Ababaka kiggwayo nti Abaganda Ba Katonda – mu Lungereza kyetuyita God’s Brothers and Sisters. Ekigambo Buganda kirina ensibuko ssatu ezikwatagana.
Ensibuko esooka eri mu lugero lwa Kintu ne Nambi Abaganda abasooka munsi, nga bano baana ba Katonda nga nolwensonga eyo, Abaganda abaddako okuzaalibwa bazzukulu ba Katonda. Okusinziira ku buwangwa bwa Buganda, omuzzukulu ne jjajja babeera ba luganda. Nga awo wewava Abaganda okubeera Baganda ba Katonda.
Oluusi ebigambo bino bitwalibwa mu bwangu nga bitegeeza nti Abaganda bantu ba Katonda.
Mu byafaayo ebye dda, waliwo omusajja eyayitibwanga Buganda Walusimbi Ntege, nga yazaala abaana abalenzi bangi nga bano bebaavaamu ebika bya Buganda. Nga kyebava bayitibwa bazzukulu ba Buganda.
Abaganda muganda. Omuganda guno guva mu Bantu ba ssekinnomu abakola ennyumba, ennyumba nezegatta okukola empya, empya nezivaamu ennyiriri, nekuddako emituba, amasiga, ebika ne Kabaka ku ntikko. Nga omukwano ge maanyi agasibye omuganda ogwo.
Wakitimba w ‘AbabaKa kituuti Abaganda ku butaka ne ku mawanga webakuunganira okujjukira ebyafaayo byabwe nga eggwanga ery ‘obwakabaka, okwekenneenya ebiseera bino, ssaako n’okukuba empenda eze mbeera ennungi mu biseera ebijja.