire wano anti mpaawo magombe g’azza. Munaaba mutuwonyezza n’olugendo okufa nga tukooye. Ko Mikolo nti, ‘Mbadde wuuyo wagolodde na dda effumu, olinda ki atanfumita olwange luggwe! Kyokka jjukira nti okututtira wano oba eri gye mututwala tekijja kubawonya.

              Naye baali bakyazuzumba n’okwekalamula nze ne nziguka ku magezi agaatuwonya. Kye nakola kwe kwolekera omumbowa owookubiri eyali ayimiridde awo ng’asirise ebbanga eryo lyonna. Bwe namala okutemya ku Mikolo asirike, ne mmugamba nti, ‘Wamma basajja battu tujja kubavumula anti nammwe si mmwe mwatusalidde ogw’okufa wabula mutuukiriza kiragiro kyabaweereddwa. Kale mmwe tunaababonyaabonyeza ki? Leero tunaafuuka kiiso kya mbuzi?

              Ebigambo ebyo nabyogera mpola ddala nga buli kimu nkisimbako amannyo era nga nkiggumiza kyokka nga mbuusabuusa oba omutego gwe nali mbasembereza tebaagulengere kugwebalama.

              Bwentyo nga bwe nfuuyirira kannasswi, ne mbasaba banteewuluze ku mikono ndyoke mbaggyire mu nsawo eddagala ery’okubavumula. Ko omumbowa oli nnalukalala nti, ‘Litulagirire naffe tulina engalo eziriggyamu. Oyagala tukusumulule oyongere okuloga? Ko munne: Olina agatambaala ebitambo ebinaakuggya omusaayi mu matu! Ono omusajja gwe tusibye emiguwa ku magulu asobola atya okutuddukako, ne bwe tutamusumulula mikono ayinza okwongera okutuloga, kale eno endwadde egenze okutukwata tumaze kumusumulula mikono? Mpozzi nga ggwe tolumwa nnyo naye nze mpulira ng’amaaso agambuuka mu kiwanga!’

              Nga bamaze okwogera bokka na bokka mu kaama ebigambo bye saamanya, oli nnalukalala n’ajja ansumulula emikono n’ankwasa ensawo yange gye yakwasa obusongezo bw’engalo era gye yampeereza ng’atunudde ekimbalimbali. Ng’amaze okugimpa, nabayita basembere we ndi ne basembera. Nabakuba amabega ne nningiza mu nsawo ng’alina kye saagala balabe, ne njoola olubatu lwa mmula nga tebannategeera na kye nkola ne nkyuka omulundi gumu ne ndubametta lwonna mu maaso ne gubula asala.

              Omu yali ankunuukiriza anteme, n’atema munne, baabo bambalaganye ebigwo bisse, kino ky’ani, ky’ono, ky’ani kya mulala.

              Bwe nali nkyatangaaliridde mbatunuulira nga bwe beekuyenga, ne nzijukira obulamu ne mmagamaga kye nnaasazisa emiguwa kazzi nga ne Mikolo yagguse dda mu kirowoozo kyange kwe kung’amba nti, ‘Kwata effumu eryo erikuli okumpi osazise eryo.’ Omu ku bambowa kwe kugamba nti, ‘Ssebo tosala’ era n’ayita munne amuyambe kubanga yalowooleza ddala ng’alwana nange era nga nze Mikolo gwe yali awa amagezi mmusazise effumu.

              Nga bwe twali bawakasanke, saalwa nga nnonda ffumu nga nsala miguwa egyali gitusibye amagulu nga nsala n’egyali gisibye Mikolo nga twekomya mafumu agabadde ag’abambowa nga tuyotta naye amagulu nga galinga biwuulowuulo era n’ebigere nga bitiiriika omusaayi olw’olunyata lwe baabiyiwako naye nga tetuwulira bulumi bwonna wabula okuduma obudumi n’okumala gapaala tutyo.

              Tuba tudduseeko akabanga, ne tusisinkana ekibira ne tukyamukako katono okuva mu kkubo ne twekweka.

              Ebibuuzo:
              1. Ezinunula omunaku Lugaba azitunga kiro. Laga olugero luno bwe lutuukira ku kitundu ky’osom

              #27008
              OmumbejjaOmumbejja
              Participant

                ‘Empologoma etta omukazi n’omwana nga ndaba’

                EMMAMBYA yali esala ne twambalagana n’olugendo lwaffe omuwala nga y’atuli wakati nga nze nkulembeddemu. Ennaku ssatu ze twamala mu lugendo lwaffe nga tutambula mu ngeri eyo.

                Twatambulanga kasirise era ebigambo bye twayogerera mu kkubo sirowooza nga byasukka engalo z’oku mukono ogumu okuggyako ebyo bye twayogereranga mu kisulo mwe tusuze. Oba kutya kwe kwatusirisa oba birowoozo, simanyi.

                Ensi mu kitundu ekyo yali ya mbubbu ng’oyinza okulengera kuno ne gye nava, newankubadde nga wano ne wali waabanga weetondeseewo akakuukuulu k’obusaana. Kyokka mu lugendo lwaffe lwonna tetwajjirwamu kyekango.

                Ku lunaku olwandibadde olwokuna mu lugendo lwaffe nga we banywera emmindi eyookubiri ku lubimbi ne tutuuka. Baatwaniriza nnyo era mu kunyumya okwaddirira ne batubuulira ng’empologoma bwe zaali zimaze ennaku nga zitaamye nga zitigomya abantu n’okubakaabya akayirigombe.

                Enjuba yali egolooba ne tulya emmere ey’ekyeggulo eyali ey’embwabwa ate ey’ekiyita mu luggya, obudde okugenda okukunira nga twatuuse dda gye twasulizibwa, otulo tetwalwa nga tutuggyawo.

                Mu mattansejjere empologoma yatulumba n’esooka okwekiinyira n’okwewuluntira eyo ebweru. Bwe twagiwulira ne tulinnya ku kibanyi era nnannyinimu nga ye mutaka ku kyo. Bwe twamubuuza mu kaama ekinaakolebwa ku mukazi we, yatuddamu nti, ‘Ye tamanyi kulinnya? Alinnye.’ So nno ate bambi omukazi ng’alina n’omwana yaakatambula. Mikolo nange ne tuteesa tumuggyeyo nga nze w’okukka wansi mmusitule mmumuweereze amusike ng’ayima ku kibanyi. Naye mba nzika bwenti nga n’okugulu okumu kuleebeeta mu bbanga, empologoma we yawagulira ennyumba ate ku ludda kwe nali nzikira. Okweyongera okukka mu kaseera ako kwandibadde kusuula kugulu mu kamwa k’empologoma oba kugyebagala bute ate nga ku byombi tewali kye nneewaddeyo kukola. Eky’obuzira kye nalaba nga kisaana okukola mu kiseera ekyo kwe kuzzaayo okugulu kwange waggulu amangu ddala nga bwe nsobola.

                Mba nkuzzaayo ekinnaginnagi ne kulaalira mu miti, Mikolo n’ansika olusika lumu ne kubuuka mu nvuba eyo naye ng’eddiba erimu lisigadde litambiriddwa emiti okununulayo okugulu. Newankubadde ng’akaseera kaali katono ddala mwe natitibanira n’okuwalula okugulu, naye yo empologoma yabwebweneramu obukoko busatu! Ng’emaze okuwemmenta obukoko bwonna, n’evaabiirawo akabuzi awo ng’obudde bukya era ng’omwezi gwememula. Bw’eba efuluma ng’erowooza nti olusassalala erukunkumudde, ebyembi omwana n’awawamuka mu tulo n’akaaba.

                Anti akatambye! Ensolo n’ekyuka n’ekomawo n’esika omwana n’emutujja ekigwo endege ze zaagiramu zokka be cca a a n’aggwaamu omuka! Ate n’egwira omukazi naye n’emutuga n’emusitulira mu kamwa kaayo egenda emuwalula nga kkapa bw’ekola emmese ensolima. Bwe yamutuusa mu luggya wakati n’emussa n’emagamaga ng’emutaddeko ekibatu kyayo ekya ddyo n’ekutama n’eruma. Saalaba kanyeenyaako mu ye naye oba nga yali asigaddemu akateetera awo we kaggweeramu. Ng’emaze okutuukiriza omukolo gwayo ogwo, yasitula ennyama yaayo n’ekulubba nayo okutuusa lwe yazimirira n’ebulirayo.

                Twali twagala okukuba enduulu, nnyinimu n’atukomako mangu nti, temukuba nduulu, empologoma bw’enedda ffenna ejja kututta. Mugireke ekome ku abo banaagimala.’

                Ekibuuzo:
                1. Njawulo ki eri wakati wa nnannyini maka Zinunula ne Mikolo gye baakyadde n’abasajja ba leero?

                2. Omuzira naye atya era wabaawo lw’akola ebikolwa eby’obutiitiizi. Lambulula ensonga eno nga weesigama ku Zinunula Omunaku.

                Published on: Saturday, 11th September, 2010

                #27031
                KulabakoKulabako
                Participant

                  Zinunula ne Mikolo batta empologoma

                  EMPOLOGOMA ng’emaze okutta muka nnyinimu, twalinda obudde ne butunula ne tulyoka tukuba enduulu. Abantu nfaafa ne bajja ng’eng’oma zituuka ku Jjunju, ng’enduulu etokota ng’eggwaayo. Baba bateesa eby’okugiziga eyiggibwe, ffe ne tutandika okugenda nga tulondoola amatondo g’omusaayi tulabe we yamuliiridde.

                  Mu butamanya oba ng’ambe nti mu busiru bwaffe, kubanga twalabulwa naye ne twezibiikiriza amatu, twalowooza nti empologoma olumala okulya ng’egenda. Tuba tutambuddeko akabanga, omusajja n’atugamba nti, ‘Baana bange temunonoozanga mpologoma.’ Ffe ne tumuzzaamu ekkaaze nti, ‘Obusajja obukulu nabwo! Ogenze okulaba nga gye tulaga?’ ebigambo bye twejjusa oluvannyuma nga wayise akabanga kati.

                  N’abantu abalala baakanda kutulaamiriza nga batulabula nga ffe tusiisiina busiisiinyi, byonna nga bituyita ku nviiri ne bitugwa enkoto, mu matu nga tufaanana ng’abavuubiiseemu ebikwabaaya n’envumbo. Ebigambo eby’enkomerero bye nawulira nga kye tujje tuyite ku kitembejja ky’omusaayi, mpozzi we yawummuza omutulumbi nga tennaba kweggweera, byavuga nti, ‘Abo baliko ekibawujja nandiki mukazi Muyima y’abatuulidde ku kisaabo! Mubaleke gabawale ggwe anti ‘Kayemba nnantabuulirirwa….’

                  Tugenda okuwulira ng’obunyonyi butiitiira ne ng’amba Mikolo eyali akulembeddemu nti, ‘Owange obunyonyi obwo!

                  Mikolo: Obugamba ki?

                  Zinunula: Tebuba nga bulabye empologoma!

                  Mikolo: Otya nnyo naawe, tebulabako ku ssota era bulaba mpologoma eyo. Nga ggwe ye bwe bukulaba!

                  Zinunula: Twandikomye wano nno munnange.

                  Mikolo nakanda kumugamba ng’alalambala bulalambazi agenda, nze ne nnyimiriramu ne mmuyita adde nga yeekwakkula bwekwakkuzi. Nalwa ddaaki nti, nze gwe banaayita omutiitiizi? Nga mmugoberera.

                  Mba mmutuukako nti nga ndaba ayimirira. Gye nakuba amaaso nga ndaba empologoma egatwegese eti gombi, egavulumula bulala. Ha! Singa ettaka lyali limira muntu, lyandimmize. Bwe yagolokoka wansi n’etenga omukira ng’eringa etusaba tugyamuke oba ng’etubuuza ensonga etusaza mu tulo twayo ate mu mbuga yaayo. N’etenga nnyo omukira n’egiginazza essiisi n’eryoka erya mu ttama ko nze ‘wano wafiira muloge’ nga ntyagira.

                  Yalaba mbeteggera n’egamba nti, togenda nange ne ng’enda, tuli bukwata obw’amalusu n’eddookooli ekibowabowa nakyo kigambye nti kannyambe munnange bw’etufuuwa. Kinjodde amagulu gombi, okutemya n’okuzibula nga ndi ku ttaka. Ntitibanyeeko okwetakkuluza nga nfuuyira ndiga mulere. Ensolo bwe yantuukako, yansimba ekibatu kyayo ku luba, n’emagamaga erabe omukambwe nnamige agiwuunako bagende naye oluwunguko.

                  Yali ekyakaga n’erengera Mikolo ng’agirumba n’omuggo omugolole nze kwe kumbuukako n’emulumba. Mikolo teyali mubi n’agiviira mu mulungi n’agigubikka, n’agyasanguza ogwokubiri n’agissaako ogwokusatu, okutemya n’okuzibula nga Mikolo avuyira wansi. Olwo nange wansi nsituseewo ngirumbye, egenda okwezimuukiriza nga ngigubabise, ye nno kukuba ku ki olwazi obwazi!

                  Yagamba nti olimbye guno gunsonsomodde buggwa tonzizeeko gwakubiri, ennumbye! Bwe ng’enda okugalula nti omuggo ne nseerera ne ngwa kyabugazi n’enkoona n’enywa. Ndyokanga ne ngwa kuba kye kyamponya anti empologoma bwe yalaba ngaludde omuggo n’ebuuka enkwate mu kifuba. Mu kiseera ekyo kyennyini we ngwira nga nayo eralidde enkwate, yasanga bbanga kwe kuyitawo ne yeerindiggula eri.

                  Mba nnyimuka nga ne Mikolo atuuse n’agikaakamu omugobante. Ensolo teyamuganya kugizzaako gwakubiri nga bali nayo, ne bawerennemba. Baba bazuuzumba ne ngirumba, n’ebuuka ku Mikolo ejje engweko embetente, kazzi yeesimira ntaana. Eba ekyali mu bbanga nneesendako katono nti ne mpita n’agomu buto ne ngiseseggula omuggo gumu mu mbiriizi naye nnyini nga si nze ngikuba.

                  Gye nali teyaddayo wabula yaddayo kyennyumannyuma n’esooka omukira ku ttaka, ekyakomererayo kwe kubutamira. Yayiriitiramu katono n’egoberera bajjajja baayo olwo nange ne ngwa eri nga n’omukono gunsowose. Mikolo yajja bunnambiro n’alwawo ng’anneekebejja ng’alowooza nti entaagudde okutuusa lwe namutegeeza nga ndi bulungi, olwo emmeeme eyali emwewanise n’emudda mu nteeko.

                  Ekibuuzo:
                  Entalo Zinunula z’alwana aziwanguza mukisa si buzira. Kubaganya ebirowoozo.

                  Published on: Saturday, 18th September, 2010

                  #27062
                  NamukaabyaNamukaabya
                  Participant

                    Mpona okwokebwa mu nju n’empologoma

                    Ebitabo byaffe

                    MBU eddiba ly’empologoma gye twatta baalitwalira Kabaka n’ennyama y’empologoma tewaasigala kafi, buli eyafulumanga eri nti, ‘Bansalireko ekifi kya ddagala lya baana bange.’ Naye saddayo kubuuza ndwadde ennyama y’empologoma gy’eroga.

                    Ku lunaku olwokuna twalaga nnyinimu ng’enkeera bwe tujja okuwaza ku lugendo lwaffe n’atukkiriza kyokka ng’ekikangabwa kinene nnyo wonna anti nga buli lunaku owulira nti egindi empologoma zaaliddeyo omuntu oba nti gundi yagiwonedde watano.

                    Naye ekiro ekyo akabenje ke siryerabira ne katugwako gye twasuzibwa. Olwamala okulya ne tugenda tukigalangatanya mu ngalo. Tuba twakassa oluba wansi nga n’amatu tegannaggweerawo, empologoma n’ewagula ennyumba n’ebuuka Mikolo eyali ku mugguukiriro n’ekwata omulenzi omuddu eyasulanga mu ddumbiizi wakati.

                    Yakaabamu gumu teyaddamu. Ebyaddirira bisaana kulowoozebwa okusinga okwogerwa! Ng’emaze okumutta, yamukavvula nze ne nneekulula mpola ne nneezinga ng’eggongolo mu bisegguusi e buziizi.

                    Mu kugujuubana kwayo n’okwekuteera, nga bw’egira n’esemberera ddala kumpi ne we nali era nga bw’esesa amagumba ne ndowooza nti bw’eneekyusa emirundi ebiri ng’eri ku nze.

                    Bwe yamala okweggweera, n’egalamira omukkuto gukke. Oba yanteekako mukira oba kugulu oba ggumba lya mufu, saamanya. Kyokka bwe nawulira ekintu ekizitozito ekingwako ate nga tekinsegukako ne ndowooza nti empologoma enkutte.

                    Nawuliranga eyira ng’eyeebase naye nga siyinza kwenyeenya sikulwa ng’empulira. Bwe waayita akaseera okutegeera ne kunzigwamu era ebyaddirira Mikolo ye yabintegeeza oluvannyuma ddala.

                    Mikolo bwe yalaba ng’empologoma omwoyo egumalidde ku kyokulya kyayo, yeekwetula mpola okutuusa lwe yatuuka ku luggi n’aluwenjula mpola n’afuluma n’agenda ategeeza nnyinimu eyali asula mu nju endala.

                    Naye olwokuba yali nkoboli ya musajja n’asitukiramu n’akubaakuba ku baliraanwa ne bajja batalaaga ennyumba yonna, abamu ne bawa ekirowoozo nti, ‘tuzibikire ekituli akayumba bakatikke omuliro empologoma eggyiiremu.

                    Ko Mikolo nti, ‘Nedda tukole kirala naye si kwokya nnyumba, kale bwe munaabaamu akyali omulamu naye tumwokeremu! Beppo tugikange eveemu edduke.’

                    Ko bo nti, ‘Wa… ggwe oyagala kutussa nsolo.’ Abalala ng’olwo batandise n’okwesulubabba ennyumba. Mikolo yalaba beebulankanya, n’abagamba nti oba bo batya ye ajja kuyingira oba naye emutta emutte. Kino mbu yakirowooleza mu mwoyo ng’alowooza nti oba enzise esaana naye emutte.

                    Ne nnyinimu n’assa okwo nti, ‘Tujja kuyingira ffembi’. Abantu bwe baalaba nga bombi bamaliridde, ensonyi kwe kubakwata ne beekakaba. Baaleeta ebitimba ne bataayiza omulyango gwonna.

                    Wali we yayita ku lusonda bassaawo omusajja, ku lusonda olwo emabega w’ekitimba n’omumuli Mikolo gye yayimirira ate abasajja abalala ne bayimirira ebbali n’ebbali w’ekitimba naye nga bayimiridde nsoobanyesoobanye baleme kufumiting’ana. Awo abantu bonna okuggyako abaali mu kitimba, ne bawoggana.

                    Empologoma bwe yawulira nga lulinga olwali ku njovu e Kavumba, n’egolokoka n’eyanamu, abantu ne beesasa. Munnange nno mbu ng’awabadde ekibinja wasigadde babale, ate nno ng’embiro za kitengavvumira anti nga ne mu lusuku nayo batyayo.

                    Yo bwe yalaba agimulisa ng’emulumba buteesagga, naye eba tennamutuuka ne bagiyira amafumu ge wali olabye n’eyimiriramu, n’eboggolamu okugwa wali nga nkalu ya jjo.

                    Bwe baayingira ne balaba nga nkyalimu obulamu era nga bamaze okwekkaanya nga sirina kabi kantuuseeko ne banzigya mu nju eyo ne bantwala mu ndala.

                    Namalira ddala ennaku nga ndi mulwadde, mbu oluusi nalogootananga nti, ‘Empologoma yiino endya’ oba nti, ‘Mpa omuggo, gumpe ngikube.’ Ate oluusi bwe nawawamukanga mu tulo nga nkuba enduulu nti, ‘Yiino yiino entwala…’ Kazzi nga mbadde ngiroota.

                    Ekibuuzo:
                    Leeta ensonga ttaano ezifuula Zinunula Omunaku olugero olutakkirizika era ozinnyonnyole bulungi.

                    Published on: Saturday, 25th September, 2010

                    #27116
                    NamukaabyaNamukaabya
                    Participant

                      Ettutumu ly’okutta empologoma litutuusa embuga

                      MBU eddiba ly’empologoma gye twatta baalitwalira Kabaka n’ennyama y’empologoma tewaasigala kafi, buli eyafulumanga eri nti, ‘Bansalireko ekifi kya ddagala lya baana bange.’ Naye saddayo kubuuza ndwadde ennyama y’empologoma gy’eroga.

                      Mu nnaku ekkumi nga muguddemu n’ez’ensobi kasookedde nzisuuka, omanyi twalwawo nga tulindirira abasuubuzi abaali balaga ewaffe nga bava mu nsi ya Kabaka Senikini Gaadimba eyayitibwanga Bijweteko, abasuubuzi ne batuuka ne tusitula okulaga ewaffe kubanga twatya okuddayo ffekka, kye twava tubeesibako ne tugenda nabo. “Ssekawuka kaali kakulumye…” era ne “Nali nkirabye…” olwo lwe zaatuukirira ddala.

                      Nga bwe bisinga eng’oma okulawa, twasanga ab’eka byabagobako dda nga bwe twatta empologoma era ng’olukongoolo basinze kulusimba ku nze ng’eyagitta nzekka.

                      Ate ne Mikolo yabanga anyumya omanyi nga mwogezi mulungi nga ye ebigambo byonna abyesuulira ddala nga ye ataabiriimu. Buli we twayitanga nga batusongamu ennwe oba okutuyisaamu emimwa; oluusi ng’olaba omu atemya ku munne n’ensonyi ne zitukwata.

                      Ab’eka baatukulisa nnyo olugendo ne batuyozaayoza okuwona empologoma n’agalenzi agaatujooganga ne gatandika okututya. Bwe gaabanga gasaagasaaga nga gagereesa nti, “Beera awo ggwe nje nkukube ogwa gundi gwe yakuba entalyamenvu;” ng’enseko zitta!

                      Omwami bwe bimugwa mu kutu n’atuyita tugende alabe obulenzi obwatta empologoma. Olwo nzija okusooka okulaba ku mwami Pyati Sololo.

                      Tetwalwa nga tusituka, n’enfiirabulago nga tugenda mbuga. Omwami twamusanga atudde ku kituuti nga kwaliiriddwa amaliba g’ensolo ezitali zimu nga kuliko amannyo g’envubu n’amayembe g’enkula n’embogo, empiri enkaze n’ebyoya by’ennyonyi eza buli mabala.

                      Yali asumise olubugo lw’ennenge era nga yeebulunguluddwa abantu ku njuyi zonna.

                      Yali musajja gwe bayita ‘mumpi atunda kwa kyeya’ era nga mukuubukuubu.

                      Omutwe gwe gwali gwa kitebe, enviiri za kawemba, emimwa gye gyali gya nsaya, ekifuba kyagaagavu era nga kisibaganye kabambaggulu ate amaaso nga ga luwuka era nga gatunula bijiijidde. Ennyindo ye yali nfunda naye wansi nga ndeeruufu, amannyo ge nga galinga amasongolankuyege, amatu ge nga gaawukana katono ku maleere.

                      Yalina obusukuttu ate ng’ayogera ang’ong’ottera olw’ekinnyindwa era nga bw’assa omukka, afeekeera bufeekeezi. Amagulu gaali ga butagali, ekiwato kya makudde era ng’atuula afutubbadde olw’entumba gye yalina.

                      Mu bantu abaali bamwetoolodde nneekalirizaako babiri nga ku bo okubonaabona n’oluvannyuma essanyu lyange mwe byava. Omu yali muwala ate omulala
                      kaali kasajja akaakula nga kannakkwale.

                      Omutwe gwako gwali luyijja lwennyini, amaaso nga ga lwenge era nga katunula kamoozoola mamoozoole, ekirevu kyako nga kye kikasinga obunene amagulu n’emikono nga minyolo bunyolo gya ng’oma ate nga koogera kabundugguka.

                      Kaali kasajja ndalagge.

                      Abantu abamu, oba nno baakasala busazi bigambo lwa kukatya baatugamba nti kaali kalogo ate akasezi nga katwala balamu.

                      Okumanya baakatya ne bakamala, baatugamba mbu ng’amabidde kayinza okugaloga ne gasaala era n’omwenge ogukyali entwere nga kagukenkuza. Akantu ako nga ke katabani k’Omwami akakulu.

                      Omwami Pyati Sololo yali mutaamuufu eyajjula akazolobo n’embazuulu. Abaana be nga tebawuunibwako wabula mpozzi ng’oyagala kubikusibisiza ku nnyindo na kugendera ku kisago oba ku kibabu.

                      Nga tumaze okunyumyamu ebiti nga bibiri oba bisatu oba ekituufu nandigambye nti nga tumaze okwanukula bye yatubuuza yatusiibula naye yatuggya ku muggalo, kubanga twali ku bwerende nga tutya okubaako kye tusobeza mu maaso ge.

                      Ebibuuzo:
                      1. Laga ebifaananyi omuwandiisi by’atusiigidde mu kitundu ekyo
                      2. Omukwano gukira akaganda akatono. Laga bino bwe bituukira mu Zinunula Omunaku.

                      Published on: Saturday, 2nd October, 2010

                      #27257
                      OmumbejjaOmumbejja
                      Participant

                        Nneetegekera entalo za Ptyati

                        MBA nkyali awo ntangaaliridde, abantu bangi ne bandaga obubonero n’emikono n’emimwa nti genda ate olinda ki? Nange seefuula ‘nswaswa eteyanula’ nga mmyansa ndaga ka.

                        Bwe natuuka mu kkubo ne ndyoka ntegeera nga bwe mponedde awampi awaalema ekkere okubuuka. Nze okulabikako eka, kye kyawanula emitima gya bonna gye gyali gyewanise kubanga bonna baalowooleza ddala nti siireme kutuukibwa kabi omwami nga bwe yali yeesaze atyo akajegere.

                        Ku luno akawungeezi twali tunyumya ne Meeya ne Mikolo mu kayu kaffe Meeya n’ajjukira nti,
                        Meeya: Ee! ee! ee! ye sso mbadde nneerabidde ntya!
                        Mikolo: Weerabidde ki?
                        Meeya: Nneerabidde okutegeeza ono nga Mirembe bwe yamutumidde, sso nno ate maama ng’amutumira bulijjo nze ne nneerabira. Leero ndyose ne nzijukira.

                        Nze kwe kubuuza nti, “Mirembe ki oyo eyantumidde gwe simanyi?
                        Mikolo n’atulika n’aseka ‘nnyindo yankolera’ nga bw’agamba nti, “Ggwe tomanyi muwala w’embuga olulala gwe wabuuza Meeya erinnya?’

                        Nze kwe kubuuza Meeya nti, “Naye ddala omuntu gwe situmirangako ye antumira atya?’
                        Ekyo teyakiddamu wabula ate okumbuuza obubuuza ekirala nti, ‘mbuulira ggwe, mmuddamu ntya?’ Yalaba simunyeze ng’agamba nti, ‘nze nja kumugamba nti wamutumidde nnyo.’

                        Nali ng’enda okumuwakanya nga Mikolo asuulawo mboozi ndala nga baseka nga biri babizibiikiriza, ekyandowoozesa ne leero nti be baasooka okwetumiriza eri Mirembe nga baagala twagalane, kubanga omuwala oyo ne Meeya nga gubasaza mu kabu ate ng’okusinziira ku njogera ya Meeya bulijjo yalabikanga ng’amunjagaliza.

                        NFUUKA MUKWANO GWA Muyodi
                        Ebbanga nga liyiseewo ttono emmeeme yange n’esigala kulengera bulengezi ebyo ebyandiko mu maaso ng’Omwami Pyati Sololo ne ku nnyanja era ne ntandika okusanyuka n’okukola emirimu gyange.

                        Omuvubuka omu n’atuyigiriza okukola emitego egy’engeri ezitali zimu ng’egy’emiriiti, egy’emmanduso, egy’obukunizo, egy’amakanda era n’emisimbattaka nga totaddeeko bigu ebitonotono, gye twasasira ensiko eyali etuliraanye ne tukamala.

                        Emirundi mingi gyatuwonyanga nnyo ku maluma.
                        Olwali olwo twali tugenda tulambula emitego gyaffe ku ggogolo, ne tulengera omuntu ku katunnumba mu nnimiro ne tugendayo okulaba ky’akola.

                        Bwe twamusemberera ne ndaba nga ye musajja eyampolereza eri Omwami. Yali yeebakidde ebiro bingi ddala nga mukadde bukuku naye ng’akyesobola. Yalina ekirevu kya lutuula ekyamukwata emba zombi kyonna tukutuku n’enviiri ze nga zimukirako obuyira obw’ejjobyo okutukula.

                        Amaaso gonna gaali gajjudde enkanyanya era ng’agudde n’embugubugu ate ng’alabika ng’amaaso ge gayimbaddemu.

                        Yali asomba ntungo eyalimibwa ku nkalajje y’akawaala ako ng’agiteeka ku lukanganga.
                        Bwe twamutuukako n’atulamusa n’atubuuza kye tubadde tukola eyo mu lukakaba gye twafulumira ne tumunnyonnyola nga bwe tumukwasizaako ne ku mulimu gwe.

                        Nga tumaze okumulombojjera byonna ebitufaako, ne mmwebaza okumpolereza eri Omwami. N’ayisa omukono mu maaso obukiikakiika ng’asala entuuyo n’antunuulira enkakaba n’assa ekikkowe n’afuuwa ekiwa ng’akizza munda era n’enneetondera nga bwe yali anneerabidde.

                        N’atugamba nti, ‘baana bange, mutuule mbabuulire.’ N’atuula nga bw’akekejjana ati n’okudding’ana erinnya lye nti, ‘Wo -o -o ! Muyodi, Muyodi, Muyodi, Muyodi oli!’

                        Nga tumaze okutuula n’atunyumiza ebifa ku Mwami oyo Pyati Sololo naye nga byonna bitiisa. Yatubuulira nti Omwami oyo muwalanye nnyo nti bw’akuwalana oba tonnafa taweera era nti takoma ku ggwe wekka naye nti n’ab’omu maka bonna abazza mu kkoowe lye limu.

                        Nti ate waliwo olugambo olutandise okuyitaayita nti muwala we Mirembe akwagala sso ng’ate omuwala oyo abavubuka be yaakassa so batono abawambibwa amaaso ge.

                        Omwami y’alina gw’amwagaliza naye kale ebyo ka tubimme amazzi bisirikke. Nze ne mmutegeeza n’omuwala oyo nga bwe nali siyogerangako naye yadde okumulabako.

                        Naye n’abinsazaamu ng’enyeenya n’omutwe nga bw’agamba nti, ‘weewaawo oyinza obutamumanya naye anti, ‘olugambo muliro’ gwokya n’atagukumye ate kasita gukoleerera mu ssubi ekkalu kitwala ebbanga nga tegunnazikira.

                        Naawe nno lowooza erinnya lyo lyayita dda mu nsi olw’okutta empologoma, kaakano kyenkana buli muwala akwegwanyiza olw’obuzira. Kale nno olugambo nga luno bwe lutandika ani ayinza okukugaanira?

                        Olugambo luno oba lutuufu oba si lutuufu, ekyo tekijja kulugaana kutuuka ku Mwami. Osaana oyige nnyo okulwanyisa amafumu kubanga emitego gye emirala bw’oligisumattuka, ogw’okulwanyisa amafumu gwe guliba nsalesale era gwe gulisalawo eggoye’ Mba nkyakotese omutwe ‘kyakwogera ambuze’, Mikolo n’annyamba n’ambuuza nti, ‘Kale atalina anaamugunjula mu kulwanyisa mafumu anaagayiga atya?’

                        Ekibuuzo: Obusungu n’okuwalana bisuula. Kubaganya ebirowoozo nga weesigama ku mboozi eno.

                        Published on: Saturday, 13th November, 2010

                        #27268
                        NamukaabyaNamukaabya
                        Participant

                          Bino byebitabi byoddingana nga buli kiseera ozuulamu ebigambo byobadde tomanyi oba byotowulirangako.

                          Banaffe abawandiisi mwebale nnyo omulimu gwemukola mweyongere mu maaso.

                          #27271
                          OmumbejjaOmumbejja
                          Participant

                            Nsisinkana Birungi tebikka mirembe

                            KO Muyodi yagamba nti, “Oba nga mukisiimye munajjanga wano buli lwaggulo, ye ate obanga mutoola mangu, mu nnaku ntono muliba nga temubanguse mu kulwanyisa amafumu!” Aba amaliriza kino, mukaziwe n’atuuka.

                            Yali atunuulidde ebiro bingi era nga n’omugongo biguwese butego, mu kamwa ke nga temukyali linnyo na limu wabula olubungu.

                            Omubiri gwe obufukunya bw’emyaka egyamuyitangako bwali bwakuuliita dda nagwo ng’amagumba g’olaba gaanamye. Mu lulimi lwa leero erimu ku mannya gano ndowooza lyandimugiddemu bulungi, Lukanyala, oba ery’edda erya Mugangatika.

                            Amaaso ge gaali gasemberera okuzigama era ng’ayogera avumiira ate ng’abumbujjamu naye nga tannawutta. Erangi ye esinga, obukadde bwali buginaabudde ku mubiri gwe naye ng’alabika nga mu buwala yali mulungi.

                            Kagingo yali amumesse enzirugavu esanyusa era ng’amugoogodde bulungi. naye mu kiseera kino yalabika ng’asiba byangu nga n’ebimu by’asiba bikutuka. Okusekako nno nnyazaala ng’omusaasira anti ng’olowooza nti olunaazisirisa ng’akala ng’akenkenuka bukenkenusi!

                            Erinnya lyennyini yayitibwanga Kulwawokulaba. Bwe yamala okutulamusa n’antunuulira n’agamba bba nti, “Olabye omwana ono bw’afaananira ddala omuzzukulu Pyati gwe yatta?” Ko bba nti, “Nange ekifaananyi ekyo nakirabye dda.”

                            Ko nnakyala nti, “N’oli yali yenkanira ddala ng’ono we yattirwa, sso nno singa kaakano aliko n’abaana abakulu!” Nagenda okulaba ng’ebiyengeyenge bimuyunguka ne nsulika amaaso gange, nagenda okugabbula nga ndaba asangula amaziga mu maaso.

                            Oluvannyuma n’asitukawo n’agenda naffe ne tugenda ne Muyodi eka. Omanyi yatuwaliriza tutuukeko mu maka ge nga tetunnaddayo waffe, tugalabire ddala
                            Akayumba ke kaali katono naye nga kayonjo. Bwe twatuuka awo ate n’atwaniriza buggya n’atulamusa.

                            Bwe yamala okutwaniriza n’atulaga amafumu n’engabo bye yanyaga mu ntabaalo n’ebirala ebyamuweebwanga abantu abakulu. Ebyo bye byatukkusa okutegeera nti mu biseera bye yali musajja mulwanyi nga muzira kkungwa.

                            Twali tusiibula, mukyala nnyinimu n’ategeeza ng’emmere bw’eyidde era nnyinimu n’atusaba tumale okuwooma nabo.
                            Newankubadde nga nali saagala kulya mmere efumbiddwa wa bikaata, naye olwa Muyodi okutwekubiirako, twakkiriza okulya nabo.

                            Emmere yali nnungi ddala omukyala ye yaliira ntula ezaali zimyuse nga ziriko n’amalule era n’enswa ezaali zigaayegaayeemu. Yali ayagala okukolezaayo Muyodi ekigaaga ye n’agaana naye kulwawo yalabika ng’awoomeddwa nnyo. Ffe twaliira bbuga nga mulimu n’ennyaga.

                            Bwe twamala okulya ne batuwaayo omuvangata gw’obutiko n’olubatu lw’enswa tutwalireko ab’eka ne tuddayo nga tusanyuka. Bwe twatuuka eka, twasanga nnyinimu yeekabye n’atubuuza nti, “Mubadde muleggukidde wa?”

                            Twalaba atandise okutemereza n’okwenyinyimbwa n’emimwa nga gimutoobera ne tumanya ng’asunguwadde nga tumwamuka. Gye twali twamunnyonnyolayo luvannyuma ng’ettumbiizi lisse.

                            Nsisinkana Birungi tebikka Mirembe
                            Ku nnaku ezimu ez’ekyeya, bwe twamalanga okulya ekyemisana nga tugenda mu kayumba kaffe ne tuwujjaalako mu ggandaalo era ne ku lunaku luno bwe kyali.

                            Tuba tuli omwo, nze nno ng’otulo tuutwaliriza, ne tuwulira atuyita mu kaloboozi akatono nti, “Ab’omwo, ab’omwo” Mikolo n’ayanukula nti, “E-e-e”
                            Ko ye nti, “Nze”

                            Ko Mikolo, “Yingira.” Ne wayitawo akabanga ng’eyayise talabikako, Mikolo kwe kugamba nti, “Simanyi nnyanukudde gazimu!”
                            Ko nze, “Kanfulume ndabe.” Mba nneesimba nti mu kisasi nga ndaba Meeya ava ku lusebenju lw’enju yaffe n’atulika n’aseka nga bw’atunula emabega.

                            Nze kwe kumukaayukira nti, “Lwaki okutuzannyisa n’otugaana okuwummulako awatali nsonga?” Ye n’addamu nti, “K’oyombe nno nga n’omugenyi azze okukulaba awulira.”

                            Ko nze, “Mugenyi ki? Nze sirina bagenyi bankyalira mu ttuntu”
                            Ko ye, “Oswi! Ate saagadde omunkube nze amuleese!” Nga ndowooza nti Meeya anzannyisa buzannyisa nga bwe yatukolanga oluusi. Kye nava mmuleka wabweru ne nzirayo ne nneeganzika awo ku ddiba lyange.

                            Meeya teyayingirirawo, yajja luvannyumako n’ang’amba nti, “Omugenyi ayingire?”
                            Ko nze, “Mwana wa nnyabo, tonzannyisazannyisa bwotyo.”

                            Ye okwandibadde okuddamu yasikayo mukeeka n’olubugo, n’abyaliira wabbali awo n’alyoka agamba nti, “Wamma yingira nnyabo.”
                            Omugenyi ne yeesoobolola ayingire.

                            Nze amaaso gange nali ngabunyizza omulyango , omugenyi yasisinkana gamuteeze. Nali nange sikyetaaga kwebuuza nti, y’ani.

                            Bwe yatuuka mu ddiiro wakati, n’asikattiramu n’amagamaga. Meeya kwe kumugamba nti, “Jjangu otuulire wano.”

                            Nze nno olwo kitawe nga mpejjawejja era ng’entunnunsi zinkuba ng’ezinaambukamu oba n’okwasaamirira nayasaamirira nga mmutunuulira.

                            Ekibuuzo: Omuwandiisi akozesa akakodyo k’okussa omusomi ku bunkenke. Kino kivaayo kitya mu mboozi eyo esimbuliziddwa waggulu?

                            Published on: Saturday, 20th November, 2010

                            #27291
                            KulabakoKulabako
                            Participant

                              Mirembe mulebevu naye muka

                              Kkye nzijukira, kye kino nti omugenyi ng’amaze okutuula, Meeya ne Mikolo nga bamaze okumulamusa, Nze Meeya n’ang’amba nti, “Ggwe munnaffe abagenyi abakyala ewammwe tobalamusa?” Ne nva kyenkana mu kirooto mwe nali ne nzisa ekikkowe ekyansimattuka ne nnamusa Mirembe.

                              Yali wa kitema, mutono nga wa katakketakke. Omubiri gwe gwali mulebevu ate munyirivu nnyo, omutwe gwe gwalina akakoona, enviiri zaali za kaweke nga za luwe.

                              Amatu ge gaali mawanvuwanvumu nga galina embuga nnene. Ekyenyi nga kya masega, akayindo ke kaali katono. Amaaso ge gaali manene ga ndege nga mu kiwanga tegatuulamu wabula okuligita obuligisi gati gati.

                              Obukowekoowe bwe bwali busoonoofu ddala, ebisige bye nga bya musoke. Obumwa bwe butono ng’obwensumbi nga bulimu amannyo ga kasenge, nga mu lubu olw’engulu mwetondeseemu akazigo.

                              Emba zaali mpanvumu era bwe yamwenyanga oba okuseka nga ku matama kujjako obunnya. Ensingo ye yali mpanvu ate ng’esibaganye ebiseera. Engalo ze zaali za mbidde nga zijjudde kisunje.

                              Ebigere bye byonna nga bituukiridde.
                              Amabeere ge gaali ga biteeko ga mpummumpu yenna nga mutereevu mu kikula kye. Amagulu ge gaalinamu ebitege bitono era ng’atambuza ssimbo nga yeesiira.

                              Eddoboozi yalina ttono era ng’ayogera mpola. Ate nga lwa kuba mukekkeze era nga mutono bw’atyo, naye ng’alina ekitiibwa kimulabikako era ng’alabikira ddala nga wa magezi.

                              Mu magezi ne munne Meeya ng’amwasimula n’ekisa kye nga kingi mu mwoyo.
                              Nga tumaze okumulamusa era nga nze nkyamuwagise amaaso, ye bwe yakyusa amaaso ge mangu okugaggya ku Mikolo, n’asisinkana n’agange n’amwenyaamu n’alyoka abuuza Meeya nti, “Lwaki ono mwannyoko antunuulira ati! Nedda, nedda, nze mba kumanya nga ndi wa kutunuulirwa ntyo sandizze!”
                              Ko Meeya nti, “Mwanawattu ndaba wazze kumulaba , ka naye akulabe akwetegereze tebalikumuyisaako. Ye oba akwagala!”

                              Mirembe: Oba nze simwagala?
                              Meeya: Lekayo!
                              Nga beesekera! Bwe waayitawo akabanga, Meeya n’afuluma; bwe yatuuka mu luggya, n’ayita Mikolo nti, “Jjangu bakuyita.”

                              Awo nga tusigala ne Birungi tebikka Mirembe mu nnyumba siyinza n’akatono kunnyonnyola obuzibu bwe nalimu mu kaseera kano.

                              Nze nali simanyidde kwogera na bawala , anti ng’abo be ndaba bulijjo be b’oku muliraano, ate nga ntera kubasanga ku mugga ate ng’okuggyako okubatikka ensuwa zaabwe era n’oluusi okufuma nabo enfumo awo mu luggya akawungeezi nga tuli bangi wamu, nga sidda nabo awo mu mboozi.

                              Ensonga endala, Mirembe ono, guno gwe gwali omulundi gwange omuberebyerye okumusemberera ate nno gattako ye okuba omwana w’Omwami.

                              Ate era mu kaseera kano namulowooza okuba omukuumiize newankubadde ng’oluvannyuma nategeera nga kwali kumutya kwe kwandowoozesa kutyo. Naye ebyo byonna awamu byambuza kye nnaanyumya naye.

                              Bwe nabanga ng’enda okumugamba kino ne kinnema ate ne ndowooza kirala. Ebbanga ne liyitira ddala nga mmeggana n’ebirowoozo byange era ndowooza ye Mirembe enseko nga zimuttira muli kimugunyu. Naye ajja okunsala ku muguwa ye Mirembe yennyini.

                              Nali ntunudde nti wansi, bwe nagenda okubbulula amaaso nga ndaba anjegese amaaso gombi.
                              N’amwenyaamu n’ang’amba nti, “Bannange abajja okubakyalira osiriikirira basiriikirire? Ye obwedda oyagala kung’amba ki?”

                              Era ye n’annyamba ng’aleetereza emboozi ng’abuuzabuuza ebintu bingi ku bulamu bwange nange ne munnyonnyola ebimu ku byo nga saagala kumumalirayo byonna naye ye ng’alabika amanyi bingi ku nze okusinga bwe nayagala.

                              Ekyo kye kyantegeeza ng’omukwano gwabwe ne Meeya gwali gugenze wala nnyo ku nze.
                              Nze bwe namubuuzanga ebimufaako nga yeddiramu kimu kyokka nti, “Ekyo ndikikubuulira olulala.” Nalwa ddaaki ne mmugamba nti, “Obanga ggwe totera kulabikalabika, kale ndikusanga wa okubimbuulira. Ate sikulwa nga siriddayo na kukusemberera!” Ko ye, “Oba nno olowooza obutaddayo kundaba lulala, ate olwo bye nnaakubuulira binaakugasa ki?”

                              Sso nno oba oyagala, siraba kinaakuziyiza kundaba. Anzudde kati era y’alinzuula ndaba baalugera dda nti, “teguzibirwa kkubo.”

                              ‘Omukwano teguzibirwa kkubo.’ Kubaganya ebirowoozo nga weesigama ku katabo Zinunula Omunaku

                              Published on: Saturday, 27th November, 2010

                              #27317
                              NamukaabyaNamukaabya
                              Participant

                                ‘Mbulira mu kibira ne nnwana n’essota’

                                Ekyeya bwe kyabanga kiri kumpi okwewerekera , abakazi n’abawala nga babeera mu keetereekerero ka kutyaba nku, nga beetegekera ebiro by’enkuba, emituba gyonna mu nsuku ne bagijjuza ensekese z’enku.

                                Lwali lumu ng’ekyeya kino mwe nasooka okusemberera Mirembe kiri kumpi okuggwaako, abawala ne bansaba mbawerekere mu kibira ewala batyabe enku kubanga awo okumpi zaali zikeeye.

                                Nange nga nsitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi kubanga nali njagala okutemayo ebisiki eby’ekyoto kyaffe ate nga Mikolo yali agenze ne nnyinimu mu kwabya olumbe. Tetwalwa nga twessa mu kibira ng’abawala batyaba nku nga nze bwe mbalinnyira ezaali waggulu ne nzisuula nga bwe bakung’aanya.

                                Enku bwe zaawera ne ng’amba Meeya nti, “Kammale okwenogera ku mbooseera z’amatungulu njije tugende,” nga nneesolossa mu kibira. Bwe namala okunoga amatungulu, ekkubo eryandeese lyambula.

                                Kajja okuntanda njogere nti ‘ye sso siibule’ ate nga mu kibira omwo temwogererwa nti siibule’ nga bw’okyogera obulira ddala. Nange kye nava mbulira ddala. Meeya ne banne bwe baalaba sidda ate nga n’obudde bwemalayo, nga bakolongola nsekese nga beggyawo.

                                Nze nalaba mbuze, ne nkoowoola ku bannange naye ng’amaloboozi ganziramu okuva ku njuyi zonna nti, ‘Wuu wuu jjangu eno tugende.’

                                Bwe nagendanga ku ludda gye mpulidde eddoboozi nga lyo ligenda lyeyongera eyo ewala akaseera katono ate nagendanga okuwulira nga limpitira mabega. Bwe ntyo ne mpapira mu kibira omwo okutuusa obudde lwe bwakunira. Nalaba sirina ganaakwata ngo mu mannyo, nga ndaba tti ddene nga mpalampa nga mpagama omwo obudde kkejenge.

                                Obudde olwali okunyiimuulamu buti, nga nzika kunoonya luwenda lwandeese. Nga nno ndulabako? Nga ntolontoka mu kibira nga ngomaagomera omwo okukamala. Obudde nga butuuse mu gwango, ne ntuula mu kisiikirize ky’etti mpummuleko, kazzi n’essota we lissiza ekikkowe.

                                Mba ngalamidde mu bikoola, nga balireese lijja buteesagga livvunkana nga bwe likwakwaya. Bwe lyasembera nga nange olwo ntudde, ne likangalalamu, mpozzi linneetegereza. Awo we naliwujjira ekisigo ko lyo nti olimba ebyo byatiisanga ba dda.

                                Nalaba lijjira ddala, ko nze wano wafiira muloge nga nsituka kuyotta. Ko lyo, omala kunnyoomoola n’odduka? Nga linsimbako. Bwe ntunula emabega nga lijja liraaka, ne nduma. Nsisinkanye ekibinja ky’ebisolo, nabyo bwe byekanga, ne bibuna emiwabo, oba byali mu kuteesa oba mu tulo saamanya.

                                Mba ngoberera oluwenda ekisolo ekimu mwe kiraze, ne kidda nga kiriko n’obumansuka. Okugenda okwekanga, nga kyantomedde dda kiwuunyeemu amavumira kiyosse.

                                Nze ndaze gye kivudde. Ng’enda okulaba ng’ebigo ebito bibiri birigita wansi w’omuti ne nnyina waabyo nga n’ensajja weeri. Nalaba sijja kufuna geerijja na ngo ziriko zzadde, nga nsala ga kuziwa kyanya. Nasooka kutambula kisezi nga ntya nti bwe ngikuba enkoona ng’embuukira.

                                Nayisa emiti nga giigyo ne nkyuka ne nfuumuuka emisinde gye wali olabye. Singa nange nakisanga mu luwenda luno, nze nandikitomedde! Ssessota eyali ammezeeko saamanya we yakoma na gye yalaga.

                                Ekibuuzo:
                                Abaganda baakozesanga obwongo okukuuma obutonde bw’ensi. Lambulula nga weesigama ku kitundu ky’osomye.

                                Published on: Saturday, 11th December, 2010

                              Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 26 total)
                              • You must be logged in to reply to this topic.

                              Comments are closed.