Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Olulimi Oluganda / Luganda Language › Ebika Ne Mirimu Gyaabyo Mu Buganda
Tagged: NUTAKU Hack Coins OCTOBER 2020
- This topic has 34 replies, 7 voices, and was last updated 4 months, 2 weeks ago by Omumbejja.
-
AuthorPosts
-
December 1, 2010 at 8:15 am #27287
[attachment=2420]1290891182rhino_2010-11-30.jpg[/attachment]
Abenkula be balunzi ba KabakaBya Mariam Kyabangi
OMUKULU w’ekika ky’Enkula Owakasolya ayitibwa Muwangi atuula e Kapeeka mu Bulemeezi.
Akabbiro k’Abenkula katiko ka Nnassogolero.
Omubala gwabwe guvuga nti, “Wankula tatya takyuka.
Wankula yambala amayembe, Wankula asimmbye ejjembe”
Omulimu gw’Abenkula ku Kabaka gwa bulunzi.Be baalundanga ente ya Kabaka eyitibwa Namala. Omulimu baagukola nnyo ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera.
Published on: Saturday, 27th November, 2010
December 12, 2010 at 8:17 am #27316Abennyange be bakuuma ekyoto Ggombolola
Bya Mariam Kyabangi
OMUKULU w’Akasolya mu kika ky’ennyonyi Ennyange ye Mbaziira atuula e Bulimu mu Kyaggwe. Akabbiro kaabwe kkunguvvu.Omubala gwabwe guvuga nti,
‘Bampe omuggo nneewerekeze
Mu Kyambadde mulimu engo’.Emirimu gy’Abennyange ku Kabaka gye gino:
1. Be bakuuma ekyoto Ggombolola ekisangibwa ku Wankaaki.
Ekyoto kino kwe balabira nti Omutanda mw’ali alamula.
Tekizikira okuggyako ng’Omutanda akisizza omukono.
[attachment=2433]1292078091moro.jpg[/attachment]2. Be bakuuma eng’oma entamiivu.
3. Be baleeta omukyala Nannyange.January 9, 2011 at 11:26 pm #27385[attachment=2453]1294499112poooo.jpg[/attachment]
Abensuma be babajja Nnamulondo
Kabaka Mutebi II ng’ateredde mu Nnamulondo. Entebe eno ebajjibwa bazzukulu ba Kibondwe, AbensumaBya Mariam Kyabangi
ENSUMA oluusi eyitibwa kasulubbana oba kasulu. Kino nakyo kika mu bika by’Abaganda 62.
Akabbiro k’Ensuma kasulubbana akatono.
Omukulu w’ekika Owaakasolya ayitibwa Kibondwe, atuula e Bukibondwe mu Buvuma.Omubala gwabwe guvuga nti, ‘Kibondwe yeddira Nsuma, Kibondwe atambula.’
Wammanga gye mirimu gy’Abensuma mu Lubiri:1. Be bavuga eryato lya Kabaka eriyitibwa Nnakakweya. Eryato eryo lisangibwa Bugerere mu kitundu ekyayitibwanga Bulondoganyi.
Omuziransuma akuuma eryato eryo ayitibwa Munyagwa Kiwana atuula e Kirindi mu Bugerere.
2. Be bamyuka abakuuma Mujaguzo. Mujaguzo ng’oma za Kabaka ezikuumibwa Kawuula Owoolugave. Ono amyukibwa Omuziransuma, Kimoomera ow’e Mmanze. Ng’oggyeeko okukuuma Mujaguzo, Kimoomera era ye mugoma amyuka Kawuula.
3. Era be bamyuka Ssaabawaali w’essenero lya Kabaka.
4. Bayambako Bannaggunju (Aboobutiko) mu kusanyusa Kabaka nga bayita mu kumuzinira amazina.
5. Be babajja Nnamulondo, entebe Kabaka kw’atuula. Omulimu ogwo gukolebwa Ssekagga Owensuma ne Ggunju Owoobutiko.
6. Nabo baggazi ba Kabaka.
Published on: Saturday, 8th January, 2011
November 14, 2019 at 3:21 pm #45894posso usare l’italiano or english
December 4, 2019 at 9:06 pm #45931i am from Italy hello. Can you help me translate? /rardor
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.